LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 9/15 lup. 7-11
  • Yakuwa ‘Atuwa Obuddukiro’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa ‘Atuwa Obuddukiro’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Atununula mu Mikono gy’Abalabe
  • Atuwonya Buli Kabi Akatutuukako?
  • Atuwa Obukuumi bw’Eby’Omwoyo
  • Atulabirira nga Tulwadde
  • Atuwa Bye Twetaaga
  • Yakuwa—‘Yawanga Obuddukiro’ mu Biseera bya Baibuli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Yakuwa—Mugabi era Mukuumi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Amaanyi ag’Obukuumi—“Katonda Kye Kiddukiro Kyaffe”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Yakuwa Katonda Wo Akutwala nti Oli wa Muwendo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 9/15 lup. 7-11

Yakuwa ‘Atuwa Obuddukiro’

“Yakuwa ajja kubayamba era ajja kubawa obuddukiro.”​—ZAB. 37:40, NW.

1, 2. Kiki kye tumanyi ku Yakuwa ekituzzaamu amaanyi?

EBISIIKIRIZE ebireetebwawo enjuba tebiyimirira mu kifo kimu. Ensi bw’egenda yeetooloola, nabyo bigenda bitambula. Kyokka, Oyo eyatonda ensi n’enjuba ye takyuka. (Mal. 3:6) Baibuli egamba nti: ‘Takyukakyuka ng’ekisiikirize.’ (Yak. 1:17) Okukimanya nti Yakuwa takyukakyuka kituzzaamu nnyo amaanyi, naddala bwe tuba nga twolekaganye n’ebizibu. Lwaki kituzzaamu amaanyi?

2 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Yakuwa ‘yawa obuddukiro’ abantu be mu biseera bya Baibuli. (Zab. 70:5, NW) Takyukakyuka era buli ky’agamba nti ajja kukikola akituukiriza. Bwe kityo, abasinza be leero basobola okuba abakakafu nti ajja “kubayamba era ajja kubawa obuddukiro.” (Zab. 37:40, NW) Yakuwa awadde atya abaweereza be obuddukiro mu kiseera kino? Era ayinza atya okuwa buli omu ku ffe obuddukiro?

Atununula mu Mikono gy’Abalabe

3. Lwaki tuli bakakafu nti abalabe tebayinza kulemesa bantu ba Yakuwa kubuulira amawulire amalungi?

3 Tewali kintu kyonna Setaani ky’asobola kukola kiyinza kulemesa Bajulirwa ba Yakuwa kusinza Katonda waabwe n’omutima gwabwe gwonna. Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti: “Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa; era buli lulimi olulikugolokokerako okuwoza naawe olirusinga.” (Is. 54:17) Abalabe bafubye nnyo okulemesa abantu ba Katonda okukola omulimu gwabwe ogw’okubuulira, naye balemeddwa. Lowooza ku byokulabirako bibiri.

4, 5. Abantu ba Yakuwa baayolekagana na kuziyizibwa ki mu 1918, era kiki ekyavaamu?

4 Mu 1918, abakulembeze ba Kristendomu baayigganya nnyo abantu ba Yakuwa nga baagala babalemese okubuulira. Nga Maayi 7, ab’obuyinza mu Amerika baalagira J. F. Rutherford, eyali alabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna, akwatibwe wamu ne banne abamu be yali nabo ku kitebe ekikulu. Mu myezi biri, Ow’oluganda Rutherford ne banne baasingisibwa omusango gy’okujeemesa abantu era ne basalirwa ekibonerezo kya kusibibwa ebbanga ddene. Olwo abalabe baali bakomezza omulimu gw’okubuulira nga beeyambisa kkooti? N’akatono!

5 Jjukira Yakuwa kye yasuubiza: “Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa.” Nga Maaki 26, 1919, ebintu byakyuka mu ngeri eyeewuunyisa Ow’oluganda Rutherford ne banne bwe baasumululwa ku kakalu ka kkooti nga baakamala emyezi mwenda mu kkomera. Omwaka ogwaddirira, nga Maayi 5, 1920, emisango egyali gibavunaanibwa gyabaggibwako. Ab’oluganda bano olwateebwa, baagenda mu maaso n’omulimu gw’Obwakabaka. Kiki ekyavaamu? Okuva olwo wabaddewo okweyongerayongera kwa maanyi nnyo! Bino byonna bituukiddwako olw’Oyo ‘atuwa obuddukiro.’​—1 Kol. 3:7.

6, 7. (a) Kiki ekyatuuka ku Bajulirwa ba Yakuwa mu biseera by’obufuzi bw’Abanazi mu Bugirimaani, era biki ebyavaamu? (b) Ebyafaayo by’abantu ba Yakuwa mu kiseera kino biraga ki?

6 Kati lowooza ku kyokulabirako eky’okubiri. Mu 1934, Hitler yeerayirira okusaanyawo Abajulirwa ba Yakuwa mu Bugirimaani. Kuno tekwali kusaaga busaazi kubanga Abajulirwa bangi baakwatibwa ne baggalirwa. Abajulirwa nkumi na nkumi baatulugunyizibwa; bangi battirwa mu nkambi z’abasibe. Hitler yasobola okusaanyawo Abajulirwa nga bwe yali agambye? Yasobola okukomya omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi mu Bugirimaani? N’akatono! Mu kiseera ky’okuyigganyizibwa ekyo, ab’oluganda baasigala babuulira, wadde nga baali bakikola mu nkukutu. Obufuzi bw’Abanazi bwe bwakoma, eddembe lye baafuna baalikozesa nga beeyongera okubuulira. Leero, mu Bugirimaani waliyo ababuulizi bw’Obwakabaka abasukka mu 165,000. Ne ku luno, Oyo ‘awa obuddukiro’ yatuukiriza kye yasuubiza nti: “Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa.”

7 Ebyafaayo by’Abajulirwa ba Yakuwa mu kiseera kino biraga bulungi nti Yakuwa tayinza kukkiriza bantu be ng’ekibiina kusaanyizibwawo. (Zab. 116:15) Kati ate kiri kitya ku ffe ng’abantu kinnoomu? Yakuwa atuwa atya obuddukiro?

Atuwonya Buli Kabi Akatutuukako?

8, 9. (a) Tumanya tutya nti Yakuwa tatuwonya buli kabi akatutuukako mu kiseera kino? (b) Kiki kye tulina okutegeera?

8 Tukimanyi bulungi nti ng’abantu kinnoomu Yakuwa tasuubiza kutuwonya buli kabi akatutuukako mu kiseera kino. Endowooza yaffe eringa ey’Abebbulaniya abasatu abeesigwa abaagaana okuvunnamira ekifaananyi kya Kabaka Nebukadduneeza. Abavubuka abo abatya Katonda baali bakimanyi nti kyali eri Yakuwa okubawonya akabi mu ngeri ey’ekyamagero oba obutakikola. (Soma Danyeri 3:17, 18.) Ng’ebyaliwo bwe biraga, Yakuwa yabanunula okuva mu kikoomi ky’omuliro. (Dan. 3:21-27) Kyokka, ne mu biseera bya Baibuli, okununulibwa mu ngeri ey’ekyamagero tekyali kya bulijjo. Abaweereza ba Yakuwa bangi battibwa abalabe baabwe.​—Beb. 11:35-37.

9 Ate kiri kitya leero? Yakuwa, Oyo ‘awa obuddukiro,’ asobola bulungi okununula abantu abali mu kabi. Waliwo engeri yonna gye tuyinza okumanya obanga Yakuwa alina ky’akozeewo okuyamba omuntu? Nedda. Wadde nga kiri kityo, omuntu bw’aba avvuunuse ekizibu ayinza okugamba nti Yakuwa y’amuyambye. Tekiba kya magezi kuwakanya muntu ng’oyo olw’okulowooza bw’atyo. Naye kikulu okukijjukira nti Abakristaayo bangi abeesigwa bafudde olw’okuyigganyizibwa, nga bwe kyali mu kiseera ky’Abanazi. N’abalala bafiiridde mu butyabaga. (Mub. 9:11) Kati ekyebuuzibwa kiri nti, ‘Yakuwa yalemererwa “okuwa obuddukiro” abaweereza be abo abeesigwa abaattibwa?’ Ekyo tekiyinzika.

10, 11. Lwaki tewali muntu asobola kwewala kufa, naye kiki Yakuwa ky’asobola okukolawo?

10 Lowooza ku kino: Tewali muntu yenna asobola kwewala kufa, kubanga tewali muntu asobola ‘kuwonya emmeeme ye mu buyinza bwa magombe,’ oba entaana. (Zab. 89:48) Naye ate kiri kitya eri Yakuwa? Mwannyinaffe omu eyawonawo mu kiseera ky’Abanazi ajjukira ebigambo nnyina Omujulirwa bye yamugamba ng’amugumya olw’abaagalwa baabwe abaafiira mu nkambi z’abasibe: “Singa abantu abafa baali tebasobola kuddamu kuba balamu, olwo okufa tekwandibadde nga kusinga Katonda amaanyi?” Awatali kubuusabuusa, okufa si kantu mu maaso g’Oyo asingayo amaanyi, era Ensibuko y’obulamu! (Zab. 36:9) Abo bonna abali mu Magombe, Yakuwa akyabajjukira era ajja kubawa obuddukiro.​—Luk. 20:37, 38; Kub. 20:11-14.

11 Yakuwa era talekerera baweereza be abeesigwa leero. Ka tulabe ebintu bisatu ebiragira ddala nti ‘atuwa obuddukiro.’

Atuwa Obukuumi bw’Eby’Omwoyo

12, 13. Lwaki obukuumi obw’eby’omwoyo bwe businga okuba obukulu, era Yakuwa atuwa atya obukuumi obwo?

12 Yakuwa atuwa obukuumi obusinga okuba obukulu, nga buno bwe bukuumi obw’eby’omwoyo. Ng’Abakristaayo ab’amazima, tumanyi nti waliwo ekintu eky’omuwendo okusinga obulamu bwaffe leero. Ekintu ekyo ye nkolagana buli omu ku ffe gy’alina ne Yakuwa. (Zab. 25:14; 63:3) Bwe tutaba na nkolagana eyo, obulamu bwaffe tebuba na makulu era tetuba na ssuubi lya biseera bya mu maaso.

13 Kya ssanyu nti Yakuwa atuwa buli kye twetaaga tusobole okukuuma enkolagana ey’okulusegere naye. Tulina Ekigambo kye, omwoyo gwe omutukuvu, n’ekibiina kye ekiri mu nsi yonna. Tuyinza tutya okuganyulwa mu bujjuvu mu bintu bino byonna? Bwe twesomesa Ekigambo kye obutayosa, tujja kunyweza okukkiriza kwaffe n’essuubi lyaffe ery’ebiseera by’omu maaso. (Bar. 15:4) Bwe tumusaba omwoyo gwe, ajja kugutuwa gutuyambe okwewala okweyisa mu ngeri etesaana. (Luk. 11:13) Bwe tugoberera obulagirizi omuddu omwesigwa bw’atuwa okuyitira mu bitabo ebinnyonnyola Baibuli, mu nkuŋŋaana z’ekibiina, ne mu nkuŋŋaana ennene, tujja kuba tuliisibwa mu by’omwoyo ‘emmere etuukira mu kiseera kyayo.’ (Mat. 24:45) Ebintu ng’ebyo bitukuuma mu by’omwoyo era bituyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda.​—Yak. 4:8.

14. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Yakuwa gy’atukuuma mu by’omwoyo.

14 Okusobola okulaba engeri Yakuwa gy’atuwaamu obukuumi bw’eby’omwoyo, jjukira abazadde abaayogerwako ku ntandikwa y’ekitundu ekyayita. Nga wayise ennaku ntono bukya muwala waabwe Theresa abula, baafuna amawulire amabi: Yali yatemulwa.a Kitaawe agamba nti: “Nnali nsabye Yakuwa okumukuuma. Bwe nnamanya nti yali atemuddwa, mu kusooka nneebuuza lwaki Yakuwa yali tazzeemu kusaba kwange. Nkimanyi bulungi nti Yakuwa tasuubiza kukuuma bantu be kinnoomu mu ngeri ey’ekyamagero. Nneeyongera okumusaba annyambe okulaba ebintu mu ngeri ennuŋŋamu. Kyaŋŋumya okukimanya nti Yakuwa akuuma abantu be mu by’omwoyo, kwe kugamba, atuwa bye twetaaga ne tusobola okukuuma enkolagana yaffe naye nga nnungi. Obukuumi obwo bwe businga okuba obukulu kubanga bwo bukwata ku biseera byaffe eby’omu maaso eby’emirembe n’emirembe. Mu ngeri eyo, Yakuwa yakuuma Theresa, olw’okuba yali amuweereza n’obwesigwa mu kiseera we yattirwa. Kimpa emirembe mu mutima okukimanya nti obulamu bwe buli mu mikono gya Katonda ow’okwagala era ajja kubumuddiza mu biseera eby’omu maaso.”

Atulabirira nga Tulwadde

15. Yakuwa ayinza kutuyamba atya nga tulwadde?

15 Yakuwa asobola okutulabirira nga ‘tuyongobera ku kitanda,’ nga bwe yalabirira Dawudi. (Zab. 41:3) Atuyamba leero wadde nga takikola mu ngeri ya kyamagero. Atya? Emisingi egiri mu Kigambo kye giyinza okutuyamba okusalawo obulungi ku bikwata ku bujjanjabi ne ku bintu ebirala. (Nge. 2:6) Tuyinza okusoma Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! ne tufunamu ebituyamba ku bulwadde bwennyini obuba butuluma. Ng’akozesa omwoyo gwe, Yakuwa asobola okutuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” ne tusobola okugumira embeera yonna gye tuba tulimu era ne tusigala nga tuli beesigwa gy’ali. (2 Kol. 4:7, NW) Bino byonna bituyamba obutatendewalirwa olw’obulwadde, ekintu ekiyinza okutuviiramu okuddirira mu by’omwoyo.

16. Ow’oluganda omu asobodde atya okugumira obulwadde?

16 Lowooza ku w’oluganda omuto eyayogerwako ku ntandikwa y’ekitundu ekyayita. Mu 1998, baamusangamu obulwadde obuyitibwa amyotrophic lateral sclerosis, oba ALS, oluvannyuma obwamusanyalaza yenna.b Asobodde atya okugumira obulwadde buno? Agamba nti: “Ebiseera ebimu mba mu bulumi era nneekyawa ne mpulira ng’okufa kwokka kwe kuyinza okuntaasa. Buli lwe ndaba nga kimpitiriddeko, nsaba Yakuwa ebintu bisatu: annyambe okufuna emirembe mu mutima, okuba omugumu, n’okuba omugumiikiriza. Yakuwa ayanukula okusaba kwange okwo. Okuba n’emirembe mu mutima kinnyamba okulowooza ku bintu ebinzizaamu amaanyi, gamba ng’obulamu bwe buliba mu nsi empya nga nsobola okutambula, emmere ennungi, n’okunyumyako n’ab’eŋŋanda. Okuba omugumu kinnyamba okwolekagana n’ebizibu ebiva ku kusannyalala. Okuba omugumiikiriza kinsobozesa okusigala nga ndi mwesigwa era nga siddiridde mu bya mwoyo. Nzikiriziganya n’omuwandiisi wa zabbuli Dawudi kubanga Yakuwa andabiridde nga ndi mulwadde.”​—Is. 35:5, 6.

Atuwa Bye Twetaaga

17. Yakuwa asuubiza kutukolera ki, era ekisuubizo ekyo kitegeeza ki?

17 Yakuwa asuubiza okutuwa ebyetaago by’omubiri. (Soma Matayo 6:33, 34 ne Abaebbulaniya 13:5, 6.) Kino tekitegeeza nti tetulina kufaayo kwetuusaako bye twetaaga, oba nti tetulina kukola. (2 Bas. 3:10) Ekisuubizo ekyo kitegeeza nti: Bwe tukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe era ne tufuba okukola tusobole okweyimirizaawo, tuba bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba okufuna bye twetaaga mu bulamu. (1 Bas. 4:11, 12; 1 Tim. 5:8) Asobola okutuwa bye twetaaga mu ngeri gye tubadde tutasuubira, oboolyawo ng’ayitira mu musinza munnaffe okutuwa bye twetaaga oba okutuwa omulimu.

18. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Yakuwa asobola okutulabirira nga tuli mu bwetaavu.

18 Jjukira maama oli ali obwannamunigina eyayogerwako ku ntandikwa y’ekitundu ekyayita. Kyamuzibuwalira okufuna omulimu nga ye ne muwala we omuto basengukidde mu kitundu ekirala. Agamba nti: “Nnagendanga mu buweereza bw’ennimiro ku makya, ate nga buli lwa ggulo mbeera mu kunoonya mirimu. Nzijukira lumu nnali ŋŋenze ku dduuka okugula amata ne ndaba emmere. Nnayimirira ne njitunuulira naye nga sirina ssente zimala kugulako. Nnali siwulirangako bubi kutuuka awo. Naye bwe nnaddayo eka, ku mulyango ogw’emmanju nnasanga wajjudde ebisawo omuli emmere ey’ebika eby’enjawulo. Emmere eyo yali etumala okuliirako emyezi egiwera. Nnatulika butulisi ne nkaaba, era ne nneebaza Yakuwa.” Mwannyinaffe ono oluvannyuma yakizuula nti ow’oluganda omu ow’omu kibiina ye yali amuleetedde emmere eyo okuva mu nnimiro ye. Yamuwandiikira n’amugamba nti: “Wadde nga nnakwebaza nnyo ku olwo, nneebaza ne Yakuwa olw’okundaga okwagala kwe ng’ayitira mu kisa kye wankolera.”​—Nge. 19:17.

19. Mu kibonyoobonyo ekinene, abaweereza ba Yakuwa bajja kuba bakakafu ku ki, era tulina kuba bamalirivu kukola ki kati?

19 Awatali kubuusabuusa, Yakuwa bye yakola mu biseera bya Baibuli n’ebyo by’akola leero biraga nti tusobola okumwesiga okutuyamba. Mu bbanga si ddene, ekibonyoobonyo ekinene kijja kubalukawo mu nsi ya Setaani eno, era mu kiseera ekyo tujja kwetaaga obuyambi bwa Yakuwa okusinga ne bwe kyali kibadde. Abaweereza ba Yakuwa bajja kuba basobola okumwesiga n’omutima gwabwe gwonna. Bajja kuyimusa emitwe gyabwe era basanyuke, nga bakimanyi bulungi nti okununulibwa kwabwe kuli kumpi. (Luk. 21:28) Nga bwe tulindirira ebyo, ka tube bamalirivu okuteeka obwesige bwaffe mu Yakuwa, nga tuli bakakafu nti Katonda waffe atakyuka ‘y’atuwa obuddukiro,’ ka twolekagane na bizibu ki.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba ekitundu ekirina omutwe “Okwolekagana n’Ekikangabwa eky’Amaanyi,” mu Awake! eya Jjulaayi 22, 2001, olupapula 19-23.

b Laba ekitundu “Okukkiriza Kwange Kunnyambye Okuba Omunywevu nga Nnwanagana n’Obulwadde bwa ALS,” mu Awake! eya Jjanwali 2006, olupapula 25-29.

Ojjukira?

• Yakuwa awa atya abaweereza be abattibwa obuddukiro?

• Lwaki obukuumi obw’eby’omwoyo bwe businga obukulu?

• Ekisuubizo kya Yakuwa eky’okutuwa ebyetaago by’omubiri kitegeeza ki?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Mu 1918, Ow’oluganda Rutherford ne banne baakwatibwa ate oluvannyuma ne bateebwa, n’emisango egyali gibavunaanibwa ne gibaggibwako

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Yakuwa asobola okutulabirira nga ‘tuyongobera ku kitanda’

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share