LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp22 Na. 1 lup. 10-11
  • 3 | Ggya Obukyayi mu Birowoozo Byo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 3 | Ggya Obukyayi mu Birowoozo Byo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli Ky’Egamba:
  • Kye Kitegeeza:
  • Ky’Oyinza Okukola:
  • Siteefano—‘Yali Ajjudde Ekisa n’Amaanyi’
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Suteefano Akubibwa Amayinja
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Engeri Gye Tuyinza Okweggyamu Obukyayi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
  • Tusobola Okweggyamu Obukyayi!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
wp22 Na. 1 lup. 10-11
Omusajja akuba akafaananyi ng’akutte omusajja owa langi endala mu ngalo nga babuuzaganya. Ebisiikirize byabwe byoleka obutali bumativu bwe balina era nga bayomba.

EBISOBOLA OKUTUYAMBA OKWEGGYAMU OBUKYAYI

3 | Ggya Obukyayi Mu Birowoozo Byo

Bayibuli Ky’Egamba:

“Mukyusibwe nga mufuna endowooza empya, mulyoke mwekakasize ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.”​—ABARUUMI 12:2.

Kye Kitegeeza:

Katonda afaayo nnyo ku ngeri gye tulowoozaamu. (Yeremiya 17:10) Tetulina kukoma ku kwewala kwogera oba kukola kintu kyonna ekyoleka obukyayi. Obukyayi butandikira mu mutima. N’olwekyo tulina okulekera awo okulowooza ku kintu kyonna ekiyinza okutuleetera okukyawa abalala. Ekyo kye kisobola okutuyamba ‘okukyuka’ ne tweggyamu obukyayi.

Ky’Oyinza Okukola:

Weekebere mu bwesimbu olabe endowooza gy’olina ku balala, naddala aba langi endala oba ab’eggwanga eddala. Weebuuze: ‘Abantu abo mbatwala ntya? Endowooza gye mbalinako esinziira ku ebyo bye mbamanyiiko? Oba esinziira ku busosoze bwe nnina gye bali?’ Weewale emikutu emigattabantu, firimu, oba eby’okwesanyusaamu ebitumbula obukyayi n’ebikolwa eby’obukambwe.

Ekigambo kya Katonda kisobola okutuyamba okweggyamu obukyayi mu mitima gyaffe

Oluusi tekiba kyangu kwekebera mu bwesimbu. Naye Ekigambo kya Katonda kisobola okutuyamba “okutegeera ebirowoozo n’ebiruubirirwa by’omutima.” (Abebbulaniya 4:12) N’olwekyo weeyongere okwekenneenya Bayibuli ky’egamba. Geraageranya endowooza yo n’ekyo ky’egamba era ofube okutuukanya endowooza yo n’ekyo ky’egamba. Ekigambo kya Katonda kisobola okutuyamba okweggyamu obukyayi ‘obwasimba amakanda’ mu mitima gwaffe.​—2 Abakkolinso 10:4, 5.

Ekyokulabirako​—STEPHEN

Yakyusa Endowooza Ye

Stephen.

Abazungu baayisa bubi Stephen n’ab’ewaabwe. N’ekyavaamu, yeegatta ku kibiina ky’obufuzi ekimu ekyali kirwanirira eddembe ly’abantu. Ekiseera bwe kyayitawo, Stephen yatandika okwenyigira mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka. Agamba nti: “Lumu nze ne mikwano gyange twalaba firimu ezaali ziraga engeri abaddugavu gye baatulugunyizibwamu mu Amerika. Ekyo kyatuyisa bubi nnyo era ne tulumba abavubuka abazungu be twali tulaba nabo firimu. Oluvannyuma twagenda mu maka g’abazungu agatali gamu nga tunoonya ab’okukuba.”

Endowooza ya Stephen yakyukira ddala bwe yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Agamba nti: “Olw’okuba nnali nsosoddwa nnyo olwa langi yange, nnalaba ebintu mu Bajulirwa ba Yakuwa ebyanneewuunyisa ennyo. Ng’ekyokulabirako, Omujulirwa wa Yakuwa omu omuzungu bwe yali alina olugendo lw’agendako, abaana be yabalekera ow’oluganda ne mukyala we abaddugavu. Ate era waliwo ow’oluganda ne mukyala we abazungu abaasembeza omuvubuka omu omuddugavu eyali yeetaaga aw’okubeera.” Ebintu ebyo byaleetera Stephen okuba omukakafu nti Abajulirwa ba Yakuwa be booleka okwagala okwa nnamaddala Yesu kwe yagamba nti kwe kwandyawuddewo Abakristaayo ab’amazima.​—Yokaana 13:35.

Kiki ekyayamba Stephen okulekera awo okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe n’okweggyamu obukyayi. Ekyawandiikibwa ekiri mu Abaruumi 12:2 kye kyamuyamba. Agamba nti: “Nnatandika okukiraba nti nnalina okukyusa endowooza yange. Nnalina okulekayo okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe, era nnakiraba nti okuba omuntu ow’emirembe kye kintu ekisingayo obulungi.” Kati wayise emyaka egisukka 40 bukya Stephen yeggyamu obukyayi.

Okumanya ebisingawo ebikwata ku Stephen, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 1, 2015, olupapula 10-11.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share