Eri Abavubuka Baffe
Weekuume Emyoyo Emibi!
Obulagirizi: Weekenneenye ekitundu kino ng’oli mu kifo ekisirifu. Bw’oba osoma ebyawandiikibwa, kuba akafaananyi nga naawe kennyini wooli. Ba ng’alaba ebigenda mu maaso. Wuliriza amaloboozi. Weeteeke mu bigere by’abo aboogerwako. By’osoma bitwale ng’ebiriwo kati.
1 WEKKAANYE EBYALIWO.—SOMA OLUBEREBERYE 6:1-6 NE EBIKOLWA 19:11-20.
Olowooza Abanefuli baali bafaanana batya?
․․․․․
Olowooza abasajja abo baawulira batya ng’omwoyo omubi gumaze okubakuba nga bwe kiragibwa mu Ebikolwa 19:13-16?
․․․․․
2 NOONYEREZA.
Ng’okozesa ebitabo oba ebintu ebirala ebikozesebwa mu kunoonyereza, weeyongere okunoonyereza ebikwata ku Banefuli. Olowooza lwaki baali bakambwe nnyo?
․․․․․
Lwaki kiyinza okugambibwa nti emyoyo emibi ‘gyaleka ebifo byagyo ebituufu bye gyali girina okubeeramu’? (Soma Yuda 6.) Olowooza lwaki kyali kibi nnyo, bamalayika abo okujja ku nsi ne bawasa abakazi?
․․․․․
Ebyawandiikibwa by’osomye bikulaze bitya nti emyoyo emibi gyagala nnyo ebikolwa eby’obugwenyufu n’eby’obukambwe?
․․․․․
3 SSA MU NKOLA BY’OYIZE. WANDIIKA BY’OYIZE EBIKWATA KU . . .
Ngeri emyoyo emibi gye gyolekamu obukambwe n’okwefaako.
․․․․․
EBIRALA BY’ONOSSA MU NKOLA.
Wadde ng’emyoyo emibi tegikyasobola kweyambaza mibiri gya bantu, giyinza gitya okukubuzaabuza mu ngeri enneekusifu?
․․․․․
Byakwesanyusaamu ki leero ebyoleka endowooza n’ebikolwa by’emyoyo emibi?
Oyinza otya okulaga nti omaliridde okuziyiza emyoyo emibi? (Ddamu osome Ebikolwa 19:18, 19.)
․․․․․
4 MU EBYO BY’OSOMYE KIKI EKISINZE OKUKUKWATAKO, ERA LWAKI?
․․․․․
Bw’oba tolina Bayibuli, gisomere ku mukutu www.pr418.com