LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 4/1 lup. 20
  • ‘Obwakabaka Bwo Bulifuuka bwa Nkalakkalira’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Obwakabaka Bwo Bulifuuka bwa Nkalakkalira’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Similar Material
  • Weesige Omwoyo gwa Katonda ng’Oyolekaganye n’Enkyukakyuka Ezibaawo mu Bulamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Samwiri eky’Okubiri
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Kabaka Dawudi Akola Ekibi eky’Amaanyi
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • ‘Njigiriza Okukola by’Oyagala’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 4/1 lup. 20

Semberera Katonda

‘Obwakabaka Bwo Bulifuuka bwa Nkalakkalira’

2 SAMWIRI 7:1-16

EBYAFAAYO biraga nti abakulembeze bangi baggiddwa mu buyinza. Abamu bawanguddwa okuyitira mu kukuba akalulu, ate abalala baggiddwa mu buyinza lwa mpaka. Ate kiri kitya eri Yesu Kristo, Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu? Waliwo ekintu kyonna ekiyinza okumulemesa okufuga nga Kabaka Katonda gwe yalonda? Eky’okuddamu kisangibwa mu bigambo Yakuwa bye yagamba Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda, ebiri mu 2 Samwiri essuula 7.

Ku ntandikwa y’essuula eyo, tulaba nti kabaka Dawudi awulira bubi olw’okuba nti ye ng’omuntu obuntu asula mu lubiri olulabika obulungi, ng’ate essanduuko ya Katonda ebeera mu weema.a Dawudi agamba nti yandyagadde okuzimbira Yakuwa ennyumba ennungi oba yeekaalu. (Olunyiriri 2) Kyokka Dawudi si y’agenda okuzimba ennyumba eyo. Okuyitira mu nnabbi Nasani, Yakuwa agamba Dawudi nti mutabani we y’ajja okuzimba yeekaalu.​—Olunyiriri 4, 5, 12, 13.

Yakuwa asanyukira nnyo ekyo Dawudi ky’ayagala okukola. Era olw’okuba Dawudi ayagala nnyo Katonda era n’okusinziira ku ebyo obunnabbi bye bwalaga, Katonda akola naye endagaano nti aliyimusa omuntu okuva mu zzadde lye alifuga emirembe gyonna. Nasani ategeeza Dawudi ekisuubizo kya Katonda kino: ‘Ennyumba yo n’obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso go; entebe yo erinywezebwa ennaku zonna.’ (Olunyiriri 16) Ani Omusika w’endagaano eno ow’enkalakkalira​—alifuga emirembe gyonna?​—Zabbuli 89:20, 29, 34-36.

Yesu ow’e Nazaaleesi yali muzzukulu wa Dawudi. Malayika bwe yali ng’alangirira okuzaalibwa kwa Yesu, yagamba nti: “Yakuwa Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe, era alifuga nga kabaka ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era obwakabaka bwe tebuliggwaawo.” (Lukka. 1:32, 33) N’olwekyo, endagaano eyakolebwa ne Dawudi etuukirizibwa mu Yesu Kristo. Bwe kityo, afuga, si lwa kuba nti abantu be baamulonda, naye olw’ekisuubizo kya Katonda ekimuwa obuyinza okufuga emirembe gyonna. Ka tukijjukire nti bulijjo ebisuubizo bya Katonda bituukirira.​—Isaaya 55:10, 11.

Waliwo ebintu ebikulu bibiri bye tuyiga mu 2 Samwiri esuula 7. Ekisooka, tusobola okuba abakakafu nti tewali kintu kyonna wadde omuntu yenna asobola okulemesa Yesu Kristo okufuga. Bwe kityo, tuli bakakafu nti ajja kutuukiriza ekigendererwa ky’obufuzi bwe, kwe kugamba, okukola Katonda by’ayagala ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.​—Matayo 6:9, 10.

Eky’okubiri, ebyo ebiri mu ssuula eyo bituyigiriza ekintu ekirungi ennyo ku Yakuwa. Kijjukire nti Yakuwa yalaba era n’asiima ekyo Dawudi kye yali ayagala okukola. Kituzzaamu nnyo amaanyi okukitegeera nti Yakuwa asiima nnyo bw’alaba nga tufuba okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna. Oluusi embeera enzibu, gamba ng’obulwadde oba okukaddiwa, ziyinza okutulemesa okutuukiriza ebyo omutima gwaffe bye gwagala ennyo okukola mu kuweereza Katonda. Bwe tuba mu mbeera ng’ezo, tuzzibwamu nnyo amaanyi okukitegeera nti Yakuwa alaba ekyo ekiri mu mutima gw’omuntu ayagala ennyo okumuweereza.

[Obugambo obuli wansi]

a Essanduuko y’endagaano yali ssanduuko ntukuvu eyakolebwa okusinziira ku bulagirizi bwa Yakuwa. Yakiikiriranga okubeerawo kwa Yakuwa mu Isiraeri ey’edda.​—Okuva 25:22.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share