Kituufu Oba Kikyamu—Amazima Agakwata ku Yesu
OLOWOOZA OTYA? ENDOWOOZA ZINO WAMMANGA NTUUFU OBA NKYAMU?
Yesu yazaalibwa nga Ddesemba 25.
Abasajja abagezigezi basatu baakyalira Yesu nga yaakazaalibwa.
Yesu teyalina baganda be wadde bannyina.
Yesu yali Katonda naye nga yeeyambazizza omubiri gw’abantu.
Yesu teyali bubeezi muntu mulungi.
BANGI bandigamba nti endowooza ezo zonna ntuufu. Abalala bayinza okugamba nti kizibu, oba nti tekisoboka, okumanya obanga ntuufu. Oboolyawo balowooza nti kasita obeera ng’okkiririza mu Yesu, si kikulu obanga endowooza ezo ntuufu oba nkyamu.
Kyokka, ekyo Baibuli si ky’egamba. Etukubiriza ‘okutegeerera ddala obulungi ebikwata ku Mukama waffe Yesu Kristo.’(2 Peetero 1:8) Tusobola okutegeera obulungi Yesu nga twekeneenya ebyo ebiri mu Njiri. Bituyamba okutegeera amazima agakwata ku Yesu ne kitusobozesa okumanya ekituufu n’ekikyamu. N’olwekyo ka twetegereze Enjiri kye zoogera ku ndowooza ezo waggulu.
ENDOWOOZA: Yesu yazaalibwa nga Ddesemba 25.
NKYAMU.
Baibuli teyogera mwezi wadde olunaku Yesu lwe yazaalibwa. Kati olwo Ddesemba 25 lwava wa? Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa The Encyclopædia Britannica, abamu ku abo abeeyitanga Abakristaayo “baayagala olunaku olwo lukwatagane n’embaga y’Abaruumi ey’ekikaafiiri eyabangawo . . . mu kiseera ky’obutiti ng’enjuba etandise okuddamu okwaka ekiseera ekiwanvuko.” Ekitabo ekyo kigamba nti obulombolombo bungi obukolebwa ku Ssekukkulu bwasibuka ku ‘mikolo gy’ekikaafiiri egyakolebwanga okugulumiza katonda w’eby’obulimi n’ow’enjuba, egyabangawo mu biseera eby’obutiti.’
Yesu yandisanyukidde eky’okukuza amazaalibwa ge nga Ddesemba 25? Lowooza ku kino: Olunaku Yesu lwe yazaalibwako terumanyiddwa. Ebyawandiikibwa tebiraga nti tulina okukuza amazaalibwa ge era tewali bukakafu bwonna bulaga nti Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baagakuzanga. Kyokka Baibuli etubuulira olunaku lwennyini Yesu lwe yafiirako era Yesu yalagira abagoberezi be okujjukira olunaku olwo.a (Lukka 22:19) Kya lwatu, Yesu yayagala essira liteekebwa ku kufa kwe so si ku kuzaalibwa kwe.—Matayo 20:28.
ENDOWOOZA: Abasajja abagezigezi basatu (oba bakabaka basatu okusinziira ku ndowooza z’abantu abamu) baakyalira Yesu nga yaakazaalibwa.
NKYAMU.
Oboolyawo wali olabye ebifaananyi ebiraga Yesu ng’azazikiddwa mu lutiba ebisolo mwe biriira era nga yeetooloddwa abasajja abagezigezi basatu abalina ebirabo. Kyokka ebifaananyi ebyo kye biraga si kituufu.
Kyo kituufu nti abagenyi abaava Ebuvanjuba baavunnamira Yesu ng’akyali muto. Kyokka abagenyi bano baali basajja abalaguzisa emmunyeenye. (Matayo 2:1) Ddala abagenyi abo baasanga Yesu ng’azazikiddwa mu lutiba ebisolo mwe biriira? Nedda, baamusanga mu nnyumba. Kirabika we baatuukira, waali wayiseewo emyezi egiwerako bukya Yesu azaalibwa.—Matayo 2:9-11.
Abagenyi abo baali babiri, basatu, oba makumi asatu? Baibuli teyogera muwendo gwabwe. Kigambibwa nti baali basatu oboolyawo olw’ebirabo eby’engeri essatu ebyaleetebwa.b (Matayo 2:11) Abamu bagamba nti buli omu ku basajja abo yali alina eggwanga ly’akiikirira. Naye endowooza eyo tesangibwa mu Byawandiikibwa. Wabula, okusinziira ku omu ku abo abeekenneenya Enjiri, endowooza eno enkyamu yasibuka ku “ndowooza ya munnabyafaayo ow’omu kyasa eky’omunaana.”
ENDOWOOZA: Yesu teyalina baganda be wadde bannyina.
NKYAMU.
Enjiri ziraga bulungi nti Yesu yalina baganda be ne bannyina. Enjiri ya Lukka eyogera ku Yesu ng’omwana wa Maliyamu “omubereberye,” ekiraga nti oluvannyuma Maliyamu yazaala abaana abalala.c (Lukka 2:7) Enjiri ya Makko egamba nti abamu mu kibuga ky’e Nazaaleesi tebaatwala Yesu kuba wa njawulo ku baganda be. Baabuuza: ‘Yakobo, ne Yusufu, ne Yuda, ne Simooni si be baganda be? Ne bannyina tebali naffe wano?’—Makko 6:3, Matayo 12:46; Yokaana 7:5.
Wadde ng’Enjiri zigamba bwe zityo, bangi abeekenneenya ebikwata ku ddiini bagamba nti Yesu teyalina baganda be wadde bannyina. Abamu bagamba nti abo aboogerwako nga baganda be oba bannyina baali baana ba kojja we.d Abalala balowooza nti Yusufu yabazaala mu mukazi mulala. Naye lowooza ku kino: Bwe kiba nti Yesu ye mwana yekka Maliyamu gwe yazaala, abantu b’omu Nazaaleesi bandyogedde ebigambo ebyo? Kirabika abamu ku bo baalaba Maliyamu buli lwe yabanga olubuto era baali bakimanyi bulungi nti Yesu yali omu ku baana Maliyamu be yazaala.
ENDOWOOZA: Yesu yali Katonda naye nga yeeyambazizza omubiri gw’abantu.
NKYAMU.
Endowooza abantu gye balina nti Yesu yali Katonda naye nga yeeyambazizza omubiri gw’abantu nkulu nnyo mu njigiriza ya Tiriniti era ebaddewo okumala ekiseera kiwanvu. Kyokka endowooza eyo teyaliiwo mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi. Ekitabo ekiyitibwa The Encyclopædia Britannica kigamba nti: ‘Ekigambo Tiriniti wadde enjigiriza eyo eya Tiriniti tebiri mu Ndagaano Empya . . . Enjigiriza eno yakulaakulanyizibwa mpolampola okumala ebyasa bingi era tekiri nti bonna baali bagisemba.’
Eddiini bw’eyigiriza nti Yesu yali Katonda nga yeeyambazizza omubiri gw’abantu eba efeebya Yesu.e Mu ngeri ki? Lowooza ku kyokulabirako kino. Abakozi abamu babaako kye basaba oyo abakulira, naye n’abagamba nti talina buyinza kukibawa. Kyabagambye bwe kiba nga kituufu, aba akiraze nti obuyinza bwe buliko ekkomo. Kyokka bwe kiba nga si kituufu, nga ddala asobola okubawa ekyo kye baba basabye, naye n’asalawo obutakibawa, aba alimbye.
Yesu yaddamu atya ababiri ku batume be bwe baamusaba ebifo eby’ekitiibwa? Yabaddamu nti: “Eky’okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ogwa kkono si nze nkigaba, wabula kyaweebwa abo Kitange be yakitegekera.” (Matayo 20:23) Bwe kiba nti ddala Yesu ye yali Katonda, obwo tebwandibadde bulimba? Kyokka, bwe yajuliza Oyo amusinga obuyinza, yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’obuwombeefu era yalaga nti teyenkanankana na Katonda.
ENDOWOOZA: Yesu teyali bubeezi muntu mulungi.
NTUUFU.
Yesu yakyoleka kaati nti teyali bubeezi muntu mulungi. Yagamba nti: “Ndi mwana wa Katonda.” (Yokaana 10:36) Kya lwatu, omuntu yenna ayinza okweyita Omwana wa Katonda. Naye bwe kiba nti ekyo Yesu kye yayogera tekyali kituufu, kyandimufudde muntu wa ngeri ki? Tekyandimufudde muntu mulungi wabula kyandimufudde mulimba!
Obujulizi obusingirayo ddala okwesigika bwava eri Katonda kennyini. Emirundi ebiri yayogera bw’ati ku Yesu: “Ono ye Mwana wange.” (Matayo 3:17; 17:5) Kirowoozeeko: Ebyawandiikibwa biraga nti eddoboozi lya Katonda lyawulirwa ku nsi emirundi mitono, kyokka emirundi ebiri ku gyo, yakakasa nti Yesu Mwana we. Buno bwe bukakafu obusingirayo ddala obulaga nti Yesu kye yayogera kituufu.
Ekitundu kino kikulaze ebintu ebikwata ku Yesu by’obadde tomanyi? Bwe kiba bwe kityo, lwaki teweeyongera kwekenneenya Njiri ezaaluŋŋamizibwa? Okukola ekyo kiyinza okukuleetera essanyu n’emiganyulo. Kubanga Yesu yagamba nti, okuyiga amazima agamukwatako n’agakwata ku Kitaawe, ‘kitusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.’—Yokaana 17:3.
[Obugambo obuli wansi]
a Yesu yafa ku Lunaku olw’Embaga ey’Okuyitako, nga Nisani 14, okusinziira ku kalenda y’Ekiyudaaya.—Matayo 26:2.
b Matayo agamba nti abagenyi ‘baasumulula eby’obugagga’ byabwe ne batonera Yesu zaabu, obubaane, n’eby’obuwoowo ebiyitibwa mirra. Kirabika ebirabo ebyo eby’omuwendo byatuukira mu kiseera kituufu okuva bwe kiri nti amaka Yesu mwe yazaalibwa gaali maavu era nga baali banaatera okuddukira mu nsi endala.—Matayo 2:11-15.
c Wadde nga Maliyamu yafuna olubuto mu ngeri y’ekyamagero n’azaala Yesu, abaana abalala Yusufu ne Maliyamu be baalina baazaalibwa mu ngeri eya bulijjo.—Matayo 1:25.
d Endowooza eno Jerome gye yalina awo nga mu mwaka 383, ekyawagirwa nnyo abo abakkiriza nti Maliyamu yasigala mbeerera obulamu bwe bwonna. Oluvannyuma Jerome yabuusabuusa endowooza eyo gye yalina, naye abantu bangi n’abakulembeze b’Eddiini y’Ekikatuliki baasigala bakyagoberera endowooza eyo.
e Okumanya ebisingawo ebikwata ku njigiriza ya Tiriniti, laba brocuwa Should You Believe in the Trinity? eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Ebintu Ebirala Ebiyinza Okukwewuunyisa
Yesu yali muntu wa ngeri ki? Yali mukambwe, atatuukirikika era nga tafaayo ku bantu ba bulijjo? Abamu bayinza okugamba nti bw’atyo bwe yali. Oboolyawo eyo ye nsonga lwaki kibeewuunyisa bwe bakimanya nti Yesu . . .
• yagendanga ku mbaga.—Yokaana 2:1-11.
• yasiimanga abalala.—Makko 14:6-9.
• yayagalanga okubeera n’abaana abato.—Makko 10:13, 14.
• yakaaba mu lujjudde.—Yokaana 11:35.
• yasaasiranga abantu.—Makko 1:40, 41.