LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 4/1 lup. 30-31
  • Musa Aweebwa Omulimu ogw’Enjawulo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Musa Aweebwa Omulimu ogw’Enjawulo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Similar Material
  • Okuzikirizibwa kwa Sodomu ne Ggomola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Yesu Aziyiza Ebikemo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Peetero Yeegaana Yesu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Weekuume Emyoyo Emibi!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 4/1 lup. 30-31

Eri Abavubuka Baffe

Musa Aweebwa Omulimu ogw’Enjawulo

Obulagirizi: Weekenneenye ekitundu kino ng’oli mu kifo ekisirifu. Bw’oba osoma ebyawandiikibwa, kuba akafaananyi nga naawe kennyini wooli. Ba ng’alaba ebigenda mu maaso. Wuliriza amaloboozi. Weeteeke mu bigere by’abo aboogerwako. By’osoma bitwale ng’ebiriwo kati.

Abasinga okwogerwako: Yakuwa Katonda ne Musa

Mu bufunze: Yakuwa atuma Musa okuggya Abaisiraeri e Misiri.

1 WEKKAANYE EBYALIWO.​—SOMA OKUVA 3:1-14; 4:1-17.

Bw’okuba akafaananyi, olowooza ekisaka kyali kifaanana kitya nga kyaka?

․․․․․

Olowooza Musa yayitaba atya era endabika ye ey’oku maaso yali etya, bwe yawulira Katonda ng’amuyita nga bwe kiragibwa mu Okuva 3:4?

․․․․․

Ebigambo bya Musa ebiri mu Okuva 3:11, 13 ne 4:1, 10, byoleka nneewulira ki?․․․․․

2 NOONYEREZA.

Ng’okozesa ebitabo by’olina ebiyinza okukuyamba okunoonyereza, yongera okunoonyereza ku makulu g’ebigambo “NJA KUBEERA EKYO KYE NNAASALAWO OKUBEERA.” (Okuva 3:14, NW) Lwaki Yakuwa yaddamu bw’atyo, Musa bwe yamubuuza erinnya lye?a

․․․․․

Olowooza lwaki Musa teyakkiririzaawo kugenda eri Falaawo? (Soma Okubala 12:3.)

․․․․․

Olowooza lwaki Musa yali awulira nga kimuzibuwalira okugenda eri Baisiraeri banne?․․․․․

3 SSA MU NKOLA BY’OYIZE. WANDIIKA BY’OYIZE EBIKWATA . . .

Ku ky’okuba nti abantu batera okwenyooma.

․․․․․

Ku ky’okuba nti Yakuwa akulinamu obwesige era amanyi obusobozi bwo we bukoma.․․․․․

EBIRALA BY’ONOSSA MU NKOLA.

Mu bulamu bwo, bintu ki muli by’owulira ng’otya okukola?

․․․․․

Bintu ki eby’enjawulo ebiyinza okukufuula ow’omugaso eri Yakuwa Katonda wadde nga waliwo by’otosobola kukola?

․․․․․

4 MU EBYO BY’OSOMYE KIKI EKISINZE OKUKUGANYULA, ERA LWAKI?

․․․․․

Magazini eno esangibwa ku mukutu www.pr418.com

Bw’oba tolina bayibuli, gisomere ku mukutu www.watchtower.org

[Obugambo obuli wansi]

a Abajulirwa ba Yakuwa bakuba ebitabo ebisobola okukuyamba okunoonyereza ng’osoma Bayibuli. Okumanya ebisingawo, tuukirira Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo oba wandiikira abakubi ba magazini eno.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share