Ebinaatuyamba Okwongera Okuganyulwa mu Kwesomesa Bayibuli
Tuyinza tutya okwongera okunyumirwa okwesomesa Bayibuli? Tuyinza tutya okwongera okuganyulwa mu kiseera kye tumala nga twesomesa? Ka tulabe ebintu bisatu ebijja okutuyamba okwongera okuganyulwa mu kwesomesa Bayibuli.
1 OKUSABA: Ekintu ekisooka kye tusaanidde okukola kwe kusaba. (Zab. 42:8) Lwaki? Kubanga okwesomesa Ekigambo kya Katonda kitundu kya kusinza kwaffe. N’olwekyo, bwe tuba tetunnatandika kwesomesa, kikulu okusaba Yakuwa atuyambe okuteekateeka ebirowoozo byaffe era atuwe n’omwoyo gwe omutukuvu. (Luk. 11:13) Barbara, amaze ekiseera ekiwanvu ng’aweereza ng’omuminsani, agamba nti: “Nsooka kusaba nga sinnatandika kusoma oba kwesomesa Bayibuli. Bwe mmala okusaba, mpulira nga Yakuwa ali wamu nange era nti asiima ekyo kye mba ŋŋenda okukola.” Okusaba nga tetunnatandika kusoma kiteekateeka omutima gwaffe n’ebirowoozo byaffe okukkiriza emmere ey’eby’omwoyo gye tuba tugenda okulya.
2 OKUFUMIITIRIZA: Olw’okuba waliwo eby’okukola bingi, abamu tebafuna budde kufumiitiriza ku bintu bye basoma mu Kigambo kya Katonda. Bwe kityo, tebaganyulwa mu bujjuvu mu kwesomesa Bayibuli. Carlos, amaze emyaka egisukka mu 50 ng’aweereza Yakuwa, alabye omuganyulo oguli mu kufunayo akadde okufumiitiriza ku bintu by’asoma. Agamba nti: “Kati nsomayo empapula ntonotono eza Bayibuli—empapula nga bbiri buli lunaku. Ekyo kinnyamba okufuna ebiseera ebisingako okufumiitiriza ku ebyo bye mba nsomye nsobole okubaako ebintu ebikulu bye njiga.” (Zab. 77:12) Bwe tufumiitiriza ku bintu bye tusoma, kituyamba okwongera okumanya n’okutegeera ebyo Katonda by’ayagala.—Bak. 1:9-11.
3 OKUSSA MU NKOLA: Bwe tulaba omuganyulo oguli mu kintu, ekintu ekyo kyeyongera okuba eky’omugaso gye tuli. Bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku kwesomesa Bayibuli. Gabriel, omuvubuka Omukristaayo alina enteekateeka ey’okwesomesa Bayibuli obutayosa agamba nti: “Okwesomesa Bayibuli kinnyamba okuvvuunuka ebizibu bye mba njolekagana nabyo mu bulamu n’okuba omwetegefu okuyamba abalala.” Agattako nti: “Ngezaako okussa mu nkola ebintu byonna bye njiga.” (Ma. 11:18; Yos. 1:8) Yee, waliwo ebintu bingi ebiri mu Bayibuli bye tusobola okuyiga n’okussa mu nkola.—Nge. 2:1-5.
OKWEJJUKANYA: Nga nkizo ya maanyi okufuna okumanya okuva eri Yakuwa, Ensibuko y’amagezi gonna! (Bar. 11:33) N’olwekyo, omulundi gw’oddako okwesomesa, kakasa nti osooka kusaba Yakuwa akuyambe okuteekateeka ebirowoozo byo era akuwe omwoyo gwe omutukuvu. Funayo akaseera ofumiitirize ku ebyo by’onoosoma. Era, fuba okulaba nti ossa mu nkola ebintu by’onooba oyize. Bw’onookola ebintu ebyo, ojja kweyongera okunyumirwa okusoma Bayibuli n’okugiganyulwamu.