LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 4/1 lup. 26-28
  • Otya Abafu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Otya Abafu?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Abafu Balamu?
  • “Dayimooni,” oba Emyoyo Emibi
  • Engeri gy’Osobola Okuggwamu Okutya
  • Ziyiza Emyoyo Emibi
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Ebitonde eby’Omwoyo—Engeri Gye Bitukwatako
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Kkiriza Obuyambi bwa Yakuwa Osobole Okuziyiza Emyoyo Emibi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Kabi Ki Akali mu by’Obusamize?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 4/1 lup. 26-28

Otya Abafu?

ABANTU abamu bwe babuuzibwa ekibuuzo ekyo baddamu nti, “Nedda. Nga lwaki mbatya?” Bakimanyi bulungi nti abantu bwe bafa baba bafiiridde ddala. Kyokka, abantu bukadde na bukadde bakkiriza nti abantu bwe bafa bafuuka myoyo.

Mu Benin, mu Afirika ow’Ebugwanjuba, bangi bakkiriza nti abafu baba basobola okudda ne batta ab’eŋŋanda zaabwe. Abantu batuuka n’okutunda ebyabwe oba okwewola ssente bagule ebisolo eby’okusaddaaka, oba bakole emikolo okusobola okusanyusa ab’eŋŋanda zaabwe abaafa. Abamu beenyigira mu by’obusamize nga balowooza nti omuntu bw’afa wabaawo ekintu ekimuvaamu ekisobola okwogera n’abantu abalamu. Ate abalala balina ebintu ebibatuukako mu bulamu ne balowooza nti emyoyo gy’abafu gye gibikola.

Bwe kityo bwe kyali ku musajja omu ayitibwa Agboola, abeera okumpi n’ensalo ya Benin ne Nigeria. Agamba nti: “Abantu b’omu kitundu kyaffe beenyigira nnyo mu by’obusamize. Banaaza emirambo nga bagiteekateeka okuyingira ettwale ery’emyoyo. Nnakuŋŋaanyanga obutundutundu bwa ssabbuuni bwe bafissizzaawo ne mbugatta n’ebikoola, ne nnyengamu eddagala. Eddagala eryo nnalisiiganga ku mmundu yange gye njiggisa, nga bwe njogerera waggulu ekika ky’ensolo gye njagala okutta. Abantu bangi nnyo abakola ebintu ng’ebyo, era bakkiriza nti bikola. Kyokka, ebintu by’obusamize ebimu byali bitiisa nnyo.

“Nnafiirwa batabani bange babiri mu ngeri etaategeerekeka ne kindetera okulowooza nti waaliwo omuntu andoga. Okusobola okuzuula ekituufu, nnagenda ku musamize amanyiddwa nti wa maanyi nnyo. Yagamba nti kye nnali ndowooza kyali kituufu. Naye ekyasinga okunnuma kwe kuŋŋamba nti batabani bange kati baali eyo mu ttwale ly’emyoyo nga balinze omuntu eyabatta afe, bafuuke abaweereza be. Omusajja era yaŋŋamba nti ne mutabani wange ow’okusatu yali agenda kufa. Era waayita ennaku ntono, naye n’afa.”

Ebyo nga bimaze okubaawo, Agboola yasisinkana John, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, eyali avudde e Nigeria. John yakozesa Baibuli n’amulaga ekituuka ku muntu ng’afudde. Bye yamunnyonnyola byakyusa obulamu bwe era bisobola okukyusa n’obubwo.

Abafu Balamu?

Ani asaanidde okuddamu ekibuuzo ekyo? Tewali muntu n’omu asaanidde kukiddamu, k’abe musamize ow’amaanyi, okuggyako Yakuwa, Omutonzi w’ebiramu byonna ebiri “mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika.” (Abakkolosaayi 1:16) Yatonda bamalayika okubeera mu ggulu, ate abantu n’ensolo n’abateeka ku nsi. (Zabbuli 104:4, 23, 24) Obulamu bwonna buyimiriddewo ku lulwe. (Okubikkulirwa 4:11) Kati weetegereze Ekigambo kya Katonda, Baibuli, kye kyogera ku kufa.

Yakuwa ye yasookera ddala okwogera ku kufa. Yagamba nti Adamu ne Kaawa bandifudde bwe bandimujeemedde. (Olubereberye 2:17) Kino kyali kitegeeza ki? Yakuwa yagamba bw’ati: “Oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda.” (Olubereberye 3:19) Omuntu bw’afa, omubiri gwe guvunda ne gufuuka ettaka. Obulamu bwe buggwawo.

Olw’okuba Adamu ne Kaawa baayonoona mu bugenderevu, baaweebwa ekibonerezo eky’okufa. Naye si be baasooka okufa. Mutabani waabwe Abiri ye yasooka, bwe yattibwa mutabani waabwe omukulu Kayini. (Olubereberye 4:8) Kayini teyatya nti muganda we gwe yali asse yandyesasuzza, wabula yatya ekyo abantu abaali abalamu kye bandimukoze.​—Olubereberye 4:10-16.

Nga wayise ebyasa by’emyaka, Kabaka Kerode yanyiiga nnyo ng’abalaguza emmunyeenye bamugambye nti waliwo “Kabaka w’Abayudaaya” eyali azaaliddwa mu kitundu kye. Ng’agezaako okulaba nti omwana oyo eyali ow’okufuuka kabaka attibwa, Kerode yalagira abaana bonna abalenzi ab’omu Besirekemu ab’emyaka ebiri n’okukka wansi battibwe. Naye malayika yagamba Yusufu atwale Yesu ne Malyamu ‘baddukire e Misiri.’​—Matayo 2:1-16.

Kerode bwe yafa, malayika yagamba Yusufu akomewo mu Isiraeri, “kubanga abaali banoonya omwana okumutta [baali] bafudde.” (Matayo 2:19, 20) Malayika, nga ye kennyini kitonde kya mwoyo, yali amanyi nti Kerode takyalina ky’ayinza kukola Yesu. Yusufu yali talina ky’atya ku Kabaka Kerode eyali afudde. Kyokka, Yusufu yali yeekengera ekyo mutabani wa Kerode, Alukerawo, kye yali ayinza okukola. Bwe kityo Yusufu yasalawo okugenda abeere e Ggaliraaya, mu kitundu Alukerawo gye yali talina buyinza.​—Matayo 2:22.

Ebyo byonna bituyamba okukiraba nti abafu tebalina kye bayinza kukola. Kati olwo, ebyo ebyatuuka ku Agboola ne ku bantu abalala biyinza kunnyonnyolwa bitya?

“Dayimooni,” oba Emyoyo Emibi

Yesu bwe yakula, yasisinkananga ebitonde eby’omwoyo ebibi. Ebitonde ebyo byali bimumanyi era byamuyita ‘Mwana wa Katonda.’ Ne Yesu yennyini yali abimanyi. Egyo tegyali myoyo gy’abantu abaafa, wabula Yesu yagamba nti zaali “dayimooni,” oba emyoyo emibi.​—Matayo 8:29-31; 10:8; Makko 5:8.

Baibuli eyogera ku bitonde eby’omwoyo ebiweereza Katonda n’obwesigwa ne ku birala ebyamujeemera. Ekitabo ky’Olubereberye kigamba nti Yakuwa bwe yagoba Adamu ne Kaawa mu lusuku Adeni nga bamujeemedde, yateeka bakerubi, oba bamalayika ebuvanjuba, okukuuma ebuvanjuba w’olusuku olwo balukuume waleme kubaawo muntu yenna aluyingiramu. (Olubereberye 3:24) Kirabika guno gwe mulundi ogwasooka ebitonde eby’omwoyo okweyoleka eri abantu.

Nga wayiseewo ekiseera, bamalayika abawerako bajja ku nsi ne beeyambaza emibiri gy’abantu. Yakuwa yali talina mulimu gwonna gw’abatumye kukola ku nsi. Be baasalawo ne “baleka ekifo kyabwe” mu ttwale ery’emyoyo. (Yuda 6) Mu kukola kino baali beenoonyeza byabwe. Baafuna abakazi ne baabazaalamu abaana abaali bayitibwa Abanefuli. Abanefuli ne bakitaabwe abajeemu bajjuza ensi eyo ebikolwa eby’ettemu n’obubi bungi obw’engeri endala. (Olubereberye 6:1-5) Yakuwa yatereeza embeera bwe yaleeta Amataba mu nsi yonna mu biseera bya Nuuwa. Amataba ago gaazikiriza abasajja n’abakazi ababi, nga kw’otadde n’Abanefuli. Kiki ekyatuuka ku bamalayika ababi?

Amataba gaabawaliriza okuddayo mu ttwale ery’emyoyo. Kyokka, Yakuwa teyabakkiriza kudda mu ‘kifo kyabwe.’ (Yuda 6) Baibuli egamba nti: “Katonda teyasonyiwa bamalayika bwe baayonoona, naye n’abasuula mu lukonko [“Tatalo,” NW] n’abawaayo eri obunnya obw’ekizikiza, okubakuumira omusango.”​—2 Peetero 2:4.

Tatalo si kifo kya ddala, wabula mbeera efaananako ng’ekkomera, bamalayika abo ababi mwe bakuumirwa nga tebasobola kukola buli kimu kye baagala. Wadde nga kati dayimooni ezo tezikyasobola kweyambaza mibiri gya bantu, zirina obuyinza bwa maanyi nnyo ku bulamu bw’abantu n’endowooza yaabwe. Zisobola okubeera ku bantu ne ku nsolo. (Matayo 12:43-45; Lukka 8:27-33) Era ze zirimbalimba abantu nga zeefuula emyoyo gy’abo abaafa. Lwaki zikola zityo? Zisobole okulemesa abantu okusinza Yakuwa nga bw’ayagala, baleme na kutegeera kituufu ku mbeera y’abafu.

Engeri gy’Osobola Okuggwamu Okutya

Agboola yategeera bulungi ebikwata ku bafu ne ku bitonde by’omwoyo ebyamunnyonnyolwa okuva mu Baibuli. Yakiraba nti yali yeetaaga okuyiga ebisingawo. Yatandika okusoma Baibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola ng’ayambibwako John. Kyamuzzaamu nnyo amaanyi okutegeera nti batabani be bali mu ntaana tebaliiko kye bamanyi, so tebali eyo mu ttwale ery’emyoyo nga balindiridde okufuuka abaweereza b’oyo ayabatta.​—Yokaana 11:11-13.

N’ekirala, Agboola yakiraba nti yalina okwekutulira ddala ku by’obusamize. Yayokya buli kintu kye yalina ekikwatagana nabyo. (Ebikolwa 19:19) Abantu abamu mu kitundu baamutiisatiisa nti emyoyo gyali gijja kumukolako akabi. Naye Agboola teyaliimu kutya kwonna. Yakolera ku kubuulirira kuno okuli mu Abaefeso 6:11, 12: ‘Mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda kubanga tumeggana n’emyoyo emibi.’ Ebyokulwanyisa bino bizingiramu amazima, obutuukirivu, amawulire amalungi ag’emirembe, okukkiriza, n’ekitala eky’omwoyo, nga kino kye Kigambo kya Katonda. Ebyokulwanyisa ng’ebyo biva eri Katonda era bya maanyi.

Agboola bwe yasalawo okuleka obulombolombo bwonna obwekuusa ku by’obusamize, mikwano gye n’ab’eŋŋanda ze bamweggyako. Kyokka, mu Kizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa ekiri mu kitundu kye, yafunayo emikwano emipya mingi, abakkiririza mu ebyo Baibuli by’eyigiriza.

Agboola kati akimanyi nti Yakuwa anaatera okulongoosa ensi agimalemu obubi bwonna, akomye n’ebikolwa bya dayimooni byonna. Oluvannyuma ajja kuzizikiriza. (Okubikkulirwa 20:1, 2, 10) Katonda ajja kuzuukiza abo “bonna abali mu ntaana” baddemu okubeera ku nsi. (Yokaana 5:28, 29) Mu abo mwe mujja okuba Abiri, abaana Kabaka Kerode be yattira obwereere, ssaako n’abantu abalala bukadde na bukadde. Agboola akkiriza nti ne batabani be abasatu bajja kubaamu. Osanga n’abaagalwa bo abaafa baliba bamu ku bo. Abo bonna abanaazuukizibwa bajja kuwa obukakafu nti okuva lwe baafa tebabaddeeko kye bamanyi, ka gibe mikolo egyabakolerwa.

Tewali nsonga yonna lwaki wanditidde abafu. Mu kifo ky’ekyo, osobola okufuna essuubi ery’okuddamu okubeera n’abaagalwa bo abaafa. Kati lwaki totandika okusoma Baibuli osobole okunyweza okukkiriza kwo? Kolagana n’abo abakkiririza mu Baibuli by’eyigiriza. Bw’oba obadde weenyigira mu by’obusamize, biveeko kati. Weekuume dayimooni ng’oyambala “ebyokulwanyisa byonna [ebiva eri] Katonda.” (Abaefeso 6:11) Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu okukuyamba. Bayigiriza abantu Baibuli ku bwereere, nga bakozesa akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?a

Agboola takyatya bafu, era yayiga engeri y’okuziyizaamu dayimooni. Agamba nti: “Simanyi ani yatta batabani bange abasatu. Naye okuva lwe nnatandika okuweereza Yakuwa, nfunye abaana abalala musanvu. Tewali n’omu okuva mu ttwale ery’omwoyo eyali abatuusizzaako kabi.”

[Obugambo obuli wansi]

a Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 28]

Agboola takyatya bafu, era yayiga engeri y’okuziyizaamu dayimooni

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Kayini teyaliimu kutya nti muganda we gwe yali asse yandyesasuzza

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share