LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 10/1 lup. 16-19
  • Nga Waliwo Akunyiizizza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Nga Waliwo Akunyiizizza
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Akabi Akali mu Kwesasuza
  • Obulumi Obuva mu Kwesasuza
  • “Eriiso olw’Eriiso”
  • Goberera Emirembe
  • 2 | Weewale Okwesasuza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
  • Ebigambo “Eriiso olw’Eriiso” Birina Makulu Ki?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • “Wangulanga Obubi” ng’Ofuga Obusungu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Amateeka Katonda ge Yawa Abaisiraeri Gaali ga Bwenkanya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 10/1 lup. 16-19

Nga Waliwo Akunyiizizza

BANGI bagamba nti okwesasuza kulungi. Kino kiri bwe kityo olw’okuba tuwulira bubi nga waliwo atunyiizizza oba atulumizza mu ngeri emu oba endala. Olw’okuba tulina obusobozi bw’okumanya ekituufu n’ekikyamu, twagala nnyo okugonjoola obutali bwenkanya. Naye ekibuuzo kiri nti, tusaanidde kubugonjoola tutya?

Mu butuufu, waliwo ebintu eby’amaanyi oba ebitonotono omuntu by’ayinza okutukola ne bitunyiiza, gamba nga okukubwa oluyi, okusindikibwa, okuvumibwa, okukubibwa, okubbibwa, n’ebirala. Owulira otya bwe wabaawo akuyisa obubi mu ngeri emu oba endala? Abantu abasinga obungi leero bwe bayisibwa obubi bagamba nti, ‘Nteekwa okwesasuza!’

Mu Amerika, abayizi bangi abali mu siniya basibako abasomesa baabwe emisango okusobola okubeesasuza olw’okubakangavvula. Brenda Mitchell, omukulembeze w’Ekibiina Ekigatta Abasomesa mu New Orleans, agamba bw’ati, “omusomesa bw’asibwako emisango, erinnya lye lyonooneka.” Ne bwe kizuulibwa oluvannyuma nti omusango gwe baamusibako gwali mukyamu, erinnya lye liba lyasiigibwa dda enziro.

Ku mirimu, abakozi abatali bamativu oba abo ababa bagobeddwa ku mirimu, beesasuza bakama baabwe nga basangula ebiwandiiko bya kampuni eby’omugaso ennyo ku kompyuta. Abalala babba ebyama bya kampuni ne babitunda oba ne babigaba. Ng’oggyeko obubbi obw’engeri eyo, era “waliyo n’abo ababbira ddala ebintu byennyini ebya kampuni,” bwe lutyo olupapula lw’amawulire oluyitibwa The New York Times bwe lugamba. Okusobola okulemesa abakozi okwesasuza, kampuni nnyingi zeeyambisa omuserikale omukuumi okulondoola oyo aba agobeddwa ng’agenda mu ofiisi ye okukuŋŋaanya ebintu bye. Oluvanyuma amugoberera okutuusa ng’amaze okufuluma mu kifo ekyo.

Abo abasinga okutwesasuza beebo be tuba tulinako enkolagana ey’oku lusegere gamba nga mikwano gyaffe n’abeŋŋanda zaffe. Omuntu bw’atwogerako obubi oba bwe yeeyisa mu ngeri enkyamu emirundi mingi kiyinza okutuleetera okumwesasuza. Singa mukwano gwo akuboggolera, naawe okola kye kimu? Oba singa omu ku b’eŋŋanda zo akunyiiza, naawe ofuba okulaba ng’omwesasuza? Nga kiba kyangu nnyo okweyisa mu ngeri eyo singa oyo aba atunyiizizza aba wa ku lusegere nnyo naffe!

Akabi Akali mu Kwesasuza

Emirundi egisinga obungi abo abeesasuza baba baagala kufuna buweerero. Ng’ekyokulabirako, batabani ba Yakobo bwe baamanya nti Sekemu Omukanani yali akutte Dina mwannyinaabwe, ne “kibaluma nnyo era ne basunguwala nnyo.” (Olubereberye 34:1-7) Okusobola okwesasuza ekyo Sekemu kye yali akoze mwannyinaabwe, batabani ba Yakobo babiri baakola olukwe okusaanyaawo Sekemu awamu n’ab’omu nju ye. Nga bakozesa akakodyo, Simyoni ne Leevi baayingira mu kibuga ky’Abakanani ne batta buli musajja nga mw’otwalidde ne Sekemu.​—Olubereberye 34:13-27.

Ekyo kye baakola kyagonjoola ensonga? Yakobo bwe yamanya ekyo batabani be kye baali bakoze, yabanenya era n’agamba nti: “Muneeraliikirizza, okumpunyisa mu abo abatuula mu nsi, . . . balikuŋŋaana bonna okunnumba, balinkuba; nange ndizikirizibwa nze n’ennyumba yange.” (Olubereberye 34:30) Mu kifo ky’okugonjoola ensonga eyo, ebyava mu kikolwa ekyo eky’okwesasuza tebyali birungi; ab’omu maka ga Yakobo baalina okuba obulindaala kubanga baliraanwa baabwe abanyiivu nabo baali basobola okubeesasuza. Kirabika okusobola okwewala ekyo, Katonda kye yava agamba Yakobo n’ab’omu maka ge okuva mu kifo ekyo bagende e Beseri.​—Olubereberye 35:1, 5.

Waliwo ekintu ekikulu kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Dina. Emirundi egisinga obungi, abantu bwe beesasuza bannaabwe era nabo babakola kye kimu. Bwe kityo, enjogera y’Abagirimaani egamba nti: Omuntu bw’akwesasuza naawe oba olina okumwesasuza, etuukirawo bulungi.

Obulumi Obuva mu Kwesasuza

Kya kabi nnyo okumalira ebirowoozo byaffe n’amaanyi gaffe nga tulowooza ku ngeri y’okwesasuzaamu oyo aba atukoze ekikyamu. Ekitabo ekiyitibwa Forgiveness​—How to Make Peace With Your Past and Get On With Your Life kigamba nti: “Okusiba ekiruyi kya kabi nnyo eri obulamu bwo. Kikuleetera okumala ebiseera byo n’amaanyi ng’olowooza ku bibi abantu bye baakukola emabega, era n’engeri y’okubeesasuzaamu.” Baibuli egamba nti, “obuggya kwe kuvunda kw’amagumba.”​—Engero 14:30.

Mu butuufu, omuntu tasobola kuba musanyufu ng’alina obukyayi n’endowooza enkyamu mu mutima gwe. Omuntu omu yagamba nti: “Bw’oba ng’olowooza nti kirungi okuwoolera eggwanga, tunuulira abo abamaze emyaka mingi nga bakikola.”

Lowooza ku ebyo ebibaddewo mu bitundu bingi eby’ensi ebirimu obukuubagano bw’eddiini n’obw’amawanga. Emirundi egisinga obungi singa wabaawo abantu abattibwa, kiyinza okuviirako n’abalala okwesasuza, era ekikolwa nga kino kiyinza okuleetera abantu okweyongera okulagaŋŋana obukyayi n’okuttiŋŋana. Ng’ekyokulabirako, bbomu bwe yatta abaana 18 mu bulumbaganyi bwa bannalukalala, omukazi eyali omunakuwavu ennyo yagamba nti, “Tulina okubeesasuza emirundi lukumi!” Mu ngeri eyo, abantu bangi beeyongera okuttiŋŋana, era n’okwenyigira mu bukuubagano obwo.

“Eriiso olw’Eriiso”

Abantu abamu balowooza nti Baibuli ewagira ekikolwa eky’okwesasuza. Bagamba nti, “Baibuli teyogera ku ‘liiso olw’eriiso, n’erinnyo olw’erinnyo’?” (Eby’Abaleevi 24:20) Etteeka eryo liyinza okulabika ng’eriwagira okuwoolera eggwanga. Kyokka, ekigendererwa kyalyo kyali kukendeeza ku bikolwa eby’okuwoolera eggwanga. Mu ngeri ki?

Omuisiraeri bwe yalwananga ne Muisiraeri munne n’amuggyamu eriiso, naye yalinanga okuggibwamu eriiso. Naye, tekyali eri oyo gwe baabanga baggyemu eriiso oba ab’omu maka ge okwesasuza. Okusinziira ku tteeka eryo, yalinanga okutwala ensonga eyo mu b’obuyinza, kwe kugamba eri abalamuzi bagigonjoole. Eky’okuba nti oyo eyabanga atuusizza obulabe ku muntu munne mu bugenderevu naye yalinanga okufuna ekibonerezo kye kimu, kyakugiranga abantu okwesasuza. Naye waliwo n’ebirala ebyali bizingirwamu.

Nga tannassaawo tteeka eryo eryogeddwako waggulu, Yakuwa Katonda yagamba eggwanga lya Isiraeri ng’ayitira mu Musa nti: “Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo. . . . Towalananga ggwanga, so tobanga na nge yonna.” (Eby’Abaleevi 19:17, 18) N’olwekyo, etteeka ‘ery’eriiso olw’eriiso n’erinnyo olw’erinnyo’ lirina okukwataganyizibwa n’ebiragiro byonna ebiri mu ndagaano y’amateeka Yesu gye yayogerako nti ewumbiddwawumbiddwako mu mateeka abiri agagamba nti, “‘Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna’ n’eddala nti ‘Oteekwa okwagala muntu munno nga bwe weeyagala wekka.’” (Matayo 22:37-40) Kati olwo, Abakristaayo ab’amazima basaanidde kukola ki nga bayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya?

Goberera Emirembe

Baibuli eyogera ku Yakuwa nga “Katonda ow’emirembe” era ekubiriza abamusinza ‘okunoonyanga emirembe n’okugigobereranga.’ (Abebbulaniya 13:20; 1 Peetero 3:11) Naye ddala ekyo kisoboka?

Bwe yali ku nsi, Yesu bamuwandulira amalusu, baamukuba, abalabe be baamuyigganya, mukwano gwe ow’oku lusegere yamulyamu olukwe, era n’abagoberezi be baamwabulira. (Matayo 26:48-50; 27:27-31) Yesu yakolawo ki? Omutume Peetero yagamba nti “Bwe yavumibwa ye teyavuma. Bwe yali abonaabona teyatiisatiisa, naye yeewaayo eri oyo asala omusango mu butuukirivu”​—1 Peetero 2:23.

Peetero era yagamba nti, “Kristo yabonaabona ku lwammwe, ng’abalekera ekyokulabirako mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.” (1 Peetero 2:21) Yee, Abakristaayo bakubirizibwa okukoppa Yesu, nga mw’otwalidde n’engeri gye yeeyisaamu bwe yali ng’abonyaabonyezebwa. Mu Kuyigiriza kwe okw’oku Lusozi, Yesu yayogera ku nsonga eno ng’agamba nti: “Mweyongere okwagala abalabe bammwe era n’okusabira abo ababayigganya; mulyoke mubeere abaana ba Kitammwe ali mu ggulu.”​—Matayo 5:44, 45.

Abo abakoppa ekyokulabirako kya Kristo eky’okwagala, bakola ki bwe bayisibwa obubi oba bwe balowooza nti waliwo abakoze ekikyamu? Engero 19:11 lugamba nti: “Okuteesa kw’omuntu kwe kumulwisaawo okusunguwala; era okusonyiwa ekyonoono kye kitiibwa kye.” Era bakolera ku kubuulirira kuno okugamba nti: “Tokkirizanga kuwangulwa bubi, naye wangulanga obubi ng’okola ebirungi.” (Abaruumi 12:21) Nga kino kyawukana nnyo ku mwoyo gw’okuwoolera eggwanga ogucaase ennyo mu nsi! Okwagala kw’Ekristaayo okwa nnamaddala kusobola okutuyamba okwewala okwesasuza era ‘n’okusonyiwa abalala’ kubanga okwagala “tekusiba kiruyi.”​—1 Abakkolinso 13:5.

Kati olwo, kino kitegeeza nti bwe tuyisibwa mu ngeri ey’obukambwe oba bwe tutiisibwatiisibwa mu ngeri emu oba endala, tuleme kubaako kye tukolawo? Nedda! Pawulo bwe yagamba nti, ‘Muwangulenga obubi nga mukola ebirungi,’ yali tategeeza nti Abakristaayo tebalina kubaako kye bakolawo nga bayisiddwa mu ngeri ey’obukambwe. Okwawukana ku ekyo, tusobola okwerwanako singa wabaawo omuntu ayagala okututuusaako obulabe. Bw’otuusibwako obulabe oba singa ebintu byo byonoonebwa, oyinza okuyita poliisi. Oyo akukoze ekikyamu bw’aba mukozi munno oba muyizi munno, oyinza okutwala ensonga ezo mu b’obuyinza abali mu kifo ekyo.​—Abaruumi 13:3, 4.

Wadde kiri kityo, kiba kirungi okukijjukira nti kiyinza obutaba kyangu ab’obuyinza okukwata ensonga zo mu ngeri ey’obwenkanya mu nteekateeka y’ebintu eno. Mu butuufu, abantu bangi bamaze ebbanga ddene nga baagala ensonga zaabwe zikwatibwe mu ngeri ey’obwenkanya, naye ne kitasoboka, era ekivuddemu beeyongedde okufuna obusungu n’ekiruyi.

Sitaani ayagala nnyo okwawulayawula mu bantu ng’akozesa obukyayi n’okuwoolera eggwanga. (1 Yokaana 3:7, 8) Kikulu nnyo okulowooza ku bigambo bino ebiri mu Baibuli ebigamba nti: “Abaagalwa, temuwooleranga ggwanga, naye muwe obusungu bwa Katonda omwagaanya: kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula, bw’ayogera Yakuwa.’” (Abaruumi 12:19) Ensonga bwe tuzikwasa Yakuwa, kituyamba okwewala obulumi, okusiba ekiruyi, n’okweyisa mu ngeri ey’obukambwe.​—Engero 3:3-6.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 18]

“Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonnan’obulamu bwo bwonna n’amagezi go gonna” era “Oteekwa okwagala muntu munno nga bwe weeyagala wekka”

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Okwagala “tekusiba kiruyi.”​—1 Abakkolinso 13:5

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share