YIGIRIZA ABAANA BO
Katonda Asobola Okunakuwala—Engeri Gye Tuyinza Okumusanyusaamu
Waliwo ekintu ekyali kikunakuwazizzaako n’otuuka n’okukaaba?—a Oboolyawo ffenna ekyo kyali kitutuuseeko. Omuntu ayinza okukuwaayiriza. Ekyo kinakuwaza nnyo, si bwe kiri?— Ne Katonda asobola okunakuwala bwe bamuwaayiriza. Ka tulabe engeri ekyo gye kiyinza okubaawo, era n’engeri gye tuyinza okusanyusaamu Katonda mu kifo ky’okumunakuwaza.
Bayibuli egamba nti abantu abamu abaali bagamba nti baagala Katonda ‘baamunakuwaza.’ Ka tulabe ensonga lwaki Yakuwa anakuwala bwe tutakola ebyo by’aba atugambye okukola.
Abantu ababiri Yakuwa be yasooka okutonda ku nsi baamunakuwaza nnyo. Abantu abo Katonda yabateeka mu lusuku lwe olwali luyitibwa ‘olusuku Adeni.’ Abantu abo ababiri be baani?— Ye Adamu ne Kaawa. Ka tulabe ekyo kye baakola ekyanakuwaza ennyo Yakuwa.
Yakuwa bwe yabateeka mu lusuku Adeni, yabagamba okululabirira. Ate era yabagamba nti bandizadde abaana ne babeera nabo mu lusuku olwo nga bonna tebafa. Naye Adamu ne Kaawa bwe baali tebannazaala baana, waabaawo ekintu ekibi ennyo. Omanyi ekyabaawo?— Malayika yaleetera Kaawa ne Adamu okujeemera Yakuwa. Ka twetegereze engeri ekyo gye kyabaawo.
Malayika oyo yaleetera omusota okulabika ng’ogwogera. Kaawa yasanyuka nnyo omusota bwe gwamugamba nti yandibadde “nga Katonda.” Bwe kityo yasalawo okukola ekyo omusota kye gwamugamba okukola. Omanyi kye gwamugamba okukola?—
Kaawa yalya ku kibala eky’omuti Yakuwa gwe yali agambye Adamu nti tebalina kugulyako. Nga Katonda tannatonda Kaawa, yagamba Adamu nti: “Buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’onooyagalanga: naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi togulyangako: kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.”
Kaawa yali amanyi bulungi etteeka eryo. Naye yeeyongera okutunuulira omuti ogwo, era bwe yalaba “ng’omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso, . . . n’anoga ku bibala byagwo n’alya.” Oluvannyuma yawaako Adamu ekibala ekyo “naye n’alya.” Olowooza lwaki Adamu yalya ku kibala ekyo?— Kubanga yali ayagala nnyo Kaawa okusinga Yakuwa. Adamu yasalawo okusanyusa Kaawa mu kifo ky’okusanyusa Katonda. Naye kikulu nnyo okugondera Yakuwa okusinga okugondera omuntu omulala yenna!
Ojjukira omusota ogwayogera ne Kaawa? Ng’omuntu bw’ayinza okukozesa ddole n’erabika ng’eyogera, waliwo eyakozesa omusota ne gulabika ng’ogwogera. Ddoboozi lyani eryali liva mu musota?— Lyali ddoboozi ‘ly’omusota ogw’edda oguyitibwa Omulyolyomi era Sitaani.’
Omanyi engeri gy’oyinza okusanyusaamu Yakuwa?— Ng’ofuba okumugondera. Sitaani agamba nti asobola okuleetera abantu bonna okukola by’ayagala. Eyo y’ensonga lwaki Yakuwa atugamba nti: “Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, ndyokenga nziremu oyo anvuma.” Sitaani avuma, oba asoomooza Yakuwa. Agamba nti asobola okulemesa buli muntu okuweereza Yakuwa. N’olwekyo sanyusa Yakuwa ng’omugondera era ng’omuweereza! Onoofuba okukola bw’otyo?—
Soma mu Bayibuli yo
a Bw’oba osoma n’omwana, siriikiriramu awali akasittale omuleke awe endowooza ye.