LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 11/02 lup. 8
  • Faayo ku Abo ‘Abatalina Bakitaabwe’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Faayo ku Abo ‘Abatalina Bakitaabwe’
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Similar Material
  • Kitaabwe w’Abo Abatalina Bakitaabwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Amaka Omuli Omuzadde Omu Gasobola Okutuuka ku Buwanguzi!
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
  • Okufaayo ku Muzadde Ali Obwomu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Yakuwa Ye “Kitaawe w’Abatalina Bakitaabwe”
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 11/02 lup. 8

Faayo ku Abo ‘Abatalina Bakitaabwe’

1 Yakuwa ye “Kitaabwe w’abo abatalina bakitaabwe.” (Zab. 68:5) Okulumirirwa kw’alina eri abaana abo kweyoleka mu tteeka lye yawa eggwanga lya Isiraeri ery’edda: “Buli nnamwandu ne mulekwa temubabonyaabonyanga. Bw’onoobabonyaabonyanga n’akatono, bwe banankaabiranga nze, siiremenga kuwulira kukaaba kwabwe.” (Kuv. 22:22, 23) Amateeka ga Katonda era gaalimu enteekateeka ey’okuyamba abaana abo mu byetaago byabwe eby’omubiri. (Ma. 24:19-21) Mu nteekateeka y’Ekikristaayo, abasinza ab’amazima bakubirizibwa ‘okulabiriranga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe.’ (Yak. 1:27) Tuyinza tutya okukoppa okufaayo kwa Yakuwa eri abaana abali mu maka omuli omuzadde omu oba ago agatali bumu mu by’eddiini?

2 Okutendeka mu by’Omwoyo: Bw’oba omuzadde ali obwannamunigina oba nga munno mu bufumbo si mukkiriza, kiyinza obutakubeerera kyangu okusoma Baibuli obutayosa n’abaana bo. Naye kiba kikulu nnyo okusoma nabo Baibuli obutayosa bw’oba oyagala bakule nga ba buvunaanyizibwa. (Nge. 22:6) Era kikulu nnyo okunyumya nabo ku by’omwoyo. (Ma. 6:6-9) Olumu oyinza okuggwamu amaanyi naye tolekulira. Saba Yakuwa akuwe amaanyi n’obulagirizi ‘ng’okangavvula abaana bo era ng’obabuulirira mu Mukama waffe.’​—Bef. 6:4.

3 Bw’oba weetaaga obuyambi mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo, tegeeza abakadde. Bayinza okukuwa ebirowoozo ebirungi oba okukuyamba okukola enteekateeka y’amaka go ey’eby’omwoyo.

4 Engeri Abalala Gye Bayinza Okuyambamu: Mu kyasa ekyasooka, Timoseewo yafuuka omuweereza wa Yakuwa omunyiikivu wadde nga yali akulidde mu maka agataali bumu mu by’omwoyo. Awatali kubuusabuusa, okufuba kwa maama we ne jjajjaawe mu kumuyigiriza Ebyawandiikibwa, kwakola kinene nnyo mu kumufuula omunyiikivu. (Bik. 16:1, 2; 2 Tim. 1:5; 3:15) Kyokka era yaganyulwa ne mu kubeera awamu ne Bakristaayo banne, nga mw’otwalidde n’omutume Pawulo eyamutwala okuba ‘omwana we omwagalwa mu Mukama waffe’​—1 Kol. 4:17.

5 Mu ngeri y’emu leero, nga kya muganyulo nnyo ab’oluganda ne bannyinaffe abakuze mu by’omwoyo okufaayo ku balenzi n’abawala abali mu kibiina abatalina bakitaabwe! Omanyi erinnya lya buli omu ku baana bano? Oyogera nabo mu nkuŋŋaana ne mu bifo ebirala? Bayite mugendere wamu mu buweereza bw’ennimiro. Oboolyawo oluusi n’oluusi muyinza okubayita ne bazadde baabwe ne babeerawo mu kusoma kwammwe okw’amaka oba mu nteekateeka endala yonna ey’okwesanyusaamu. Abaana bano bwe banaakutwala nga mukwano gw’abwe, kijja kubanguyira okukoppa eky’okulabirako kyo era kijja kubazzaamu amaanyi.​—Baf. 2:4.

6 Yakuwa ayagala nnyo abalenzi n’abawala bamulekwa, era awa omukisa okufuba kwaffe okw’okuyamba abaana bano bafuule amazima agaabwe. Bangi ku abo abaakulira mu maka agaalimu omuzadde omu oba agataali bumu mu by’eddiini, baazzibwamu amaanyi mu ngeri eyo era kati baweereza nga bapayoniya, abaweereza, abakadde, abalabirizi b’ebitundu, abaminsani, oba baweereza ku Beseri. Ka ffenna tunoonyereze engeri gye tuyinza ‘okugaziwa’ mu kufaayo eri abatalina bakitaabwe nga tukoppa Kitaffe ow’omu ggulu.​—2 Kol. 6:11-13.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share