Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri—Kikulu Kwenkana Wa?
BWE yali ng’anyumya ne Nikoodemo, Yesu yakiggumiza nti kikulu nnyo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Kino yakiggumiza atya?
Weetegereze engeri Yesu gye yaggumizaamu obukulu bw’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri bwe yali ng’anyumya ne Nikoodemo. Yagamba nti: “Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa omulundi ogw’okubiri, tasobola kulaba bwakabaka bwa Katonda.” (Yokaana 3:3) Ebigambo “okuggyako” ne “tasobola” biraga nti kyetaagisa omuntu okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Okuwaayo ekyokulabirako: Singa omuntu agamba nti, “Okuggyako ng’omusana gwase, tewasobola kubaawo kitangaala,” aba ategeeza nti omusana gulina okwaka okusobola okufuna ekitangaala. Mu ngeri y’emu, Yesu yagamba nti omuntu alina okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri okusobola okulaba Obwakabaka bwa Katonda.
Kirabika, okusobola okumalawo okubuusabuusa kwonna ku nsonga eno, Yesu yagamba nti: “Muteekwa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri.” (Yokaana 3:7) Okusinziira ku ebyo Yesu bye yayogera, kyeyoleka bulungi nti omuntu ateekwa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri okusobola ‘okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.’—Yokaana 3:5.
Okuva bwe kiri nti Yesu yakitwala nti kikulu nnyo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri, Abakristaayo basaanidde okutegeera obulungi ensonga eno. Ng’ekyokulabirako, olowooza Omukristaayo ye yeesalirawo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri?
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 5]
“Okuggyako ng’omusana gwase, tewasobola kubaawo kitangaala”