LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 7/1 lup. 32
  • Kitaabwe w’Abo Abatalina Bakitaabwe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kitaabwe w’Abo Abatalina Bakitaabwe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Similar Material
  • Faayo ku Abo ‘Abatalina Bakitaabwe’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Yakuwa Ye “Kitaawe w’Abatalina Bakitaabwe”
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Amaka Omuli Omuzadde Omu Gasobola Okutuuka ku Buwanguzi!
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
  • Okufaayo ku Muzadde Ali Obwomu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 7/1 lup. 32

Semberera Katonda

Kitaabwe w’Abo Abatalina Bakitaabwe

Okuva 22:​22-​24

‘KITAABWE w’abo abatalina bakitaabwe . . . ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.’ (Zabbuli 68:⁠5) Ebigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa birina kye bituyigiriza ku Yakuwa Katonda​​—⁠afaayo nnyo ku byetaago by’abo abatalina mwasirizi. Ekiraga nti Katonda afaayo nnyo ku baana abaafiirwa bazadde baabwe kyeyolekera bulungi mu Mateeka ge yawa eggwanga lya Isiraeri. Ka twekenneenye Okuva 22:​22-​24 Baibuli w’esookera okwogera ku “bamulekwa.”

Katonda awa okulabula kuno: ‘Buli mulekwa temumubonyaabonyanga.’ (Olunyiriri 22) Wano Katonda yali teyeegayirira bwegayirizi bantu bamulekwa ababonaabona, wabula yali awa kiragiro. Omwana eyali afiiriddwa kitaawe​—eyandibadde amukuuma era n’amulabirira​​—⁠kyali kyangu nnyo abalala okumuyisa obubi. Tewali n’omu eyali asaanidde ‘okubonyaabonya’ omwana ng’oyo. Mu nkyusa za Baibuli endala, ekigambo “okubonyaabonya” kivvuunulwa nga “okutulugunya,” “okuyisa obubi omuntu,” oba “okumukozesa ng’oyagala okumufunamu.” Okuyisa obubi mulekwa kyali kibi kya maanyi mu maaso ga Katonda. Naye kino, kyali kibi kya maanyi kwenkana wa?

Etteeka lyeyongera ne ligamba nti: ‘Bw’onoomubonyaabonyanga n’akatono, bwanankaabiranga nze, siiremenga kuwulira kukaaba kwe.’ (Olunyiriri 23) Olunyiriri 22 lwogera ku bantu bangi nga lugamba nti “temubabonyaabonyanga” naye ate lwo olunyiriri 23 lwogera ku muntu omu nga lugamba nti “bw’onoobabonyaabonyanga.” Abantu kinnoomu era n’eggwanga lyonna okutwalira awamu baalina okugondera etteeka lya Katonda lino. Yakuwa yalabanga ebifa ku bamulekwa; yawuliranga okukaaba kwabwe, era yabanga mwetegefu okubayamba.​—Zabbuli 10:14; Engero 23:​10, 11.

Kati olwo, kiki ekyandituuse ku muntu ayisa obubi mulekwa n’atuuka n’okukaabirira Katonda? Yakuwa agamba nti: “Obusungu bwange bulyaka nnyo, nange naabattanga n’ekitala.” (Olunyiriri 24) Ekitabo ekimu ekinnyonnyola Baibuli kigamba nti ebigambo ebyo “bitegeeza ekyo kyennyini Katonda kye yali agenda okukola era ebigambo ‘ennyindo yange eryaka,’ bikozesebwa ng’ekisoko okutegeeza obusungu obungi.” Weetegereze nti Yakuwa teyalekera balamuzi b’omu Isiraeri obuvunaanyizibwa obw’okukwasisa etteeka lino. Wabula Katonda kennyini ye yandisalidde omusango omuntu yenna eyandiyisizza obubi omwana atalina mwasirizi.​—Ekyamateeka 10:​17, 18.

Yakuwa takyukanga. (Malaki 3:⁠6) Asaasira nnyo abaana abatalina bazadde baabwe. (Yakobo 1:​27) Awatali kubuusabuusa, Kitaabwe w’abo abatalina bakitaabwe asunguwala nnyo bw’alaba abaana abatalina musango nga bayisibwa bubi. Abo abayisa obubi abaana abatalina mwasirizi tebajja kusimattuka ‘obusungu bwa Yakuwa.’ (Zeffaniya 2:⁠2) Abantu ng’abo ababi bajja kukitegeera nti “kya ntiisa nnyo okuggwa mu mikono gya Katonda omulamu.”​—Abebbulaniya 10:31.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share