Okweyigiriza Kuganyula
WALI olabyeko abantu nga beeroboza mu bibala? Bangi batunuulira langi n’obunene bwabyo okumanya obanga byengedde. Abamu babiwunyako. Abalala babikwatako oba ne babinyiganyiga. Abalala bateeka ekibala ekimu mu mukono ogumu n’ekirala mu mulala ne babigeraageranya okulaba ekisinga obuzito. Abantu bano baba na kigendererwa ki? Baba beetegereza okulaba enjawulo eriwo mu bibala ebyo, era ne bageraageranya kye balaba n’ekyo kye bamanyi. Olw’okufuba okulonda n’obwegendereza, baganyulwa nga balya ekibala ekyengedde obulungi.
Kya lwatu, emiganyulo egiva mu kweyigiriza Ekigambo kya Katonda gisingawo nnyo. Okweyigiriza ng’okwo bwe kuba n’ekifo ekikulu mu bulamu bwaffe, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera, okwagala kwaffe kweyongera, obuweereza bwaffe buvaamu ebibala ebisingawo, era n’engeri gye tusalawo eraga nti tulina okutegeera n’amagezi ebiva eri Katonda. Ku bikwata ku miganyulo ng’egyo, Engero 3:15 lugamba: ‘Tewali kintu ky’oyinza kugigeraageranya nagyo.’ Ofuna emiganyulo ng’egyo? Engeri gye weeyigirizaamu eyinza okukusobozesa okugifuna.—Bak. 1:9, 10.
Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu kuyiga kwo, teekateeka omutima gwo
Okweyigiriza kye ki? Kusingawo ku kusoma obusomi. Kwetaagisa okukozesa obwongo bwo nga weekenneenya ensonga n’obwegendereza. Kuzingiramu okwekkaanya by’osoma, n’obigeraageranya n’ebyo by’omanyi, era ne weetegereza ensonga eziwagira by’oyogera. Nga weeyigiriza, lowooza nnyo ku nsonga ezirabika ng’empya gy’oli. Era laba engeri gy’oyinza okussa mu nkola okubuulirira okuli mu Byawandiikibwa mu ngeri esingawo. Ng’Omujulirwa wa Yakuwa, era ojja kwagala okweyambisa omukisa gwonna gw’ofuna okukozesa by’oyiga okuyamba abalala. Kya lwatu, okweyigiriza kwetaagisa okufumiitiriza.
Okweteeka mu Mbeera Entuufu
Kakasa nti okebera ebyawandiikibwa
Nga weeteekateeka okweyigiriza, ggyayo Baibuli, ebitabo byonna by’ogenda okukozesa, ekkalaamu oba ppeeni, oboolyawo n’akatabo ak’okuwandiikamu. Naye, n’omutima gwo oguteekateeka? Baibuli etutegeeza nti “Ezera yali [ateeseteese] omutima gwe okunoonya amateeka ga Mukama n’okugakolanga n’okuyigirizanga mu Isiraeri amateeka n’emisango.” (Ezer. 7:10) Okuteekateeka omutima mu ngeri eyo kuzingiramu ki?
Okusaba kutusobozesa okweyigiriza Ekigambo kya Katonda nga tulina endowooza entuufu. Twagala omutima gwaffe gukkirize byonna Yakuwa by’atuyigiriza. Buli lw’oba ogenda okutandika okweyigiriza, saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu. (Luk. 11:13) Musabe akuyambe okutegeera amakulu g’ebyo by’ogenda okweyigiriza, engeri gye bikwataganamu n’ekigendererwa kye, engeri gye biyinza okukuyamba okwawulawo ekirungi n’ekibi, engeri gy’oyinza okugobereramu emisingi gye mu bulamu bwo, era n’engeri by’oyiga gye bikwata ku nkolagana yo naye. (Nge. 9:10) Nga weeyigiriza, ‘saba Katonda’ akuwe amagezi. (Yak. 1:5) Weekebere mu bwesimbu okusinziira ku ebyo by’oyiga era saba Yakuwa akuyambe osobole okweggyamu ebirowoozo n’okwegomba okubi. ‘Weebazenga Yakuwa’ olw’ebyo by’akuyigiriza. (Zab. 147:7) Okusooka okusaba ng’ogenda okweyigiriza kikuyamba okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa okuva bwe kikusobozesa okugoberera by’ayogera okuyitira mu Kigambo kye.—Zab. 145:18.
Okusiima ng’okwo kwawulawo abantu ba Yakuwa ku bayizi abalala. Abantu abatatya Katonda batera okubuusabuusa n’okuwakanya ebiri mu Byawandiikibwa. Naye ffe tetulina ndowooza ng’eyo. Twesiga Yakuwa. (Nge. 3:5-7) Bwe tuba tulina kye tutategedde, tetugamba nti kikyamu. Nga tunoonyereza eby’okuddamu, tulindirira Yakuwa okutuwa obulagirizi. (Mi. 7:7) Okufaananako Ezera, tuba n’ekiruubirirwa eky’okukolera ku bye tuyiga era n’okubiyigiriza abalala. Bwe tuba n’endowooza eno, tuba tujja kuganyulwa nnyo mu kuyiga kwaffe.
Engeri y’Okweyigirizaamu
Mu kifo ky’okutandika n’akatundu 1 okutuuka ku nkomerero, sooka oyiteeyite mu kitundu kyonna oba mu ssuula yonna. Weekenneenye omutwe. Gwe gulaga ebintu ebikulu by’ogenda okwekenneenya. Ate, weetegereze engeri emitwe emitono gye gikwataganamu n’omutwe omukulu. Weetegereze ebifaananyi, ebipande, oba obusanduuko obulimu. Weebuuze: ‘Okusinziira ku bye ndabye nga mpitaayitamu, biki bye nsuubira okuyiga? Binaŋŋanyula bitya?’ Ekyo kikuleetera okuba n’ekigendererwa nga weeyigiriza.
Waayo ebiseera okufumiitiriza
Tandika okunoonya ensonga enkulu. Ebitundu ebimu mu Omunaala gw’Omukuumi n’ebitabo ebimu bibaamu ebibuuzo. Ng’osoma ebitundu ebyo, kya muganyulo okusaza awali eby’okuddamu. Ne bwe mutabaamu bibuuzo, oyinza okusaza ku nsonga enkulu z’oyagala okujjukira. Ekirowoozo bwe kiba ekippya gy’oli, kimaleko ebiseera osobole okukitegeera obulungi. Weetegereze ebyokulabirako oba ennyinnyonnyola eneekuyamba mu buweereza obw’omu nnimiro oba by’oyinza okuteeka mu mboozi gy’onoowa. Lowooza ku bantu abayinza okunywezebwa mu kukkiriza singa obabuulira ku by’oyiga. Lamba ensonga z’oyagala okukozesa, era zejjukanye ng’omaze okweyigiriza.
Nga weeyigiriza, kebera ebyawandiikibwa ebiweereddwa. Laba engeri buli kyawandiikibwa gye kikwataganamu n’ebirowoozo ebikulu ebiri mu kitundu.
Oyinza okusanga ensonga z’otategeererawo oba ezo ze wandyagadde okunoonyerezaako. Mu kifo ky’okuzimalirako ebiseera, zirambe osobole okuzeekenneenye oluvannyuma. Ensonga ezo zigenda zinnyonnyoka bwe weeyongera okusoma ebirala ebiri mu kitundu. Singa oba tozinnyonnyose, oyinza okukola okunoonyereza okulala. Bintu ki by’oyinza okunoonyerezaako? Oboolyawo waliwo ekyawandiikibwa ekijuliziddwa ky’otategeera bulungi. Oba oyinza obutalaba mangu engeri gye kikwataganamu n’ekiba kyogerwako. Oboolyawo owulira nti ky’osomye okitegedde kyokka nga tosobola kukinnyonnyola muntu mulala. Mu kifo ky’okukibuusa amaaso, kiba kya magezi okukinoonyerezaako oluvannyuma lw’okweyigiriza.
Yiga okukozesa ebintu oba ebitabo ebyeyambisibwa mu kunoonyereza ebiri mu lulimi lwo
Omutume Pawulo bwe yawandiikira Abakristaayo Abebbulaniya ebbaluwa, mu makkati gaayo yabagamba nti: “Eno ye nsonga enkulu.” (Beb. 8:1, NW) Wejjukanya ensonga enkulu enfunda n’enfunda? Weetegereze ensonga lwaki Pawulo yakola bw’atyo. Mu ssuula ezaasooka mu bbaluwa ye eyo eyaluŋŋamizibwa, yali akiraze nti Kabona wa Katonda Omukulu, Kristo, yali ayingidde mu ggulu. (Beb. 4:14–5:10; 6:20) Kyokka, mu kuggumiza ensonga eyo enkulu ku ntandikwa y’essuula 8, Pawulo yateekateeka ebirowoozo by’abasomi be okulowooza ennyo ku ngeri gy’ekwataganamu n’obulamu bwabwe. Yagamba nti Kristo yali alabise mu maaso ga Katonda ku lwabwe era n’abaggulirawo ekkubo okuyingira mu ‘kifo ekitukuvu’ ekiri mu ggulu. (Beb. 9:24; 10:19-22) Eky’okuba nti essuubi lyabwe lyali kkakafu kyandibayambye okugoberera okubuulirira okulala okwali mu bbaluwa eno okukwata ku kukkiriza, obugumiikiriza, n’enneeyisa y’Ekikristaayo. Mu ngeri y’emu, okweyigiriza nga tussa essira ku nsonga enkulu, kijja kutuyamba okutegeera engeri omutwe omukulu gye gukulaakulanyizibwamu era n’engeri gye gukwata ku bulamu bwaffe.
Okweyigiriza kunaakuleetera okubaako ky’okolawo? Kino kibuuzo kikulu nnyo. Bw’oyiga ekintu, weebuuze: ‘Ekintu kino kyandikutte kitya ku ndowooza yange n’ebiruubirirwa byange? Nnyinza ntya okukozesa bye njiga okugonjoola ekizibu, okusalawo obulungi oba okutuuka ku kiruubirirwa kyange? Nnyinza ntya okubikozesa mu maka gange, mu buweereza bw’ennimiro, mu kibiina?’ Saba Katonda era ofumiitirize ku bibuuzo ebyo, ng’olowooza ku mbeera mw’oyinza okukozesa by’oyiga.
Bw’omaliriza essuula oba ekitundu, wejjukanye by’oyize. Laba obanga okyasobola okujjukira ensonga enkulu n’ebyawandiikibwa ebiziwagira. Kino kijja kukusobozesa okujjukira by’oyize osobole okubikozesa mu biseera eby’omu maaso.
Eby’Okweyigiriza
Ng’abantu ba Yakuwa, tulina bingi eby’okweyigiriza. Naye twanditandise na ki? Kiba kirungi singa buli lunaku tusoma ekyawandiikibwa eky’olunaku n’ebigambo ebikyogerako okuva mu katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku. Buli wiiki tugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina, era okuzeeteekerateekera nga tweyigiriza kijja kutuyamba okuganyulwa mu ngeri esingawo. Okugatta ku ekyo, abamu bawaddeyo ebiseera okuyiga ebiri mu bitabo byaffe eby’Ekikristaayo ebyakubibwa nga tebannayiga mazima. Abamu balondayo ennyiriri ezimu okuva mu kusoma Baibuli okwa wiiki ne bazeekenneenya mu ngeri esingawo.
Kiba kitya singa embeera zo tezikusobozesa kusoma na bwegendereza byonna ebirina okusomebwa mu nkuŋŋaana z’ekibiina eza buli wiiki? Weewale okuyita obuyisi amangu mu by’okusoma oba n’ekisingawo n’obubi, obutabisomera ddala. Mu kifo ky’ekyo, manya obungi bw’ebyo by’oyinza okusoma era bitegeke bulungi. Kikole buli wiiki. Oluvannyuma lw’ekiseera, fuba okutegeka n’enkuŋŋaana endala.
‘Zimba Ennyumba Yo’
Yakuwa akimanyi nti emitwe gy’amaka bateekwa okukola ennyo okulabirira abaagalwa baabwe. Engero 24:27 lugamba: ‘Teekateekanga omulimu gwo ebweru, mu nnimiro.’ Kyokka, ebyetaago eby’omwoyo eby’ab’omu maka go tebirina kubuusibwa maaso. N’olwekyo, olunyiriri olwo lweyongera ne lugamba: “Oluvannyuma n’olyoka ozimba ennyumba yo.” Emitwe gy’amaka bayinza batya okukola kino? Engero 24:3 lugamba: ‘Okutegeera kwe kunyweza ennyumba.’
Okutegeera kuyinza kutya okuganyula ennyumba yo? Okutegeera bwe busobozi bw’okulaba ebitalabikirawo. Kiyinza okugambibwa nti okusoma kw’amaka okulungi kutandika na kwekenneenya ab’omu maka go. Ab’omu maka go bakulaakulana mu by’omwoyo? Wuliriza n’obwegendereza ng’onyumya nabo. Beemulugunya oba si basanyufu? Eby’obugagga babitwala nga bye bisinga obukulu? Bw’obeera mu nnimiro n’abaana bo, bawulira ensonyi okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa? Basiima enteekateeka y’okuyiga n’okusoma Baibuli? Bakulembeza Yakuwa by’ayagala mu bulamu bwabwe? Okubeekenneenya kijja kukuyamba ggwe ng’omutwe gw’amaka okumanya kye weetaaga okukola, osobole okubazimba mu by’omwoyo.
Kebera mu Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! osobole okufuna ebitundu ebikwata ku byetaago by’amaka go. Era tegeeza ab’omu maka go nga bukyali bye munaasomako basobole okubifumiitirizaako. Teekawo embeera ennungi nga musoma. Nga tonenya oba okuswaza omuntu yenna mu maka go, laga obukulu bw’ebyo ebiyigibwa, obikwataganye n’ebyetaago by’omu maka gammwe. Laba nti buli omu mu maka yenyigira mu kuyiga okwo. Yamba buli omu okulaba engeri Ekigambo kya Yakuwa gye kiri ‘ekituukirivu’ mu kutuwa bye twetaaga mu bulamu.—Zab. 19:7.
Okufuna Emiganyulo
Abantu abeetegereza ebiriwo kyokka nga tebategeera bya mwoyo, bayinza okuyiga ebikwata ku butonde bwonna, ebiriwo mu nsi, n’engeri gye baatondebwamu kyokka ne batategeera makulu gennyini ag’ebyo bye balaba. Ku luuyi olulala, nga bayambibwako omwoyo gwa Katonda, abantu abasoma Ekigambo kya Katonda obutayosa bayinza okutegeera nti ebintu ebyo byabaawo ku lwa Katonda, ne bategeera okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli, n’engeri ekigendererwa kya Katonda gye kituukirizibwamu okusobola okuganyula abantu abawulize.—Mak. 13:4-29; Bar. 1:20; Kub. 12:12.
Wadde ekyo kya kitalo, tekyandituleetedde kufuna malala. Wabula, okwekenneenya Ekigambo kya Katonda buli lunaku kijja kutuyamba okubeera abeetoowaze. (Ma. 17:18-20) Era kitukuuma okuva ku ‘bulimba bw’ekibi’ kubanga Ekigambo kya Katonda bwe kinywera mu mitima gyaffe, tekiba kyangu ekibi okutuwangula. (Beb. 2:1; 3:13; Bak. 3:5-10) N’olwekyo, tujja ‘kutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa tusobole okumusanyusa nga tubala ebibala mu buli mulimu omulungi.’ (Bak. 1:10) Ekyo, kye kigendererwa kyaffe mu kuyiga Ekigambo kya Katonda, era tuganyulwa mu ngeri esingirayo ddala bwe tukituukiriza.