“Malayika wa Mukama Asiisira Okwetooloola Abo Bonna Abamutya”
Byayogerwa Christabel Connell
Olw’okuba twali twemalidde ku kuddamu ebibuuzo Christopher bye yali abuuza okuva mu Baibuli, ku ffembi tewali yakiraba nti obudde bwali buzibidde ddala; era tetwakiraba nti Christopher amaaso yali tagaggya mu ddirisa. Twalabira awo ng’atugamba nti, “Kati tewali mutawaana musobola okugenda.” Yatuwerekerako n’atutuusa awaali eggaali zaffe era n’atusiibula. Kabi ki ke yali alabye?
NNAZAALIBWA mu 1927 mu kibuga Sheffield eky’omu Bungereza, era bantuuma Christabel Earl. Ennyumba yaffe yakubwa bbomu n’esaanawo mu Ssematalo II, era bwe kityo nnasindikibwa ewa jjajja omukazi mbeere eyo nga bwe mmaliriza emisomo gyange. Mu ssomero erimu ery’omu kigo gye nnasomeranga, nnabuuzanga nnyo ababiikira ensonga lwaki waaliwo obubi bungi. Naye bonna, nga mw’otwalidde ne bannaddiini abalala be nnabuuza, tewali n’omu yasobola kuddamu kibuuzo ekyo mu ngeri ematiza.
Ssematalo II bwe yaggwa, nnasoma obusawo. Oluvannyuma nnasengukira e London nga nfunye omulimu mu ddwaliro ly’e Paddington, kyokka n’eyo waaliyo ettemu lingi. Nga mukulu wange omulenzi yaakagenda okulwana mu lutalo lw’e Korea, nnalaba abantu abaali balwana wabweru w’eddwaliro. Omu yakubibwa nnyo nga tewali n’amudduukirira, era ekyo kyamuviirako okuziba amaaso. Mu kiseera ekyo, nnagendanga ne maama mu nkuŋŋaana z’ekisamize, naye nazo tezannyamba kutegeera nsonga lwaki waliwo obubi bungi nnyo mu nsi.
Nkubirizibwa Okusoma Baibuli
Lumu mwannyinaze omukulu, John, eyali afuuse Omujulirwa wa Yakuwa yankyalira. Yambuuza nti: “Omanyi ensonga lwaki waliwo obubi bungi nnyo?” Ko nze: “Nedda.” Yabikkula Baibuli n’ansomera Okubikkulirwa 12:7-12. Nnakiraba nti Setaani ne dayimooni be bali emabega w’obubi obuliwo mu nsi. N’olwekyo, nnakkiriza amagezi John ge yampa, era mu bbanga ttono nnatandika okuyiga Baibuli. Naye okutya abantu kwannemesa okubatizibwa mu kiseera ekyo.—Nge. 29:25.
Muganda wange Dorothy naye yali afuuse Omujulirwa wa Yakuwa. Bwe yadda okuva ku lukuŋŋaana olunene olwali e New York mu 1953 ng’ali ne Bill Roberts gwe yali agenda okufumbirwa, nnabagamba nti waliwo eyali ansomesezza Baibuli. Bill yambuuza: “Ebyawandiikibwa ebyajulizibwa byonna wabisoma? Eby’okuddamu ebiri mu katabo wabisazaako?” Bwe nnaddamu nti nedda, ye kwe kuŋŋamba: “Ekyo kitegeeza nti tolina bye wasoma! Yogera ne mwannyinaffe eyakusomesa muddemu buto!” Mu kiseera ekyo nnatandika okulumbibwa dayimooni. Nzijukira nga nnasabanga Yakuwa okunkuuma n’okunnyamba zireme kunsinza maanyi.
Mpeereza nga Payoniya mu Scotland ne mu Ireland
Nnabatizibwa nga Jjanwali 16, 1954, era ekiseera kye nnali mpatanye okukola mu ddwaliro bwe kyaggwako mu Maayi, mu Jjuuni ne ntandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Nga wayise emyezi munaana, nnasindikibwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo e Grangemouth mu Scotland. Nga mpeereza mu kitundu ekyo ekyali kyesudde, nnawulira nga bamalayika ba Yakuwa ‘basiisidde okunneetooloola.’—Zab. 34:7.
Mu 1956, nnasabibwa okugenda okuweereza ne bannange abalala babiri mu kibuga Galway eky’omu Ireland. Ku lunaku olwasookera ddala, nnagenda mu maka g’omusaseredooti. Mu ddakiika ntono wajjawo omuserikale n’antwala ku poliisi awamu ne munnange bwe twali. Olwamala okutubuuza amannya gaffe ne gye tubeera, n’akuba essimu. Twamuwulira ng’agamba nti, “Yee, Faaza, ekifo we babeera nkitegedde.” Kyeyoleka bulungi nti omusaseredooti oyo ye yali amutumye! Olw’okuba nnannyini nnyumba we twali tusula yali awaliriziddwa okutugoba, ofiisi y’ettabi yatuwa amagezi tuve mu kitundu ekyo. Twagenda okutuuka awalinnyirwa eggaali y’omukka nga ku kiseera kw’erina okusimbulira kuyiseeko eddakiika kkumi nnamba. Naye twasanga ekyaliwo, era nga waliwo n’omusajja atulinze okukakasa nti tugirinnya. Ekibuga Galway twakimalamu wiiki ssatu zokka!
Twasindikibwa e Limerick, naye ne mu kibuga ekyo Abakatuliki baalina obuyinza bwa maanyi nnyo. Ebibinja by’abantu byatuleekaaniranga. Bangi baatyanga okwogera naffe. Omwaka gumu emabega, waliwo ow’oluganda eyakubirwa mu kibuga Cloonlara ekiriraanyewo. Bwe kityo twasanyuka nnyo bwe twayogera ne Christopher eyayogeddwako mu ntandikwa, n’atusaba okudda tuddemu ebibuuzo bye ebikwata ku Baibuli. Bwe twaddayo, omusaseredooti omu yeesogga ennyumba ya Christopher n’amulagira atugobe tugende. Christopher yamukaliramu n’amugamba nti: “Abakazi bano nze nnabayita okujja ewange era baasoose kukonkona nga tebannayingira. Naye ggwe ssaakuyise, oyingidde buyingizi tokonkonye.” Nga yenna musunguwamu, omusaseredooti yafuluma n’agenda.
Tetwamanya nti omusaseredooti oyo yali akuŋŋaanyizza ekibinja ky’abasajja nga batuteeze ebweru w’ennyumba ya Christopher. Olw’okuba Christopher yali akimanyi nti baali bantu ba akabi era kye yava akola nga bwe twalabye ku ntandikwa. Yatukuumira ewuwe okutuusa lwe baakoowa ne bagenda. Twakizuula nga wayise ekiseera nti ye wamu n’ab’omu maka baawalirizibwa okuva mu Ireland, ne basengukira e Bungereza.
Mpitibwa Okugenda mu Giriyadi
Mu 1958, bwe nnali nteekateeka okugenda ku Lukuŋŋaana lw’Ensi Yonna, Divine Will, olwali e New York, nnafuna ebbaluwa empita okugenda mu ssomero lya Giriyadi mu mugigi ogwa 33. Mu kifo ky’okudda eka ng’olukuŋŋaana olwo luwedde, nnagenda e Collingwood, mu ssaza Ontario ery’omu Canada, ne ngira nga mpeereza eyo okutuusa Essomero lya Giriyadi lwe lyatandika mu 1959. Nga ndi ku lukuŋŋaana olwo nnasisinkana Eric Connell. Amazima yali yagayiga mu 1957, n’atandika okuweereza nga payoniya mu 1958. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, yampandiikiranga buli lunaku ekiseera kyonna kye nnamala e Canada era ne mu ssomero lya Giriyadi. Muli nneebuza ekyali kigenda okuddirira nga mmaze okusoma.
Okugenda mu Giriyadi kyali kintu kikulu nnyo mu bulamu bwange. Muganda wange Dorothy ne bba nnali nabo mu mugigi ogwo. Bo baasindikibwa kuweereza Portugal, ate nze ne nsindikibwa mu Ireland. Eky’okuba nti ssaasindikibwa kuweereza mu nsi emu ne muganda wange kyampisa bubi nnyo! Bwe kityo nnabuuza omu ku baali batusomesa obanga nnina ekikyamu kye nnali nkoze. Yanziramu nti: “Nedda, ggwe ne munno gw’ogenda okuweereza naye, Eileen Mahoney, mwakkiriza okuweereza mu emu ku nsi ewali obwetaavu,” nga Ireland y’emu ku zo.
Nzirayo mu Ireland
Mu Ireland nnatuukayo mu Agusito 1959 era nnaweerezebwa mu kibiina ky’e Dun Laoghaire. Eric yali yakomawo dda mu Bungereza era yali musanyufu nnyo okulaba nga nzize kumpi naye. Naye yali yayagala dda okufuuka omuminsani. Bw’atyo yasalawo okujja aweereze nga payoniya mu Ireland, olw’okuba waaliyo obwetaavu bw’abaminsani. Yajja e Dun Laoghaire, era twafumbiriganwa mu 1961.
Nga wayise emyezi mukaaga, Eric yagwa ku kabenje ak’amaanyi ng’ali ku ppikipiki. Yayatika omutwe era abasawo baali tebamanyi obanga asobola okuwona. Yamala wiiki ssatu nnamba mu ddwaliro, n’oluvannyuma nnamujjanjabira awaka okutuusa lwe yawona nga wayise emyezi etaano. Nnakolanga kye nsobola okugenda mu maaso n’obuweereza bwange.
Mu 1965 twaweerezebwa mu kibiina ky’e Sligo ekiri ku mwalo oguli mu bukiika kkono bw’ebugwanjuba, ekyalimu ababuulizi omunaana bokka. Waayita emyaka esatu nnebatwongerayo mu bukiika kkono, mu kibiina ekirala ekitono ekyali e Londonderry. Lumu twagenda okudda okuva mu kubuulira, ng’ekkubo eritutuusa awaka lisibiddwamu sseŋŋenge. Olwo obusambattuko bw’omu Ireland ow’omu bukiika kkono bwali butandise. Ebibinja by’abavubuka byayokyanga emmotoka. Ekibuga ekyo kyali kyakutulwamu ebitundu eby’Abapolotesitante n’eby’Abakatoliki. Okusala okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala kyali kintu kya kabi nnyo.
Tubuulira mu Biseera Ebizibu
Twagendanga mu bitundu byonna ne tubuulira. Ne mu kiseera ekyo, bamalayika baali ng’abasiisidde okutwetooloola. Bwe twabanga mu kitundu ne kigwamu obusambattuko, nga tukivaamu ne tukomawo olulala ng’embeera eteredde. Lumu bwe waaliwo okulwanagana okumpi ne we twali tusula, ebipapajjo ebyaka byamansuka okuva ku dduuka eritunda langi ne bigwa ku ddirisa lyaffe. Ku olwo tetwebaka ku tulo olw’okutya nti ennyumba yaffe yali eyinza okukwata omuliro essaawa yonna. Bwe twava mu kibuga ekyo ne tudda e Belfast mu 1970, twawulira nti edduuka eryo lyasuulibwako bbomu ey’amafuta n’eryokya lyonna awamu n’ekizimbe kwe twali tusula.
Olulala nnali ne muganda wange omu nga tubuulira ne tulaba ekitundutundu ky’omudumu ekyali kiteekeddwa ku ddirisa ly’enju. Twali twakayitawo ne kibwatuka. Abantu b’omu kitundu ekyo mu kusooka baalowooza nti ffe twali tuteze bbomu eyo! Kyokka mu kaseera ako kennyini wajjawo muganda waffe abeera mu katundu ako, n’atuyingiza mu nnyumba ye. Ekyo kye kyamatiza baliraanwa be nti tetwalina musango gwonna.
Mu 1971 twaddayoko e Londonderry okukyalira omu ku baganda baffe. Bwe twamubuulira ekkubo lye twali tuyiseemu, n’eky’okuba nti lyali liteekeddwamu emisanvu, yatubuuza nti, “Bwe mutuuse awali emisanvu tewabadde bantu babayimiriza?” Yeewuunya nnyo bwe twamugamba nti “Babaddewo naye tebatufuddeko.” Lwaki yeewuunya? Kubanga emabegako, waliwo omusawo era n’owa poliisi abaali baggiddwako emmotoka zaabwe ne zookebwa.
Mu 1972, twagenda okuweereza e Cork. Oluvannyuma twaweereza e Naas era n’e Arklow. Mu 1987 twaweerezebwa e Castlebar, ng’eno gye tukyali na buli kati. Wano twafuna enkizo ya maanyi okuba nti twayamba mu kuzimba Ekizimbe ky’Obwakabaka mwe tukuŋŋaanira. Mu 1999, Eric yagwirwa obulwadde obw’amaanyi. Naye, olw’obuyambi bwa Yakuwa n’obwa ab’oluganda mu kibiina, nnasobola okumujjanjaba n’awona.
Nze ne Eric twakagenda mu Ssomero lya Bapayoniya emirundi ebiri. Eric akyaweereza ng’omukadde mu kibiina. Nnina obulwadde bw’ennyingo era nnalongoosebwa amaviivi gombi awamu ne bbunwe. Wadde nga njolekaganye n’okuziyizibwa okw’amaanyi mu bulamu era nga mpise mu butabanguko bw’eby’obufuzi bungi, ekisinze okunnyiga ennyo kwe kuba nti sikyasobola kuvuga mmotoka. Kino kinkaluubirizza nnyo kubanga kati sikyasobola kugenda buli gye njagala. Ab’oluganda mu kibiina bannyambye nnyo. Kati ntambuza muggo, era nnina n’akagaali akakolera ku bbatuule kwe ntambulira nga ŋŋenda ewalako.
Emyaka nze ne Eric gye twakamala nga tuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo bw’ogigatta gisoba mu 100, nga 98 ku gyo tugimaze mu Ireland. Tetulina kirowoozo kya kulekera awo kuweereza wadde nga tukaddiye. Tetuyimiriddeewo ku byamagero, naye tukkiriza nti ‘bamalayika ba Mukama basiisira okwetooloola’ abo bonna abamutya era abamuweereza n’obwesigwa.