Ebirimu
Febwali 15, 2012
© 2012 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. All rights reserved.
Ogw’Okusoma Mu Kibiina
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
APULI 2-8, 2012
Sigala ng’Otunula nga Yesu Bwe Yakola
OLUPAPULA 3 • ENNYIMBA: 108, 74
APULI 9-15, 2012
“Beera Muvumu era Beera wa Maanyi”
OLUPAPULA 10 • ENNYIMBA: 101, 92
APULI 16-22, 2012
Kuuma Omwoyo gw’Ekibiina Omulungi
OLUPAPULA 18 • ENNYIMBA: 20, 75
APULI 23-29, 2012
Kisoboka Okufuna Essanyu mu Maka Agatali Bumu mu Kukkiriza
OLUPAPULA 26 • ENNYIMBA: 76, 56
EKIGENDERERWA KY’EBITUNDU EBY’OKUSOMA
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1 OLUPAPULA 3-7
Lwaki Yesu yakubiriza abagoberezi be okusigala nga batunula? Ekitundu kino kiraga engeri ssatu Yesu gye yasigala ng’atunula ng’ali ku nsi, era kiraga n’engeri gye tuyinza okumukoppa.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 2 OLUPAPULA 10-14
Lwaki Abakristaayo beetaaga okuba abavumu? Ebyokulabirako by’abaweereza ba Yakuwa abaayoleka obuvumu mu biseera by’edda bituganyula bitya? Ekitundu kino kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 3 OLUPAPULA 18-22
Buli omu ku ffe alina omwoyo gw’ayoleka. Ekitundu kino kiraga engeri gye tuyinza okukuuma omwoyo gw’ekibiina omulungi.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 4 OLUPAPULA 26-30
Abakristaayo abali mu maka agatali bumu mu kukkiriza bafuna ebizibu ebitali bimu. Ekitundu kino kiraga engeri Abakristaayo gye basobola okulaba nti amaka gaabwe gabaamu emirembe n’engeri gye bayinza okuyamba ab’omu maka gaabwe abatali bakkiriza okukkiriza amazima.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
8 Baabuulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu!
15 Obuggya—Ekintu Ekiyinza Okwonoona Ebirowoozo Byaffe
23 Nasani—Yawagira Okusinza okw’Amazima
KU DDIBA: Ab’oluganda nga babuulira ku sitenseni y’eggaali y’omukka mu kibuga New Delhi ekya Buyindi. Eggaali z’omukka ezisukka mu 300 ze zikozesa sitenseni eyo. Ab’oluganda babuulira abantu abava mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.
BUYINDI
OMUWENDO GW’ABANTU
1,224,614,000
ABABUULIZI
33,182
OKWEYONGERAYONGERA
Ebitundu 5 ku buli kikumi