Akatabo Akayamba Abavubuka Okujjukira Omutonzi Waabwe
EMYAKA nga 3,000 emabega, omusajja ow’amagezi Sulemaani yawandiika nti: “Ojjukiranga Omutonzi wo mu biro eby’obuvubuka bwo.” (Mub. 12:1) Abavubuka Abakristaayo kati balina ekintu ekirala ekisobola okubayamba okukola ekyo. Akatabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 2, kaafulumizibwa ku Nkuŋŋaana za Disitulikiti ez’Abajulirwa ba Yakuwa ezaalina omutwe “Abakulemberwa Omwoyo gwa Katonda,” ezaaliwo mu nsi yonna okuva mu Maayi 2008 okutuukira ddala mu Jjanwali 2009.
Munda ku ddiba ery’omu maaso kuliko ebbaluwa Akakiiko Akafuzi gye kaawandiikira abavubuka. Ebbaluwa eyo erimu ebigambo bino: “Tusuubira nti ebiri mu katabo kano bijja kukuyamba okuziyiza okupikirizibwa n’ebikemo abavubuka bye boolekagana nabyo ennaku zino era kajja kukulaga engeri gy’osobola okusalawo mu ngeri etuukana n’ebyo Katonda by’ayagala.”
Abazadde baagala okukuza abaana baabwe ‘mu kukangavvula kwa Yakuwa era n’okubateekamu endowooza ye.’ (Bef. 6:4) Kyokka, bwe batuuka mu myaka gya kabuvubuka, abavubuka bangi baba tebamanyi bulungi kya kukola era baba beetaaga obulagirizi. Bw’oba ng’olina omwana ali mu myaka gya kabuvubuka, oyinza otya okukozesa akatabo kano okumuyamba? Osobola okukozesa amagezi gano wammanga.
▪ Funa kopi y’akatabo kano okasome kikuyambe okutegeera obulungi ebikalimu. Kino kikwetaagisa okukasoma nga bwe weetegereza engeri ensonga gye zisengekeddwamu. Akatabo kano kayamba abavubuka okutendeka ‘obusobozi bwabwe obw’okutegeera’ mu kifo ky’okubabuulira obubuulizi kye balina okukola ne kye batalina kukola. (Beb. 5:14) Era kabawa amagezi agasobola okubayamba okunywerera ku kituufu. Ng’ekyokulabirako, Essuula 15 (“Nnyinza Ntya Okuziyiza Okupikirizibwa?”) eyamba abavubuka okumanya engeri gye basobola okukozesaamu emisingi gya Baibuli “okuddamu buli muntu,” mu kifo ky’okugamba obugambi oyo abapikiriza nti nedda.—Bak. 4:6.
▪ Kozesa ebitundu ebiyamba mu kukubaganya ebirowoozo. Wadde ng’ebitundu bino byategekebwa kuyamba bavubuka, bwe kiba kisoboka naawe oyinza okubaako by’owandiika mu katabo ko.a Ng’ekyokulabirako, bw’oba oddamu ebibuuzo ebibiri ebiri ku lupapula 16 ebikwata ku kwogerezaganya, gezaako okujjukira engeri gye wawulirangamu bwe wali mu myaka omwana wo gy’alimu. Oyinza okuddamu ebibuuzo ebyo nga bwe wandibizeemu mu kiseera ekyo. Bw’omala oyinza okwebuuza: ‘Endowooza yange ekyuse etya ekiseera bwe kigenze kiyitawo? Ebintu bye njize okuva mu kiseera ekyo nnyinza ntya okubikozesa okuyamba omwana wange?’
▪ Weewale okulingiriza omwana wo. Ebibuuzo ebiri mu katabo kano byategekebwa okuyamba omwana wo okufumiitiriza oba okubaako w’awandiika ekyo ky’alowooza. Ky’olina okukola kwe kufuba okumanya ekyo ekiri ku mutima gwe, so si kumanya ebyo ebiri mu katabo ke. Ku Iupapula 3 awawandiikiddwa nti “Eri Abazadde,” akatabo ako kagamba nti: “Abavubuka okusobola okuwandiika mu bwesimbu mu katabo kaabwe, tobalingiriza nnyo. Oluvannyuma lw’ekiseera, bo bennyini bayinza okusalawo okukubuulira bye baawandiika.”
Kakozese mu Kusoma Baibuli okw’Amaka
Akatabo Young People Ask, Omuzingo 2, kalungi nnyo okukozesa mu Kusinza kw’Amaka. Okuva bwe kiri nti akatabo kano tekalina bibuuzo buli luvannyuma lw’akatundu, oyinza otya okukakozesa? Oyinza okukozesa engeri yonna gy’olaba nga y’ejja okusinga okuganyula abaana bo.
Ng’ekyokulabirako, amaka agamu gayinza okukisanga nga kya muganyulo okwegezaamu nga bakozesa ebyo ebiri ku kipande “Okwetegekera Okupikirizibwa” ekiri ku lupapula 132 ne 133. Ekibuuzo ekisooka ku kipande ekyo kiyamba omwana wo okunokolayo ekizibu ky’asinga okwolekagana nakyo. Ekibuuzo eky’okubiri kiyamba okutegeera ddi ekizibu ekyo lwe kitera okubaawo. Oluvannyuma lw’okulaba ebiyinza okuvaamu singa yekkiriranya oba singa agaana okwekkiriranya, omwana asabibwa okuteekateeka engeri gy’ayinza okwaŋŋanga okupikirizibwa. Yamba omwana wo okumanya engeri gy’ayinza okuddamu abamupikiriza nga yeekakasa era nga taliimu kutya.—Zab. 119:46.
Kayamba Abaana Okwogera ne Bazadde Baabwe
Akatabo Young People Ask, Omuzingo 2, kakubiriza abavubuka okwogera ne bazadde baabwe. Ng’ekyokulabirako, obusanduuko “Nnyinza Ntya Okwogera ne Taata oba Maama ku Bikwata ku Kwetaba?” (olupapula 63-64) ne “Yogerako ne Bazadde Bo!” (olupapula 189) buyamba abaana okulaba engeri gye bayinza okutandika okwogera ne bazadde baabwe ku nsonga eziyinza okulabika ng’enzibu. Omuwala omu ow’emyaka 13 yawandiika nti, “Akatabo kano kannyamba okufuna obuvumu okwogera ne bazadde bange ku bintu ebyandi ku mutima—nga kw’otadde n’ebyo bye nnali nkoze.”
Akatabo kano kayamba abaana okwogera ne bazadde baabwe ne ku nsonga endala nnyingi. Ku nkomerero ya buli ssuula kuliko akasanduuko akalina omutwe “Olowooza otya?” Ng’oggyeko okukakozesa mu kwejjukanya, akasanduuko kano kasobola okweyambisibwa mu kusoma kw’amaka. Ate era ng’onaatera okutuuka ku nkomerero ya buli ssuula ojja kulaba akasanduuko akalina omutwe “Kye Nteeseteese Okukola!” Mu kasanduuko kano omuvubuka asobola okuwandiikamu ebyo byateeseteese okukola okusobola okussa mu nkola by’ayize mu ssuula eyo. Ekibuuzo ekisembayo mu buli kasanduuko “Kye Nteeseteese Okukola!” kigamba: “Kiki kye njagala okubuuza bazadde bange ku nsonga eno?” Kino kisobola okuyamba abavubuka okutuukirira bazadde baabwe babawe amagezi.
Tuuka ku Mutima!
Ng’omuzadde, ekigendererwa kyo kwe kutuuka ku mutima gw’omwana wo. Akatabo Young People Ask, Omuzingo 2, kasobola okukuyamba okukola kino. Weetegereze engeri taata omu gy’asobodde okukozesa akatabo kano okukubaganya ebirowoozo ne muwala we.
“Nze ne Rebekah tulina obufo gye tutera okugenda nga tutambula, nga tuvuga obugaali oba emmotoka. Nkizudde nti kino kiyambye muwala wange okumbuulira ekimuli ku mutima.
“Ekitundu kye twasooka okukubaganyako ebirowoozo mu katabo kano y’ebbaluwa okuva eri Akakiiko Akafuzi n’ekitundu ekirina omutwe ‘Eri Abazadde.’ Nnayagala muwala wange akitegeera nti, nga bwe kiragibwa ku lupapula 3, talina kutya kuwandiika mu katabo ke kyonna ky’ayagala. Sanditunudde mu katabo ke kulaba by’awandiise.
“Nnawa Rebekah akakisa okulonda essuula ze yandyagadde tukubaganyeeko ebirowoozo. Emu ku ssuula ze yasooka okulonda y’eyo egamba nti ‘Nnandizannye Emizannyo gya Kompyuta?’ Nnali simusuubira kulonda ssuula eyo! Naye yalina ensonga lwaki yagironda. Yalina mikwano gye abaali bazannya omuzannyo gwa kompyuta omwali ebikolwa eby’ettemu n’okukozesa olulimi olubi. Ebyo nze nnali sibimanyi, naye byonna yabimbuulira bwe twali tukubaganya ebirowoozo ku kasanduuko ‘Kye Nteeseteese Okukola!’ akali ku lupapula 251. Akasanduuko ako era kayamba Rebekah okumanya ky’ayinza okukola singa wabaawo amupikiriza okuzannya omuzannyo ogwo.
“Kati Rebekah ambuulira buli kimu ky’aba awandiise mu katabo ke. Tuba na bingi eby’okwogerako. Tusoma mu mpalo, era aba ayagala kwogera ku buli kimu, nga mw’otwalidde ebifaananyi n’obusanduuko. Kino kimpa akakisa okumubuulira engeri gye nnawulirangamu nga ndi mu myaka gye, era naye n’ambuulira engeri gy’awuliramu. Ambuulira buli kimu ekimuli ku mutima!”
Bw’oba oli muzadde, oteekwa okuba nga wasanyuka nnyo akatabo kano bwe kaafulumizibwa. Kati kino kye kiseera okukakozesa obulungi. Akakiiko Akafuzi kasuubira nti akatabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 2, kajja kuyamba nnyo ab’omu maka go. Ka kayambe buli omu—naddala abavubuka baffe abaagalwa—‘okutambuliranga mu mwoyo omutukuvu.’—Bag. 5:16.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebimu ku bintu ebiri mu katabo kano bisobola okuyamba abantu ab’emyaka gyonna. Ng’ekyokulabirako, ebiri mu kasanduuko, “Fuga Obusungu Bwo” (olupapula 221) biyinza okukuyamba mu ngeri y’emu nga bwe biyamba mutabani wo oba muwala wo. Bwe kityo bwe kiri ne ku kipande “Okwetegekera Okupikirizibwa” (olupapula 132-133), “Embalirira Yange eya Buli Mwezi” (olupapula 163), ne “Ebiruubirirwa Byange” (olupapula 314).
[Akasanduuko akali ku lupapula 30]
Abavubuka Abamu Kye Bagamba
“Kano ke katabo k’olina okusoma ng’ofumiitiriza era ng’olina ekkalaamu okubaako by’owandiika. Okuva bwe kiri nti akatabo kano kaategekebwa ng’olina w’osobola okuwandiika ebirowoozo byo, kakuyamba okulaba engeri gy’oyinza okutambuzaamu obulamu bwo mu ngeri esingayo obulungi.”—Nicola.
“Wadde nga bangi bampikiriza okufunayo omuntu ow’okwogerezeganya naye nga muno mwe muli n’abantu abatalina bigendererwa bibi, ekitundu ekisooka mu katabo kano kinnyambye okulaba nti ka kibe ki abantu kye boogera, siri mwetegefu kutandika kwogereza”—Katrina.
“Akasanduuko ‘Olowoozezza ku ky’Okubatizibwa?’ kannyambye okwongera okutegeera nti okubatizibwa kwange kukulu nnyo. Ekyo kinnyambye okulongoosa mu ssaala zange n’engeri gye nneesomesaamu.”—Ashley.
“Wadde nga bazadde bange babadde bansomesa okuviira ddala mu buto, akatabo kano kanjigirizza engeri gye nsaanidde okutambuzaamu obulamu bwange. Ate era kannyambye okulaba ngeri gye nsobola okubuulira bazadde bange ekindi ku mutima.”—Zamira.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Abazadde, mufube okutegeera obulungi ebiri mu katabo kano
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Fuba okutuuka ku mutima gw’omwana wo