LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 12/15 lup. 27-30
  • Tokkiriza Bulwadde Kukumalako Ssanyu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tokkiriza Bulwadde Kukumalako Ssanyu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okukkiriza Embeera gy’Olimu
  • Yakuwa Atuyamba Atya?
  • Bw’Oba Olina Obulwadde Obutawona, Bayibuli Esobola Okukuyamba?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Yakuwa Ajja Kukuwa Amaanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Yakuwa Katonda Wo Akutwala nti Oli wa Muwendo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Okwaŋŋanga Ekizibu ‘ky’Eriggwa mu Mubiri’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 12/15 lup. 27-30

Tokkiriza Bulwadde Kukumalako Ssanyu

KUBA akafaananyi ng’ozuukuse ku makya ng’obulwadde bukuluma nnyo era ng’owulira nga tokyasobola kubugumira. Oyinza okuwulira nga Yobu eyagamba nti: “Nnandironzeewo okufa mu kifo ky’okubonaabona kuno kwonna.” (Yob. 7:15, The New English Bible) Ate kiri kitya singa obulwadde bukuluma okumala ekiseera, oboolyawo okumala emyaka mingi?

Ekyo kye kyatuuka ku Mefibosesi, mutabani wa Yonasaani eyali mukwano gwa Kabaka Dawudi. Mefibosesi bwe yali wa myaka etaano, ‘y’agwa n’alemala.’ (2 Sam. 4:4) Okumuwaayiriza nti yali alidde mu kabaka olukwe era n’agibwako n’ebintu bye kiteekwa okuba nga kyayongera ku bulumi bwe yalina. Naye yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi bwe kituuka ku kugumira ebizibu, gamba ng’obulwadde, okuwaayirizibwa, n’ebintu ebirala ebimalamu amaanyi. Teyakkiriza bizibu ng’ebyo kumumalako ssanyu.​—2 Sam. 9:6-10; 16:1-4; 19:24-30.

Lowooza ne ku kyokulabirako kya Pawulo. Lumu yayogera ku ‘liggwa’ lye yalina mu mubiri. (2 Kol. 12:7) Eriggwa lye yayogerako liyinza okuba nga bwali bulwadde obutawona, oba ayinza okuba nga yali ayogera ku bantu abaali bagamba nti teyali mutume. Ka kibe nga kyali ki, ekizibu kye yalina yamala nakyo ebbanga ddene, era yalina okugumira obulumi ekizibu ekyo bwe kyamuleeteranga.​—2 Kol. 12:9, 10.

Abamu ku baweereza ba Katonda leero balina obulwadde obw’olukonvuba ate abalala bennyamivu. Bwe yali wa myaka 18, Magdalena baamukebera ng’alina obulwadde obuyitibwa systemic lupus erythematosus, obulwadde obuleetera obutoffaali obulwanyisa endwadde mu mubiri okufuuka obw’obulabe mu mubiri. Agamba nti, “Nnatya nnyo, era ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, embeera y’obulamu bwange yeeyongera okwonooneka. Nnafuna ekizibu mu lubuto, amabwa mu kamwa ne mu mumiro.” Ate ye Izabela alina obulwadde obutategeerekeka bulungi. Agamba nti: “Okuva mu buto, mbadde ntera okwennyamira. Kino kindeetera okweraliikirira ennyo, okufuna obuzibu mu kussa, n’okulumwa olubuto. Ekyo kindeetera okuwulira nga nzenna nnafuye.”

Okukkiriza Embeera gy’Olimu

Obulwadde busobola okukumalako essanyu. Ekyo bwe kibaawo, kiba kya magezi okwekenneenya obulungi embeera yo. Kiyinza obutakwanguyira kukikkiriza nti ebintu ebimu by’obadde okola tokyasobola kubikola. Magdalena agamba nti: “Obulwadde bwange bugenda bweyongera buli lukya. Oluusi mba munafu nnyo nga mpulira nga sisobola na kuva mu buliri. Olw’okuba mba simanyi bwe nnaaba nkya, kinzibuwalira okukola enteekateeka ez’omu maaso. Ekisinga okummalamu amaanyi kwe kuba nti sikyasobola kuweereza Yakuwa nga bwe nnakolanga edda.”

Zbigniew agamba nti: “Emyaka bwe gigenze giyitawo, obulwadde bwange obw’amagumba bugenze bweyongera okunafuya, ennyingo zange zigenze zizimba era zinnuma nnyo. Ebiseera ebimu, mba sirina na kye nsobola kukola. Ekyo kimmalamu nnyo amaanyi.”

Emyaka mitono emabega, Barbara yakeberebwa era ne kizuulibwa nti yalina kkansa w’obwongo. Agamba nti, “Obulamu bwange bukyuse nnyo. Nnina ebintawaanya bingi, gamba ng’okulumwa omutwe entakera n’okuwuguka ebirowoozo nga ndiko kye nkola. Okuva bwe kiri nti waliwo ebintu bingi bye nnali sikyasobola kukola, nnakiraba nga kyali kineetaagisa okuddamu okutunula mu mbeera yange.”

Abantu bano bonna aboogeddwako baweereza ba Yakuwa abeesigwa era okukola by’ayagala kye bakulembeza mu bulamu bwabwe. Beesiga Katonda n’omutima gwabwe gwonna era naye abayambye nnyo.​—Nge. 3:5, 6.

Yakuwa Atuyamba Atya?

Bwe tufuna ebizibu tetusaanidde kulowooza nti Katonda aba atunyiigidde. (Kung. 3:33) Lowooza ku bizibu ebyatuuka ku Yobu wadde nga yali ‘musajja eyatuukirira era ow’amazima.’ (Yob. 1:8) Katonda tagezesa muntu yenna na bintu bibi. (Yak. 1:13) Obulwadde bwe tufuna, nga mw’otwalidde n’obulwadde obw’olukonvuba, buva ku kibi kye twasikira okuva ku bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa.​—Bar. 5:12.

Kyokka, Yakuwa ne Yesu tebasobola kwabulira bantu abatuukirivu. (Zab. 34:15) Naddala bwe tuba mu mbeera enzibu, tweyongera okukiraba nti Katonda ‘kye kiddukiro kyaffe, era kye kigo kyaffe.’ (Zab. 91:2) Kati olwo bw’obeera mu mbeera enzibu, kiki ekiyinza okukuyamba okusigala ng’oli musanyufu?

Okusaba: Okufaananako abaweereza ba Katonda ab’edda, naawe osobola okussa omugugu gwo ku Kitaffe ow’omu ggulu okuyitira mu kusaba. (Zab. 55:22) Bw’onokola bw’otyo, ojja kufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna,” era emirembe egyo ‘gijja kukuuma omutima gwo n’ebirowoozo byo.’ (Baf. 4:6, 7) Magdalena asobodde okugumira obulwadde bwe olw’okuba yeesigama ku Katonda ng’ayitira mu kusaba. Agamba nti: “Okusaba Yakuwa kinnyamba okufuna obuweerero n’okuddamu okufuna essanyu. Kati ntegeera bulungi kye kitegeeza okwesigama ku Katonda buli lunaku.”​—2 Kol. 1:3, 4.

Yakuwa asobola okuddamu okusaba kwo ng’ayitira mu mwoyo gwe omutukuvu, mu Kigambo kye, ne mu b’oluganda mu kibiina. Tosuubira Katonda kuwonya bulwadde bwo mu ngeri ya kyamagero. Naye ba mukakafu nti asobola okukuwa amagezi n’amaanyi bye weetaaga okwolekagana n’obulwadde bwo. (Nge. 2:7) Asobola okukuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.”​—2 Kol. 4:7.

Ab’omu maka go: Singa ab’omu maka go baba bakufaako era nga bakulaga okwagala, ekyo kisobola okukuyamba okugumira obulwadde bwo. Kijjukire nti n’ab’omu maka go nabo balumwa bwe bakulaba ng’oli mulwadde. Naye oluusi bayinza okuwulira nga tebamanyi na kya kukukolera. Wadde kiri kityo, baba beetegefu okukuyamba ne mu mbeera enzibu ennyo. Okusabira awamu nabo kijja kukuyamba okuba n’emirembe mu mutima.​—Nge. 14:30.

Ng’ayogera ku muwala we ne bannyinaffe abato abali mu kibiina kye, Barbara agamba nti: “Bannyamba okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro. Obunyiikivu bwabwe bunzizaamu nnyo amaanyi.” Zbigniew agamba nti mukyala we amuyamba nnyo. “Y’akola emirimu gy’awaka egisinga obungi. Annyambaza era ansitulirako ensawo yange nga tugenda mu nkuŋŋaana ne mu kubuulira.”

Bakkiriza banno: Bwe tuba awamu ne bakkiriza bannaffe, tubudaabudibwa era tuzibwamu nnyo amaanyi. Ate kiri kitya singa obulwadde bwaffe tebutusobozesa kubaawo mu nkuŋŋaana? Magdalena agamba nti: “Ekibiina kyange kyakola enteekateeka okunkwatiranga ku butambi ebintu bye baba bayize mu nkuŋŋaana nange nsobole okuziganyulwamu. Ab’oluganda batera okunkubira ku ssimu okumanya obanga waliwo kye nneetaaga. Batera n’okumpandiikira amabaluwa aganzizaamu amaanyi. Okukimanya nti bandowoozaako era nti banfaako kinnyamba okugumira obulwadde bwange.”

Izabela, atera okwennyamira, agamba nti: “Nnina ‘bataata’ ne ‘bamaama’ bangi mu kibiina abampuliriza era abategeera obulungi embeera yange. Bwe mba mu kibiina mba ng’ali awaka, kubanga mba mpulira emirembe n’essanyu.”

Abo aboolekagana n’ebizibu ebitali bimu basaanidde okwewala ‘okweyawula’ ku balala. Mu kifo ky’ekyo, basaanidde okukuŋŋaananga awamu ne bakkiriza bannaabwe. (Nge. 18:1) Bwe bakola batyo, basobola okuzzaamu abalala mu kibiina amaanyi. Mu kusooka oyinza okutya okubuulira ab’oluganda mu kibiina ebintu bye weetaaga. Naye singa bategeera ebintu bye weetaaga, kijja kubawa akakisa okwoleka ‘okwagala kw’ab’oluganda okutaliimu bukuusa.’ (1 Peet. 1:22) Bw’oba oyagala bakutwaleko mu nkuŋŋaana, bakoleko naawe mu buweereza bw’ennimiro, oba banyumyeko naawe, lwaki ekyo tokibabuulira? Tetusaanidde kusuubira bingi nnyo mu baganda baffe, naye tusaanidde okusiima ekyo kyonna kye baba basobodde okutukolera.

Okuba n’endowooza ennuŋŋamu: Kiri eri ggwe okukuuma essanyu lyo oba okulyemalako bw’oba n’obulwadde obw’olukonvuba. Okubeera ng’oli munakuwavu buli kiseera kiyinza okukuleetera okufuna endowooza etali nnuŋŋamu. Bayibuli egamba nti: “Omwoyo gw’omuntu gunaawaniriranga obunafu bwe; naye omwoyo omumenyefu ani ayinza okugugumiikiriza?”​—Nge. 18:14.

Magdalena agamba nti: “Nfuba okwewala okumalira ebirowoozo ku bizibu byange. Ngezaako okukola ebintu ebindeetera essanyu mu biseera mwenfunira olungubanguba. Okusoma ku byokulabirako by’abantu abaasigala nga beesigwa nga balina obulwadde obw’olukonvuba kinzizaamu nnyo amaanyi.” Izabela kimuzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa amwagala era nti amutwala nga wa muwendo. Agamba nti: “Mpulira nga ndi wa muwendo era nga ndi wa mugaso. Era nnina n’essuubi ery’ekitalo ery’ebiseera eby’omu maaso.”

Zbigniew agamba nti: “Obulwadde bwange bunnyambye okuyiga okuba omwetoowaze n’okuba omuwulize. Njize okusalawo mu ngeri ey’amagezi n’okusonyiwa okuviira ddala ku mutima. Njize okuweereza Yakuwa nga ndi musanyufu mu kifo ky’okudda awo okwekubagiza. Mu butuufu, ekyo kinnyambye okwongera okukulaakulana mu by’omwoyo.”

Kijjukire nti Yakuwa alaba obugumiikiriza bwo. Ategeera bulungi obulumi bw’olimu era akufaako. Tajja ‘kwerabira mulimu gwo n’okwagala kw’olaga erinnya lye.’ (Beb. 6:10) Bulijjo jjukiranga ekisuubizo kino Katonda ky’awa abo bonna abamutya: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.”​—Beb. 13:5.

Singa ebiseera ebimu owulira ng’oweddemu amaanyi, lowooza ku ssuubi ery’ekitalo ery’okubeera mu nsi empya. Ekiseera kinaatera okutuuka Katonda aleete emikisa gy’Obwakabaka ku nsi, era ekyo ojja kukiraba!

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28, 29]

Beeyongera Okubuulira Wadde nga Balina Obulwadde obw’Olukonvuba

“Sikyasobola kutambula nga ndi nzekka, bwe kityo, mukyala wange oba ow’oluganda omulala yenna aba alina okuba nange nga ndi mu buweereza bw’ennimiro. Nfuba okukwata ennyanjula ezitali zimu awamu n’ebyawandiikibwa mu mutwe.”​—Jerzy, atalaba bulungi.

“Ng’oggyeko okuwa obujulirwa nga nkozesa essimu, ntera n’okuwandiikira abantu abaagala okuyiga Bayibuli amabaluwa. Bwe mba mu ddwaliro, Bayibuli yange n’ebitabo byaffe mbiteeka kumpi n’ekitanda kyange. Ekyo kinnyamba okuwa obujulirwa abantu abatali bamu.”​—Magdalena, alina obulwadde obuyitibwa systemic lupus erythematosus.

“Njagala nnyo okubuulira nnyumba ku nnyumba, naye bwe mba sseewulira bulungi, nsalawo okubuulira nga nkozesa essimu.”​—Izabela, atera okwennyamira.

“Okuddiŋŋana abantu awamu n’okubayigiriza Bayibuli kindeetera essanyu lingi. Bwe nfunamu olungubanguba, mbuulirako nnyumba ku nnyumba.”​—Barbara, alina kkansa w’obwongo.

“Sisitula bitabo bingi nga ŋŋenda okubuulira. Mbuulira okutuusa lwe mpulira nga sikyasobola kweyongerayo.”​—Zbigniew, alina obulwadde bw’amagumba.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Abato n’abakulu basobola okuzzaamu abalala amaanyi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share