LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp22 Na. 1 lup. 12-13
  • 4 | Katonda Asobola Okukuyamba Okweggyamu Obukyayi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 4 | Katonda Asobola Okukuyamba Okweggyamu Obukyayi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli Ky’Egamba:
  • Kye Kitegeeza:
  • Ky’Oyinza Okukola:
  • Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Engeri Gye Tuyinza Okweggyamu Obukyayi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
  • Tusobola Okweggyamu Obukyayi!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
  • Lwaki Waliwo Obukyayi Bungi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
wp22 Na. 1 lup. 12-13
Abantu batambula nga bagenda eri Bayibuli ebamulisiza ekitangaala. Ebisiikirize byabwe biraga obukyayi bwe baalina edda.

EBISOBOLA OKUTUYAMBA OKWEGGYAMU OBUKYAYI

4 | Katonda Asobola Okukuyamba Okweggyamu Obukyayi

Bayibuli Ky’Egamba:

“Ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo kwe kwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, okwefuga.”​—ABAGGALATIYA 5:22, 23.

Kye Kitegeeza:

Katonda asobola okutuyamba okweggyamu obukyayi. Omwoyo omutukuvu gusobola okutuyamba okukulaakulanya engeri ze tutandisobodde kukulaakulanya ku lwaffe. Mu kifo ky’okukozesa obusobozi bwaffe okweggyamu obukyayi, tusaanidde okwesigama ku buyambi Katonda bw’atuwa. Bwe tukola tutyo, tusobola okuba ng’omutume Pawulo eyagamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.” (Abafiripi 4:13) Mazima ddala tujja kusobola okugamba nti: “Obuyambi bwange buva eri Yakuwa.”​—Zabbuli 121:2.

Ky’Oyinza Okukola:

“Yakuwa annyambye okukyuka. Kati sikyali muntu mukambwe, wabula ndi muntu wa mirembe.”​—WALDO

Saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu. (Lukka 11:13) Musabe akuyambe okukulaakulanya engeri ennungi. Laba ekyo Bayibuli ky’eyogera ku ngeri ezituyamba okwewala obukyayi. Gamba nga, okwagala, emirembe, obugumiikiriza, n’okwefuga. Fuba okukulaakulanya engeri ezo era beera n’abantu abafuba okwoleka engeri ezo. Abantu ng’abo bajja ‘kukukubiriza okwagala abalala n’okukola ebikolwa ebirungi.’​—Abebbulaniya 10:24.

Ekyokulabirako​—WALDO

Yeggyamu Obukyayi

Waldo.

Waldo yayita mu mbeera enzibu ennyo ng’akyali muto eyamuviirako okuba n’obukyayi. Agamba nti: “Emirundi mingi nnalwananga n’abayaga ku nguudo . . . Lumu ekibinja ekyali kitakolagana na kibinja kyaffe kyapangisa omutemu okunzita. Naye nnasobola okusimattuka wadde nga nnafuna ekiwundu.”

Waldo teyasanyuka mukyala we bwe yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Agamba nti: “Nnali saagalira ddala Bajulirwa ba Yakuwa, era emirundi mingi nnabavumanga ebigambo eby’obuwemu. Naye banzirangamu n’obukkakkamu.”

Oluvannyuma lw’ekiseera, Waldo naye yatandika okuyiga Bayibuli. Agamba nti: “Tekyannyanguyira kukolera ku ebyo bye nnali njiga. Nnali sirowooza nti ndisobola okufuga obusungu bwange.” Naye waliwo Waldo kye yayiga okuva mu Bayibuli ekyamuyamba okukola enkyukakyuka.

Agamba nti: “Lumu Alejandro, eyali anjigiriza Bayibuli, yansaba okusoma Abaggalatiya 5:22, 23. . . . Yanyinnyonnyola nti nnali sisobola kukulaakulanya ngeri ezo mu maanyi gange, wabula nti omwoyo gwa Katonda omutukuvu gwe gwandinnyambye okuzikulaakulanya. Ekyo kyakyusa endowooza yange!”

Waldo yeesiga Katonda okumuyamba okweggyamu obukyayi, era n’amuyamba okubweggyamu. Agamba nti: “Ab’eŋŋanda zange n’abo abaali mikwano gyange beewuunya engeri obulamu bwange gye bukyuseemu.” Era agattako nti: “Yakuwa annyambye okukyuka. Kati sikyali muntu mukambwe, wabula ndi muntu wa mirembe.”

Okumanya ebisingawo ebikwata ku Waldo, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 1, 2013, olupapula 12-13.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share