Obuyambi Okuva eri ‘Katonda Atuyamba Okugumiikiriza era Atubudaabuda’
EMYAKA nga 2,000 egiyise, omutume Pawulo yayogera ku Yakuwa nga “Katonda atuyamba okugumiikiriza era abudaabuda.” (Abaruumi 15:5, NW) Okuva Baibuli bw’ekiraga obulungi nti Yakuwa takyukakyuka, tuli bakakafu nti ne leero Katonda abudaabuda abo abamuweereza. (Yakobo 1:17) Mu butuufu, Baibuli egamba nti Yakuwa abudaabuda abali mu bwetaavu mu ngeri ezitali zimu. Ezimu ku zo ze ziruwa? Katonda awa amaanyi abo abamusaba okubayamba. Akozesa Abakristaayo ab’amazima okuyamba bakkiriza bannaabwe. Era mu Kigambo kye Baibuli, Yakuwa yatuteeramu ebyokulabirako ebirungi ebizzaamu amaanyi omuntu yenna aba afiiriddwa omwana we. Ka twetegereze engeri zino essatu emu ku emu.
‘Mukama n’Awulira’
Kabaka Dawudi yawandiika bw’ati ku Mutonzi waffe, Yakuwa: “Mumwesige ye mu biro byonna, mwe abantu; mufuke omutima gwammwe mu maaso ge: Katonda kye kiddukiro gye tuli.” (Zabbuli 62:8) Lwaki Dawudi yalina obwesige ng’obwo mu Yakuwa? Nga yeeyogerako, Dawudi yawandiika nti: “Omunaku ono yakoowoola, Mukama n’amuwulira, n’amulokola mu nnaku ze zonna.” (Zabbuli 34:6) Mu bizibu byonna bye yayitamu, Dawudi yasabanga Katonda okumuyamba, era Yakuwa bulijjo yamuwulirizanga. Dawudi yali akimanyi nti Katonda yandimuyambye okugumiikiriza nga bwe kyali emabega.
Abazadde abanyolwa olw’okufiirwa abaana baabwe beetaaga okumanya nti Yakuwa ajja kubayisa mu mbeera eyo enzibu ennyo, nga bwe yayamba Dawudi. Basobola okutuukirira oyo “Awulira okusaba,” nga bakakafu nti ajja kubayamba. (Zabbuli 65:2) William, eyayogeddwako mu kitundu ekivuddeko, yagamba nti: “Emirundi mingi nnawulira nga sisobola kubeerawo awatali mwana wange, era nnasaba Yakuwa okunnyamba. Ampadde amaanyi ne nneeyongera okubaawo nga ndi mulamu.” Singa naawe osaba Yakuwa mu kukkiriza, Katonda oyo ow’amaanyi ali mu ggulu ajja kukuyamba. Ggwe ate oba Yakuwa Katonda asuubiza abo abafuba okumuweereza nti: “Nze Mukama Katonda wo n[n]aakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo, nga nkugamba nti Totya; nze n[n]aakuyambanga.”—Isaaya 41:13.
Obuyambi Okuva eri ab’Emikwano aba Nnamaddala
Abo ababa bafiiriddwa omwana waabwe beetaaga okufuna akaseera ne bakungubaga nga bali bokka. Kyokka, tekiba kirungi kwesala ku bantu okumala ebbanga ddene. Engero 18:1 wagamba nti “eyeeyawula” ayinza okufuna omutawaana. N’olwekyo, abo ababa bafiiriddwa balina okwegendereza obuteeyawula ku balala.
Abakristaayo bayinza okubudaabuda bannaabwe ababa abennyamivu. Engero 17:17, NW wagamba nti: “Ow’omukwano owa nnamaddala ayagala mu biro byonna, era ye w’oluganda akuyamba buli lw’oba mu buyinike.” Lucy, nga naye yayogeddwako mu kitundu ekiwedde, alina ab’emikwano aba nnamaddala abaamubudaabuda ng’afiiriddwa mutabani we. Ng’ayogera ku mikwano gye mu kibiina, yagamba nti: “Okukyala kwabwe kwanzizaamu nnyo amaanyi, wadde ng’oluusi tebaabangako kya maanyi kye boogedde. Mukwano gwange omu yankyaliranga mu nnaku ze nnabanga nsigadde nzekka awaka. Yali amanyi nti mbeera nkaaba, era ng’atera okujja ne tukaabira wamu. Omulala yankubiranga essimu buli lunaku okunzizaamu amaanyi. Ate abalala baatuyitanga mu maka gaabwe okulya nabo emmere.”
Wadde obulumi abazadde bwe bawulira nga bafiiriddwa omwana bulwawo okugenda, okusaba Katonda n’okubeerako awamu ne Bakristaayo bannaabwe bisobola okubabudaabuda. Abazadde Abakristaayo bangi abafiiriddwa abaana baabwe bafunye obuyambi bwa Yakuwa. Yee, Yakuwa “awonya abalina emitima egimenyese, era asiba ebiwundu byabwe.”—Zabbuli 147:3.
Okubudaabuda Okuli mu Baibuli
Ng’oggyeko okusaba n’obuyambi okuva mu b’emikwano aba nnamaddala, Ekigambo kya Katonda kibudaabuda abo ababa bakungubaga. Baibuli eraga nti Yesu ayagala nnyo era alina obusobozi obw’okuzuukiza abafu asobole okuggyawo ennaku abazadde gye bafuna nga bafiiriddwa omwana. Bwe kityo, Baibuli esobola okubudaabuda abo ababa bafiiriddwa. Ka twekenneenye ebyokulabirako bibiri.
Lukka essuula 7 eyogera ku kyaliwo Yesu bwe yasanga abaali bagenda okuziika mu kibuga Nayini. Abantu baali bagenda kuziika mutabani wa nnamwandu gwe yalina yekka. Olunyiriri 13 lugamba nti: “Bwe yamulaba n’amusaasira, n’amugamba nti Tokaaba.”
Batono nnyo abayinza okwevaamu okugamba omukazi afiiriddwa omwana nti tokaaba. Lwaki Yesu yakyogera? Kubanga yali amanyi nti ennaku y’omukazi oyo yali egenda kuggwaawo. Era Baibuli eyongera n’egamba nti: “[Yesu] n’asembera n’akoma ku lunnyo: bali abaali beetisse ne bayimirira. N’agamba nti Omulenzi, nkugamba nti Golokoka. Oyo eyali afudde n’agolokoka, n’atuula n’atanula okwogera. N’amuwa nnyina.” (Lukka 7:14, 15) Mu kaseera ako, omukazi ono alina okuba nga yaddamu okukaaba, naye ku luno amaziga gaali ga ssanyu.
Ku mulundi omulala, Yesu yatuukirirwa omusajja ayitibwa Yayiro, eyamusaba okuwonya muwala we ow’emyaka 12 eyali omulwadde nnyo. Waayita akaseera katono, ne bafuna amawulire nti omuwala afudde. Kino Yayiro kyamukuba ensisi, kyokka Yesu yamugamba nti: “Totya, kkiriza bukkiriza.” Ng’atuuse mu maka ga Yayiro, Yesu yagenda awaali omuwala eyali afudde. Yamukwata omukono n’agamba nti: “Omuwala, nkugamba nti Golokoka.” Kiki ekyaddirira? “Amangu ago omuwala n’agolokoka n’atambula.” Bazadde be baawulira batya? ‘Baawuniikirira nnyo.’ Yayiro ne mukyala we bateekwa okuba nga baawulira essanyu ppitirivu nga bagwa muwala waabwe mu kifuba. Baawulira ng’abaloota obuloosi.—Makko 5:22-24, 35-43.
Baibuli by’eyogera ku kuzuukiza abaana biwa abazadde abafiiriddwa abaana baabwe essuubi. Yesu yagamba nti: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, ne bavaamu.” (Yokaana 5:28, 29) Yakuwa alina ekigendererwa eky’okuzuukiza abafu ng’ayitira mu Mwana we. Obukadde n’obukadde bw’abaana abaafa “baliwulira eddoboozi lye” ng’ayogera nti: “Golokoka!” Abaana abo bajja kuddamu babe balamu, batambule era boogere. Okufaananako Yayiro ne mukazi we, bazadde b’abaana abo bajja ‘kuwuniikirira nnyo.’
Bw’oba wafiirwako omwana wo, ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukumalako ennaku ng’amuzuukiza. Okusobola okuganyulwa mu ssuubi lino ery’ekitalo, gondera okubuulirira kw’omuwandiisi wa zabbuli okugamba nti: “Munoonye Mukama n’amaanyi ge; munoonyenga amaaso ge ennaku zonna. Mujjukirenga eby’amagero bye.” (Zabbuli 105:4, 5) Yee, weereza Katonda ow’amazima, Yakuwa, era omusinze mu ngeri gy’asiima.
Miganyulo ki gy’onoofuna singa ‘onoonya Mukama’? Ojja kufuna amaanyi okuyitira mu kusaba Katonda, ojja kubudaabudibwa mikwano gyo Abakristaayo, era okusoma Ekigambo kya Katonda kijja kukuzzaamu amaanyi. Ate era, mu kiseera ekitali kya wala, gwe wamu n’omwana gwe wafiirwa mujja kuganyulwa nga Yakuwa akola “eby’amagero.”
[Akasanduuko akali ku lupapula 5]
“Mumpitire Omukazi Eyafiirwa Abaana Ababiri”
Kehinde ne mukyala we Bintu, Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu Nigeria baafiirwa abaana babiri mu kabenje k’emmotoka. Okuva olwo, babadde banakuwavu olw’ekikangabwa ekyo. Wadde kiri kityo, obwesige bwabwe mu Yakuwa bubagumizza, era bakyenyigira mu kutuusa obubaka bwa Baibuli eri baliraanwa baabwe.
Abantu baalaba obukkakkamu n’obugumu Kehinde ne Bintu bwe baalina. Lumu omukyala ayitibwa Ukoli yagamba omu ku mikwano gya Bintu nti: “Mumpitire omukazi eyafiirwa abaana ababiri omulundi gumu n’asigala ng’abuulira obubaka bwa Baibuli. Njagala kumanya ekimuwa amaanyi okuguma.” Bintu bwe yamukyalira, Mukyala Ukoli yamugamba nti: “Njagala kumanya lwaki okyabuulira ku Katonda eyatta abaana bo. Katonda yatwala muwala wange omu yekka gwe nnali nnina. Okuva olwo, ebya Katonda nnabivaako.” Bintu yakozesa Baibuli okumunnyonnyola ensonga lwaki abantu bafa era lwaki tusobola okuba n’essuubi nti abaagalwa baffe abaafa bajja kuzuukira.—Ebikolwa 24:15; Abaruumi 5:12.
Oluvannyuma, Mukyala Ukoli yagamba nti: “Nnali ndowooza nti Katonda y’atta abantu. Kati ntegedde ekituufu.” Yasalawo okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa asobole okumanya ebisingawo ku bisuubizo bya Katonda.
[Akasanduuko akali ku lupapula 6]
‘Nnandyagadde Okubayamba Naye Simanyi Kye Nnyinza Kukola’
Omwana bw’afa bazadde be ne baganda be bawulirwa ennaku ey’amaanyi. Mikwano gyabwe bayinza okwagala okubayamba naye nga batya nti bajja kwogera oba okukola ekintu ekiyinza okwongera ku nnaku gye bawulira. Amagezi gano wammanga gasobola okuyamba abo abawulira nti bandyagadde okuyamba naye nga tebamanyi kye bayinza kukola.
❖ Teweewala bafiiriddwa olw’okuba tomanyi bulungi kya kubagamba oba kya kukola. Bw’obeerawo nabo kibazzaamu nnyo amaanyi. Owulira nti tolina kya kwogera? Bw’obagamba mu bwesimbu nti “Nga kitalo!” kibayamba okutegeera nti obafaako. Otya nti bw’onookaaba kijja kubongera ennaku? Baibuli egamba nti: “Mukaabirenga wamu n’abo abakaaba.” (Abaruumi 12:15) Bw’okaabira awamu nabo kibalaga nti onyoleddwa wamu nabo era ekyo kibagumya.
❖ Baako ky’obakolera wadde nga tebakusabye. Osobola okubafumbira ku mmere? Osobola okubooleza ku bintu n’okubakolera ku mirimu emirala? Tobagamba nti “Bwe mubaako ne kye mwagala okubakolera muŋŋamba.” Ne bwe kiba nti oyagala okubayamba ebigambo ebyo biyinza okulowoozesa abazadde bangi ababa bafiiriddwa nti tolina biseera kubayamba. Mu kifo ky’ekyo babuuze obanga waliwo ky’osobola okubakolera era okole kye baba bakusabye. Naye weewale okubayingirira ennyo.
❖ Weewale okwogera nti “Mmanyi bw’owulira.” Abantu bwe baafiirwa buli omu ayisibwa mu ngeri ya njawulo. Ne bwe kiba nti wafiirwako omwana tosobola kutegeerera ddala bwe bawulira.
❖ Kijja kutwala ekiseera kiwanvu embeera okuddawo nga bwe yali mu maka ago. Weeyongere okubayamba mu ngeri yonna gy’osobola. Abantu nga baakafiirwa babaako bangi ababafaako naye ekyo tekimala. Weeyongere okubaako ky’obakolera ne bwe waba wayiseewo ebbanga.a
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ku ngeri gy’osobola okuyamba abo ababa abafiiriddwa omwana laba essuula egamba nti “Abalala Bayinza Batya Okuyamba?” olupapula 20-4 mu katabo Omwagalwa Wo bw’Afa akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Baibuli by’eyogera biraga nti Yesu alina obuyinza era ayagala okuzuukiza abaana abaafa