LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp22 Na. 1 lup. 8-9
  • 2 | Weewale Okwesasuza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 2 | Weewale Okwesasuza
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli Ky’Egamba:
  • Kye Kitegeeza:
  • Ky’Oyinza Okukola:
  • Nga Waliwo Akunyiizizza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Nnali Mukambwe era Wa Ffujjo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Tusobola Okweggyamu Obukyayi!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
  • Engeri Gye Tuyinza Okweggyamu Obukyayi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
wp22 Na. 1 lup. 8-9
Abasajja babiri abanyiivu nga batudde ku matabi g’omuti. Buli omu asala ettabi kw’atudde.

EBISOBOLA OKUTUYAMBA OKWEGGYAMU OBUKYAYI

2 | Weewale Okwesasuza

Bayibuli Ky’Egamba:

“Temukolanga muntu n’omu kibi olw’okuba abakoze ekibi. . . . Mukolenga kyonna kye musobola okuba mu mirembe n’abantu bonna. Temuwooleranga ggwanga . . . kubanga kyawandiikibwa nti: ‘“Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula,” Yakuwa bw’agamba.’”​—ABARUUMI 12:17-19.

Kye Kitegeeza:

Wadde nga kya bulijjo okunyiiga nga waliwo atuyisizza obubi, Katonda atukubiriza obuteesasuza. Mu kifo ky’ekyo, atugamba okuba abagumiikiriza kubanga asuubiza nti mu kiseera ekitali kya wala ajja kuggyawo obutali bwenkanya bwonna.​—Zabbuli 37:7, 10.

Ky’Oyinza Okukola:

Abantu abatatuukiridde bwe beesasuza, kiviirako obukyayi okweyongera mu bantu. N’olwekyo, omuntu bw’akuyisa obubi, weewale okwesasuza. Fuba okusigala ng’oli mukkakkamu era weefuge. Oluusi bw’osalawo okubuusa amaaso ekyo ekiba kikukoleddwa, obulumi bw’ofuna buba butonoko. (Engero 19:11) Kyokka emirundi egimu kiyinza okukwetaagisa okutegeeza abalala ekyo ekiba kikukoleddwa. Ng’ekyokulabirako, oyinza okusalawo okuwaaba ku poliisi oba eri ab’obuyinza abalala, ekintu ekibi ekiba kikukoleddwa.

Bwe weesasuza oba oyongera kwerumya

Watya singa kiringa ekitasoboka kugonjoola nsonga mu ngeri ya mirembe? Oba watya singa okoze kyonna ky’osobola okugonjoola ensonga mu ngeri ey’emirembe naye ne mutavaamu kalungi? Teweesasuza. Okwesasuza kiyinza kwongera bwongezi kusajjula mbeera. Mu kifo ky’okwesasuza, fuba okweggyamu obukyayi. Yiga okwesiga Katonda nti asobola okugonjoola ekizibu. ‘Bw’onoomwesiga, ajja kukuyamba.’​—Zabbuli 37:3-5.

Ekyokulabirako​—ADRIÁN

Yayiga Obuteesasuza

Adrián.

Bwe yali yaakayingira mu myaka egy’obutiini, Adrián yatandika okulwaniranga ku nguudo olw’okwagala okwesasuza. Agamba nti: “Emirundi mingi nneenyigiranga mu kulwana okwali kuzingiramu okukozesa emmundu. Era emirundi mingi bandekanga ngudde ku kkubo nga nzenna nzijjudde omusaayi era nga mbulako katono okufa.”

Adrián yatandika okuyiga Bayibuli ng’alina emyaka 16. Agamba nti: “Bwe nnali njiga Bayibuli nnakiraba nti nnali nneetaaga okukola enkyukakyuka.” Adrián yalina okweggyamu obukyayi era n’okulekera awo okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe. Ekyawandiikibwa ekiri mu Abaruumi 12:17-19 ekiraga nti tetusaanidde kuwoolera ggwanga kye kyasinga okumukwatako. Agamba nti: “Nnakitegeera nti ekiseera kijja kutuuka Yakuwa ayingire mu nsonga era amalewo obutali bwenkanya. Mpolampola, nnalekera awo okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe.”

Lumu akawungeezi Adrián yalumbibwa abavubuka abaali mu kibinja ekyali kitakolagana na kibinja kye yalimu edda. Omukulu w’ekibinja ekyo yamugamba nti: “Weerwaneko!” Adrián agamba nti: “Muli nnawulira nga njagala okubaako kye nkolawo okwerwanako.” Kyokka mu kifo ky’ekyo, Adrián yasaba Yakuwa amuyambe era n’atambula n’avaawo.

Adrián agattako nti: “Olunaku olwaddako bwe nnasisinkana omuvubuka eyali akulira ekibinja ng’ali yekka, nnawulira obusungu obw’amaanyi naye ne nsaba Yakuwa mu kasirise annyambe okwefuga. Ekyanneewuunyisa, omuvubuka oyo yajja we ndi n’aŋŋamba nti: ‘Nsaba kunsonyiwa olw’ekyo ekyabaddewo jjo. Ekituufu kiri nti nange nnandyagadde okubeera nga ggwe. Njagala kuyiga Bayibuli.’ Nnasanyuka nnyo okuba nti nnafuga obusungu! Era nnatandika okuyiga Bayibuli n’omuvubuka oyo.”

Okumanya ebisingawo ebikwata ku Adrián, laba Omunaala gw’Omukuumi Na. 5 2016, olupapula 14-15.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share