LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 2/15 lup. 24-28
  • Oyanirizibwa mu Kkubo ly’Obulamu Erisingayo Obulungi!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Oyanirizibwa mu Kkubo ly’Obulamu Erisingayo Obulungi!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Lwaki Kikulu Okubatizibwa?
  • Tufuna Oluganda olw’Eby’omwoyo
  • Obukuumi mu “Kifo eky’Ekyama”
  • Olusuku Lwaffe olw’Eby’omwoyo lwa Muwendo
  • Koppa Ekyokulabirako kya Yesu
  • Nywerera ku Kkubo ly’Obulamu Erisingayo Obulungi!
  • Otuuse Okubatizibwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Kifuule Kiruubirirwa Kyo Okuweereza Katonda Emirembe Gyonna
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Okubatizibwa n’Enkolagana Yo ne Katonda
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Okutuukiriza Ebisaanyizo by’Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 2/15 lup. 24-28

Oyanirizibwa mu Kkubo ly’Obulamu Erisingayo Obulungi!

“Ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tuli ba Yakuwa.”​—BAR. 14:8.

1. Yesu yayogera ki ku bikwata ku ngeri y’obulamu esingayo obulungi?

YAKUWA ayagala tubeere n’obulamu obusingayo okuba obulungi. Wadde ng’abantu batambuza obulamu bwabwe mu ngeri za njawulo, waliwo engeri emu yokka esingayo okuba ennungi. Engeri esingayo obulungi gye tuyinza okutambuzaamu obulamu bwaffe kwe kukolera ku Kigambo kya Katonda n’okukoppa Omwana we, Yesu Kristo. Yesu yayigiriza abagoberezi be okusinza Katonda mu mwoyo n’amazima, era yabalagira okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20; Yok. 4:24) Bwe tukolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza tusanyusa Yakuwa era tufuna emikisa gye.

2. Mu kyasa ekyasooka bangi baakola ki bwe baawulira obubaka bw’Obwakabaka, era kyali kitegeeza ki okubeera ‘ow’Ekkubo’?

2 Abo ‘abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo’ bwe bafuka abakkiriza era ne babatizibwa, tuba batuufu okubagamba nti, ‘Mwaniriziddwa mu kkubo ly’obulamu erisingayo obulungi!’ (Bik. 13:48) Mu kyasa ekyasooka, abantu bangi okuva mu mawanga ag’enjawulo bakkiriza amazima ne beewaayo eri Katonda, era ne bakiraga mu lujjudde nga babatizibwa. (Bik. 2:41) Abayigirizwa abo abaasooka baayitibwanga abantu “ab’Ekkubo.” (Bik. 9:2; 19:23) Ekyo kyali kituukirawo kubanga abo abaafuuka abagoberezi ba Yesu Kristo baakoppanga ekyokulabirako kye mu ngeri gye baatambuzangamu obulamu bwabwe era baali bamukkiririzaamu nnyo.​—1 Peet. 2:21.

3. Lwaki abantu ba Yakuwa babatizibwa, era bameka abaabatiziddwa mu myaka ekkumi egiyise?

3 Omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa gweyongedde nnyo mu nnaku zino ez’oluvannyuma, era nga kati gukolebwa mu nsi ezisukka mu 230. Mu myaka kkumi egiyise, abantu abasukka mu 2,700,000 be beewaddeyo eri Yakuwa era ne babatizibwa. Kino kitegeeza nti abantu abasukka 5,000 be babadde babatizibwa buli wiiki! Omuntu asalawo okubatizibwa ng’akubirizibwa okwagala kw’alina eri Katonda, okumanya kw’aba afunye mu Byawandiikibwa, n’okukkiriza kw’alina mu ebyo by’aba ayize. Okubatizibwa ddaala kkulu nnyo mu bulamu bwaffe, kubanga y’eba entandikwa y’okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa. Era kiraga nti tulina obwesige mu Yakuwa nti ajja kutuyamba okumuweereza n’obwesigwa, nga bwe yayamba abaweereza be ab’edda okutambulira mu kkubo lye.​—Is. 30:21.

Lwaki Kikulu Okubatizibwa?

4, 5. Egimu ku mikisa n’emiganyulo omuntu gy’afuna ng’abatiziddwa gye giruwa?

4 Oyinza okuba ng’oyize bingi ebikwata ku Katonda, ng’okoze enkyukakyuka mu bulamu bwo, era nga kati oli mubuulizi atali mubatize. Ekyo kirungi nnyo. Naye weewaddeyo eri Katonda ng’oyitira mu kusaba, era olina ekiruubirirwa eky’okubatizibwa? Okusinziira ku by’oyize mu Baibuli, oteekwa okuba ng’omanyi nti kati obulamu bwo osaanidde kubukozesa kuweereza Yakuwa, so si kwenoonyeza bintu. (Soma Zabbuli 148:11-13; Luk. 12:15) Naye kati olwo egimu ku mikisa n’emiganyulo omuntu gy’afuna ng’abatiziddwa gye giruwa?

5 Olw’okuba oba ofuuse Omukristaayo, obulamu bwo buba n’ekigendererwa. Ofuna essanyu olw’okuba oba okola Katonda by’ayagala. (Bar. 12:1, 2) Omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gukuyamba okukulaakulanya engeri ennungi gamba ng’emirembe n’okukkiriza. (Bag. 5:22, 23) Katonda addamu okusaba kwo era n’akuyamba okukolera ku Kigambo kye. Ofuna essanyu mu buweereza bwo, era bwe weeyongera okukola Katonda by’ayagala essuubi lyo eby’obulamu obutaggwawo linywezebwa. Ate era, bwe weewaayo era n’obatizibwa oba olaga nti oyagalira ddala okuba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.​—Is. 43:10-12.

6. Bwe tubatizibwa kiba kiraga ki?

6 Bwe twewaayo eri Katonda era ne tubatizibwa, tuba tukiraga mu lujjudde nti tuli bantu ba Yakuwa. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Mu butuufu, tewali n’omu ku ffe aba omulamu ku bubwe, era tewali n’omu afa ku bubwe; kubanga bwe tuba abalamu, tuba balamu ku bwa Yakuwa, era bwe tufa, tufa ku bwa Yakuwa. N’olwekyo, ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tuli ba Yakuwa.” (Bar. 14:7, 8) Buli omu ku ffe Katonda yamuwa eddembe ery’okwesalirawo. Bwe tusalawo okukozesa obulamu bwaffe okukola Katonda by’ayagala olw’okuba tumwagala, kisanyusa omutima gwe. (Nge. 27:11) Bwe tubatizibwa tuba tulaga nti twewaddeyo eri Katonda era tuba tukiraga mu lujjudde nti Yakuwa ye Mufuzi waffe. Ekyo kiraga nti tuli ku ludda lwe ku nsonga ekwata ku bufuzi bw’obutonde bwonna. (Bik. 5:29, 32) Ate era Yakuwa naye abeera ku ludda lwaffe. (Soma Zabbuli 118:6.) Okubatizibwa era kutuggulirawo ekkubo ery’okufuna emikisa emirala mingi kati, era ne mu biseera eby’omu maaso.

Tufuna Oluganda olw’Eby’omwoyo

7-9. (a) Yesu yasuubiza ki abo abaaleka ebintu byabwe byonna ne bamugoberera? (b) Ebigambo bya Yesu ebiri mu Makko 10:29, 30 bituukiridde bitya leero?

7 Omutume Peetero yagamba Yesu nti: “Laba! Twaleka ebintu byonna ne tukugoberera; kale tulifuna ki?” (Mat. 19:27) Peetero yali ayagala kumanya kiki ye n’abayigirizwa ba Yesu abalala kye bandifunye mu biseera eby’omu maaso. Baali beerekerezza ebintu bingi okusobola okwemalira ku mulimu gw’okubuulira Obwakabaka. (Mat. 4:18-22) Yesu yabasuubiza ki?

8 Okusinziira ku ebyo Makko bye yawandiika ku nsonga eyo, Yesu yakiraga nti abayigirizwa be bandifunye oluganda olw’eby’omwoyo. Yagamba nti: “Tewali muntu eyaleka ennyumba, baganda be, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana, oba ennimiro ku lwange ne ku lw’amawulire amalungi ataliweebwa emirundi kikumi mu kiseera kino amayumba, baganda be, bannyina, bamaama, abaana, ennimiro awamu n’okuyigganyizibwa, era n’obulamu obutaggwaawo mu nteekateeka y’ebintu egenda okujja.” (Mak. 10:29, 30) Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, gamba nga Liidiya, Akula, Pulisikira, ne Gayo, be bamu ku abo abaawaayo “amayumba” era ne bafuuka ‘ab’oluganda, bannyina, ne bamaama’ b’abakkiriza bannaabwe nga Yesu bwe yali asuubizza.​—Bik. 16:14, 15; 18:2-4; 3 Yok. 1, 5-8.

9 Yesu bye yayogera bituukiridde bulungi mu kiseera kyaffe. “Ennimiro” abagoberezi be ze baleka bye bintu bye baali bakola okweyimirizaawo. Bangi ku bo babyerekerezza okusobola okuwagira omulimu gw’Obwakabaka, nga mu bano mwe muli abaminsani, abo abaweereza mu maka ga Beseri, abo abasindikibwa okukola ogw’okuzimba mu nsi endala, n’abalala. Ab’oluganda bangi balese amaka gaabwe ne basalawo okuba n’obulamu obwangu. Bwe tulowooza ku ngeri Yakuwa gy’abalabiriddemu, n’essanyu lye bafunye mu buweereza bwabwe, kituzzaamu nnyo amaanyi. (Bik. 20:35) Ate era, abaweereza ba Yakuwa bonna ababatize bafuna emikisa bwe ‘basooka okunoonya obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe.’​—Mat. 6:33.

Obukuumi mu “Kifo eky’Ekyama”

10, 11. ‘Ekifo eky’ekyama eky’Oyo Ali Waggulu Ennyo’ kye kiruwa, era tuyinza tutya okukibeeramu?

10 Omuntu bwe yeewaayo era n’abatizibwa afuna omukisa omulala, ng’eno ye nkizo ey’okutuula mu ‘kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo.’ (Soma Zabbuli 91:1.) Kino kifo kya kabonero omuntu mw’afunira obukuumi obw’eby’omwoyo. ‘Kifo kya kyama’ kubanga abo bokka abalaba ebintu nga Katonda bw’abiraba era abamwesiga be bakimanyi. Bwe tukolera ku kwewaayo kwaffe era ne tukiraga nti twesiga Yakuwa, tuba ng’abamugamba nti: ‘Oli kiddukiro kyange, era ekigo kyange: Katonda wange gwe nneesiga.’ (Zab. 91:2) Yakuwa Katonda aba afuuse ekigo kyaffe mwe tutuula. (Zab. 91:9) Teri kifo kya bukuumi kisinga kino.

11 Okubeera mu “kifo eky’ekyama” ekya Yakuwa era kituyamba okufuna enkolagana ennungi naye. Okwewaayo n’okubatizibwa ye ntandikwa y’okufuna enkolagana eyo. Tweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda nga twesomesa Baibuli, nga tumusaba, era nga tuba bawulize gy’ali. (Yak. 4:8) Yesu y’asingayo okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, era obwesige bw’alina mu Mutonzi we tebuddiriranga. (Yok. 8:29) N’olwekyo, ka tube bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba okutuukiriza okwewaayo kwaffe gy’ali. (Mub. 5:4) Enteekateeka ez’eby’omwoyo Katonda z’atukoledde bukakafu obulaga nti atwagala nnyo era nti mwetegefu okutuyamba nga tumuweereza.

Olusuku Lwaffe olw’Eby’omwoyo lwa Muwendo

12, 13. (a) Olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo kye ki? (b) Tusobola kukola ki okuyamba abapya?

12 Okwewaayo n’okubatizibwa era kitusobozesa okubeera mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo. Eno ye mbeera ennungi ey’eby’omwoyo gye tulimu ne bakkiriza bannaffe, abalina enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda era ne basinza bannaabwe. (Zab. 29:11; Is. 54:13) Ensi terina kintu kyonna ky’esobola kutuwa kiyinza kugeraageranyizibwa ku lusuku lwaffe olw’eby’omwoyo. Embeera eno ennungi ey’eby’omwoyo yeeyoleka bulungi nnyo ku nkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna, omubeera ab’oluganda okuva mu mawanga ag’enjawulo nga boogera ennimi ez’enjawulo, abaagalana, abali obumu, era nga bali mu mirembe.

13 Abaweereza ba Katanda bali mu lusuku olw’eby’omwoyo, so ng’ate abantu bangi mu nsi leero bali mu mbeera mbi nnyo. (Soma Isaaya 65:13, 14.) Bwe twenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka kituwa akakisa okuyita abantu okujja mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo. Ate era kituwa akakisa okutendeka abapya okukola omulimu gw’okubuulira. Abakadde mu kibiina bayinza okutusaba okubaako abapya be tuyamba mu buweereza, nga Akula ne Pulisikira bwe baayamba Apolo ne ‘bamunnyonnyola bulungi ekkubo lya Katonda.’​—Bik. 18:24-26.

Koppa Ekyokulabirako kya Yesu

14, 15. Lwaki tusaanidde okukoppa ekyokulabirako kya Yesu?

14 Tuganyulwa nnyo bwe tukoppa ekyokulabirako kya Yesu. Nga tannajja ku nsi, Yesu yamala emyaka butabalika ng’akolera wamu ne Kitaawe. (Nge. 8:22, 30) Yali akimanyi nti engeri esingayo obulungi ey’okukozesaamu obulamu kwe kuweereza Katonda n’okuwa obujulirwa ku mazima. (Yok. 18:37) Yesu yali akimanyi bulungi nti omuntu bw’atakozesa bulamu bwe mu ngeri eyo aba yeefaako yekka, era ekyo tekiba kya magezi. Yakimanya nti yali wa kugezesebwa era nti yali ajja kuttibwa. (Mat. 20:18, 19; Beb. 4:15) Bw’atyo yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kukuuma obugolokofu.

15 Oluvannyuma lw’ekiseera kitono nga Yesu amaze okubatizibwa, Sitaani yamukema ng’ayagala kumuggya ku kkubo ly’obulamu erisingayo obulungi​—naye ekyo tekyasoboka. (Mat. 4:1-11) Kino kiraga nti Sitaani k’akole ki, tusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda. Okusingira ddala Sitaani ayagala nnyo okulumba abo abanaatera okubatizibwa oba abo abaakabatizibwa. (1 Peet. 5:8) Tuyinza okuziyizibwa ab’omu maka gaffe abatategeera bulungi nzikiriza yaffe. Kyokka ekyo kituwa akakisa okwoleka engeri ennungi, gamba ng’okussa ekitiibwa mu balala n’okwogera nabo mu ngeri ey’amagezi nga tubaanukula oba nga tubawa obujulirwa. (1 Peet. 3:15) Ekyo kiyinza okukwata ennyo ku abo abatuwuliriza.​—1 Tim. 4:16.

Nywerera ku Kkubo ly’Obulamu Erisingayo Obulungi!

16, 17. (a) Ebintu ebisatu ebyetaagisa okusobola okufuna obulamu ebyogerwako mu Ekyamateeka 30:19, 20 bye biruwa? (b) Yesu, Yokaana, ne Pawulo baalaga batya nti bakkiriziganya n’ebyo Musa bye yawandiika?

16 Ng’ebula emyaka nga 1,500 Yesu alyoke ajje ku nsi, Musa yakubiriza Abaisiraeri okulonda ekkubo ly’obulamu eryali lisingayo obulungi mu kiseera ekyo. Yagamba nti: “Mpita eggulu n’ensi okuba abajulirwa gye muli leero, nga ntadde mu maaso go obulamu n’okufa, omukisa n’okukolimirwa: kale weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n’ezzadde lyo: okwagalanga Mukama Katonda wo, okugonderanga eddoboozi lye, [n’okumunywererako].” (Ma. 30:19, 20) Wadde ng’Abaisiraeri tebaali beesigwa eri Katonda, ebintu ebisatu Musa bye yayogerako ebyetaagisa okusobola okufuna obulamu tebikyukanga. Yesu wamu n’abalala nabo baddamu okubyogerako.

17 Ekisooka, ‘tuteekwa okwagala Yakuwa Katonda waffe.’ Tulaga nti twagala Katonda nga tufuba okutuukanya obulamu bwaffe n’amakubo ge ag’obutuukirivu. (Mat. 22:37) Eky’okubiri, ‘tuteekwa okugondera eddoboozi lya Yakuwa’ nga tusoma Baibuli era nga tugondera ebiragiro bye. (1 Yok. 5:3) Kino kitwetaagisa okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, gye tuyigira ebisingawo okuva mu Kigambo kya Katonda. (Beb. 10:23-25) Eky’okusatu, ‘tuteekwa okunywerera ku Yakuwa.’ Ka tube mu mbeera ki, tusaanidde bulijjo okukkiririza mu Katonda n’okugoberera Omwana we.​—2 Kol. 4:16-18.

18. (a) Mu 1914, Watch Tower yayogera etya ku mazima? (b) Twanditutte tutya ekitangaala eky’eby’omwoyo?

18 Nga tufuna emikisa mingi bwe tutuukanya obulamu bwaffe n’amazima ga Baibuli! Mu 1914, ebigambo bino wammanga byafulumira mu Watch Tower: “Tetuli basanyufu olw’emikisa gye tufuna? Katonda waffe si mwesigwa? Bwe wabaawo amanyi ekintu ekisinga amazima ge tulina, atubuulire. Tukimanyi bulungi nti teri kintu kisinga mazima ge tuzudde mu Kigambo kya Katonda. . . . Essanyu, emirembe, n’emikisa bye tufunye olw’okumanya okutuufu okukwata ku Katonda, tetulina ngeri yonna gye tuyinza kubinnyonnyola. Bye tuyiga ku ngeri za Katonda gamba ng’Amagezi, Obwenkanya, Amaanyi, n’Okwagala bibuguumiriza emitima gyaffe. Tetulina kye tujula. Tewali kirala kye twetaaga wabula okwongera okumanya Katonda waffe.” (Watch Tower, Desemba 15, 1914, olupapula 377-378) Okusiima kwe tulina eri ekitangaala eky’eby’omwoyo n’amazima tekukyukanga. Mazima ddala, tuli basanyufu okuba nti ‘tutambulira mu kitangaala kya Yakuwa.’​—Is. 2:5, NW; Zab. 43:3; Nge. 4:18.

19. Lwaki abo abatannaba kwewaayo na kubatizibwa basaanidde okukikola awatali kulwa?

19 Bw’oba oyagala ‘okutambulira mu kitangaala kya Yakuwa’ naye nga tonnaba kwewaayo na kubatizibwa, kikole mu bwangu. Fuba okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa osobole okulaga nti osiima ebyo Katonda ne Kristo bye batukoledde. Wa Yakuwa ekintu ekisingayo okuba eky’omuwendo ky’olina, nga buno bwe bulamu bwo. Kirage nti oyagala okukola Katonda by’ayagala ng’ogoberera Omwana we. (2 Kol. 5:14, 15) Awatali kubuusabuusa, eryo lye kkubo ery’obulamu erisingayo obulungi!

Wandizzeemu Otya?

• Okubatizibwa kiraga ki?

• Okwewaayo n’okubatizibwa kivaamu mikisa ki?

• Lwaki kikulu nnyo okukoppa Yesu?

• Kiki ekinaatuyamba okunywerera ku kkubo ly’obulamu erisingayo obulungi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Bw’obatizibwa oba olaga nti olonze ekkubo ly’obulamu erisingayo obulungi

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]

Oli mu “kifo eky’ekyama” omuli obukuumi?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share