Emitwe gy’Amaka—Mubeere n’Enkola Ennuŋŋamu ey’Eby’Omwoyo
1 Wadde nga Danyeri yamala emyaka mingi mu Babulooni ekyalimu okusinza ebifaananyi n’empisa ezitasaana, yamanyibwa ng’omuntu eyaweereza Yakuwa ‘awatali kuddirira.’ (Dan. 6:16, 20, NW) Yasobola atya okukuuma embeera ye ey’eby’omwoyo? Baibuli etulaga nti yalina enkola ennuŋŋamu gye yagobereranga mu nsonga ezikwata ku kusinza okw’amazima. Ng’ekyokulabirako, yasabanga emirundi esatu buli lunaku ng’ali waggulu mu nnyumba ye. (Dan. 6:10) Awatali kubuusabuusa, era yalina enkola ennuŋŋamu gye yagobereranga ne mu nsonga endala ez’eby’omwoyo, gamba ng’okusoma Amateeka. Bwe kityo nno, bwe yayolekagana n’ekigezo eky’amaanyi ennyo ekyateeka obulamu bwe mu kabi, Danyeri yanywerera ku Yakuwa, era n’awonyezebwa mu ngeri ey’ekyamagero.—Dan. 6:4-22.
2 Mu ngeri y’emu leero, naffe tuteekwa ‘okunyiikirira okusaba.’ (Bef. 6:18) Ensi gye tulimu eri mu ‘buyinza bw’omubi.’ (1 Yok. 5:19) Okuziyizibwa oba ebigezo biyinza okubalukawo ekiseera kyonna ne bigezesa okukkiriza kwaffe. Mu kibonyoobonyo ekinene, Googi ow’e Magoogi ajja kukola olulumba ssinziggu ku baweereza ba Katonda, kirabike nga awatali buddukiro bwonna. Abantu ba Katonda kijja kubeetaagisa okuteeka obwesige bwabwe bwonna mu Yakuwa.—Ez. 38:14-16.
3 “Ekimu ku ebyo ebijja okubayamba kwe kufuula okusoma Baibuli mu maka, okugyekenneenya, n’okugikubaganyaako ebirowoozo enkola yaabwe eya bulijjo.” Ebigambo ebyo byayogerwa mu nnyanjula y’omuzannyo gw’olukuŋŋaana olunene olwaliwo mu 1998 olwalina omutwe ogugamba nti “Amaka—Mufuule Okusoma Baibuli Buli Lunaku Ekkubo ly’Obulamu Bwammwe!” Ennyanjula era yagamba: “Amaka bwe gagoberera enteekateeka ng’eyo obutayosa, enkola eno ey’okweyambisa ennyo Baibuli erina kinene ky’eyinza okukola ku bali mu maka. Etusobozesa okufuna okumanya okusingawo. Enyweza okukkiriza kwaffe. Era etulaga ebyokulabirako eby’okugoberera eby’abasajja n’abakazi abeesigwa abaaliwo mu biseera ebyayita, ebiyinza okutukubiriza okunywerera ku mazima.” Nga twekenneenya enkola ennuŋŋamu ey’eby’omwoyo bw’erina okuba, emitwe gy’amaka bayinza okwetegerezaayo engeri emu oba bbiri mwe bayinza okulongoosaamu mu nteekateeka ey’eby’omwoyo eriwo mu maka gaabwe.
4 Weekenneenya Ekigambo kya Katonda Buli Lunaku: “Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga era nga ne Katonda by’ayagala bye bikolebwa ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu—abantu n’ebisolo ‘tebijja kuba na kabi.’ (Is. 11:9; Mat. 6:9, 10)” Ebigambo ebyo byali mu katabo Examining the Scriptures Daily—2001 nga byogera ku kyawandiikibwa eky’olunaku olwa Ssebutemba 11. Nga byazzaamu nnyo amaanyi abaabisoma! Ng’omutwe gw’amaka, ogifudde mpisa yo okwekenneenya ekyawandiikibwa ekya buli lunaku n’ebigambo ebikyogerako awamu n’ab’omu maka go? Kino kya muganyulo nnyo. Bwe muba temusobola kukyekenneenyeza wamu ku makya, oboolyawo musobola okukikola oluvannyuma. Taata omu yagamba: “Eky’ekiro kiba kiseera kirungi gye tuli okukubaganya ebirowoozo ku kyawandiikibwa ekya buli lunaku.”
5 Bwe muba nga mukubaganya ebirowoozo ku kyawandiikibwa ekya buli lunaku obutayosa ng’amaka, ekyo kirungi nnyo. Oboolyawo muyinza n’okuganyulwa ekisingawo nga musomayo n’ekitundu ekirala okuva mu Baibuli. Abamu balina enkola ey’okusoma essuula yonna omuggiddwa ekyawandiikibwa eky’olunaku. Abalala balina enkola ey’okusoma Baibuli nga bagiva kumu. Okusoma Baibuli buli lunaku kijja kuyamba ab’omu maka go okutya okunyiiza Yakuwa era kijja kwongera okubaagazisa okukola by’ayagala.—Ma. 17:18-20.
6 Enteekateeka y’omu maka gammwe ey’okusoma Baibuli n’okwekenneenya ekyawandiikibwa eky’olunaku, ejja kuba ya muganyulo n’okusingawo singa muwaayo obudakiika butono okukubaganya ebirowoozo ku muganyulo gw’ebyo bye muba musomyeko. Ekitabo Ministry School kiwa amagezi gano ku lupapula 60: “Muyinza . . . okulondayo ennyiriri ezimu mu kitundu kya Baibuli ekisomebwa mu wiiki eyo, muzikubaganyeeko ebirowoozo, n’oluvannyuma mwebuuze ebibuuzo nga bino: ‘Zirimu bulagirizi ki bwe tuyinza okweyambisa? Tuyinza kweyambisa tutya ennyiriri zino mu buweereza bwaffe? Zitubuulira ki ku Yakuwa n’engeri gy’akolamu ebintu, era ekyo kyongera kitya ku kusiima kwe tulina gy’ali?’” Okukubaganya ebirowoozo bwe mutyo ku by’omwoyo kujja kuyamba ab’omu maka go okweyongera ‘okutegeera Yakuwa ky’ayagala bwe kiri.’—Bef. 5:17.
7 Okuyiga kw’Amaka: Okukubiriza okuyiga kw’amaka buli wiiki obutayosa ngeri nnungi emitwe gy’amaka gye bayinza okulagamu abaana baabwe nti ebintu eby’eby’omwoyo bye birina okukulembezebwa. Omuvubuka omu ajjukira: “Oluusi Taata yakomangawo awaka ng’ayagala kwebaka bwebasi olw’obukoowu, naye era yakubirizanga okuyiga kw’amaka, era kino kyatuyamba okutegeera obukulu bw’okuyiga okwo.” Abaana nabo balina kye basobola okukola okuwagira enteekateeka eno. Amaka agamu agaalimu abaana mwenda, baazuukukanga ku ssaawa 11 ez’oku makya basobole okuyigira awamu ng’amaka kubanga tebaalina kiseera kirala kyonna kye baali bayinza kukikoleramu.
8 Okuyiga kw’amaka okusobola okubeera okw’omuganyulo, omutwe gw’amaka alina ‘okussaayo omwoyo ku kuyigiriza kwe.’ (1 Tim. 4:16) Ekitabo Ministry School kigamba bwe kiti ku lupapula 32: “Kiyinza okugambibwa nti okuyiga kw’amaka okulungi kutandikira ku kwekenneenya ebyetaago by’ab’omu maka go byennyini. Ab’omu maka go bakola batya mu by’omwoyo? . . . Bw’obeera mu buweereza bw’ennimiro n’abaana bo, kibakwasa ensonyi okweyogerako nti Bajulirwa ba Yakuwa nga basanze bannaabwe? Banyumirwa enteekateeka eriwo mu maka gammwe ey’okusoma n’okwekenneenya Baibuli? Ddala bakola ebyo Yakuwa by’ayagala mu bulamu bwabwe? Singa weetegereza bulungi ab’omu maka go, kijja kukusobozesa okumanya ky’osaanidde okukola okusobola okuyamba buli omu okukulaakulanya engeri ez’eby’omwoyo.”
9 Enkuŋŋaana z’Ekibiina: Okwetegekera enkuŋŋaana z’ekibiina era n’okuzibeeramu kyandibadde kitundu kikulu nnyo eky’enkola gye mugoberera buli wiiki. (Beb. 10:24, 25) Oluusi, enkuŋŋaana ezimu muyinza okuzitegekera awamu ng’amaka. Mu kifo ky’okulinda okutuuka ku ssaawa esembayo, musobola okukola entegeka ne muzeetegekera nga bukyali? Bwe muba n’enkola ennuŋŋamu, kijja kubayamba okuzeetegekera obulungi era n’okuzifunamu omuganyulo ogusingawo.—Nge. 21:5.
10 Enkola ennuŋŋamu ey’eby’omwoyo bw’eba ng’egobereddwa bulungi, kivaamu emiganyulo. Naye kitya singa embeera tezikusobozesa kwetegekera nkuŋŋaana zonna? Ekitabo Ministry School kigamba bwe kiti ku lupapula 31: “Toyisa buyisa maaso mu ebyo ebijja okusomebwa mu lukuŋŋaana oba obutabisomerako ddala. Mu kifo ky’ekyo, londawo ky’osobola okusoma era okisomere ddala bulungi. Kola bw’otyo buli wiiki. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, genda ng’oyongerako ku by’osoma osobole okugattako n’enkuŋŋaana endala.”
11 Ab’omu maka bwe batuuka nga bukyali mu nkuŋŋaana, baba beeteefuteefu mu birowoozo okusobola okutendereza Yakuwa n’okuganyulwa mu kuyigiriza okuva gy’ali. Amaka go galina enkola eno? Kino kyetaagisa entegeka ennungi era n’obuwagizi bwa buli omu mu maka. Singa okizuula nti ku nnaku z’enkuŋŋaana ab’omu maka go bapakuka bupakusi nga beeraliikirira obudde, mulina enkyukakyuka gye muyinza okukolawo? Waliwo ebintu bye muyinza okukolanga nga bukyali? Singa omu ku b’omu maka abeera n’eby’okukola bingi, abalala bayinza okumuyambako? Kiyinza okumalawo okupakukapakuka okwo singa buli omu yeeteekateeka mangu? Enkola ennungi etumbula emirembe mu maka era ne mu kibiina.—1 Kol. 14:33, 40.
12 Obuweereza bw’Ennimiro: Okubeera n’ebiseera ebikakafu bye mugenderako mu nnimiro kye kintu ekirala ekibeera mu nkola ennuŋŋamu ey’eby’omwoyo. Omuvubuka omu ayitibwa Jayson ajjukira: “Ewaffe, buli Lwamukaaga ku makya kyabanga kiseera kya kwenyingira mu buweereza bw’ennimiro. Kino kyaŋŋanyula nnyo kubanga gye nnakoma okwenyigira mu buweereza era gye nnakoma n’okulaba emiganyulo egibulimu era n’okubunyumirwa.” Bangi abakulidde mu maka g’Abajulirwa ba Yakuwa bagamba nti okubeera n’ekiseera ekikakafu eky’okwenyigira mu buweereza buli wiiki, kyabayamba okukulaakulana mu buweereza obw’Ekikristaayo.
13 Bwe muba n’enteekateeka ennuŋŋamu, ab’omu maka beeyongera okunyumirwa ennyo obuweereza bw’ennimiro awamu n’okufuna ebibala ebisingawo. Kino kiyinza kukolebwa kitya? Akatabo ka Watchtower aka Jjulaayi 1, 1999 kaagamba bwe kati ku lupapula 21: “Otera okuwaayo ekiseera mu kuyiga kwammwe ng’amaka okusobola okuyamba ab’omu nju bonna okwetegekera obuweereza bw’ennimiro obwa wiiki eyo? Okukola bwe mutyo kusobola okubeera okw’omuganyulo ennyo. (2 Timoseewo 2:15) Kiyinza okufuula obuweereza bwabwe obw’amakulu okusingawo era n’okuvaamu ebibala. Oluusi n’oluusi, muyinza okukozesa ekiseera ekyo kyonna kye muyigiramu bulijjo okwetegekera obuweereza bw’ennimiro. Obw’olumu, muyinza okuwaayo ekiseera kitono okwogera ku bitera okuba mu buweereza bw’ennimiro nga mwakamaliriza okuyiga kwammwe okw’amaka oba mu kiseera ekirala mu wiiki.” Amaka gammwe gakigezezzaako?
14 Mweyongere Okukulaakulana: Okusinziira ku byogeddwako waggulu, weetegerezza ebifo ab’omu maka go mwe bakola obulungi? Beebaze, era mweyongere bweyongezi mu maaso. Bw’oba olabye ebifo ebiwerako ebyetaaga okulongoosaamu, londako kimu oba bibiri mufube okukola ku ekyo. Ate bino bwe bimala okufuuka enkola yammwe eya bulijjo mu by’omwoyo, mukole ne ku kirala kimu oba bibiri. Beera n’endowooza entuufu. (Baf. 4:4, 5) Okuteerawo ab’omu maka go enkola ennuŋŋamu ey’eby’omwoyo kyetaagisa okufuba kwa maanyi, naye nga tekuba kwa bwereere, kubanga Yakuwa atukakasa nti: “Alongoosa obulungi ekkubo lye ndimulaga obulokozi bwa Katonda.”—Zab. 50:23.