Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Lwaki Yesu yagamba omukazi eyali amanyiddwa ng’omwonoonyi nti ebibi bye byali bisonyiyiddwa?—Luk. 7:37, 48.
Yesu bwe yali ali ku kijjulo mu nnyumba y’Omufalisaayo ayitibwa Simooni, omukazi “[y]agenda emabega okumpi n’ebigere bya Yesu.” Omukazi oyo yatobya ebigere bya Yesu n’amaziga era n’abisiimuula n’enviiri ze. Oluvannyuma yabinywegera era n’abisiiga amafuta ag’akaloosa. Ebyo ebiri mu Njiri biraga nti omukazi oyo ‘yali amanyiddwa mu kibuga ng’omwonoonyi.’ Kya lwatu nti buli muntu atatuukiridde mwonoonyi, naye Ebyawandiikibwa bitera okukozesa ekigambo ekyo okutegeeza omuntu amanyiddwa ng’omukozi w’ebibi. Kirabika omukazi oyo yali malaaya. Omuntu ng’oyo Yesu gwe yagamba nti: “Ebibi byo bikusonyiyiddwa.” (Luk. 7:36-38, 48) Mu kwogera atyo Yesu yali ategeeza ki? Okuva bwe kiri nti ekinunulo kyali tekinnaba kuweebwayo, ebibi by’omukazi oyo byandisobodde bitya okusonyiyibwa?
Oluvannyuma lw’omukazi oyo okusiimuula ebigere bya Yesu n’okubifukako amafuta, naye nga tannasonyiyibwa bibi bye, Yesu yakozesa olugero okunnyonnyola Simooni, eyali amukyazizza, ensonga enkulu. Ng’ageraageranya ekibi ku bbanja eddene, Yesu yagamba Simooni nti: “Waaliwo omuntu eyali abanja abantu babiri. Omu yali amubanja eddinaali bitaano ate ng’omulala amubanja ataano. Bwe baalemererwa okumusasula n’abasonyiwa bombi. Kale, ani ku bombi anaasinga okumwagala?” Simooni yaddamu nti: “Ndowooza oyo gwe yasonyiwa ekisinga obunene.” Yesu kwe kumugamba nti: “Ozzeemu bulungi.” (Luk. 7:41-43) Ffenna tulina okugondera Katonda, n’olwekyo bwe tumujeemera ne twonoona, tuba tulemereddwa okusasula Katonda ekyo ekimugwanira. Bwe kityo, ebbanja lyaffe liba lyeyongera bunene. Kyokka Yakuwa, alinga omuntu abanja naye nga mwetegefu okusonyiwa amabanja. Eyo y’ensonga lwaki Yesu yakubiriza abagoberezi be okusaba Katonda nti: “Otusonyiwe amabanja gaffe nga naffe bwe tusonyiwa be tubanja.” (Mat. 6:12) Lukka 11:4 walaga nti amabanja ago bye bibi.
Katonda yasinziiranga ku ki okusonyiwa ebibi mu biseera by’edda? Okusinziira ku mutindo gwe ogw’obwenkanya omwonoonyi agwana kufa. N’olwekyo, Adamu yasasulira ekibi kye bwe yafa. Kyokka okusinziira ku Mateeka Katonda ge yawa eggwanga lya Isiraeri, omwonoonyi yali asobola okusonyiyibwa ebibi bye ng’awaayo ssaddaaka y’ensolo eri Yakuwa. Omutume Pawulo yagamba nti: “Kyenkana ebintu byonna bitukuzibwa na musaayi okusinziira ku Mateeka, era awatali kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.” (Beb. 9:22) Abayudaaya baali tebamanyiiyo ngeri ndala yonna Katonda kwe yandisinzidde kusonyiwa bibi. N’olwekyo tekyewuunyisa nti abantu abaaliwo mu kiseera kya Yesu tebakkiriziganya n’ebyo Yesu bye yagamba omukazi oyo. Abo abaali batudde ne Yesu ku kijjulo baatandika okwebuuza nti: “Ono y’ani asonyiwa n’ebibi?” (Luk. 7:49) Kati olwo kiki ekyasinziirwako okusonyiwa ebibi by’omukazi oyo eyali omwonoonyi ennyo?
Obunnabbi obwasookera ddala okwogerwa oluvannyuma lw’abantu abasooka okwonoona bw’alaga ekigendererwa kya Katonda eky’okussaawo “ezzadde” Sitaani awamu ‘n’ezzadde’ lye lye bandibetense ekisinziiro. (Lub. 3:15) Kino kyatuukirira Yesu bwe yattibwa abalabe ba Katonda. (Bag. 3:13, 16) Omusaayi gwa Kristo ogwayiibwa kye kinunulo ekyaweebwayo okusumulula abantu okuva mu kibi n’okufa. Okuva bwe kiri nti tewali kintu kyonna kiyinza kulemesa Yakuwa kutuukiriza bigendererwa bye, amangu ddala ng’ebigambo ebiri mu Olubereberye 3:15 bya koogerwa, Katonda yakitwala nga gy’obeera ekinunulo kyali kimaze okuweebwayo. Kati yali asobola okusonyiwa abo abaali bakkiririza mu kisuubizo ekyo.
Ng’Obukristaayo tebunnatandika, waaliwo abantu bangi abaabalibwa okuba abatuukirivu mu maaso ga Yakuwa. Mu abo mwe mwali Enoka, Nuuwa, Ibulayimu, Lakabu, ne Yobu. Olw’okukkiriza, baali beesunga okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda. Omuyigirizwa Yakobo yawandiika nti: “Ibulayimu n’akkiririza mu Yakuwa n’abalibwa okuba omutuukirivu.” Ng’ayogera ku Lakabu, Yakobo yagamba nti: “Ne Lakabu malaaya teyayitibwa mutuukirivu olw’ebikolwa?”—Yak. 2:21-25.
Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda yakola ebibi eby’amaanyi bingi naye yalina okukkiriza okw’amaanyi mu Katonda ow’amazima era yeenenyanga mu bwesimbu buli lwe yakolanga ekibi. Ate era Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Katonda [yateekawo Yesu] ng’ekiweebwayo eky’okuzzaawo emirembe ne Katonda okuyitira mu kukkiririza mu musaayi gwe. Kino Katonda yakikola asobole okulaga nti yali mutuukirivu mu kusonyiwa ebibi eby’emabega bwe yali ng’ayoleka obugumiikiriza, n’okwoleka obutuukirivu bwe mu kiseera kino, ng’omuntu akkiririza mu Yesu amuyita nti mutuukirivu.” (Bar. 3:25, 26) Ng’asinziira ku ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu ekyandiweereddwayo mu biseera eby’omu maaso, Yakuwa yasobola okusonyiwa Dawudi ebibi bye nga tasudde mutindo gwe ogw’obwenkanya.
Mu ngeri y’emu n’omukazi eyafuka amafuta ku bigere bya Yesu bw’atyo bwe yasobola okusonyiyibwa. Wadde nga yali yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, kati yali amaze okwenenya. Yakiraga nti yali yeetaaga okununulibwa okuva mu kibi era nti yali akkiririza mu oyo Yakuwa gwe yandiyitiddemu okununula abantu. Wadde nga ssaddaaka y’ekinunulo yali tennaba kuweebwayo, tewaaliwo kubuusabuusa kwonna nti yandiweereddwayo. Eyo y’ensonga lwaki abantu gamba ng’omukazi oyo baali basobola okugiganyulwamu. Bwe kityo, Yesu yamugamba nti: “Ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
Ebyo byonna bye tulabye biraga nti Yesu yafangayo nnyo ku boonoonyi era yabakoleranga ebirungi. Mu butuufu, Yakuwa mwetegefu okusonyiwa aboonoonyi abeenenya. Ng’ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi ffe abantu abatatuukiridde!
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Baabalibwa okuba abatuukirivu