Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
LWAKI omusajja omulamuzi eyakulira mu maka amakatuliki yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa? Kiki ekyaleetera omusajja eyali omutujju okulekera awo ebikolwa eby’obukambwe n’afuuka omuweereza wa Katonda? Soma olabe bo bennyini kye bagamba.
“Nneeyongera okumanya engeri y’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.”—SEBASTIÃO ALVES JUNQUEIRA
NNAZAALIBWA: 1946
ENSI: BRAZIL
EBYAFAAYO: NNALI MUKATULIKI OMUKUUKUUTIVU
OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA: Nnazaalibwa mu Brazil mu kitundu ekyesudde mayiro nga 4 okuva mu kabuga akayitibwa Piquete. Bazadde bange baalina faamu entonotono, era ye yatuyimirizangawo mu by’enfuna. Olw’okuba essomero lye nnasomerangamu lyali mu kabuga Piquete, nnagula akagaali kinsobozese okwanguyirwa okutuuka ku ssomero. Abantu b’omu kitundu kyaffe baali baavu, naye akabuga kaali kayonjo era nga tekaliimu nnyo bumenyi bw’amateeka. Abasajja b’omu kabuga ako abasinga obungi baali bakola mu kampuni ekola eby’okulwanyisa.
Nnali njagala nnyo okusoma ebitabo. Nnagenda mu Ssomero Eritendeka Abavuzi b’Ennyonyi z’Abajaasi era mu 1966, nnamaliriza emisomo gyange ne ntikkirwa nga saajenti. Oluvannyuma nnagenda ne nsomerera eby’amateeka ne nfuna diguli. Nga wayiseewo ekiseera, nnasaba omulimu gw’obuduumizi bwa poliisi. Mu 1976, gavumenti yampa omulimu ogwo. Oluusi nnakolanga ng’omukulu w’ekkomera. Mu kiseera ekyo, Abajulirwa ba Yakuwa bajjanga ne bansaba olukusa okubuulira abasibe. Nange bambuuliranga obubaka obuli mu Bayibuli. Nnali njagala nnyo Katonda. Nnasanyuka nnyo okukimanya nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa, era nti tusobola okuba mikwano gye egy’oku lusegere.
Nneeyongera okukuguka mu by’amateeka. Mu 1981, gavumenti yannonda okuba omulamuzi. Oluvannyuma, mu 2005 nnalondebwa okuba omulamuzi wa kooti ejulirwamu eri mu kibuga São Paulo.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Bwe nnali nnaakava mu ssomero eriyigiriza eby’amateeka, nnatandika okuyiga Bayibuli era nga ekyo kyannyamba okukyusa endowooza yange. Nnali mukatuliki mukuukuutivu. Abamu ku b’eŋŋaanda zange baali basaserodooti, omulala yali bisopu era nnayambangako omusaserodooti mu Mmisa. Bwe yabanga tannatandika kuyigiriza, nze nnasomanga ekitabo ekirimu essaala. Teyabanga mpisa y’Abakatuliki okusoma Bayibuli mu maka gaabwe. Maama wange yanyiiga nnyo bwe yakitegeera nti nsoma Bayibuli. Yagezaako okunziyiza ng’agamba nti ejja kunsuula eddalu. Wadde kyali kityo, nneeyongera okugisoma kubanga nnali ndaba nga terina kabi konna.
Olw’okuba nnali njagala okumanya ebiri mu Bayibuli, nnasalawo okugisoma. Nnali njagala okumanya ebisingawo ebikwata ku basaseredooti n’emirimu gye bakola mu kkereziya. Nnatandika okusoma ebikwata ku kibiina ky’Abakatuliki ekikubiriza Abakatuliki bonna okukolera awamu okutereeza embeera z’abantu, naye bwe nneetegereza ensonga abo abawagira ekibiina ekyo ze bawa, nnalaba nga si ntuufu.
Mu kiseera ekyo, omusawo wange ow’amannyo, eyali asinza Budda, yampa akatabo Abajulirwa ba Yakuwa ke baamuwa. Kaalina omutwe ogugamba nti, Did Man Get Here by Evolution or by Creation?a Nnakkiriza akatabo ako nga ndowooza nti kajja kunnyumira nnyo bwe naakasomera awamu n’ekitabo ekiyitibwa, The Origin of Species, ekyawandiikibwa Charles Darwin. Ebyali mu katabo Did Man Get Here by Evolution or by Creation? byali bimatiza era nga bitegeerekeka bulungi. Kannyamba okutegeera nti enjigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa wabula byajja bifuukafuuka si ntuufu.
Okusoma akatabo akoogera ku kutondebwa kw’ebintu kyandeetera okwagala okumanya ebisingawo era nnayagala okufuna ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa ebirala. Bandagirira omwami omu eyali makanika era nga Mujulirwa wa Yakuwa. Nnamusaba ebitabo eby’okusoma n’abimpa, naye bwe yaŋŋamba okunjigiriza Bayibuli nnagaana ne mmugamba nti nja kugyesomera.
Bwe nnatandika okusoma Bayibuli, nnasalawo okugisomera awamu n’abomu maka gange, kubanga nnali mufumbo mu kiseera ekyo. Buli wiiki twasomeranga wamu Bayibuli ng’amaka. Olw’okuba twali Bakatuliki, essuubi lyaffe lyonna twali tulitadde mu basaserodooti ne babisopu. Naye bye nnasoma mu Yokaana 14:6 byanzibula amaaso. Wagamba: “Yesu n’amugamba [omuyigirizwa Tomasi] nti: ‘Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu. Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.’” Oluvannyuma lw’okunoonyereza ennyo ku nsonga eyo, nnakitegeera bulungi nti obulokozi buva eri Yakuwa okuyitira mu Yesu, so si mu basaserodooti nga bwe twali tulowooza.
Waliwo ebyawandiikibwa ebirala bibiri ebyandeetera okukyusa endowooza gye nnalina ku ddiini y’Ekikatuliki n’enjigiriza zaayo. Ekisooka, Engero 1:7 awagamba nti: “Mu kutya Mukama okumanya mwe kusookera. Naye abasirusiru banyooma amagezi n’okuyigirizibwanga.” Eky’okubiri, Yakobo 1:5 awagamba nti: “Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda, kubanga agabira bonna nga talina gw’alangira; era gajja kumuweebwa.” Wadde nga nnagendanga mu kkereziya, nnasigala nnina ennyonta ey’eby’omwoyo kubanga saafuna kumanya na magezi bye nnali nneetaaga, n’ekyavaamu nnalekera awo okugendayo.
Mu 1980, Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okuyigiriza mukyala wange Bayibuli. Buli lwe bansanganga awaka, nabeerangawo n’empuliriza bye baali bamuyigiriza. Oluvannyuma lw’ekiseera, nnakiriza okunjigiriza Bayibuli. Kyokka, twalwawo okusalawo okubatizibwa tufuuke Abajulirwa ba Yakuwa. Mukyala wange yabatizibwa mu 1994, ate nze ne mbatizibwa mu 1998.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Nnina abaana bana era bagannyuddwa nnyo kubanga mbayigirizza emitindo gya Yakuwa. (Abeefeso 6:4) Batabani bange bafuba nnyo okuyamba Abajulirwa ba Yakuwa abalala mu by’omwoyo mu kibiina gye bakuŋŋaanira. Bawala bange nabo banyiikivu nnyo mu kubuulira abalala ebikwata ku Katonda. Mukyala wange amala essaawa nnyingi buli mwezi ng’ayigiriza abantu Bayibuli, nange mpeereza ng’omukadde mu kibiina kye tukuŋŋaaniramu.
Bwe nnafuuka Omujulirwa wa Yakuwa, nneeyongera okumanya engeri y’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. Olw’okuba ndi mulamuzi, nfuba okukoppa Yakuwa nga nsala emisango. Nneekenneenya byonna ebizingirwamu, nfuba okuba omwenkanya era ow’ekisa.
Nkoze ku misango mingi egikwata ku kutulugunya abaana, ebikolwa eby’obukambwe, n’emisango emirala egy’amaanyi, naye ekyo tekindeetedde kubuusa maaso bintu ng’ebyo ebibi. Bwe mba ndaba amawulire, mpisibwa bubi nnyo olw’obwonoonefu bw’empisa n’ebikolwa eby’obukambwe ebyeyongedde. Nneebaza Yakuwa olw’okunnyamba okumanya ensonga lwaki obumenyi bw’amateeka bweyongedde, n’okumanya nti ebizibu byonna binaatera okuggwaawo.
“Okusibibwa mu kkomera tekyannyamba kukyusa mpisa zange.”—KEITH WOODS
NNAZAALIBWA: 1961
ENSI: NORTHERN IRELAND
EBYAFAAYO: NNALI MUTUJJU
OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA: Nnazaalibwa mu 1961 mu kabuga akayitibwa Portadown, mu Northern Ireland. Nnakuzibwa mu ddiini ey’Ekipolotesitanti era ng’ekitundu kye nnakuliramu mwalimu Abakatuliki n’Abapolotesitanti. Amaka agasinga obungi gaali maavu. Wadde kyali kityo abantu b’omu kitundu ekyo bakolagananga bulungi.
Mpulira bubi bwe ndowooza ku bulamu bwe nnalimu. Mu 1974, nneenyigira mu bukuubagano bw’eby’ediini n’eby’obufuzi obw’ali mu Northern Ireland. Mu kiseera ekyo, embeera yali mbi nnyo mu kitundu kyaffe. Ng’ekyokulabirako, lumu ekiro, taata eyali maneja wa kampuni eyitibwa Ulster Carpet Factory ekola kapeti, yali ku mulimu ng’atendeka abavubuka Abakatuliki babiri abaali basula mu nnyumba eyali etuliraanye. Mu kiro ekyo, waliwo eyakasuka bbomu mu nnyumba y’abavubuka abo n’etta bazadde baabwe, ne muganda waabwe.
Embeera yeeyongera okwonooneka, era ne wabalukawo olutalo olw’amaanyi. Abapolotesitanti baagobebwa mu bitundu Abakatuliki mwe baabeeranga, n’Abakatuliki abaabeeranga mu bitundu Abapolotesitanti mwe baali babeera baatulugunyizibwanga. Abapolotesitanti be baali basinga obungi mu kitundu kyaffe. Waayita ekiseera kitono ne bankwata ne bansalira ekibonerezo kya kusibibwa emyaka essatu lwa kutega bbomu.
Bwe nnali mu kkomera, nnafuuka mukwano gw’omu ku basibe eyalina ekifo eky’amaanyi mu kibiina ky’eby’obufuzi ekiwagira Northern Ireland okusigala ng’eri wamu ne Bungereza. Mu butuufu twali ba mukwano nnyo nga kumpi tuli nga ba luganda. Okusibibwa mu kkomera tekyanyamba kukyusa mpisa zange era naye tekyamuyamba. Bwe twava mu kkomera twaddamu buto okwenyigira mu by’obufuzi, naye ku luno twali ba mutawaana nnyo. N’ekyavaamu, mukwano gwange baamuzzaayo mu kkomera, era eyo gye baamutemulira.
Nange baatandika okunnoonya, era lumu emmotoka yange baagikuba bbomu. Naye ekyo kyandeetera buleetezi kwongera kuba mumalirivu okulwana olutalo olwo.”
Mu kiseera ekyo, waliwo firimu ekwata ku lutalo olwo gye baalaga ku Ttivi ey’omu Bungereza, era nze omu ku abo abaakozesebwa mu kugizannya. Firimu eyo nayo yandeetera ebizibu. Ng’ekyokulabirako, lumu naddayo eka ne nsanga nga mukyala wange anobye. Ate era oluvannyuma lw’ekiseera kitono, ekibiina ekikola ku nsonga z’amaka kyanzigyako omwana wange ne kimutwala we balabiririra abaana. Nzijukira nneetunuulira mu ndabirwamu ne ŋŋamba nti, “Katonda, bw’oba nga ddala gyoli, nnyamba.”
Olwomukaaga olwaddako, nnasisinkana mukwano gwange ayitibwa Paul; eyali afuuse Omujulirwa wa Yakuwa. Yatandika okumbuulira ebikwata ku Bayibuli. Oluvannyuma lw’ennaku bbiri, yampeereza magazini eyitibwa Watchtower. Magazini eyo yalimu ekitundu mwe baajuliza ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 18:36 awagamba nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, abantu bange bandirwanye ne siweebwayo eri Abayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” Ebigambo ebyo byankwatako nnyo, era okuva olwo nnatandika okukola enkyukakyuka mu bulamu bwange.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAMU OBULAMU BWANGE: Paul yatandika okunjigiriza Bayibuli. Oluvannyuma, Omujulirwa wa Yakuwa omulala ayitibwa Bill, yeeyongera okunjigiriza Bayibuli. Nnali muyizi muzibu kubanga nnalina ebibuuzo bingi nnyo! Ate era, nnayitanga ababuulizi b’eddiini endala balage Bill nti by’ayigiriza si bituufu. Naye nnakikakasa nti Bill bye yali anjigiriza byesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda.
Nzijukira lumu nnagamba Bill aleme kujja kunjigiriza Bayibuli olw’okuba abasirikale baali baaza abantu mu kitundu kyaffe era bandimuwambyeko emmotoka ye ne bagyokya. Wadde kyali kityo, Bill yajja okunjigiriza Bayibuli. Yaleka emmotoka awaka n’avuga akagaali. Abasirikale baali tebayinza kuwamba kagaali. Ku mulundi omulala Bill bwe yali aze awaka okunjigiriza Bayibuli, abasirikale ba poliisi n’ab’amagye baatusanga ne bankwata. Bwe baali bantwala Bill yaŋŋamba nneesige Yakuwa. Engeri Bill gye yafubangamu okujja okunjigiriza Bayibuli n’ebyo bye yaŋŋamba byankwatako nnyo.
Lwe nnasooka okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa ku Kizimbe ky’Obwakabaka, abamu ku bo bateekwa okuba nga bantya. Nnalina enviiri empanvu n’ak’oku matu, era nnali nnyambadde jaketi eyaliko akabonero k’ekibiina ky’eby’obufuzi kye nnali mpagira. Wadde nnali nfaanana bwe ntyo, Abajulirwa ba Yakuwa bampisa bulungi nnyo. Nnakwatibwako nnyo olw’engeri gye bandagamu ekisa.
Wadde nga nnali njiga Bayibuli, nnali nkyakolagana ne mikwano gyange emikadde. Naye oluvannyuma lw’ekiseera, nnatandika okukolera ku mazima ge nnali njiga, era nnakiraba nti okusobola okuweereza Yakuwa nnalina okuva mu by’obufuzi n’okuleka emikwano emibi gye nnalina. Ekyo tekyali kyangu. Naye bwe nneeyongera okuyiga Bayibuli, Yakuwa yannyamba ne nsobola okukola enkyukakyuka. Nnasalako enviiri, nnaggyako ak’oku matu, era ne ngula essuuti. Ate era okuyiga Bayibuli kyannyamba okukyusa endowooza embi gye nnalina ku bantu abalala.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Nnali mutujju, era abakuuma ddembe mu kitundu kyaffe baali bammanyi ng’omumenyi w’amateeka. Naye kati nnakyuka. Ng’ekyokulabirako, lwe nnasooka okugenda mu lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa olwali mu kabuga Navan ak’omu Ireland, abasirikale bamperekerako era oluvannyuma ne bankomyawo mu Northern Ireland. Naye kati abasirikale tebakyamperekerako nga ŋŋenda mu nkuŋŋaana. Ate era kati bwe mba mbuulira, abantu tebanneekengera.
Nnakola enkyukakyuka mu bulamu bwange, era ekyo kyannyamba okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Nnawasa Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Louise. Okugatta ku ekyo, banziriza omwana wange.
Bwe nzijukira bye nnayitamu, nnejjusa olw’okulumya abalala. Naye kati ndi mukakafu nti omuntu ne bw’aba nga yeeyisa nga bwe nnali nneeyisa, Bayibuli esobola okumuyamba okukyusa empisa ze n’aba n’ekigendererwa mu bulamu era n’afuna essuubi.
[Obugambo obuli wansi]
a Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa era nga kati tekakyakubibwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 12]
Maama wange yanyiiga nnyo bwe yakitegeera nti nsoma Bayibuli