LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 7/1 lup. 10
  • Wanaatera Okubaawo Ebiseera Ebirungi!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Wanaatera Okubaawo Ebiseera Ebirungi!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Similar Material
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ensi Empya ey’Ekitalo Ekoleddwa Katonda
    Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?
  • Obulamu mu Nsi Empya Ey’Emirembe
    Obulamu mu Nsi Empya Ey’Emirembe
  • Biki Katonda by’Ajja Okukola?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 7/1 lup. 10

Wanaatera Okubaawo Ebiseera Ebirungi!

“Waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo . . . Naye abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.”​—ZABBULI 37:10, 11.

WANDYAGADDE okulaba ng’obunnabbi obwo waggulu butuukirira? Tewali kubuusabuusa nti wandyagadde. Waliwo ensonga ennungi kwe tusinziira okukkiriza nti bujja kutuukirizibwa mu kiseera ekitali kya wala.

Ebitundu ebivuddeko binnyonnyodde obumu ku bunnabbi obuli mu Bayibuli obulaga obulungi nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma.” (2 Timoseewo 3:1-5) Katonda yaluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli okulagula ebintu ebyo tusobole okuba n’essuubi. (Abaruumi 15:4) Okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo kutegeeza nti ebizibu bye twolekagana nabyo kati binaatera okukoma.

Kiki ekinaddirira ng’ennaku ez’oluvannyuma zikomye? Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuga abantu bonna. (Matayo 6:9) Weetegereze ekyo Bayibuli ky’eyogera ku mbeera eziribaawo ku nsi mu kiseera ekyo:

● Tewalibaawo njala. “Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi.”​—Zabbuli 72:16.

● Tewalibaawo ndwadde. ‘N’oyo atuulamu talyogera nti, ndi mulwadde.’​—Isaaya 33:24.

● Ensi erizzibwa buggya. “Olukoola n’amatongo birijaguza; n’eddungu lirisanyuka, lirisansula ng’ekiyirikiti.”​—Isaaya 35:1.

Buno bwe bumu ku bunnabbi bwa Bayibuli obuzzaamu amaanyi obunaatera okutuukirizibwa. Lwaki tosaba Abajulirwa ba Yakuwa bakulage ensonga ezibaleetera okuba abakakafu nti wanaatera okubaawo ebiseera ebirungi?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share