Wali Obaddeko n’Enkizo? Wandyagadde Okuddamu Okugifuna?
WALI obaddeko n’enkizo mu kibiina Ekikristaayo? Oboolyawo wali mukadde, muweereza, oba nga wali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Oteekwa okuba ng’obuweereza bwo wabufunangamu essanyu lingi, naye olw’ensonga emu oba endala walina okuleka enkizo eyo.
Oyinza okuba nga waleka enkizo gye walina osobole okulabirira obulungi ab’omu maka go, oba nga wakikola lwa bulwadde oba lwa bukadde. Kino tekitegeeza nti obuvunaanyizibwa bwe walina bwakulema. (1 Tim. 5:8) Mu kyasa ekyasooka, Firipo yaweerezaako ng’omuminsani, ate oluvannyuma n’asenga e Kayisaliya asobole okulabirira ab’omu maka ge. (Bik. 21:8, 9) Bwe yalaba ng’akaddiye, Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda yakola enteekateeka, mutabani we Sulemaani n’amuddira mu bigere. (1 Bassek. 1:1, 32-35) Kyokka Firipo ne Dawudi baasigala nga baagalibwa Yakuwa era na kati tubatwala ng’ekyokulabirako ekirungi.
Ku luuyi olulala, enkizo eyinza okuba nga yakuggibwako buggibwa. Kyandiba nga wakola ekintu ekikyamu, oba nga wafuna ebizibu mu maka? (1 Tim. 3:2, 4, 10, 12) Oyinza n’okuba ng’owulira nti okuggibwako enkizo kyali tekisaana era nga na buli kati kikuluma.
Osobola Okuddamu Okufuna Enkizo
Enkizo y’obuweereza bw’ekuggibwako esobola okukuddizibwa? Emirundi egisinga esobola. Kyokka bw’eba ey’okukuddizibwa, kikwetaagisa okugikolerera. (1 Tim. 3:1) Kiki ekyandikuleetedde okukola kino? Ensonga y’emu n’eyo eyakuleetera okwewaayo eri Katonda—kwagala Yakuwa n’abo abamuweereza. Bw’oba wandyagadde okulaga okwagala okwo ng’oddamu okuweereza, Yakuwa mwetegefu okukuleka okukozesa obumanyirivu bwe wafuna ng’olina enkizo eyo ne bw’ofunye okuva lwe wagifiirwa.
Jjukira engeri Yakuwa gye yagumyamu Abaisiraeri ng’amaze okubaggyako enkizo zaabwe ez’obuweereza. Yabagamba nti: “Nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, kyemuva mulema okumalibwawo.” (Mal. 3:6) Yakuwa yali ayagala nnyo Abaisiraeri era yali ajja kweyongera okubakozesa. Yakuwa mwetegefu naawe okuddamu okukukozesa. Naye mu kiseera kino oyinza kukola ki? Omuntu okuweebwa enkizo z’obuweereza kisinga kusinziira ku mbeera ye ey’eby’omwoyo so si ku busobozi bwe. N’olwekyo, mu kiseera kino nga tolina nkizo mu kibiina, fuba okunyweza enkolagana yo ne Katonda.
Okusobola ‘okubeera ow’amaanyi’ mu kukkiriza, oteekwa ‘okunnoonya Yakuwa n’amaanyi ge.’ (1 Kol. 16:13; Zab. 105:4) Engeri emu kino gy’oyinza okukikola kwe kusaba Yakuwa n’omubuulira ekikuli mu mutima, era n’omusaba akuwe omwoyo gwe. Okukola bw’otyo kijja kukuyamba okusemberera Yakuwa n’okuba omunywevu. (Zab. 62:8; Baf. 4:6, 13) Engeri endala gy’oyinza okunyweza enkolagana yo ne Katonda kwe kufuba okwesomesa obulungi Ekigambo kye. Olw’okuba kati olina obuvunaanyizibwa butono, osobola okufuna ebiseera eby’okwesomesa n’okuyamba ab’omu maka go mu by’omwoyo, oboolyawo ne muzzaawo enteekateeka eyali ebazibuwalira okugoberera.
Kya lwatu nti okyakiikirira Yakuwa ng’omu ku bajulirwa be. (Is. 43:10-12) Enkizo esingayo okuba ey’ekitalo buli omu ku ffe gy’ayinza okuba nayo kwe ‘kukolera awamu ne Katonda.’ (1 Kol. 3:9) Okwongera ku buweereza bwo obw’ennimiro kijja kukunyweza mu by’omwoyo era kinyweze n’abo b’obuulira nabo.
Watya ng’Owulira Wayisibwa Bubi?
Okufiirwa enkizo yo kiyinza okukuleetera okwejjusa oba okuwulira obuswavu. Oyinza n’okuba ng’olaba nti tewaali nsonga ntuufu yagikuggisaako. Naye watya ng’abakadde baawuliriza bulungi ensonga zo, kyokka era ne balaba nti enkizo yali esaanidde okukuggibwako? Oyinza okuba nga wasigala toli mumativu, ekyo ne kikulemesa okuddamu okuluubirira enkizo yonna oba okubaako ky’oyiga mu nsobi gye wakola. Ka tulabe kye tuyigira ku Yobu, Manase ne Yusufu, bwe tuba tuwulira nga twayisibwa bubi.
Yobu yalina enkizo ey’okukiikirira abalala eri Yakuwa, yali muwabuzi era nga mulamuzi mu bantu be. (Yob. 1:5; 29:7-17, 21-25) Kyokka lwali lumu Yobu n’afuna ebizibu eby’amaanyi, n’afiirwa ebintu bye byonna, abaana be, era n’alwala nnyo. Bino byonna byamuleetera okuweebuuka mu maaso g’abalala. Yobu yagamba nti: “Be nsinga obukulu bansekerera.”—Yob. 30:1.
Yobu yali awulira nga talina musango gwonna era yayagala okwewolereza mu maaso ga Katonda. (Yob. 13:15) Kyokka, Yobu yali mwetegefu okuteeka obwesige bwe mu Yakuwa, era kino kyamuleetera emikisa. Yakitegeera nti yali yeetaaga okugololwa, naddala olw’ebyo bye yayogera ng’agezesebwa. (Yob. 40:6-8; 42:3, 6) Yobu yalaga obwetoowaze era ekyo kyamuleetera emikisa mingi.—Yob. 42:10-13.
Bwe kiba nti olina ekikyamu kye wakola ne kikuviirako okufiirwa enkizo, oyinza okwebuuza obanga ddala Yakuwa era ne Bakristaayo banno bayinza okukusonyiwa. Bwe kiba kityo, lowooza ku Manase eyali kabaka wa Yuda. ‘Yakola obubi bungi mu maaso ga Yakuwa okumusunguwaza.’ (2 Bassek. 21:6) Naye Manase we yafiira yali musajja mwesigwa, era yali akyafuga nga kabaka. Kino kyajja kitya?
Manase oluvannyuma yagonda bwe yakangavvulwa. Yakuwa yamulabula n’atafaayo, era bw’atyo yaleka Abasuuli ne bamulumba, era ne bamusiba enjegere ne bamutwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Ng’ali eyo, Manase “yeegayirira Mukama Katonda we ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe. N’amusaba.” Okwenenya mu bwesimbu kyaleetera Manase okugolola ensobi ze, era Yakuwa yamusonyiwa.—2 Byom. 33:12, 13.
Bw’oggibwako enkizo zo, emirundi egisinga zonna tezikuddizibwa lumu. Naye oluvannyuma lw’ekiseera, wayinza okubaawo obuvunaanyizibwa obukuweebwa. Bw’obukkiriza era n’ofuba okubutuukiriza obulungi kikuyamba okufuna enkizo endala. Kituufu nti ebintu biyinza obutagenda nga ggwe bw’obyagala, era wayinza okubaawo ebikumalamu amaanyi. Naye bw’onooba omwetegefu okukola kyonna ekiba kikuweereddwa ojja kutuuka ku buwanguzi.
Lowooza ku Yusufu mutabani wa Yakobo. Nga wa myaka 17, baganda be baamutunda mu buddu nga talina musango gwonna. (Lub. 37:2, 26-28) Yali tasuubira baana ba kitaawe kumukola kintu ng’ekyo. Kyokka yali mwetegefu okugumira embeera eyo enzibu, era Yakuwa yamuwa omukisa “[n’afuuka mukulu] mu nnyumba ya mukama we.” (Lub. 39:2) Nga wayise ekiseera, Yusufu yasibibwa mu kkomera. Kyokka yasigala nga mwesigwa era Yakuwa yamuwa omukisa n’aweebwa obuvunaanyizibwa okukulira basibe banne.—Lub. 39:21-23.
Yusufu teyamanya birungi byali bigenda kuva mu kusibibwa kwe. Yagenda mu maaso n’okukola kyonna kye yali asobola, era bwe kityo Yakuwa yamukozesa okuwonyaawo olunyiriri olwandivuddemu ezzadde essuubize. (Lub. 3:15; 45:5-8) Wadde nga tetusuubira kukozesebwa mu ngeri ya njawulo nga bwe kyali ku Yusufu, ebyawandiikibwa ebyo biraga nti Yakuwa y’awa abantu be enkizo. Naawe koppa ekyokulabirako kya Yusufu ng’okola kyonna ekiba kikuweereddwa.
Yigira ku Bizibu by’Oyitamu
Yobu, Manase, ne Yusufu baayita mu bizibu eby’amaanyi. Abasajja abo bonsatule baagumira ebizibu Yakuwa bye yaleka okubatuukako, era buli omu alina kye yabiyigamu. Kiki ky’oyinza okuyiga?
Gezaako okumanya ekyo Yakuwa ky’ayagala oyige. Olw’okubonaabona ennyo, Yobu yatandika okwerowoozako yekka, ne yeerabira nti waaliwo ensonga ezisingako awo obukulu. Kyokka Yakuwa bwe yamugolola, yasobola okulaba ebintu mu ngeri ennuŋŋamu, era yagamba nti: “Nnayogera, naye nnali sitegeera.” (Yob. 42:3, NW) Bw’oba nga waggibwako enkizo ne kikuyisa bubi, ‘teweerowoozaako kisukkiridde, naye laga nti olina endowooza ennuŋŋamu.’ (Bar. 12:3) Yakuwa ayinza okuba ng’alina ky’ayagala otereeze naye nga tonnaba kukitegeera.
Kkiriza okukangavvulwa. Mu kusooka Manase ayinza okuba nga yawulira nti akangavvuddwa ekiyitiridde. Naye ekyo yakikkiriza, ne yeenenya, era n’atereeza ekkubo lye. Ka kibe nti wayisibwa bubi olw’okukangavvulwa, ‘weewombeeke mu maaso ga Yakuwa, naye anaakugulumiza.’—1 Peet. 5:6; Yak. 4:10.
Beera mugumiikiriza era mugonvu. Kyali kyangu Yusufu okuleka ebyamutuukako okumuleetera okukyawa baganda be n’okwagala okwesasuza. Mu kifo ky’ekyo, byamuyamba okweyongera okutegeera n’okuba omusaasizi. (Lub. 50:15-21) Bwe wabaawo ekyakumalamu amaanyi, beera mugumiikiriza. Beera mugonvu osobole okutendekebwa Yakuwa.
Waali obaddeko n’enkizo mu kibiina Ekikristaayo? Wa Yakuwa omukisa okukuwa enkizo endala mu biseera eby’omu maaso. Nyweza enkolagana yo ne Yakuwa. K’obe nga wayisibwa bubi, ba mugumiikiriza era mwetoowaze. Kkiriza obuvunaanyizibwa bwonna obuba bukuweereddwa. Ba mukakafu nti ‘Yakuwa tajja kumma kintu kyonna kirungi abo abeegendereza.’—Zab. 84:11.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 30]
Beera wa maanyi mu kukkiriza ng’oyitira mu kusaba
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Okwongera ku buweereza bwo obw’ennimiro kijja kukunyweza mu by’omwoyo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Wa Yakuwa akakisa okukuwa enkizo endala mu biseera eby’omu maaso