Kya Muwendo Nnyo Okuyigirizibwa Yakuwa
“Ebintu byonna nnabyefiiriza olw’okumanya okw’omuwendo okukwata ku Kristo Yesu.”—BAF. 3:8.
1, 2. Kiki Abakristaayo abamu kye basazeewo okukola, era lwaki?
OKUVIIRA ddala nga muto, Robert yali akola bulungi mu ssomero. Bwe yali nga wa myaka munaana, omu ku basomesa be yamukyalira awaka era n’amugamba yali asobola okutuuka ku buli kintu ky’ayagala mu bulamu. Omusomesa yagamba nti yalina obusobozi okufuuka omusawo. Olw’okuba Robert yayita bulungi nnyo ebigezo ng’amaliriza siniya, yali asobola okugenda mu yunivasite yonna gy’ayagala mu ggwanga lye. Naye yasalawo n’aleka abantu abasinga kye baali balaba ng’omukisa ogw’enjawulo, n’atandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo.
2 Okufaananako Robert, Abakristaayo bangi—abakulu n’abato—baba n’ebintu bingi bye basobola okwekolera n’okutuukako mu nteekateeka eno ey’ebintu. Kyokka abamu basalawo okubyerekereza basobole okutuuka ku biruubirirwa byabwe eby’omwoyo. (1 Kol. 7:29-31) Kiki ekikubiriza Abakristaayo nga Robert okufuba okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira? Ng’oggyeko okuba nti baagala Yakuwa, era ng’eno ye nsonga esinga obukulu, bamanyi nti okuyigirizibwa Katonda kya muwendo nnyo. Wali ofunye akaseera n’olowooza ku bulamu bwo bwe bwandibadde singa tewayiga mazima? Okufumiitiriza ku mikisa egy’ekitalo gye tufuna olw’okuyigirizibwa Yakuwa kijja kutuyamba okukiraba nti amawulire amalungi ga muwendo nnyo era nti tusaanidde okugabuulira abalala n’obunyiikivu.
Okuyigirizibwa Yakuwa Nkizo ya Maanyi
3. Kiki ekiraga nti Yakuwa mwetegefu okuyigiriza abantu abatatuukiridde?
3 Olw’okuba Yakuwa mulungi, mwetegefu okuyigiriza abantu abatatuukiridde. Isaaya 54:13 wagamba bwe wati ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta: “Abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama; n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.” Ebigambo ebyo bitwaliramu n’abagoberezi ba Yesu ‘ab’endiga endala.’ (Yok. 10:16) Kino kyeyoleka bulungi mu bunnabbi obutuukirizibwa mu kiseera kyaffe. Isaaya yafuna okwolesebwa n’alaba abantu okuva mu mawanga gonna nga bajja mu kusinza okw’amazima. Ayongerako nti buli omu agamba munne nti: “Mujje, twambuke eri olusozi lwa Mukama, eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; era anaatuyigirizanga ku makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze.” (Is. 2:1-3) Nga nkizo ya maanyi nnyo okuyigirizibwa Katonda!
4. Kiki Yakuwa kye yeetaagisa abo b’ayigiriza?
4 Kitwetaagisa ki okusobola okuganyulwa mu kuyigirizibwa Katonda? Ekimu ku bisinga obukulu kwe kuba abawombeefu. Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yawandiika nti: “Mukama ye mulungi era wa mazima. . . . Era abawombeefu anaabayigirizanga ekkubo lye.” (Zab. 25:8, 9) Ne Yesu yagamba nti: “Nkutendereza mu lujjudde Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga ebintu bino wabikweka abagezi n’abayivu, n’obibikkulira abaana abato.” (Luk. 10:21) Ggwe tosikirizibwa okujja eri Katonda ‘alaga abawombeefu ekisa eky’ensusso’?—1 Peet. 5:5.
5. Ngeri ki yokka gye tusobola okuyigamu amazima agakwata ku Yakuwa?
5 Ng’abaweereza ba Yakuwa, tuyinza okugamba nti amazima twagayiga lwa magezi gaffe? Nedda. Mu butuufu, ffe ku lwaffe twali tetuyinza kumanya mazima gakwata ku Katonda. Yesu yagamba nti: “Tewali muntu ayinza kujja gye ndi okuggyako nga Kitange eyantuma y’amusise.” (Yok. 6: 44) Yakuwa akuŋŋaanya abo abalinga endiga, oba “ebyegombebwa amawanga,” ng’ayitira mu mulimu gw’okubuulira era ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. (Kag. 2:7) Ggwe toli musanyufu okuba nti oli omu ku abo Yakuwa be yaleeta eri Omwana we?—Soma Yeremiya 9:23, 24.
Obulamu bw’Abantu Bulongooka
6. Okufuna ‘okumanya okukwata ku Yakuwa’ kiganyula kitya abantu?
6 Isaaya yakozesa ekyokulabirako ekituukirawo ng’alaga enkyukakyuka ez’amaanyi abantu bangi ze bakola mu kiseera kyaffe. Abantu abaali abakambwe ennyo kati ba mirembe. (Soma Isaaya 11:6-9.) Abo abaali batayagalana olw’okuba langi zaabwe, amawanga gaabwe, ennimi zaabwe bya njawulo, kati bayize okubeera obumu. Mu ngeri ey’akabonero, ‘baweesezza ebitala byabwe okubifuula enkumbi.’ (Is. 2:4) Kiki ekisobozesezza abantu okukola enkyukakyuka ez’amaanyi bwe zityo? Bafunye ‘okumanya okukwata mu Yakuwa’ era ne bakukolerako mu bulamu bwabwe. Wadde ng’abantu ba Katonda tebatuukiridde, balina oluganda olwa nnamaddala omuli abantu aba buli ggwanga. Okuba nti amawulire amalungi gayaayaanirwa mu nsi zonna era gayamba abantu okulongoosa obulamu bwabwe kiraga nti okuyigirizibwa Yakuwa kya muwendo nnyo.—Mat. 11:19.
7, 8. (a) Ebimu ku ‘bintu ebyasimba amakanda’ ebisiguukululwa mu bantu abayiga amazima bye biruwa? (b) Kiki ekiraga nti okuyiga amazima kiweesa Yakuwa ettendo?
7 Omulimu gw’okubuulira ogukolebwa abantu ba Katonda omutume Pawulo yagwogerako ng’olutalo olw’eby’omwoyo. Yagamba nti: “Eby’okulwanyisa bye tukozesa mu lutalo lwaffe si bya mubiri, naye byakulwanyisa eby’amaanyi Katonda by’atuwadde okusiguukulula ebintu ebyasimba amakanda. Kubanga tusiguukulula endowooza enkyamu na buli kintu ekigulumivu ekiwakanya okumanya okukwata ku Katonda.” (2 Kol. 10:4, 5) Ebimu ku ‘bintu ebyasimba amakanda’ ebisiguukululwa mu bantu abayiga amazima bye biruwa? Bitwaliramu enjigiriza ez’obulimba, obulombolombo obukyamu, endowooza z’ekifirosoofo n’ebirala. (Bak. 2:8) Abantu bwe bayigirizibwa Katonda kiyamba okuleka emize emibi era bakulaakulanya engeri ennungi ng’eza Katonda. (1 Kol. 6:9-11) Kiyamba abantu okulongoosa enkolagana yaabwe mu maka n’okuba n’obulamu obw’amakulu. Okuyigiriza okw’engeri eno abantu kwe beetaaga leero.
8 Emu ku ngeri ennungi Yakuwa z’ayamba abantu okukulaakulanya kwe kuba abeesigwa. (Beb. 13:18) Omukyala omu ow’omu India yatandika okuyiga Baibuli, oluvannyuma n’afuuka omubuulizi atali mubatize. Lumu yali addayo eka ng’ava okuyambako mu kuzimba Ekizimba ky’Obwakabaka ekimu n’alonda omukuufu gwa zaabu nga gubalirirwamu doola 800, nga gwali kumpi ne ppaaka ya bbaasi. Wadde nga teyali bulungi mu by’enfuna, yatwala omukuufu ogwo ku poliisi esobole okuzuula nnyini gwo. Omusirikale wa poliisi eyaliwo yamutunuulira n’amwewuunya nnyo! Oluvannyuma omusirikale omulala yamubuuza nti, “Lwaki omukuufu guno togwetwalidde naye n’osalawo okugutuleetera?” Yamuddamu nti, “Baibuli y’ennyambye okukola enkyukakyuka mu bulamu bwange ne njiga okuba ow’amazima.” Kino omusirikale kyamwewuunyisa nnyo era yagamba omukadde eyali amuwerekeddeko ku poliisi nti: “Essaza lino lirimu abantu abasukka obukadde 38. Singa onooyambayo abalala kkumi ne bafuuka ng’omukazi ono, ojja kuba okoze omulimu gwa maanyi nnyo.” Bwe tulowooza ku bantu abangi abayigiriziddwa Katonda ne batereeza obulamu bwabwe, tetuba n’ensonga nnyingi kwe tusinziira okutendereza Yakuwa?
9. Abantu bayinza batya okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe?
9 Amaanyi g’Ekigambo Katonda awamu n’omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu bisobozesa abantu okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe. (Bar. 12:2; Bag. 5:22, 23) Abakkolosaayi 3:10 wagamba: “Mwambale omuntu omuggya, oyo afuulibwa omuggya okuyitira mu kumanya okutuufu, mu kifaananyi ky’Oyo eyamutonda.” Obubaka obuli mu Kigambo kya Katonda, Baibuli, busobola okwoleka ekiri mu mutima gw’omuntu era busobola okukyusa engeri gy’alowoozaamu ne gy’atunuuliramu ebintu. (Soma Abebbulaniya 4:12.) Omuntu bw’ayiga amazima ag’omu Byawandiikibwa era n’atambulira ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu, asobola okufuuka mukwano gwa Katonda, era n’aba n’essuubi ery’obulamu obutaggwawo.
Okwetegekera Ebiseera by’Omu Maaso
10. (a) Lwaki Yakuwa yekka y’ayinza okutuyamba okwetegekera ebiseera by’omu maaso? (b) Nkyukakyuka ki ez’amaanyi ezinaatera okubaawo ku nsi?
10 Yakuwa ye yekka asobola okutuyamba okwetegekera ebiseera by’omu maaso kubanga amanyi byonna ebigenda okubaawo. Y’asalawo ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. (Is. 46:9, 10) Obunnabbi bwa Baibuli bulaga nti “olunaku olukulu olwa Mukama luli kumpi.” (Zef. 1:14) Olunaku olwo bwe lunaatuuka, ebigambo bino ebiri mu Engero 11:4 bijja kutuukirira: “Obugagga [tebujja kubaako] kye bugasa ku lunaku olw’obusungu: naye obutuukirivu [bujja kuwonya] mu kufa.” Ekiseera bwe kinaatuuka Yakuwa okussa mu nkola omusango gwe yasalira ensi ya Sitaani, ekintu kyokka ekijja okuyamba omuntu okuwonawo ye nkolagana ye ne Katonda. Ssente tezijja kuba na mugaso n’akamu. Ezeekyeri 7:19 wagamba nti: “Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ng’ekintu ekitali kirongoofu.” Kino okukimanya nga bukyali kituyamba okweteekateeka obulungi.
11. Ngeri ki emu okuyigirizibwa Katonda gye kutuyamba okwetegekera ebiseera by’omu maaso?
11 Engeri emu okuyigirizibwa Katonda gye kutuyamba okwetegekera olunaku lwa Yakuwa kwe kuba nti tumanyi ebintu bye tusaanidde okukola mu bulamu. Omutume Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Lagira abagagga ab’omu nteekateeka y’ebintu eno obuteegulumiza, era n’obutateeka ssuubi lyabwe mu by’obugagga ebitali bya lubeerera, wabula mu Katonda.” Ne bwe tutaba bagagga, tusobola okuganyulwa mu kubuulirira okwo okwaluŋŋamizibwa. Tutya? Nga tufuba ‘okukola ebirungi n’okuba abagagga mu bikolwa ebirungi,’ mu kifo ky’okuluubirira okwefunira ebintu. Bwe tukulembeza eby’omwoyo mu bulamu bwaffe, tuba ‘tweterekera eby’obugagga, era tuba n’omusingi omulungi gwe tulizimbako mu biseera eby’omu maaso.’ (1 Tim. 6:17-19) Obulamu ng’obwo obw’okwefiiriza bulaga nti tuli ba magezi kubanga, nga Yesu bwe yagamba, “kigasa ki omuntu okulya ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe?” (Mat. 16:26, 27) Olw’okuba olunaku lwa Yakuwa lunaatera okutuuka, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Ntereka wa eby’obugagga byange? Ndi muddu wa Katonda oba wa bya bugagga?’—Mat. 6:19, 20, 24.
12. Lwaki tetusaanidde kuddirira mu mulimu gw’okubuulira wadde ng’abamu bagunyooma?
12 Baibuli eraga nti ekisingayo obukulu mu “bikolwa ebirungi” Abakristaayo bye balina okukola gwe mulimu gw’okubuulira n’okufuula abalala abayigirizwa. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, omulimu gw’okubuulira abamu bayinza okugunyooma. (Soma 1 Abakkolinso 1:18-21.) Naye ekyo tekitegeeza nti obubaka bwaffe si bukulu, era tulina okulaba nti buli muntu abumanya asobole okufuna omukisa okubukkiririzaamu ng’ekiseera tekinnaggwayo. (Bar. 10:13, 14) Bwe tuyamba abalala okuganyulwa mu kuyigirizibwa Katonda, naffe kennyini tufuna emikisa mingi.
Okwefiiriza Kivaamu Emikisa
13. Omutume Pawulo yeefiiriza ki olw’amawulire amalungi?
13 Nga tannafuuka Mukristaayo, omutume Pawulo yali mu kutendekebwa era yali ajja kufuuka omuntu omututumufu mu nteekateeka y’Abayudaaya. Kirabika bwe yali tannaweza myaka 13, Pawulo yava mu kibuga Taluso gye yazaalirwa n’agenda e Yerusaalemi era n’atandika okuyigirizibwa Gamalyeri, omusomesa w’Amateeka eyali omwatiikirivu. (Bik. 22:3) Yakulaakulana mangu okusinga banne ab’emyaka gye, era singa yali agenze mu maaso, yali ayinza okufuuka ow’amaanyi ennyo mu Bayudaaya. (Bag. 1:13, 14) Naye ebyo byonna yabireka bwe yakkiriza amawulire amalungi era yeenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Pawulo yejjusa olw’okusalawo bw’atyo? Nedda. Ye kennyini yagamba nti: “Ebintu byonna nnabyefiiriza olw’okumanya okw’omuwendo okukwata ku Kristo Yesu Mukama wange, okusinga ebirala byonna. Ku lulwe, nzikirizza okufiirwa ebintu byonna era mbitwala ng’ebisasiro.”—Baf. 3:8.
14, 15. Tufuna mikisa ki nga ‘tukolera wamu ne Katonda’?
14 Okufaananako Pawulo, Abakristaayo beefiiriza ebintu bingi olw’amawulire amalungi. (Mak. 10:29, 30) Kino kibaleetera okwejjusa? Bangi bakkiriziganya n’ekyo Robert eyayogeddwako ku ntandikwa ky’agamba: “Sirina kintu kyonna kye nnejjusa. Obuweereza obw’ekiseera kyonna bunnyambye okuba omusanyufu era omumativu mu bulamu, ‘n’okukiraba nti Yakuwa mulungi.’ Buli lwe nneefiirizanga ekintu kyonna okusobola okutuuka ku biruubirirwa byange eby’omwoyo, Yakuwa yampanga emikisa egisinga ku bintu bye nnabanga nneefiirizza. Mu butuufu nnawuliranga nga atalina kye nneefiirizza kubanga nze nnabanga ŋŋanyuddwa!”—Zab. 34:8; Nge. 10:22.
15 Bw’oba oludde ng’okola omulimu gw’okubuulira n’okufuula abalala abayigirizwa, oteekwa okuba ng’olabye obulungi bwa Yakuwa. Oyinza okuba ng’emirundi egimu owulira nti omwoyo omutukuvu gukuyambye mu kuwa obujulirwa. Oba oyinza okuba ng’olaba engeri Yakuwa gy’aggula emitima gy’abantu abamu ne bawuliriza obubaka bwaffe. (Bik. 16:14) Oboolyawo Yakuwa akuyambye okuvvuunuka ebizibu ebimu, n’osobola n’okugaziya ku buweereza bwo. Oba osanga Yakuwa yakuwanirira mu biseera ebizibu n’akusobozesa okwongera okumuweereza ng’ate ggwe wali owulira nti oweddemu amaanyi. (Baf. 4:13) Bwe tulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu nga tuli mu buweereza bwaffe, tweyongera okumulaba nga wa ddala era tuwulira ng’atuli kumpi. (Is. 41:10) Si nkizo ya maanyi okuba omu ku abo ‘abakolera awamu ne Katonda’ mu mulimu omukulu ogw’okuyigiriza abantu?—1 Kol. 3:9.
16. Ggwe owulira otya bw’ofuba era ne weefiiriza osobole okwenyigira mu mulimu gwa Katonda ogw’okuyigiriza abantu?
16 Abantu bangi bafuba okukola ebintu eby’amaanyi basobole okujjukirwanga. Naye tukimanyi nti n’ebintu ebirungi ennyo ebikolebwa abantu mu nsi y’akakyo kano tebirwawo kwerabirwa. Kyokka ebintu eby’ekitalo Yakuwa by’akola okutukuza erinnya lye mu kiseera kino bijja kuwandiikibwa mu byafaayo by’abantu ba Katonda era tebigenda kwerabirwa emirembe gyonna. (Nge. 10:7; Beb. 6:10) Ka bulijjo tukitwale nga nkizi ya maanyi okuba nti twenyigira mu mulimu guno ogw’ebyafaayo Katonda gw’akola okuyigiriza abantu.
Wandizzeemu Otya?
• Kiki Yakuwa kye yeetaagisa abo b’ayigiriza?
• Abantu baganyulwa batya mu bulamu bwabwe bwe bayigirizibwa Katonda?
• Tufuna mikisa ki mu kuyamba abalala okuganyulwa mu kuyigirizibwa Katonda?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Abantu b’amawanga ag’enjawulo abayigirizibwa Yakuwa bafuuka ba luganda olwa nnamaddala
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Si nkizo ya maanyi okuba omu ku abo ‘abakolera awamu ne Katonda’?