Eri Abavubuka Baffe
Yesu Aziyiza Ebikemo
Obulagirizi: Weekenneenye ekitundu kino ng’oli mu kifo ekisirifu. Bw’oba osoma ebyawandiikibwa, kuba akafaananyi nga naawe kennyini wooli. Laba ebigenda mu maaso. Wuliriza aboogera. Weeteeke mu bigere by’abo abasinga okwogerwako.
WEKKAANYE EBYALIWO.—SOMA MATAYO 4:1-11.
Yogera ku ddungu Yesu gye yamala ennaku 40.
․․․․․
Ddoboozi lya ngeri ki Omukemi ly’akozesa? ate ye Yesu?
․․․․․
NOONYEREZA.
Setaani yalaga atya nti asobola okukozesa embeera yonna ebaawo okusobola okutuukiriza ekiruubirirwa kye? (Ddamu osome olunyiriri 2.)
․․․․․
Lwaki Omulyolyomi teyakoma ku kusuubiza kuwa Yesu obwakabaka bw’ensi bwokka naye era n’amusuubiza ‘n’ekitiibwa kyabwo’? (Ddamu osome olunyiriri 8.)
․․․․․
Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaviirako Setaani okusalawo okukema Yesu ng’amusuubiza okumuwa obufuzi?
․․․․․
(a) Buli kimu ku bikemo bya Setaani kiraga ki ku ndowooza gy’alina?
․․․․․
(b) Okwawukana ku Setaani, ebyo Yesu bye yaddamu byoleka ki?
․․․․․
SSA MU NKOLA BY’OYIZE. WANDIIKA BY’OYIZE . . .
Embeera mw’oyinza okufunira ebikemo.
․․․․․
Engeri ez’enjawulo Setaani z’asobola okukozesa okutukema.
․․․․․
Engeri y’okuziyizaamu ebikemo.
․․․․․
BIKI EBIRI MU KYAWANDIIKIBWA KINO EBISINZE OKUKUGANYULA, ERA LWAKI?
․․․․․