Lwaki Oyo Awulira Okusaba Aleseewo Okubonaabona?
ABANTU abamu basaba wadde ng’oluusi babuusabuusa nti Katonda gyali. Lwaki babuusabuusa? Oboolyawo lwa kuba balaba ensi erimu okubonaabona kungi. Wali weebuuzizzaako ensonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona?
Ddala Katonda yatonda abantu nga tebatuukiridde era nga ba kubonaabona? Nedda. Kyanditubeeredde kizibu nnyo okussa ekitiibwa mu Katonda ayagaliza abantu okubonaabona. Lowooza ku kino: Singa olengera emmotoka erabika obulungi ennyo naye ogenda okugisemberera ng’oludda olumu lwagooma, oyinza okugamba nti bwe batyo bwe baagikola? Nedda! Ogamba nti we baagikolera yali nnamu bulungi naye waliwo eyagyonoona.
Mu ngeri y’emu, bwe twetegereza ebitonde ebirabika obulungi n’engeri eyeewunyisa gye byatondebwamu, kyokka ne tulaba ng’ensi ejjudde emivuyo n’obulyi bw’enguzi tuyinza okugamba nti bw’atyo Katonda bwe yayagala ensi ebeere? Bayibuli eyigiriza nti Katonda yatonda abantu ababiri abasooka nga batuukiridde naye oluvannyuma bo bennyini ne beereetera okubonaabona. (Ekyamateeka 32:4, 5) Naye ekirungi kiri nti Katonda asuubizza okumalawo okubonaabona kwonna, n’okuyamba abantu abawulize okufuuka abatuukiridde. Lwaki aluddewo okutuukiriza ekisuubizo ekyo?
Lwaki Akuleseewo Okumala Ekiseera Kiwaanvu?
Tusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo singa tumanya agwanidde okufuga obutonde bwonna. Yakuwa yatonda abantu nga si ba kwefuga bokka. Ye yali ow’okubafuga. Bayibuli egamba nti: “Tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” (Yeremiya 10:23) Eky’ennaku, Adamu ne Kaawa baasalawo okujeemera obufuzi bwa Katonda, bwe kityo ne bafuuka aboonoonyi. (1 Yokaana 3:4) N’ekyavaamu, beereetera ebizibu era ne babireetera n’abaana baabwe.
Okumala enkumi n’enkumi z’emyaka, Yakuwa alese abantu okwefuga, naye ebyafaayo biraga nti abantu tebasobola kwefuga. Ate era biraga nti gavumenti z’abantu zonna zireetera abantu okubonaabona. Teri gavumenti n’emu yali emazeewo entalo, obumenyi bw’amateeka, obutali bwenkanya, n’endwadde.
Katonda Anaggyawo Atya Okubonaabona?
Bayibuli esuubiza nti Katonda anaatera okuleetawo ensi empya ey’obutuukirivu. (2 Peetero 3:13) Abo bokka abaagala Katonda ne bantu bannaabwe be bajja okubeera mu nsi eyo.—Ekyamateeka 30:15, 16, 19, 20.
Ate era Bayibuli egamba nti ku “lunaku olw’omusango” olunaatera okutuuka, Katonda ajja kuggyawo okubonaabona awamu n’abo abakuleeta. (2 Peetero 3:7) Oluvannyuma, Yesu Kristo, Omufuzi Katonda gw’alonze ajja kufuga abantu abawulize. (Danyeri 7:13, 14) Biki Yesu by’anaakolera abantu mu bufuzi bwe? Bayibuli egamba nti: “Abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.”—Zabbuli 37:11.
Yesu ajja kufugira mu ggulu, era ajja kuggyawo ebizibu byonna, gamba ng’endwadde, okukaddiwa, n’okufa, ebyajjawo olw’abantu okujeemera Yakuwa, “ensibuko y’obulamu.” (Zabbuli 36:9, Bayibuli y’Oluganda eya 2003) Yesu ajja kuwonya abo bonna abakkiriza obufuzi bwe. Mu bufuzi bwe, ebisuubizo bino wammanga ebiri mu Bayibuli bijja kutuukirizibwa:
◼ “N’oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde: abantu abatuula omwo balisonyiyibwa obutali butuukirivu bwabwe.”—Isaaya 33:24.
◼ “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era tewalibaawo kufa nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”—Okubikkulirwa 21:4.
Tekikubudaabuda okukimanya nti mu kiseera ekitali kya wala Katonda ajja kumalawo okubonaabona kwonna? Nga bwe tulindirira okutuukirizibwa kw’ekisuubizo ekyo, beera mukakafu nti awulira okusaba kwaffe wadde nga akyaleseewo okubonaabona.
Katonda gyali. Asobola okukuwulira ng’osaba n’ategeera obulumi n’ennyiike by’olimu. Ate era ayagala nnyo onyumirwe obulamu nga tolina kubuusabuusa kwonna era nga n’obulumi tebukyaliwo.