Okunyolwa okw’Amaanyi era Okulwawo
EMABEGAKO awo, omunoonyereza omu yayagala okumanya engeri abo abafiiriddwako abaagalwa baabwe gye bawulira nga wayiseewo ekiseera. Yaweereza ebibuuzo eri abazadde abawerako abaali bamaze emyaka nga bafiiriddwa abaana baabwe. Abazadde abamu bamuddamu. Omwami omu ayitibwa Vladimir, eyali afiiriddwa mutabani we emyaka etaano emabega yagamba nti okumwogerako kyali kikyamuyisa bubi.a
Kya bulijjo abazadde ababa bafiiriddwa omwana okumala ebbanga eddene nga bakyanyolwa. Emyaka kkumi emabega William yafiirwa mutabani we ow’emyaka 18 bwe yagwa mu mazzi. Yawandiika nti: “Nabuli kati kikyannuma, era kijja kunnuma okutuusa lwe ndifa.” Lucy eyali amaze emyaka etaano ng’afiiriddwa mutabani we eyagwira obulwadde obw’amangu yawandiika nti: “Mu nnaku ezaasooka nnagambanga nti, Kino tekiyinza kuba kituufu. Nnawulira ng’ali mu kirooto. Nga wayiseewo ekiseera nnakikkiriza nti ddala kyali kituufu, yali tagenda kudda waka. Wadde nga wayise emyaka kasookedde mutabani wange afa, ne kaakati oluusi bwe mbeera nzekka nkaaba amaziga.”
Lwaki abazadde nga Vladimir, William, ne Lucy, banyolwa nnyo bwe baba bafiiriddwa abaana baabwe? Ka tulabe ezimu ku nsonga lwaki.
Lwaki Okunyolwa Kuba kwa Maanyi?
Omwana bw’azaalibwa, abazadde bawulira essanyu ery’enjawulo. Okusitula obusituzi omwana waabwe, okumulaba nga yeebase, oba ng’aseka, kibaleetera essanyu ery’ensusso. Abazadde ab’obuvunaanyizibwa balaga abaana baabwe okwagala. Babayigiriza okuba abantu balamu era ab’empisa ennungi. (1 Abasessaloniika 2:7, 11) Abaana bwe bakula nga bawulize, bazadde baabwe babeenyumiririzaamu nnyo era baba na bingi bye babasuubiramu.
Abazadde ab’obuvunaanyizibwa bakola nnyo okusobola okulabirira abaana baabwe. Bayinza okubaterekerawo ssente oba ebintu ebikalu ebinaabayamba okutandika amaka nga bakuze. (2 Abakkolinso 12:14) Bino byonna biraga nti tebaagala baana baabwe kufa, wabula baagala babakuze era babeerewo. Kyokka omwana bw’afa, okufuba kw’abazadde okumukuza kuba kugudde butaka, era bye babadde bamusuubiramu bikoma awo. Okufa kuggyawo omukwano ogubaddewo wakati waabwe n’omwana era aba abalekedde eddibu ddene. Abazadde bawulira ennaku y’amaanyi etesobola kubava mangu ku mitima.
Baibuli ekkaatiriza nti abazadde abafiiriddwa balwawo nga bakyali banakuwavu nnyo. Ng’eyogera ku kyaliwo nga Yakobo agambiddwa nti mutabani we Yusufu yali attiddwa, Baibuli egamba nti: “Yakobo n’ayuzaayuza engoye ze, ne yeesiba ebibukutu mu kiwato, n’akungubagira omwana we ennaku nnyingi. Batabani be bonna ne bagolokoka okumusanyusa; naye n’agaana okusanyusibwa; n’ayogera nti Kubanga ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba!” Oluvannyuma lw’emyaka, Yakobo yali akyakungubagira mutabani we gwe yali alowooza nti yafa. (Olubereberye 37:34, 35; 42:36-38) Ekyokulabirako ekirala okuva mu Baibuli kye kya Nawomi eyafiirwa batabani be ababiri. Olw’okunakuwala ennyo, yayagala okukyusa erinnya lye Nawomi, eritegeeza “Okusanyuka Kwange,” yeetuume Mala, eritegeeza “Okulumwa.”—Luusi 1:3-5, 20, 21, NW.
Kyokka, Baibuli tekoma ku kulaga nti abazadde banyolwa nnyo bwe bafiirwa abaana baabwe, naye era eraga n’engeri Yakuwa gy’abagumyamu. Mu kitundu ekiddako, tugenda kulaba ezimu ku ngeri Katonda mw’ayitira okubudaabuda abo abakungubaga.
[Obugambo obuli wansi]
a Amanya agamu gakyusiddwa.