Eri Abavubuka Baffe
Peetero Yeegaana Yesu
Obulagirizi: Weekenneenye ekitundu kino ng’oli mu kifo ekisirifu. Bw’oba osoma ebyawandiikibwa, kuba akafaananyi nga naawe kennyini wooli. Laba ebigenda mu maaso. Wuliriza aboogera. Weeteeke mu bigere by’abo abasinga okwogerwako.
WEKKAANYE EBYALIWO.—SOMA MATAYO 26:31-35, 69-75.
Olowooza waaliwo abantu bameka?
․․․․․
Olowooza abaali babuuza Peetero ebibuuzo baali boogera naye bulungi? baali babuuza kumanya bumanya? baali banyiivu? oba waaliwo ensonga endala?
․․․․․
․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․
Olowooza Peetero yawulira atya nga bamubuuza ebibuuzo?
․․․․․
Lwaki Peetero yeegaana Yesu? Yali tamwagala oba waliwo ensonga endala?
․․․․․
․․․․․
NOONYEREZA.—SOMA LUKKA 22:31-34; MATAYO 26:55-58; YOKAANA 21:9-17.
Mu ngeri ki okwekakasa ekisukkiridde gye kuyinza okuba nga kwe kwaleetera Peetero okukola ensobi?
․․․․․
․․․․․
Yesu yalaga atya nti yalina obwesige mu Peetero, wadde nga yali akimanyi nti Peetero asobola okukola ensobi?
․․․․․
․․․․․
Wadde nga yeegaana Yesu, Peetero yalaga atya obuvumu okusinga abayigirizwa abalala?
․․․․․
․․․․․
Yesu yalaga atya nti asonyiye Peetero?
․․․․․
Olowooza lwaki Yesu yabuuza Peetero emirundi esatu nti, ‘Onjagala?’
․․․․․
Olowooza Peetero yawulira atya oluvannyuma lw’okwogera ebyo ne Yesu, era lwaki ogamba bw’otyo?
․․․․․
․․․․․
TEEKA MU NKOLA BY’OYIZE. BAAKO W’OWANDIIKA BY’OYIZE KU . . .
Kutya abantu.
․․․․․
Ngeri Yesu gye yalaga abayigirizwa be obusaasizi, wadde nga baakola ensobi.
․․․․․
․․․․․
Kiki ekisinze okukuganyula mu byonna by’osomye, era lwaki?
․․․․․
․․․․․