Sigala ng’Otunula nga Yesu bwe Yakola
“Mutunule, musabe.”—MAT. 26:41.
WANDIZZEEMU OTYA?
Bwe kituuka ku kusaba, tuyinza tutya okulaga nti tutunula?
Tuyinza tutya okusigala nga tutunula nga tukola omulimu gwaffe ogw’okubuulira?
Tuyinza tutya okusigala nga tutunula nga tuli mu mbeera enzibu, era lwaki ekyo kikulu?
1, 2. (a) Bwe kituuka ku kusigala nga tutunula nga Yesu bwe yakola, bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza? (b) Abantu abatatuukiridde basobola okukoppa Yesu? Waayo ekyokulabirako.
OYINZA okwebuuza: ‘Naye ddala kisoboka omuntu okusigala ng’atunula nga Yesu bwe yakola?’ Oyinza okulowooza nti ekyo tekisoboka okuva bwe kiri nti Yesu ye yali atuukiridde. Ate era Yesu yali asobola okumanya ebintu ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Era oyinza n’okwebuuza: ‘Naye ddala Yesu yali yeetaaga okusigala ng’atunula?’ (Mat. 24:37-39; Beb. 4:15) Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bijja kutuyamba okulaba ensonga lwaki kikulu nnyo leero okusigala nga tutunula.
2 Ddala kisoboka omuntu atatuukiridde okukoppa omuntu atuukiridde? Yee kisoboka, kubanga n’omuyizi asobola okubaako ebintu by’ayigira ku musomesa omulungi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku muntu ayiga okulasa akasaale. Mu kusooka, aba tasobola kuteeba kintu ky’aba ayagala okukuba. Bwe kityo, kiba kimwetaagisa okwongera okutendekebwa n’okwegezaamu. Okusobola okuyiga engeri y’okulasaamu obulungi akasaale, omuyizi aba yeetaaga okwetegereza engeri omusomesa we gy’akikolamu. Yeetegereza engeri omusomesa we gy’ayimiriramu, engeri gy’akwatamu akasaale, n’engeri gy’akwatamu omutego. Mpolampola omuyizi oyo ayiga engeri gy’alina okunaanulamu akaguwa k’omutego era amanya n’engeri empewo gy’esobola okuwugulamu akasaale k’aba alasizza. Bw’agenda yeeyongera okwegezaamu n’okukoppa omusomesa we, ekyo kimuyamba okwongera okuyiga engeri y’okuteebamu ekintu ky’aba ayagala okukuba. Mu ngeri y’emu, naffe bwe tweyongera okukolera ku bulagirizi bwa Yesu n’okukoppa ekyokulabirako kye, tweyongera okwoleka engeri z’Ekikristaayo.
3. (a) Yesu yalaga atya nti yali yeetaaga okusigala ng’atunula? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Ddala Yesu yali yeetaaga okusigala ng’atunula? Yee. Ng’ekyokulabirako, ekiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu yagamba abatume be abeesigwa nti: “Mutunule nange.” Era yabagamba nti: “Mutunule, musabe, muleme kugwa nga mukemeddwa.” (Mat. 26:38, 41) Ekiseera kyonna Yesu kye yamala ku nsi, yasigala ng’atunula. Naye bwe yali mu kiseera ekizibu ennyo ng’anaatera okuttibwa, kyali kimwetaagisa nnyo okusigala ng’atunula n’okubeera okumpi ne Kitaawe ow’omu ggulu. Era yali akimanyi nti abagoberezi be nabo baali beetaaga okusigala nga batunula, si mu kiseera ekyo mwokka naye era ne mu biseera eby’omu maaso. N’olwekyo, tugenda kulaba ensonga lwaki Yesu ayagala tusigale nga tutunula. Oluvannyuma tujja kulaba engeri ssatu gye tusobola okusigala nga tutunula nga Yesu bwe yakola.
ENSONGA LWAKI YESU AYAGALA TUSIGALE NGA TUTUNULA
4. Lwaki twetaaga okusigala nga tutunula?
4 Waliwo ensonga bbiri lwaki Yesu ayagala tusigale nga tutunula. Ensonga esooka eri nti tetumanyi bintu byonna binaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Yesu bwe yali ku nsi, yali tamanyi bintu byonna byali bigenda kubaawo mu biseera eby’omu maaso. Yagamba nti: “Eby’olunaku olwo n’ekiseera, tewali abimanyi, newakubadde bamalayika mu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka.” (Mat. 24:36) Mu kiseera ekyo, “Omwana” wa Katonda, Yesu, yali tamanyi ddi enkomerero lwe yandizze. Ate kiri kitya eri ffe leero? Tumanyi buli kimu ekikwata ku biseera eby’omu maaso? Nedda! Tetumanyi ddi Yakuwa lw’anaasindika Mwana we okuzikiriza ensi eno embi. Singa twali tumanyi ebintu byonna ebikwata ku biseera eby’omu maaso, kyandibadde tekitwetaagisa kusigala nga tutunula. Yesu yagamba nti enkomerero ejja kujjira mu kiseera mwe tutagisuubirira. N’olwekyo, twetaaga okusigala nga tutunula.—Soma Matayo 24:43.
5, 6. (a) Ebintu bye tumanyi ku Bwakabaka bwa Katonda bituyamba bitya okusigala nga tutunula? (b) Lwaki ebyo bye tumanyi ku Sitaani byanditukubirizza okwongera okuba abamalirivu okusigala nga tutunula?
5 Ensonga ey’okubiri lwaki Yesu ayagala tusigale nga tutunula eri nti waliwo ebintu bingi bye tumanyi ebikwata ku biseera eby’omu maaso. Yesu yali amanyi ebintu bingi ebikwata ku biseera eby’omu maaso abantu abasinga obungi abaaliwo mu kiseera kye bye baali batamanyi. Ebintu bye tumanyi bitono nnyo bw’obigeraageranya ku ebyo Yesu by’amanyi. Naye atuyigirizza ebintu bingi ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda n’ebyo bye bujja okukola mu biseera eby’omu maaso. Abantu bangi be tukola nabo, be tusoma nabo, n’abo be tusanga nga tubuulira tebamanyi bintu ebyo. Eyo ye nsonga endala lwaki twetaaga okusigala nga tutunula. Okufaananako Yesu, naffe twetaaga okukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Kino kiri kityo kubanga obulamu bw’abantu buli mu kabi.—1 Tim. 4:16.
6 Waliwo n’ekintu ekirala Yesu kye yali amanyi ekyamuyamba okusigala ng’atunula. Yali akimanyi nti Sitaani yali amaliridde okumukema, okumuyigganya, n’okumuleetera okusuula obugolokofu bwe. Buli kiseera, Sitaani yabanga anoonya “akakisa” okukema Yesu. (Luk. 4:13) Kyokka buli kiseera Yesu yabanga yeetegekedde okukemebwa n’okuyigganyizibwa. Naffe embeera gye tulimu efaananako eyo Yesu gye yalimu. Tukimanyi nti Sitaani atambulatambula “ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.” Eyo ye nsonga lwaki Ekigambo kya Katonda kitugamba nti: “Mubeere nga mutegeera bulungi, mubeere bulindaala.” (1 Peet. 5:8) Ekyo tuyinza kukikola tutya?
OKUSIGALA NGA TUTUNULA KU BIKWATA KU KUSABA
7, 8. Bwe kituuka ku kusaba, kiki Yesu kye yakubiriza abayigirizwa be okukola, era yateekawo atya ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eyo?
7 Bayibuli eraga nti bwe tuba ab’okusigala nga tuli bulindaala tusobole okukuuma enkolagana yaffe ne Yakuwa, twetaaga okunyiikirira okusaba. (Bak. 4:2; 1 Peet. 4:7) Bwe waali waakayita ekiseera kitono oluvannyuma lwa Yesu okugamba abayigirizwa be okusigala nga batunula, yabagamba nti: “Mutunule, musabe, muleme kugwa nga mukemeddwa.” (Mat. 26:41) Yesu yali alaga nti baalina kusaba mu kiseera ekyo mwokka? Nedda, baali beetaaga okusaba buli lunaku era nga naffe bwe twetaaga okusaba buli lunaku.
8 Yesu yateekawo ekyokulabirako ekirungi bwe kituuka ku kusaba. Lumu Yesu yamala ekiro kyonna ng’asaba. (Soma Lukka 6:12, 13.) Lowooza ku ekyo ekyaliwo. Yesu yali kumpi ne Kaperunawumu mu Ggaliraaya. Obudde bwe bwali buwungeera, Yesu yagenda ku lumu ku nsozi eziri okumpi n’Ennyanja y’e Ggaliraaya. Bwe yali ku lusozi waggulu, ayinza okuba nga yali alengera obutaala nga bwaka mu Kaperunawumu ne mu byalo ebiriraanyeewo. Naye Yesu bwe yatandika okusaba, teyakkiriza kintu kyonna kumuwugula. Yamala ekiseera kiwanvu nnyo ng’asaba. Mu kiseera ekyo yali tafaayo ku butaala obwali bugenda buzikira kamu ku kamu, ku mwezi ogwali gutambula ku ggulu, oba ku bisolo ebyali bitambulatambula nga binoonya eky’okulya. Yesu bwe yali asaba, essira ayinza okuba nga yasinga kuliteeka ku kintu ekikulu ennyo kye yali anaatera okukola. Yali agenda kulonda abatume be 12. Kuba akafaananyi nga Yesu abuulira Kitaawe ebikwata ku buli omu ku bayigirizwa be era ng’amusaba amuwe obulagirizi asobole okulonda obulungi abatume be.
9. Eky’okuba nti Yesu yamala ekiro kyonna ng’asaba kituyigiriza ki?
9 Eky’okuba nti Yesu yamala ekiro kyonna ng’asaba kiraga nti tulina okumala essaawa nnyingi nga tusaba? Nedda. Bwe yali ayogera ku bagoberezi be, Yesu yagamba nti: “Omwoyo gwagala naye omubiri munafu.” (Mat. 26:41) Wadde kiri kityo, tusobola okukoppa Yesu. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba tetunnasalawo ku kintu kyonna ekikwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa, ku b’omu maka gaffe, oba ku bakkiriza bannaffe, tusaba Yakuwa atuwe obulagirizi? Tufuba okusabira bakkiriza bannaffe? Essaala zaffe ziviira ddala ku mutima? Yesu yafubanga okufuna ekiseera ekimala ng’ali yekka okwogera ne Kitaawe. Olw’okuba tulina eby’okukola bingi leero, kyangu okulagajjalira ebintu ebisinga obukulu mu bulamu. Singa tufuna ebiseera ebimala okwogera ne Yakuwa buli lunaku nga tuli ffekka, kijja kutuyamba okweyongera okuba obulindaala. (Mat. 6:6, 7) Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa era tujja kwewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okwonoona enkolagana eyo.—Zab. 25:14.
OKUSIGALA NGA TUTUNULA NGA TUKOLA OMULIMU GW’OKUBUULIRA
10. Kiki ekiraga nti Yesu yakozesanga buli kakisa ke yafunanga okuwa obujulirwa?
10 Yesu yali bulindaala ng’akola omulimu Yakuwa gwe yali amuwadde okukola. Waliwo emirimu omuntu gy’asobola okukola ng’eno bw’alowooza ku bintu ebirala naye ne watabaawo buzibu bwa maanyi. Naye emirimu egisinga obungi gyetaagisa omuntu okussaayo ennyo omwoyo ng’agikola. Omulimu gw’okubuulira gwe gumu ku gyo. Yesu yabeeranga bulindaala, ng’akozesa buli kakisa ke yafunanga okubuulira abalala amawulire amalungi. Ng’ekyokulabirako, Yesu awamu n’abayigirizwa be bwe baatuuka mu kibuga Sukali oluvannyuma lw’okumala ekiseera kiwanvu nga batambula, abayigirizwa be baamuleka ku luzzi ng’awummuddemu ne bagenda okugula emmere. Yesu yasigala ali bulindaala n’akozesa akakisa ke yafuna okuwa obujulirwa. Omukazi Omusamaliya yajja okusena amazzi. Yesu yali asobola okusalawo okwebakamu oba obutayogera na mukazi oyo. Kyokka yayogera naye, n’amubuulira amawulire amalungi agaayamba n’abantu abalala abaali babeera mu kibuga ekyo. (Yok. 4:4-26, 39-42) Naffe tusobola okukoppa Yesu nga tufuba okukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira abantu amawulire amalungi.
11, 12. (a) Kiki Yesu kye yagamba abo abaali baagala okumuwugula okuva ku mulimu gwe? (b) Kiki ekiraga nti Yesu teyagwa lubege ng’akola omulimu gwe?
11 Ebiseera ebimu, n’abantu abeesimbu baagezaako okuwugula Yesu okuva ku mulimu gwe. Ng’ekyokulabirako, bwe yali e Kaperunawumu, Yesu yawonya abantu bangi ekyo ne kireetera abantu baayo okumusaba asigale mu kibuga ekyo. Kye baali baagala tekyali kibi, naye Yesu yali alina okubuulira ‘endiga zonna ez’ennyumba ya Isiraeri ezaabula,’ so si abo bokka abaali mu kibuga ekyo. (Mat. 15:24) Yesu yagamba abantu abo nti: “Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala, kubanga nnatumibwa lwa nsonga eyo.” (Luk. 4:40-44) Kya lwatu nti okubuulira kye kintu ekyali kisinga obukulu mu bulamu bwa Yesu. Teyakkiriza kintu kyonna kumuwugula.
12 Wadde nga Yesu yalina eby’okukola bingi mu buweereza bwe, teyagwa lubege. Yafunangayo ekiseera okwesanyusaamu, okukola ebintu ebirala, n’okukola ku byetaago by’abalala. Yafunangayo ekiseera n’asanyukako ne mikwano gye. Yafangayo ku bantu era yabakwatirwanga ekisa. Yafangayo ne ku baana abato.—Soma Makko 10:13-16.
13. Okufaananako Yesu, tuyinza tutya okusigala nga tutunula era nga tetugudde lubege nga tukola omulimu gwaffe ogw’okubuulira?
13 Tuyinza tutya okusigala nga tutunula era nga tetugudde lubege nga tukola omulimu gwaffe ogw’okubuulira, nga Yesu bwe yakola? Tetusaanidde kukkiriza nsi eno kutuwugula kuva ku mulimu gwaffe. Mikwano gyaffe oba ab’eŋŋanda zaffe bayinza okwagala tukendeeze ku biseera bye tumala nga tubuulira oba bayinza okutukubiriza okuba n’obulamu bwe bayita obwa bulijjo. Naye bwe tukoppa ekyokulabirako kya Yesu, obuweereza bwaffe tujja kubutwala ng’emmere yaffe. (Yok. 4:34) Omulimu gwaffe ogw’okubuulira gutuyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa era gutuleetera essanyu. Wadde kiri kityo, tetusaanidde kugwa lubege nga twetwala okuba abatuukirivu ekisukkiridde. Tusaanidde okufunangayo ebiseera okukola ebintu ebirala ebituleetera essanyu. Okufaananako Yesu, naffe tusaanidde okwewala okugwa olubege nga tuweereza “Katonda omusanyufu.”—1 Tim. 1:11.
OKUSIGALA NGA TUTUNULA NGA TULI MU MBEERA ENZIBU
14. Bwe tuba mu mbeera enzibu, kiki kye tulina okwewala, era lwaki?
14 Yesu bwe yali mu mbeera enzibu ennyo, yakubiriza abagoberezi be okusigala nga batunula. (Soma Makko 14:37.) Bwe tubeera mu mbeera enzibu, tuba twetaaga nnyo okukoppa ekyokulabirako kye. Bangi bwe baba mu mbeera enzibu, beerabira ebigambo bino ebikulu ennyo ebiri mu kitabo ky’Engero: “Waliwo ekkubo omuntu ly’ayita eddungi, naye enkomerero yaalyo makubo ga kufa.” (Nge. 14:12; 16:25) Bwe twesigama ku magezi gaffe, naddala nga tuli mu mbeera enzibu, ebivaamu biyinza obutaba birungi.
15. Kiki omutwe gw’amaka ayolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna ky’ayinza okwagala okukola?
15 Ng’ekyokulabirako, omutwe gw’amaka ayinza okukisanga nga kizibu okuyimirizaawo ab’omu maka ge. (1 Tim. 5:8) Ayinza n’okusalawo okukola omulimu ogutamusobozesa kubaawo mu nkuŋŋaana, kukubiriza kusinza kw’amaka ge, oba okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Singa atunuulira ebintu mu ndaba ey’obuntu, okukola omulimu ogwo ayinza obutakirabamu mutawaana gwonna. Naye ekyo kiyinza okumuleetera okufiirwa enkolagana ye ne Yakuwa. N’olwekyo, kikulu nnyo okukolera ku bigambo ebiri mu Engero 3:5, 6. Sulemaani yagamba nti: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.”
16. (a) Yesu yateekawo atya ekyokulabirako ekirungi bwe kituuka ku kwesigama ku magezi agava eri Yakuwa? (b) Emitwe gy’amaka bangi bakoppye batya ekyokulabirako kya Yesu nga bali mu mbeera enzibu?
16 Wadde nga Yesu ye musajja asingayo okuba ow’amagezi eyali abadde ku nsi, teyeesigama ku magezi ge. Ng’ekyokulabirako, Sitaani bwe yamukema, Yesu yamuddangamu ng’agamba nti: “Kyawandiikibwa nti.” (Mat. 4:4, 7, 10) Yesu yeesigama ku magezi agava eri Kitaawe okusobola okuziyiza ebikemo. Mu kukola atyo, Yesu yalaga nti yali mwetoowaze, ekintu Sitaani ky’atalina era ky’atayagalira ddala. Naffe tufuba okwesigama ku magezi agava eri Yakuwa? Emitwe gy’amaka abafuba okusigala nga batunula nga Yesu bwe yakola, bakkiriza okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda, naddala nga bali mu mbeera enzibu. Okwetooloola ensi yonna, waliwo emitwe gy’amaka bangi abataddewo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eyo. Bafuba okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe, mu kifo ky’okukulembeza ebyetaago eby’omubiri. Bwe kityo, balabirira ab’omu maka gaabwe mu ngeri esingayo obulungi. Era Yakuwa abayamba okusobola okulabirira ab’omu maka gaabwe mu by’omubiri, nga bwe yasuubiza.—Mat. 6:33.
17. Kiki ekikukubiriza okusigala ng’otunula nga Yesu bwe yakola?
17 Tewali kubuusabuusa nti Yesu yateekawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi bwe kituuka ku kusigala nga tutunula. Ekyokulabirako kye kya muganyulo nnyo gye tuli. Kisobola okutuyamba okuwonyaawo obulamu bwaffe awamu n’obw’abalala. Kijjukire nti Sitaani ayagala okunafuya okukkiriza kwo, olekere awo okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu, era olekere awo okuba omwesigwa eri Yakuwa. (1 Bas. 5:6) Tokkiriza Sitaani kukuwangula. Sigala ng’otunula nga Yesu bwe yakola. Nnyiikirira okusaba, buulira n’obunyiikivu, era weesige Yakuwa ne bw’oba ng’oli mu mbeera enzibu. Bw’onookola bw’otyo, ojja kufuna essanyu era ojja kuba n’obulamu obw’amakulu era obumatiza nga bw’olindirira enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu. Bw’onoosigala ng’otunula, Yesu bw’alijja okuzikiriza ensi eno embi, ajja kukusanga ng’oli bulindaala era ng’oweereza Katonda n’obunyiikivu. Bw’onoosigala ng’oli mwesigwa, Yakuwa ajja kukuwa emikisa mingi!—Kub. 16:15.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Yesu yabuulira omukazi eyali azze ku luzzi okusena amazzi. Naawe ofuba okukozesa buli kakisa k’ofuna okubuulira?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Bw’olabirira ab’omu maka go mu by’omwoyo kiba kiraga nti oli bulindaala