Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri—Omuntu y’Akwesalirawo?
ANI aleetera omuntu okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri? Nga bakubiriza abantu okufuuka Abakristaayo abazaaliddwa omulundi ogw’okubiri, ababuulizi abamu bajuliza ebigambo bya Yesu bino: “Muteekwa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri.” (Yokaana 3:7) Ababuulizi ng’abo bakozesa ebigambo bino ng’ekiragiro nti, ‘Muzaalibwe omulundi ogw’okubiri!’ Bwe kityo bayigiriza nti buli muntu alina okugondera Yesu era n’abaako ky’akolawo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Okusinziira ku bigambo ng’ebyo, baba ng’abagamba nti omuntu ye yeesalirawo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Naye endowooza eyo etuukagana n’ebyo Yesu bye yagamba Nikoodemo?
Bwe twetegereza obulungi ebigambo bya Yesu tulaba nti teyayigiriza nti omuntu ye yeesalirawo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Lwaki tugamba bwe tutyo? Ekigambo eky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri’ era kisobola okuvvuunulwa nga “asaanidde okufuna okuzaalibwa okuva waggulu.”a Bwe kityo, okusinziira ku nzivuunula eyo, okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri “kuva waggulu”—kwe kugamba, ‘okuva mu ggulu,’ oba ‘okuva eri Kitaffe.’ (Yokaana 19:11; Yakobo 1:17) N’olwekyo, okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri kuva eri Katonda.—1 Yokaana 3:9.
Singa tujjukira amakulu g’ebigambo “okuva waggulu,” tekiba kizibu kutegeera nsonga lwaki omuntu si ye yeesalirawo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Lowooza ku kuzaalibwa kwo. Ggwe wakwesalirawo? Kya lwatu nedda! Wazaalibwa kubanga kitaawo ye yasalawo okukuzaala. Mu ngeri y’emu, tusobola okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri singa Katonda, Kitaffe ow’omu ggulu, asalawo okutuzaala mu ngeri eyo. (Yokaana 1:13) Bwe kityo, omutume Peetero yagamba bw’ati: “Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe, kubanga olw’obusaasizi bwe yatuzaala buggya.”—1 Peetero 1:3.
Okuzaalibwa Omulundi Ogw’okubiri, Kiragiro?
Abamu bayinza okwebuuza nti ‘Bwe kiba nti omuntu si ye yeesalirawo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri, lwaki ate Yesu yalagira nti: “Muteekwa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri”?’ Ekibuuzo ekyo kikulu nnyo. Bwe kiba nti ebigambo bya Yesu kyali kiragiro, awo aba ng’atulagira okukola ekintu kye tutasobola kukola. Ekyo Yesu tayinza kukikola. Kati olwo, makulu ki agali mu bigambo muteekwa “okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri”?
Bwe twekenneenya obulungi engeri ebigambo ebyo gye byakozesebwamu mu lulimi olwasooka, tulaba nti tekyali kiragiro. Wabula Yesu yali ayogera bwogezi. Ku luuyi olulala, bwe yagamba nti “muteekwa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri,” Yesu yali ayogera ekyo ekyetaagisa okusobola okuzaalibwa mu ngeri eyo, so si nti yali awa kiragiro. Yagamba nti: “Kibeetaagisa okufuna okuzaalibwa okuva waggulu.”—Yokaana 3:7, okusinziira ku nkyusa eya Modern Young’s Literal Translation.
Okusobola okutegeera obanga kino kyali kiragiro oba nga yali ayogera bwogezi ekintu ekituufu, lowooza ku kyokulabirako kino. Kuba akafaananyi ng’ekibuga kirimu amasomero ag’enjawulo. Erimu ku go nga lisomerwamu abaana enzaalwa y’omu nsi eyo abava mu kitundu ekyesudde okuva ku kibuga ekyo. Lumu, omulenzi atali nzaalwa ya mu nsi eyo agamba omukulu w’essomero eryo nti, “Nange njagala kusomera mu ssomero lyo.” Omukulu w’essomero amugamba nti, “Okusobola okuba omuyizi mu ssomero lino, olina okuba enzaalwa y’omu nsi eno.” Kya lwatu, wano omukulu w’essomero aba talagira mulenzi ono nti: “Beera mwana nzaalwa y’omu nsi eno!” Omukulu w’essomero aba amugamba ekyo ekyetaagisa okusobola okusomera mu ssomero eryo. Mu ngeri y’emu, Yesu bwe yagamba nti: “Muteekwa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri,” yali ayogera ku ekyo ekyetaagisa okusobola ‘okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.’
Ebigambo ebyo—Obwakabaka bwa Katonda—birina akakwate n’ensonga endala ekwata kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Bikwata ku kibuuzo ekigamba nti, Okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri kirina kigendererwa ki? Okumanya eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kijja kutuyamba okutegeera obulungi amakulu g’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri.
[Obugambo obuli wansi]
a Enkyusa za Baibuli eziwerako zivvuunula bwe zityo Yokaana 3:3. Ng’ekyokulabirako, enkyusa emu eyitibwa A Literal Translation of the Bible egamba nti: “Omuntu bw’atafuna okuzaalibwa okuva waggulu, tasobola kulaba bwakabaka bwa Katonda.”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Kakwate ki akaliwo wakati w’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri n’okuzaalibwa kwennyini okwa bulijjo?