Okuguma ng’Ofiiriddwa Munno mu Bufumbo
BAYIBULI egamba nti omusajja asaanidde ‘okwagala mukazi we nga bwe yeeyagala, n’omukazi asaanidde okussaamu nnyo bbaawe ekitiibwa.’ Bombi balina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ‘ng’omubiri ogumu.’ (Bef. 5:33; Lub. 2:23, 24) Ebiseera bwe bigenda biyitawo enkolagana wakati w’omwami ne mukyala we yeeyongera okunywera era n’omukwano gwabwe gweyongera okunywera. Ekyo tuyinza okukigeraageranya ku mirandira gy’emiti ebiri egiriraanaganye. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, emirandira gyagyo gikula ne gisibagana, emiti egyo ne gyeyongera okunywera.
Watya singa omwami oba omukyala afa? Enkolagana ey’amaanyi eyo eba wakati w’omwami n’omukyala eba evuddewo. Ssemwandu oba nnamwandu asigala n’obulumi obw’amaanyi, awulira ekiwuubaalo, era ayinza okuwulira nti avunaanyizibwa olw’okufa kwa munne. Mu myaka 58 Daniella gye yamala mu bufumbo, yalaba abantu bangi abaali bafiiriddwako abaagalwa baabwe.a Naye omwami we bwe yafa, Daniella yagamba nti: “Nnali sitegeera bulungi bulumi muntu bw’ayitamu ng’afiiriddwa omwagalwa we, era si kyangu kutegeera bulumi obwo okuggyako ng’ekyo kimaze okukutuukako.”
OBULUMI OBW’AMAANYI
Okunoonyereza kulaga nti tewali bulumi businga obwo omuntu bw’afuna ng’afiiriddwako omwagalwa we. Bangi ku abo abafiiriddwako abaagalwa baabwe bakkiriziganya n’ebigambo ebyo. Kati wayise emyaka mingi bukya Millie afiirwa omwami we gwe yali amaze naye emyaka 25 mu bufumbo. Millie agamba nti: “Mpulira ng’eyalemala.”
Susan yalowoozanga nti abo abamala emyaka emingi nga bakungubaga olw’okufiirwa bannaabwe mu bufumbo bakungubaga ekisukkiridde. Eky’ennaku, omwami we gwe yali amaze naye emyaka 38 mu bufumbo yafa. Kati wayiseewo emyaka egisukka mu 20 bukya mwami we afa naye agamba nti: “Mulowoozaako buli lunaku.” Buli lw’alowooza ku mwami we, Susan atera okukaaba.
Bayibuli eraga nti obulumi obubaawo ng’omuntu afiiriddwa omwagalwa we buba bwa maanyi nnyo era bulwawo okugenda. Saala bwe yafa, omwami we Ibulayimu yamukungubagira. (Lub. 23:1, 2) Wadde nga Ibulayimu yali akkiririza mu kuzuukira, yalumwa nnyo ng’omwagalwa we afudde. (Beb. 11:17-19) Laakeeri bwe yafa, Yakobo teyamwerabira. Bwe yali ayogera ne batabani be, yamwogerako bulungi.—Lub. 44:27; 48:7.
Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Ibulayimu ne Yakobo? Bannamwandu ne bassemwandu bamala emyaka mingi nga bawulira obulumi olw’okufiirwa abaagalwa baabwe. N’olwekyo bwe tubalaba nga bennyamivu, tetusaanidde kukitwala nti banafu. Mu kifo ky’ekyo tusaanidde okubafaako era n’okweyongera okubazzaamu amaanyi.
BULI LUNAKU N’EBYALWO
Omuntu bw’afiirwa omwagalwa we, tekimubeerera kyangu kuddamu kubeera mu bulamu nga bwe yalimu ng’akyali bwannamunigina. Omwami n’omukyala bwe bamala emyaka mingi mu bufumbo, buli omu aba amanyi engeri y’okubudaabudamu n’okusanyusaamu munne. N’olwekyo omu ku bo bw’afa ebyo byonna biggwaawo. Eyo ye nsonga lwaki, abamu ku abo ababa bafiiriddwako abaagalwa baabwe bawulira nga tebakyali ba mugaso era baggwaamu essuubi. Misingi ki egya Bayibuli egiyinza okubayamba?
Katonda ajja kukuyamba okugumira ennaku gy’owulira
“Temweraliikiriranga bya nkya, kubanga olunaku olw’enkya lunaaba n’eby’okweraliikirirwa ebyalwo. Buli lunaku ebibi byalwo birumala.” (Mat. 6:34) Wadde ng’ebigambo bya Yesu ebyo bikwata ku byetaago byaffe eby’omubiri, biyambye abantu bangi okuguma nga bafiiriddwa bannaabwe mu bufumbo. Nga wayiseewo ekiseera oluvannyuma lwa mukyala we okufa, Charles yawandiika nti: “Okuva Monique lwe yafa, mpulira ekiwuubaalo era oluusi mpulira nga kimpitiriddeko. Kyokka nkimanyi nti ekiseera bwe kinaagenda kiyitawo, obulumi bwe mpulira bujja kugenda bukendeera.”
Charles yagumira embeera eyo okumala ekiseera ekiwerako. Naye kiki ekyamuyamba okugigumira? Yagamba nti, “Yakuwa yannyamba okugumira ennaku gye nnawuliranga.” Wadde nga Charles kyamutwalira ebbanga ddene ng’akyalina ennaku olw’okufiirwa mukyala we, ekyo teyakikkiriza kumumalamu maanyi. N’olwekyo, bw’oba wafiirwa munno mu bufumbo toggwaamu maanyi. Leka buli lunaku lube n’ebyalwo.
Tekyali kigendererwa kya Yakuwa abantu okufa. Okufa kye kimu ku ‘bikolwa by’Omulyolyomi.’ (1 Yok. 3:8; Bar. 6:23) Sitaani akozesa okufa n’entiisa ebaawo ng’omuntu afudde okukuumira abantu bangi mu buddu n’okubamalamu essuubi. (Beb. 2:14, 15) Sitaani kimusanyusa nnyo okulaba ng’abantu tebakyalina ssuubi lya kuddamu kuba basanyufu era ayagala beerabire ebintu ebirungi ennyo ebinaaba mu nsi ya Katonda empya. N’olwekyo, ennaku ey’amaanyi abo ababa bafiiriddwako bannaabwe mu bufumbo gye bafuna, eva ku kuba nti twasikira ekibi kya Adamu n’okuba nti Sitaani wa nkwe. (Bar. 5:12) Yakuwa ajja kuggyawo ebintu ebibi byonna Sitaani by’aleeseewo, era ajja kuwangula okufa. Mu kiseera ekyo, abantu bangi, nga mw’otwalidde n’abo abaafiirwako bannaabwe mu bufumbo, bajja kusumululwa okuva mu buddu bw’okutya okufa.
Mu nsi empya, wajja kubaawo enkyukakyuka nnyingi mu bulamu bw’abo abanaazuukizibwa. Engeri abantu gye banaaba bakolaganamu ejja kwawukana ku ngeri gye bakolaganamu leero. Ng’ekyokulabirako, bajjajja, abazadde, abaana, n’abazzukulu abajja okuzuukizibwa, mpolampola bajja kugenda nga bafuuka abantu abatuukiridde. Abakadde bajja kudda buto. Mu kiseera ekyo, abaana n’abazzukulu bajja kuba tebakyatwala bazadde baabwe ne bajjajja baabwe nga bwe babatwala leero. Enkyukakyuka ezo zijja kuleetera obulamu bw’abantu okwongera okuba obulungi.
Kyokka tuyinza okuba nga tulina ebibuuzo bingi bye twebuuza ebikwata ku kuzuukira. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuba nga twebuuza ekinaatuuka ku bantu abaafiirwa abakyala oba abaami abasukka mu omu. Abasaddukaayo baabuuza ekibuuzo ekikwata ku mukazi omu eyafiirwa abaami omusanvu. (Luk. 20:27-33) Mu kuzuukira, nkolagana ki enaabaawo wakati w’abantu ng’abo? Tetumanyidde ddala kiki kijja kubaawo era tekitwetaagisa kuteebereza ku bintu Bayibuli by’eteyogerako. Naye kye twetaaga okukola mu kiseera kino kwe kwesiga Yakuwa. Tuli bakakafu nti ebyo byonna Yakuwa by’ajja okukola mu biseera eby’omu maaso bijja kuba birungi era tusaanidde okubyesunga.
ESSUUBI ERY’OKUZUUKIRA LITUBUDAABUDA
Bayibuli ekiraga bulungi nti abantu baffe abaatufaako bajja kuddamu babeere balamu. Ebyo bye tusoma mu Bayibuli ebikwata ku bantu abaazuukizibwa bitukakasa nti abo ‘abali mu ntaana bajja kuwulira eddoboozi lya Yesu baveemu.’ (Yok. 5:28, 29) Abo abalibeerawo mu kiseera ekyo bajja kusanyuka nnyo okulaba ng’abantu abaali bafudde bazuukiziddwa. Ate era n’abantu abanaaba bazuukiziddwa bajja kusanyuka nnyo.
Obukadde n’obukadde bw’abantu bwe banaaba bazuukira, essanyu abantu abanaaba ku nsi lye banaafuna lijja kuba terigambika. (Mak. 5:39-42; Kub. 20:13) Okufumiitiriza ku kyamagero ekyo ekigenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso kibudaabuda nnyo abo bonna abafiiriddwako abantu baabwe.
Waliwo omuntu yenna anaasigala nga munakuwavu oluvannyuma lw’abantu okuzuukizibwa? Nedda. Okusinziira ku Isaaya 25:8, Yakuwa ajja ‘kumirira ddala okufa okutuusa ennaku zonna.’ Ekyo kitegeeza nti Yakuwa ajja kuggirawo ddala okufa n’obulumi bwe kuleeta. Obunnabbi bwa Isaaya bwongera ne bugamba nti: “Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna.” N’olwekyo, bw’oba owulira ennaku ey’amaanyi olw’okuba wafiirwako omwami wo oba mukyala wo, beera mukakafu nti oluvannyuma lw’okuzuukira ennaku eyo yonna ejja kuggwaawo.
Tewali muntu yenna amanyidde ddala ebyo byonna Katonda by’anaakola mu nsi empya. Yakuwa agamba nti: “Eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n’ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe.” (Is. 55:9) Bwe tukkiririza mu kisuubizo kya Yesu ekikwata ku kuzuukira, kiba kiraga nti twesiga Yakuwa, nga Ibulayimu bwe yakola. N’olwekyo ekintu ekisinga obukulu buli Mukristaayo ky’alina okukola kwe kufuba okukola ebyo Katonda by’atwetaagisa asobole ‘okugwanira okufuna obulamu mu nteekateeka eyo ey’ebintu’ awamu n’abo abanaazuukizibwa.—Luk. 20:35.
ENSONGA LWAKI TULINA OKUBA N’ESSUUBI
Bw’onoonyweza essuubi ly’olina, tojja kutya biseera eby’omu maaso. Abantu abasinga obungi tebalina kalungi konna ke basuubira mu biseera eby’omu maaso. Naye Yakuwa atusuubiza ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Wadde nga tetumanyidde ddala ngeri Yakuwa gy’ajja kukkusaamu buli kintu ekiramu bye kyetaaga, tetusaanidde kubuusabuusa nti ekyo ajja kukikola. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Ekisuubirwa bwe kiba kirabwako, eryo teriba ssuubi. Kubanga omuntu bw’alaba ekintu aba akisuubira? Bwe tusuubira kye tutalaba, tukirindirira n’obugumiikiriza.” (Bar. 8:24, 25) Bw’oba n’okukkiriza okw’amaanyi mu bisuubizo bya Katonda ojja kusobola okugumira obulumi bw’olina olw’okufiirwa omwagalwa wo. Bw’onoogumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ojja kubaawo mu kiseera ekyo ekirungi ennyo Yakuwa mw’ajja ‘okukuweera ebyo omutima gwo bye gusaba,’ era mw’ajja okukkusiza ebyo “buli kintu ekiramu bye kyagala.”—Zab. 37:4; 145:16; Luk. 21:19.
Beera n’okukkiriza okw’amaanyi mu bisuubizo bya Yakuwa ebikwata ku biseera eby’omu maaso
Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, abatume be baanakuwala nnyo. Yesu yababudaabuda ng’abagamba nti: “Emitima gyammwe tegyeraliikiriranga. Mukkiririze mu Katonda, era nange munzikiririzeemu.” Era yabagamba nti: Sijja kubaleka nga mukungubaga. Nja kujja gye muli.” (Yok. 14:1-4, 18, 27) Ebigambo bya Yesu ebyo, byandiyambye abagoberezi be abaafukibwako amafuta okuba n’essuubi era byandibayambye okugumiikiriza. Mu ngeri y’emu, abo bonna abalina essuubi ery’okulaba abantu baabwe abaafa nga bazuukiziddwa tebasaanidde kuggwaamu maanyi. Yakuwa n’Omwana we tebajja kubaleka nga bakungubaga. Naawe beera mukakafu nti ojja kuddamu okulaba omwagalwa wo eyafa.
a Amannya gakyusiddwa.