Oyingidde mu Kiwummulo kya Katonda?
“Ekigambo kya Katonda kiramu, kya maanyi.”—BEB. 4:12.
1. Tuyinza tutya okuyingira mu kiwummulo kya Katonda leero, naye lwaki ekyo oluusi kiyinza okutuzibuwalira?
MU KITUNDU ekyayita, twalaba nti tusobola okuyingira mu kiwummulo kya Katonda singa tugondera Yakuwa era ne tukolera wamu n’ekibiina kye. Bwe tugondera Yakuwa tuba tulaga nti twagala ekigendererwa kye kituukirire. Naye ebiseera ebimu kiyinza obutatubeerera kyangu kumugondera. Ng’ekyokulabirako, bwe tumanya nti ekintu ekimu kye tunyumirwa okukola Yakuwa takyagala, mu kusooka kiyinza okutuzibuwalira okukireka. Ekyo kiraga nti twetaaga okuyiga okuba ‘abawulize.’ (Yak. 3:17) Mu kitundu kino tujja kulaba ezimu ku mbeera mwe kiyinza okutubeerera ekizibu okugondera Yakuwa.
2, 3. Kiki kye twetaaga okweyongera okukola okusobola okusanyusa Yakuwa?
2 Singa wabaawo enkyukakyuka ze weetaaga okukola mu bulamu bwo, oli mwetegefu okuzikola? Lowooza ku kino: Abantu Katonda b’aleeta mu kibiina kye boogerwako ng’ebintu “ebyegombebwa amawanga gonna.” (Kag. 2:7) Kino kitegeeza nti abantu Katonda b’atwala okuba ab’omuwendo beebo abaagala okukola ekituufu. Kituufu nti we twatandiikira okuyiga Bayibuli, abasinga obungi ku ffe twali tukola ebintu ebibi, naye olw’okuba twali twagala Katonda n’Omwana we, twali beetegefu okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwaffe okusobola okusanyusa Katonda. Oluvannyuma, twasaba Yakuwa atuyambe, ne tufuba okukola enkyukakyuka ezeetaagisa, era ne tubatizibwa.—Soma Abakkolosaayi 1:9, 10.
3 Kyokka, tukyali abantu abatatuukiridde. Tukyetaaga okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe n’okufuba okukola ekituufu. Naye Yakuwa asuubiza okutuyamba singa tweyongera okukola kyonna ekisoboka okumusanyusa.
Bwe Wabaawo Enkyukakyuka Ze Twetaaga Okukola
4. Ngeri ki essatu Yakuwa mw’atuyambira okulaba wa we twetaaga okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe?
4 Okusobola okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe, twetaaga okusooka okumanya obunafu bwaffe we buli. Yakuwa atuyamba mu nsonga eno ng’ayitira mu mboozi eziweebwa mu nkuŋŋaana oba ebitundu ebifulumira mu bitabo byaffe. Oluusi tuyinza obutakiraba nti twetaaga okukola enkyukakyuka ne bwe tuba nga tuwulirizza emboozi oba nga tusomye ekitundu okuva mu kimu ku bitabo byaffe. Bwe kityo, Yakuwa asobola okukozesa Mukristaayo munnaffe okutuyamba okulaba obunafu bwaffe we buli.—Soma Abaggalatiya 6:1.
5. Oluusi tweyisa tutya nga waliwo ow’oluganda atuwabudde, naye lwaki abakadde basaanidde okufuba okututereeza.
5 Oluusi kiyinza okutubeerera ekizibu okukkiriza okuwabulwa bakkiriza bannaffe abatatuukiridde kwe batuwa ne bwe baba nga bafubye okwogera naffe mu ngeri ey’ekisa. Kyokka nga mu Abaggalatiya 6:1 bwe walaga, Yakuwa agamba abo abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo ‘okugezaako okututereeza mu mwoyo omukkakkamu.’ Bwe tukkiriza amagezi ge batuwa, tujja kweyongera okuba ebyegombebwa oba ab’omuwendo mu maaso ga Katonda. Kya lwatu nti emirundi mingi bwe tuba tusaba, tutegeeza Yakuwa nti tetutuukiridde era nti tukola ensobi nnyingi. Naye bwe wabaawo ow’oluganda atulaze ensobi yaffe, emirundi mingi tugezaako okwewolereza, okulaga nti ensobi gye twakoze teyabadde ya maanyi, oba tuyinza n’okulowooza nti oyo atuwabudde tatwagala era nti n’engeri gy’ayogedde naffe tebadde nnungi. (2 Bassek. 5:11) Ate era tuyinza okunyiiga ennyo singa ow’oluganda ayogera ku kintu kye tutayagala kuwulira. Ng’ekyokulabirako, ayinza okwogera ku mpisa z’omu ku b’omu maka gaffe, ku ngeri gye twambalamu ne gye twekolako, ku buyonjo bwaffe, oba ku by’okwesanyusaamu ebitunyumira naye nga Yakuwa tabyagala. Naye bwe tumala okukkakkana, ebiseera ebisinga tukiraba nti ow’oluganda ky’ayogedde kibadde kituufu.
6. Ekigambo kya Katonda kisobola kitya “okutegeera ebirowoozo n’ebiruubirirwa by’omutima”?
6 Ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino kigamba nti ekigambo kya Katonda “kya maanyi.” Yee, ekigambo kya Katonda kirina amaanyi okukyusa obulamu bw’abantu. Kyatuyamba okukola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa okusobola okubatizibwa era kikyasobola okutuyamba okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe. Mu bbaluwa ye eri Abebbulaniya, Pawulo era yagamba nti ekigambo kya Katonda “kiyingirira ddala n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kisobola okutegeera ebirowoozo n’ebiruubirirwa by’omutima.” (Beb. 4:12) N’olwekyo, ebyo bye tukola oluvannyuma lw’okumanya ekyo Katonda ky’ayagala biraga ekyo kye tuli munda. Ddala ekyo abantu kye balaba ku ngulu (“obulamu”), kye tuli ne munda (“omwoyo”)? (Soma Matayo 23:27, 28.) Lowooza ku ekyo kye wandikoze mu mbeera zino wammanga.
Tambulira Wamu n’Ekibiina kya Yakuwa
7, 8. (a) Lwaki abamu ku Bakristaayo Abayudaaya baali bakyayagala okukwata agamu ku Mateeka ga Musa? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti baali bakontana n’ekigendererwa kya Yakuwa?
7 Bangi ku ffe tumanyi bulungi ebigambo ebiri mu Engero 4:18, awagamba nti: “Ekkubo ery’abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana, ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira.” Ekyo kitegeeza nti ekiseera bwe kigenda kiyitawo, tweyongera okutegeera ebyo Katonda by’ayagala ne tweyongera okukola ebyo ebimusanyusa.
8 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, Abayudaaya bangi Abakristaayo baali bakyayagala okukwata Amateeka ga Musa. (Bik. 21:20) Wadde nga Pawulo yakiraga bulungi nti Abakristaayo baali tebakyali wansi w’Amateeka, abamu baagaana okukkiriza ebigambo bye ebyaluŋŋamizibwa. (Bak. 2:13-15) Oboolyawo baali balowooza nti singa bagenda mu maaso n’okukwata agamu ku Mateeka ago, kyandibayambye obutayigganyizibwa. Naye, Pawulo yawandiikira Abakristaayo abo Abebbulaniya n’akiraga lwatu nti bwe bandigaanye okutuukanya obulamu bwabwe n’ekigendererwa kya Katonda, tebandiyingidde mu kiwummulo Kye.a (Beb. 4:1, 2, 6; soma Abebbulaniya 4:11.) Okusobola okusiimibwa Yakuwa, baali beetaaga okukikkiriza nti Yakuwa yali ayagala abantu be bamusinze mu ngeri endala.
9. Wandiwulidde otya singa wabaawo enkyukakyuka eba ekoleddwa mu nnyinyonnyola emu ey’omu Byawandiikibwa?
9 Leero omuddu omwesigwa era ow’amagezi annyonnyola enjigiriza za Bayibuli ezimu mu ngeri eyawukanako ku eyo gye twali tumanyi. Kino tekyanditumazeemu maanyi; mu kifo ky’ekyo kyandituleetedde okwongera okumwesiga. Ab’oluganda abakiikirira “omuddu” oyo bwe bakiraba nti waliwo enkyukakyuka eyeetaaga okukolebwa mu nnyinyonnyola emu ey’Ebyawandiikibwa, tebalonzalonza kukikola. Bakimanyi nti waliwo abantu abayinza okwogera obubi ku muddu omwesigwa, naye ekintu kye basinga okutwala ng’ekikulu kwe kulaba nti batuukana n’ekigendererwa kya Katonda. Owulira otya ng’omuddu omwesigwa akoze enkyukakyuka mu ngeri gye tutegeeramu enjigiriza emu ey’omu Byawandiikibwa?—Soma Lukka 5:39.
10, 11. Kiki abamu ku Bayizi ba Bayibuli kye baakola bwe baasabibwa okugezaako okukozesa engeri endala ez’okubuulira amawulire amalungi, era ekyo kituyigiriza ki?
10 Ka tulabeyo ekyokulabirako ekirala. Emyaka nga kikumi emabega, waaliwo Abayizi ba Bayibuli abaali bawa obulungi emboozi era nga baali balowooza nti okuwa emboozi ennungi ye ngeri eyali esingayo obulungi ey’okutuusa obubaka bwa Bayibuli ku bantu. Abamu ku bo baawuliranga bulungi abantu bwe baabatenderezanga olw’okuwa obulungi emboozi. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, kyategeerekeka bulungi nti Yakuwa yali ayagala abantu be bakozese engeri ez’enjawulo ez’okubuulira, nga mw’otwalidde n’okubuulira nnyumba ku nnyumba. Abamu ku abo abaali aboogezi abalungi ekyo baakigaana. Ku ngulu baali balaga nti baagala Yakuwa era nti bamugondera, naye engeri gye beeyisaamu mu mbeera eyo yalagira ddala ekyo kyennyini kye baali munda. Kya lwatu nti ekyo kye baasalawo okukola tekyasanyusa Yakuwa. Baava mu kibiina kye.—Mat. 10:1-6; Bik. 5:42; 20:20.
11 Kyo kituufu nti n’abo abaasigala nga beesigwa eri ekibiina kya Yakuwa, mu kusooka tekyabanguyira kubuulira mu lujjudde. Naye baali bawulize. Oluvannyuma lw’ekiseera, baggwaamu okutya era Yakuwa yabawa emikisa. Weeyisa otya ng’omuddu omwesigwa atugambye okugezaako engeri emu ey’okubuulira gy’otakozesangako? Ofuba okumugondera?
Ng’Omuntu Gwe Twagala Avudde ku Yakuwa
12, 13. (a) Lwaki Yakuwa atugamba okuggya abantu abataagala kwenenya mu kibiina? (b) Mbeera ki esobola okugezesa obwesigwa bw’abazadde Abakristaayo?
12 Awatali kubuusabuusa ffenna tukimanyi bulungi nti okusobola okusanyusa Katonda tulina okuba abayonjo mu mubiri, mu mpisa, ne mu by’omwoyo. (Soma Tito 2:14.) Kyokka waliwo embeera eziyinza okukifuula ekizibu gye tuli okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa. Lowooza ku mbeera eno: Waliwo Abakristaayo abafumbo abalina omwana omu yekka naye n’asalawo okuva mu mazima. Omwana waabwe oyo asalawo okufuna ‘essanyu ly’ekibi ery’akaseera obuseera’ mu kifo ky’okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa awamu ne bazadde be. N’ekivaamu, omuvubuka oyo agobebwa mu kibiina.—Beb. 11:25.
13 Bazadde be bayisibwa bubi nnyo! Bamanyi ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nkolagana gye tulina okuba nayo n’omuntu aba agobeddwa mu kibiina. Bayibuli egamba nti: “[Temukolagana] na muntu yenna ayitibwa ow’oluganda nga mwenzi, oba ng’alina omulugube, oba ng’asinza ebifaananyi, oba nga muvumi, oba nga mutamiivu, oba nga munyazi, n’okulya temulyanga na muntu ng’oyo.” (1 Kol. 5:11, 13) Bakimanyi nti ebigambo ‘omuntu yenna’ bizingiramu n’ab’omu maka gaabwe be batabeera nabo waka. Naye olw’okuba baba baagala nnyo mutabani waabwe, bayinza okugamba nti: ‘Tunaayamba tutya mutabani waffe okudda eri Yakuwa singa tetwogera naye? Twetaaga okwogera naye tusobole okumuyamba.’b
14, 15. Kiki abazadde kye balina okujjukira bwe baba baagala okwogerako n’abaana baabwe ababa bagobeddwa mu kibiina?
14 Naffe tuwulira ennaku bwe tulaba abazadde abali mu mbeera ng’eyo. Mutabani waabwe yali asobola okuleka ekkubo lye ebbi, naye empisa ze embi zaamusingira enkolagana ennungi gye yalina ne bazadde be awamu n’ab’oluganda mu kibiina. Bazadde be baali baagala okumuyamba naye nga tebasobola kumusalirawo kya kukola. Tusobola okutegeera ensonga lwaki bawulira ennaku ey’amaanyi!
15 Naye abazadde abo banaakola ki? Banaakolera ku kiragiro kya Yakuwa? Kituufu nti ebiseera ebimu kiyinza okubeetaagisa okwogera ne mutabani waabwe ku nsonga ezikwata ku maka gaabwe. Naye bandibadde buli kiseera boogera naye? Bwe baba basalawo eky’okukola mu mbeera eyo, abazadde abo basaanidde okulowooza ennyo ku ngeri Yakuwa gy’anaatunuuliramu ekyo kye baba basazeewo okukola. Balina okukijjukira nti Yakuwa ayagala okukuuma ekibiina kye nga kiyonjo, era ayagala n’aboonoonyi beekube mu kifuba badde gy’ali. Abazadde Abakristaayo bayinza batya okulaga nti balina endowooza ng’eya Yakuwa?
16, 17. Ekyokulabirako kya Alooni kituyigiriza ki?
16 Alooni muganda wa Musa yeesanga mu mbeera enzibu olw’ekyo batabani be ababiri kye baakola. Lowooza ku ngeri gye yawuliramu nga batabani be, Nadabu ne Abiku, battiddwa Yakuwa oluvannyuma lw’okuwaayo omuliro ogutakkirizibwa. Kya lwatu nti oluvannyuma lw’okufa kwa batabani be, Alooni yali takyasobola kwogera nabo. Naye waliwo n’ekintu ekirala kye tulina okulowoozaako. Yakuwa yagamba Alooni awamu ne batabani be abaali basigaddewo nti: “Temusumulula nviiri za ku mitwe gyammwe, so temuyuza byambalo byammwe [nga mukungubaga], muleme okufa, era [Yakuwa] aleme okusunguwalira ekibiina kyonna.” (Leev. 10:1-6) Ekyo kituyigiriza ki? Tulina okwagala Yakuwa okusinga ab’omu maka gaffe abatali beesigwa.
17 Leero, Yakuwa tattirawo bantu ababa bagaanyi okukwata amateeka ge. Abalaga okwagala era abawa akakisa okukyusa enneeyisa yaabwe. Naye Yakuwa yandiwulidde atya singa abazadde bajeemera etteeka lye ne bagenda mu maaso n’okukolagana ne mutabani waabwe oba muwala waabwe aba agobeddwa mu kibiina?
18, 19. Mikisa ki ab’omu maka gye basobola okufuna bwe basigala nga beesigwa eri Yakuwa?
18 Bangi ku abo abaali bagobeddwako mu kibiina bagamba nti ekintu ekyabayamba okudda mu kibiina kwe kuba nti ab’omu maka gaabwe ne mikwano gyabwe baasigala beesigwa eri Yakuwa ne bagaana okwogera nabo. Ng’ekyokulabirako, omuwala omu yagamba abakadde nti ekimu ku bintu ebyamuyamba okudda mu kibiina kwe kuba nti mwannyina yasigala mwesigwa eri Yakuwa era n’agaana okukolagana naye bwe yali akyali mugobe.
19 Kati olwo tusaanidde kukola ki? Tusaanidde okuba abamalirivu okugondera Yakuwa mu mbeera zonna ez’obulamu bwaffe. Olw’okuba tetutuukiridde oluusi kino tekiba kyangu. Naye tusaanidde bulijjo okukijjukira nti ekintu kyonna Yakuwa ky’atugamba okukola kiba kiganyula ffe.
“Ekigambo kya Katonda Kiramu”
20. Ebigambo ebiri mu Abebbulaniya 4:12 birina makulu ki ag’emirundi ebiri? (Laba obugambo obwa wansi.)
20 Abebbulaniya 4:12 wagamba nti: “Ekigambo kya Katonda kiramu.” Mu kuwandiika ebigambo ebyo, Pawulo yali tayogera ku Bayibuli.c Ennyiriri eziriraanyeewo ziraga nti yali ayogera ku bisuubizo bya Katonda. Pawulo yali alaga nti bulijjo Katonda atuukiriza ebisuubizo bye. Ng’ayogera ku kigambo kye, Yakuwa yagamba nti: “Ekigambo kyange . . . tekiridda gye ndi nga kyereere, naye . . . kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.” (Is. 55:11) N’olwekyo, tetusaanidde kuggwaamu maanyi singa Yakuwa tatuukiriza bisuubizo bye mu kiseera mwe tubadde tubisuubirira. Tusaanidde okuba abakakafu nti ne leero Yakuwa ‘akyakola’ okulaba nti ekigendererwa kye kituukirira.—Yok. 5:17.
21. Ebigambo ebiri mu Abebbulaniya 4:12 bizzaamu bitya amaanyi ab’oluganda ‘ab’ekibiina ekinene’ abamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa n’obwesigwa?
21 Waliwo ab’oluganda bangi ‘ab’ekibiina ekinene’ abamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa n’obwesigwa. (Kub. 7:9) Baali tebasuubira nti bajja kukaddiwa ng’enteekateeka y’ebintu eno tennazikirizibwa. Naye ekyo tekibamazeemu maanyi. (Zab. 92:14) Bakimanyi nti “ekigambo kya Katonda kiramu” era nti ebisuubizo bya Yakuwa byonna bijja kutuukirira. (Beb. 4:12) Bakimanyi nti akyakola okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye eri ensi n’abantu. Olw’okuba ekigendererwa kya Katonda kikulu nnyo gy’ali, kimusanyusa bwe tulaga nti naffe ekigendererwa kye tukitwala nga kikulu nnyo gye tuli. Tewali kintu kyonna kisobola kulemesa Yakuwa kutuukiriza kigendererwa kye mu lunaku luno olw’omusanvu olw’ekiwummulo kye. Era akimanyi nti abantu be bonna okutwalira awamu bajja kweyongera okuwagira ekigendererwa kye. Ate kiri kitya eri ggwe? Oyingidde mu kiwummulo kya Katonda?
[Obugambo obuli wansi]
a Bangi ku bakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baali bagezaako okukwata butiribiri Amateeka ga Musa, naye Masiya bwe yajja, baagaana okumukkiriza. Baalemererwa okutuukana n’ekigendererwa kya Katonda.
b Laba akatabo “Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda,” olupapula 207-209.
c Leero Katonda ayogera naffe okuyitira mu Bayibuli. Bayibuli erina amaanyi okukyusa obulamu bwaffe. Bwe kityo, ebigambo bya Pawulo ebiri mu Abebbulaniya 4:12 bisobola okukozesebwa ne ku Bayibuli.
Ojjukira
• Kiki kye twetaaga okukola okusobola okuyingira mu kiwummulo kya Katonda leero?
• Bwe tumala okutegeera ekyo Katonda ky’ayagala, tulaga tutya nti twagala okumusanyusa?
• Mbeera ki mwe kiyinza okutubeerera ekizibu okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, naye lwaki kikulu nnyo okumugondera?
• Ebigambo ebiri mu Abebbulaniya 4:12 birina makulu ki ag’emirundi ebiri?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Abazadde bayisibwa bubi nnyo!