Ebigambo ‘Ebyava mu Kamwa k’Abaana’ Ebizzaamu Amaanyi
Mu Ddesemba 2009, kkooti enkulu eya Russia yakkiriziganya n’ebyo kkooti endala mu Russia bye zaali zisazeewo. Kkooti ezo zaasalawo nti omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Taganrog, Russia, guwerebwe, nti Ekizimbe ky’Obwakabaka ekiri mu kitundu ekyo gavumenti ekitwale, era nti ebitabo byaffe 34 bisiga obukyayi mu bantu. Ebikwata ku musango ogwo awamu n’ebifaananyi by’ab’oluganda, omwali n’abaana abato, abaali bakoseddwa ebyo kkooti bye yali esazeewo, byateekebwa ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti.
Nga wayise emyezi mitono, ofiisi y’ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa mu Russia yafuna bbokisi n’ebbaluwa okuva eri amaka agamu ag’Abajulirwa ba Yakuwa ababeera mu Queensland, Australia, abaali basomye ku ebyo kkooti bye yali esazeewo. Ebbaluwa eyo yali egamba nti: “Ab’oluganda abaagalwa, abaana baffe, Cody ne Larissa, baakwatibwako nnyo bwe baasoma ku ngeri ab’oluganda mu Russia gye boolekamu okukkiriza wadde nga bayigganyizibwa. Bawandiise amabaluwa ne bukaadi, era waliwo n’ebirabo bye tuweereza abaana ababeera mu Taganrog, basobole okukimanya nti waliwo abaana abalala mu nsi endala, abaweereza Yakuwa n’obwesigwa ababalowoozaako ennyo. Babalamusizza nnyo era babaagala nnyo.”
Abaana ab’omu Taganrog bwe baafuna ebirabo ebyo, baawandiika amabaluwa nga beebaza baganda baabwe abo ab’omu Australia. Ow’oluganda omu aweereza ku ofiisi y’ettabi mu Russia yakwatibwako nnyo ebigambo ebizzaamu amaanyi ebyava mu ‘kamwa k’abaana abato.’ Yawandiikira Cody ne Larissa nti: “Kinakuwaza nnyo okulaba abantu, abato n’abakulu, nga babonyaabonyezebwa awatali musango. Ab’oluganda ab’omu Taganrog tebalina kikyamu kye bakoze, naye Ekizimbe kyabwe eky’Obwakabaka gavumenti yakitwala. Kino kyabanakuwaza nnyo. Bajja kusanyuka nnyo okukimanya nti waliwo bakkiriza bannaabwe okuva mu nsi endala ababalowoozaako. Mbeebaza nnyo olw’omwoyo omugabi gwe mwolese!”—Zab. 8:2.
Mazima ddala ffenna Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi tuli bumu, era olw’okuba ffenna twagalana, ekyo kituyamba okugumira ebizibu. Wadde ng’abantu abamu bagamba nti ebitabo byaffe bisiga obukyayi mu bantu, abaana baffe balaga nti bafaayo ku bannaabwe, awatali kusosola mu mawanga. Mu ngeri eyo bakolera ku bigambo bya Yesu bino: “Ku kino bonna kwe bajja okutegeerera nti muli bayigirizwa bange bwe munaayagalananga.”—Yok. 13:35.