LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 2/15 lup. 15-17
  • Obuggya Ekintu Ekiyinza Okwonoona Ebirowoozo Byaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obuggya Ekintu Ekiyinza Okwonoona Ebirowoozo Byaffe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EKINTU EKIYINZA OKULEETERA OBUGGYA OKWEYONGERA
  • EBYOKULABIRAKO EBIRI MU BAYIBULI
  • EBINAATUYAMBA
  • KITWETAAGISA OKUFUBA ENNYO
  • Noonya Emirembe nga Weewala Obuggya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Weewale Okuvuganya—Leetawo Emirembe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 2/15 lup. 15-17

Obuggya Ekintu Ekiyinza Okwonoona Ebirowoozo Byaffe

Napoleon Bonaparte yabulina. Kayisaali Julius yabulina. Alexander Omukulu naye yabulina. Wadde ng’abasajja abo bonna baalina obuyinza bungi era nga batutumufu nnyo, baalina ekintu ekisobola okwonoona ebirowoozo by’omuntu. Abasajja abo bonsatule buli omu yalina omuntu gwe yali akwatirwa obuggya.

Omuwandiisi w’ebitabo Omungereza ayitibwa Bertrand Russell yagamba nti, “Napoleon yakwatirwa Kayisaali obuggya, Kayisaali yakwatirwa Alexander [Omukulu] obuggya, ne Alexander yakwatirwa Hercules obuggya. Naye ekyewuunyisa kiri nti Hercules teyali nayo.” Omuntu yenna asobola okukwatibwa obuggya k’abe ng’alina ssente nnyingi, ng’alina ebitone bingi, oba ng’alina ebintu bingi by’atuuseeko mu bulamu.

Okusinziira ku kitabo ekimu ekinnyonnyola ebigambo bya Bayibuli, omuntu ow’obuggya aba ayagala okuba ng’omuntu omulala, awulira bubi ng’omuntu omulala alina ebintu ye by’atalina, era ayinza n’okwagala okweddiza ebintu ebyo.

N’olwekyo, twetaaga okumanya ebintu ebiyinza okutuleetera okukwatirwa abalala obuggya n’ebyo ebiyinza okuvaamu. Era twetaaga okumanya ekyo kye tuyinza okukola okusobola okwewala okukwatirwa abalala obuggya.

EKINTU EKIYINZA OKULEETERA OBUGGYA OKWEYONGERA

Wadde ng’abantu bonna abatatuukiridde baba ‘n’obuggya,’ waliwo ebintu ebiyinza okutuleetera okwongera okuba n’obuggya. (Yak. 4:5) Omutume Pawulo yayogera ku kimu ku bintu ebyo ng’agamba nti: “Ka tulemenga okwetwala nti tuli ba kitalo, nga tuleetawo okuvuganya, era nga tukwatirwagana obuggya.” (Bag. 5:26) Omwoyo gw’okuvuganya gusobola okutuleetera okwongera okuba n’obuggya. Ekyokulabirako kya Cristina n’ekya Joséa biraga bulungi obutuufu bw’ensonga eyo.

Mwannyinaffe Cristina, aweereza nga payoniya owa bulijjo, yagamba nti: “Ntera okwesanga nga nkwatiddwa abalala obuggya. Oluusi nneegeraageranya ku balala.” Lumu, Cristina yali ku kijjulo wamu n’omulabirizi atambula ne mukyala we. Cristina bwe yakitegeera nti ye n’omwami we Eric baali mu myaka gye gimu n’omulabirizi atambula awamu ne mukyala we era ng’emabegako baalina enkizo ze zimu, Cristina yagamba nti: “Omwami wange naye aweereza ng’omukadde! Naye lwaki mmwe kati mukyalira ebibiina ate nga ffe tetulina bwe tuli?” Omwoyo gw’okuvuganya gwamuleetera okukwatibwa obuggya ne yeerabira emirimu emirungi ye n’omwami we gye baali bakola era ekyo ne kimuleetera okuggwebwako essanyu lye.

José yali ayagala okuweereza ng’omuweereza mu kibiina. Bwe yalaba ng’abalala balondebwa ate nga ye talondebwa, yakwatirwa ab’oluganda abo obuggya era n’anyiigira n’ow’oluganda akwanaganya akakiiko k’abakadde. José yagamba nti, “Obuggya bwandeetera okukyawa ow’oluganda oyo n’okulowooza nti yali talina kalungi konna k’anjagaliza.” Era yagamba nti, “Bw’okwatibwa obuggya, otandika okwerowoozaako wekka era olekera awo okuba n’endowooza ennuŋŋamu.”

EBYOKULABIRAKO EBIRI MU BAYIBULI

Bayibuli erimu ebyokulabirako bingi ebisobola okutuyamba okwewala obuggya. (1 Kol. 10:11) Ebimu ku byo biraga engeri obuggya gye butandikamu n’engeri gye bukulamu. Era biraga nti obuggya busobola okwonoona ebirowoozo byaffe.

Ng’ekyokulabirako, mutabani wa Adamu ne Kaawa omubereberye, Kayini, yakwatibwa obuggya olw’okuba Yakuwa yakkiriza ssaddaaka ya Abbeeri n’agaana eyiye. Kayini yali asobola okusalawo okukola ekituufu, naye obuggya bwe yalina eri muganda we bwali bungi nnyo ne kiba nti yasalawo okumutta. (Lub. 4:4-8) Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli bw’eba eyogera ku Kayini, emwogerako ng’oyo “eyava eri omubi,” Sitaani.​—1 Yok. 3:12.

Baganda ba Yusufu ekkumi baamukwatirwa obuggya olw’okuba yalina enkolagana ey’okulusegere ne kitaabwe. Obuggya bwabwe bweyongera bwe yababuulira ku birooto bye yali aloose. Baali baagala na kumutta. N’ekyavaamu, baasalawo okumutunda ng’omuddu era ne balimbalimba kitaabwe nti Yusufu yali aliiriddwa ensolo. (Lub. 37:4-11, 23-28, 31-33) Nga wayise emyaka mingi, baganda be bakkiriza ensobi yaabwe era ne bagamba nti: “Mazima tuliko omusango olwa muganda waffe, kubanga twalaba emmeeme ye bwe yanakuwala, bwe yatwegayirira, naffe ne tugaana okuwulira.”​—Lub. 42:21; 50:15-19.

Koola, Dasani, ne Abiraamu baakwatibwa obuggya bwe baageraageranya enkizo ze baalina ku ezo Musa ne Alooni ze baalina. Baanenya Musa nga bagamba nti yali ‘yeefudde mulangira’ era nti yali yeegulumizza okusinga abalala. (Kubal. 16:13) Naye ekyo tekyali kituufu. (Kubal. 11:14, 15) Yakuwa kennyini ye yali alonze Musa. Naye abasajja abo abajeemu baakwatirwa Musa obuggya olw’enkizo ze yalina. N’ekyavaamu, Yakuwa yabazikiriza.​—Zab. 106:16, 17.

Kabaka Sulemaani yeerabirako n’agage ebintu ebibi obuggya bye buyinza okuleetera omuntu okukola. Omukazi omu eyali afiiriddwa omwana we yagezaako okuleetera omukazi omulala okulowooza nti owuwe ye yali afudde. Bwe bajja ewa Sulemaani abayambe okugonjoola ekizibu kyabwe, omukazi omulimba yatuuka n’okukkiriza nti omwana eyali akyali omulamu attibwe. Kyokka, Sulemaani yakakasa nti omwana oyo omulamu addizibwa nnyina omutuufu.​—1 Bassek. 3:16-27.

Obuggya busobola okuleetera abantu okukola ebintu ebibi ennyo. Ng’ebyokulabirako bye tulabye bwe biraga, obuggya busobola okuleetera abantu okukyawa abalala, okweyisa mu ngeri etali ya bwenkanya, oba okutta abalala. Ate era mu byokulabirako ebyo bye tulabye, omuntu gwe baakwatirwanga obuggya yabanga talina kibi kyonna ky’akoze. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okwewala okukwatirwa abalala obuggya?

EBINAATUYAMBA

Yagala nnyo baganda bo. Omutume Peetero yagamba Bakristaayo banne nti: “Kaakano nga bwe mumaze okutukuza obulamu bwammwe nga mugondera amazima era ng’ekyo kibaviiriddeko okuba n’okwagalana okw’ab’oluganda okutaliimu bukuusa, kale mwagalane nnyo okuviira ddala ku mutima.” (1 Peet. 1:22) Okwagala kye ki? Omutume Pawulo yagamba nti: “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekukwatibwa buggya, tekwewaana, tekwegulumiza, tekweyisa mu ngeri etasaana, tekwenoonyeza byakwo.” (1 Kol. 13:4, 5) Singa tuba n’okwagala ng’okwo eri abalala, ekyo kijja kutuyamba okwewala okubakwatirwa obuggya. (1 Peet. 2:1) Mu kifo ky’okukwatirwa Dawudi obuggya, Yonasaani yamwagala nnyo “ng’emmeeme ye ye.”​—1 Sam. 18:1.

Kuŋŋaananga wamu n’abantu ba Katonda. Omuwandiisi wa Zabbuli 73 yakwatirwa abantu ababi obuggya olw’okuba baali balabika ng’abalina obulamu obulungi era ng’abatalina bizibu. Kyokka, oluvannyuma lw’okugenda “mu watukuvu wa Katonda,” yalekera awo okubakwatirwa obuggya. (Zab. 73:3-5, 17) Okukuŋŋaana n’abantu ba Katonda kyamuyamba okulaba emikisa gye yalina ‘olw’okusemberera Katonda.’ (Zab. 73:28) Okukuŋŋaana awamu ne bakkiriza bannaffe obutayosa, naffe kijja kutuyamba okwewala okukwatirwa abalala obuggya.

Fuba okukola ebintu ebirungi. Yakuwa bwe yalaba nga Kayini akwatiddwa muganda we obuggya, yamukubiriza okukola ebintu ebirungi. (Lub. 4:7) Omukristaayo ayinza atya okukola ebintu ebirungi? Yesu yagamba nti ‘tuteekwa okwagala Yakuwa Katonda waffe n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, n’amagezi gaffe gonna era tuteekwa okwagala muntu munnaffe nga bwe tweyagala ffekka.’ (Mat. 22:37-39) Bwe twemalira ku kuweereza Yakuwa era ne tufuba okuyamba abalala, tuba bamativu mu bulamu era kituyamba okwewala okukwatirwa abalala obuggya. Bwe tufuba okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa, tusanyusa Yakuwa era tuba tukolera bantu bannaffe ebintu ebirungi. Kino kituleetera okufuna emikisa gya Yakuwa.​—Nge. 10:22.

“Musanyuke n’abo abasanyuka.” (Bar. 12:15) Yesu yasanyuka abayigirizwa be bwe baafuna ebibala ebirungi mu mulimu gw’okubuulira era n’abagamba nti bandikoze n’ebintu ebisinga ku ebyo bye yakola mu mulimu gw’okubuulira. (Luk. 10:17, 21; Yok. 14:12) Abaweereza ba Yakuwa ffenna tuli bumu. Bwe kityo, omu ku baganda baffe bw’afuna ekintu ekirungi, tusanyukira wamu naye. (1 Kol. 12:25, 26) N’olwekyo, singa baganda baffe babaako enkizo yonna gye baba baweereddwa, tetusaanidde kubakwatirwa buggya.

KITWETAAGISA OKUFUBA ENNYO

Kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okwewala okukwatirwa abalala obuggya. Cristina yagamba nti: ‘Wadde ng’obuggya mbukyawa, ntera okwesanga ng’oluusi nkwatiddwa abalala obuggya. Obuggya kye kintu kye nnwanyisa buli lunaku.’ José naye yalina okufuba ennyo okusobola okwewala okukwatirwa abalala obuggya. Yagamba nti, “Yakuwa yannyamba okulaba engeri ennungi ow’oluganda akwanaganya akakiiko k’abakadde z’alina.” Era yagattako nti, “Okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kinnyambye nnyo okwewala okukwatirwa abalala obuggya.”

Obuggya kye kimu ku ‘bikolwa by’omubiri’ buli Mukristaayo by’asaanidde okwewala. (Bag. 5:19-21) Bwe twewala okukwatirwa abalala obuggya, tujja kuba basanyufu era tujja kusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa.

[Obugambo obuli wansi]

a Amannya gakyusiddwa.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 17]

“Musanyuke n’abo abasanyuka”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share