LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w19 Okitobba lup. 20-25
  • Kiki Yakuwa ky’Anaakuleetera Okuba?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kiki Yakuwa ky’Anaakuleetera Okuba?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENGERI YAKUWA GY’ATUSOBOZESA OKUKOLA
  • EBYO YAKUWA BYE YASOBOZESA ABASAJJA OKUBA
  • EBYO YAKUWA BYE YASOBOZESA ABAKAZI OKUBA
  • KKIRIZA YAKUWA AKUKOZESE
  • Yali Mukazi Mutegeevu
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Abbigayiri ne Dawudi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Abakaddiye​—⁠Muli ba Muwendo Nnyo eri Ekibiina
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • “Katonda Akuwe Omukisa olw’Obutegeevu Bwo!”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
w19 Okitobba lup. 20-25

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 42

Kiki Yakuwa ky’Anaakuleetera Okuba?

‘Katonda abawa amaanyi era abaagazisa okukola.’​—BAF. 2:13.

OLUYIMBA 104 Omwoyo Omutukuvu Kirabo Katonda ky’Awa

OMULAMWAa

1. Kiki Yakuwa ky’asobola okukola okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye?

YAKUWA asobola okuba kyonna ekyetaagisa okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa afuuse Omusomesa, Oyo Abudaabuda, Omulangirizi w’Enjiri, n’ebirala bingi. (Is. 48:17; 2 Kol. 7:6; Bag. 3:8) Wadde kiri kityo, emirundi mingi akozesa bantu okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye. (Mat. 24:14; 28:19, 20; 2 Kol. 1:3, 4) Yakuwa asobola okuwa omuweereza we yenna amagezi n’amaanyi ge yeetaaga okusobola okutuukiriza by’ayagala. Ekyo kituukana bulungi n’amakulu g’erinnya lye, ng’abeekenneenya ba Bayibuli bangi bwe bagamba.

2. (a) Lwaki oluusi tuyinza okubuusabuusa obanga Yakuwa atukozesa? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Ffenna twagala Yakuwa atukozese okutuukiriza by’ayagala, naye abamu ku ffe bayinza okuba nga babuusabuusa obanga ddala Yakuwa abakozesa. Lwaki? Bawulira nti emyaka gyabwe, embeera gye balimu, oba obusobozi bwabwe tebibasobozesa kuweereza nga bwe bandyagadde. Ku luuyi olulala, abamu bayinza okuba nga bawulira nga bamativu n’ebyo bye bakola era nga tebalaba bwetaavu bwa kukola kisingawo. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri Yakuwa gy’ayinza okusobozesa buli omu ku ffe okutuukiriza ekigendererwa kye. Era tugenda kulaba ebyokulabirako okuva mu Bayibuli eby’abasajja n’abakazi Yakuwa be yayagazisa okukola era n’abawa amaanyi okumuweereza. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukkiriza Yakuwa okutukozesa.

ENGERI YAKUWA GY’ATUSOBOZESA OKUKOLA

3. Okusinziira ku ebyo ebiri mu Abafiripi 2:13, Yakuwa ayinza atya okutwagazisa okukola?

3 Soma Abafiripi 2:13.b Yakuwa asobola okutwagazisa okukola. Ekyo ayinza kukikola atya? Oboolyawo tuyinza okumanya ku bwetaavu obuliwo mu kibiina kyaffe. Oba abakadde bayinza okusoma ebbaluwa okuva ku ofiisi y’ettabi ng’eyogera ku bwetaavu obuli mu kitundu ekirala. Tuyinza okwebuuza, ‘Kiki kye nnyinza okukolawo okuyamba?’ Oba tuyinza okuba nga tusabiddwa okukola omulimu ogutali mwangu, era nga twebuuza obanga tunaasobola okugukola obulungi. Oba oluvannyuma lw’okusoma ekitundu ekimu okuva mu Bayibuli, tuyinza okwebuuza, ‘Nnyinza ntya okukozesa bino bye nsomye okuyamba abalala?’ Yakuwa tatukaka kukola kintu kyonna. Naye bw’akiraba nga tulowooza ku kye tuyinza okukolawo, atuleetera okwagala okukikola.

4. Yakuwa ayinza atya okutuwa amaanyi okukola?

4 Yakuwa era asobola okutuwa amaanyi okukola. (Is. 40:29) Asobola okutuwa omwoyo gwe omutukuvu ne gutuyamba okukozesa mu bujjuvu obusobozi bwaffe. (Kuv. 35:30-35) Okuyitira mu kibiina kye, Yakuwa asobola okutuyigiriza engeri y’okukolamu ebintu ebitali bimu. Bw’oba nga teweekakasa ngeri ya kukolamu omulimu ogumu, saba obuyambi. Ate era saba Kitaffe ow’omu ggulu omugabi akuwe “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.” (2 Kol. 4:7; Luk. 11:13) Bayibuli erimu ebyokulabirako bingi eby’abasajja n’abakazi Yakuwa be yayagazisa okukola era n’abawa amaanyi okukola. Nga tulaba abamu ku bantu abo, lowooza ku ngeri naawe Yakuwa gy’ayinza okukusobozesa okukola ebintu ng’ebyo bye baakola.

EBYO YAKUWA BYE YASOBOZESA ABASAJJA OKUBA

5. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yakozesaamu Musa na ddi lwe yamukozesa okununula abantu be?

5 Yakuwa yasobozesa Musa okuba omununuzi w’Abayisirayiri. Naye ddi Yakuwa lwe yamukozesa? Yakuwa teyakozesa Musa mu kiseera Musa lwe yali alowooza nti atuuse okukozesebwa oluvannyuma ‘lw’okuyigirizibwa mu magezi gonna ag’Abamisiri.’ (Bik. 7:22-25) Yakuwa yakozesa Musa oluvannyuma lw’okumuyamba okuba omuntu omwetoowaze era omukkakkamu. (Bik. 7:30, 34-36) Yakuwa yawa Musa obuvumu n’asobola okuyimirira mu maaso g’omufuzi wa Misiri eyali asingayo okuba ow’amaanyi. (Kuv. 9:13-19) Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yakozesaamu Musa na ddi lwe yamukozesa? Yakuwa akozesa abo abooleka engeri ze era abamwesiga okubawa amaanyi.​—Baf. 4:13.

6. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yakozesaamu Baluzirayi okuyamba Kabaka Dawudi?

6 Nga wayise emyaka mingi, Yakuwa yakozesa Baluzirayi okuwa Kabaka Dawudi bye yali yeetaaga. Dawudi n’abantu be yali nabo baali balumwa “enjala n’ennyonta” era nga bakooye, bwe baali badduka Abusaalomu, mutabani wa Dawudi. Baluzirayi, mu kiseera ekyo eyali akaddiye awamu n’abalala, bassa obulamu bwabwe mu kabi okusobola okuwa Dawudi n’abantu be yali nabo ebintu bye baali beetaaga. Baluzirayi teyakitwala nti olw’okuba yali akaddiye Yakuwa yali takyasobola kumukozesa. Mu kifo ky’ekyo, yakozesa ebintu bye yalina okuyamba abaweereza ba Katonda abaali mu bwetaavu. (2 Sam. 17:27-29) Ekyo kituyigiriza ki? Ka tube ba myaka emeka, Yakuwa asobola okutukozesa okuyamba bakkiriza bannaffe abali mu bwetaavu abali mu kibiina kyaffe oba mu kitundu ekirala. (Nge. 3:27, 28; 19:17) Ne bwe tuba nga tetusobola kubayamba butereevu, tusobola okubaako kye tuwaayo okuwagira omulimu ogw’ensi yonna era ezimu ku ssente ezo zisobola okukozesebwa okuyamba baganda baffe ne bannyinaffe ababa mu bwetaavu.​—2 Kol. 8:14, 15; 9:11.

7. Yakuwa yakozesa atya Simiyoni, era ekyo kituzzaamu kitya amaanyi?

7 Yakuwa yasuubiza Simiyoni omuweereza we omwesigwa eyali akaddiye eyali abeera mu Yerusaalemi nti teyandifudde nga tannaba kulaba ku Masiya. Ekisuubizo ekyo kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo Simiyoni amaanyi okuva bwe kiri nti yali amaze emyaka mingi ng’alindirira Masiya. Yakuwa yawa Simiyoni omukisa olw’obwesigwa bwe n’olw’okuba omugumiikiriza. Lumu, “ng’akulemberwa omwoyo omutukuvu,” Simiyoni yagenda mu yeekaalu. Bwe yali eyo, yalaba omwana Yesu era Yakuwa yakozesa Simiyoni okwogera obunnabbi obukwata ku mwana oyo eyandifuuse Kristo. (Luk. 2:25-35) Wadde nga kirabika Simiyoni yafa nga Yesu tannatandika buweereza bwe obw’oku nsi, yasiima nnyo okuba nti Yakuwa yamukozesa mu ngeri eyo, era mu kiseera eky’omu maaso agenda kufuna n’emikisa emirala mingi nnyo! Mu nsi empya, omusajja oyo eyali omwesigwa ajja kulaba engeri obufuzi bwa Yesu gye bujja okusobozesa amawanga gonna ag’oku nsi okufuna emikisa. (Lub. 22:18) Naffe tusaanidde okusiima enkizo yonna Yakuwa gy’atuwa nga tumuweereza.

8. Yakuwa ayinza atya okutukozesa nga bwe yakozesa Balunabba?

8 Mu kyasa ekyasooka E.E., omusajja omugabi eyali ayitibwa Yusufu yakkiriza Yakuwa okumukozesa. (Bik. 4:36, 37) Kirabika olw’okuba Yusufu yali abudaabuda nnyo abalala, abatume baamutuuma Balunabba, eritegeeza ‘Omwana ow’Okubudaabuda.’ Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lwa Sawulo okufuuka omukkiriza, ab’oluganda bangi baali bamutya olw’okuba yali amanyiddwa ng’eyali ayigganya ebibiina. Naye Balunabba yabudaabuda Sawulo era n’amuyamba, era Sawulo ateekwa okuba nga yasiima nnyo ekisa kye yamulaga. (Bik. 9:21, 26-28) Nga wayise ekiseera, abakadde mu Yerusaalemi baakiraba nti ab’oluganda abaali babeera mu Antiyokiya ekya Busuuli baali beetaaga okuzzibwamu amaanyi. Ani gwe baasindika okubazzaamu amaanyi? Balunabba! Baalonda omuntu omutuufu. Bayibuli egamba nti Balunabba ‘yabakubiriza okunywerera ku Mukama waffe nga bamalirivu mu mitima gyabwe.’ (Bik. 11:22-24) Ne leero Yakuwa asobola okutukozesa okubudaabuda bakkiriza bannaffe. Ng’ekyokulabirako, asobola okutukozesa okubudaabuda abo abafiiriddwa abantu baabwe. Oba ayinza okutukozesa okukyalira oba okukubira essimu omuntu omulwadde oba omwennyamivu ne twogerako naye ebigambo ebizzaamu amaanyi. Onokkiriza Yakuwa okukukozesa nga bwe yakozesa Balunabba?​—1 Bas. 5:14.

9. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yayambamu ow’oluganda ayitibwa Vasily okufuuka omukadde omulungi?

9 Yakuwa yayamba ow’oluganda ayitibwa Vasily okufuuka omukadde omulungi. Vasily bwe yalondebwa okuba omukadde yalina emyaka 26, era yatya nnyo olw’okuba yali awulira nti yali tasobola kuyamba ba luganda mu by’omwoyo, naddala abo abaali boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Naye yafuna okutendekebwa okuva eri abakadde abaalina obumanyirivu n’okuva mu Ssomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka. Vasily yafuba nnyo okulongoosa mu buweereza bwe. Ng’ekyokulabirako, yakola olukalala lw’ebiruubirirwa bye yali ayagala okutuukako. Bwe yabangako ekiruubirirwa ky’atuuseeko, okutya kwe yalina kwagendanga kukendeera. Kati agamba nti: “Ebintu ebyantiisanga edda kati bindeetera ssanyu. Yakuwa bw’annyamba okufuna ekyawandiikibwa ekituufu okubudaabuda ow’oluganda oba mwannyinaffe, mpulira essanyu lingi.” Ab’oluganda, okufaananako Vasily, nammwe bwe mukkiriza Yakuwa okubakozesa, asobola okubayamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina.

EBYO YAKUWA BYE YASOBOZESA ABAKAZI OKUBA

10. Kiki Abbigayiri kye yakola, era kiki ky’omuyigiddeko?

10 Dawudi n’abasajja be baali badduka Kabaka Sawulo, era baali beetaaga obuyambi. Abasajja ba Dawudi baasaba omusajja Omuyisirayiri omugagga eyali ayitibwa Nabbali okubawaayo ku by’okulya, byonna bye yandisobodde. Baakiraba nti baali basobola okumusaba okubaako ky’abawa kubanga baali baakuuma ebisolo bye mu ddungu. Naye olw’okuba Nabbali yali mukodo, yagaana okubaako ky’abawa. Dawudi yasunguwala nnyo era n’ateekateeka okugenda okutta Nabbali na buli musajja yenna ow’omu nju ye. (1 Sam. 25:3-13, 22) Naye Abbigayiri, mukyala wa Nabbali eyali alabika obulungi ennyo, yali mukazi mutegeevu. Yayoleka obuvumu n’avunnama mu maaso ga Dawudi n’amugamba obutawoolera ggwanga kubanga kyandibadde kimuviirako okubaako omusango ogw’okuyiwa omusaayi. Mu ngeri ey’amagezi yagamba Dawudi okuleka ensonga mu mikono gya Yakuwa. Ebigambo bya Abbigayiri n’enneeyisa ye ey’amagezi byakwata ku mutima gwa Dawudi. Dawudi yakiraba nti Yakuwa ye yali asindise Abbigayiri gy’ali. (1 Sam. 25:23-28, 32-34) Abbigayiri yali akulaakulanyizza engeri ezaamusobozesa okukozesebwa Yakuwa. Ne bannyinaffe abafuba okwoleka amagezi, Yakuwa asobola okubakozesa okuzimba ab’omu maka gaabwe n’abalala mu kibiina.​—Nge. 24:3; Tit. 2:3-5.

11. Kiki bawala ba Salumu kye baakola, era baani leero ababakoppa?

11 Nga wayise ebyasa bingi, bawala ba Salumu be bamu ku abo Yakuwa be yakozesa okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi. (Nek. 2:20; 3:12) Wadde nga taata waabwe yali mwami, abawala abo baali beetegefu okukola omulimu ogwo ogutaali mwangu era ogwali gussa obulamu bwabwe mu kabi. (Nek. 4:15-18) Baali ba njawulo nnyo ku basajja Abatekowa ab’ebitiibwa, abaagaana okwetoowaza okukola omulimu ogwo! (Nek. 3:5) Lowooza ku ssanyu bawala ba Salumu lye baafuna ng’omulimu ogwo gumaliriziddwa mu nnaku 52 zokka! (Nek. 6:15) Ne leero, waliwo bannyinaffe bangi abeenyigira mu mulimu gw’okuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe ebikozesebwa mu kusinza Yakuwa, era omulimu ogwo bagukola n’essanyu. Bannyinaffe abo abanyiikivu era abeesigwa beetaagibwa nnyo okusobola okukola omulimu ogwo.

12. Yakuwa ayinza atya okutukozesa nga bwe yakozesa Tabbiisa?

12 Yakuwa yasobozesa Tabbiisa okuyitirira “mu kukola ebikolwa ebirungi,” naddala mu kuyamba bannamwandu. (Bik. 9:36) Olw’okuba Tabbiisa yali mugabi nnyo era nga wa kisa, bangi baamukaabira nnyo ng’afudde. Naye baafuna essanyu lingi Peetero bwe yamuzuukiza. (Bik. 9:39-41) Kiki kye tuyigira ku Tabbiisa? Ka tube bato oba bakulu, basajja oba bakazi, ffenna tusobola okubaako bye tukola okuyamba bakkiriza bannaffe.​—Beb. 13:16.

13. Yakuwa yakozesa atya mwannyinaffe ayitibwa Ruth eyali ow’ensonyi, era kiki Ruth kye yagamba?

13 Mwannyinaffe Ruth eyali ow’ensonyi yali ayagala nnyo okuweereza ng’omuminsani. Bwe yali akyali muto, yaddukanga n’agenda ku mayumba n’agabira abantu tulakiti. Agamba nti: “Nnanyumirwanga nnyo okugaba tulakiti.” Kyokka kyamuzibuwaliranga okwogera n’abantu abo ku Bwakabaka bwa Katonda. Wadde nga Ruth yalina ensonyi, yatandika okuweereza nga Payoniya ng’alina emyaka 18. Mu 1946, yagenda mu Ssomero lya Gireyaadi era oluvannyuma n’aweereza mu Hawaii ne mu Japan. Yakuwa yamukozesa nnyo okubuulira amawulire amalungi mu nsi ezo. Oluvannyuma lw’okumala emyaka nga 80 ng’abuulira, Ruth yagamba nti: “Yakuwa y’ampadde amaanyi. Yannyamba okuvvuunuka ensonyi. Ndi mukakafu nti Yakuwa asobola okukozesa omuntu yenna amwesiga.”

KKIRIZA YAKUWA AKUKOZESE

14. Okusinziira ku Abakkolosaayi 1:29, kiki kye tusaanidde okukola Yakuwa okusobola okutukozesa?

14 Mu byafaayo byonna, Yakuwa azze akozesa abaweereza be okukola ebintu ebitali bimu. Ggwe kiki ky’anaakuleetera okukola? Ekyo kijja kusinziira nnyo ku kuba nti oba mwetegefu okukola n’obunyiikivu. (Soma Abakkolosaayi 1:29.) Bwe weewaayo, Yakuwa asobola okukuleetera okuba omulangirizi w’enjiri, omusomesa omulungi, omuntu abudaabuda abalala, omukozi omukugu, ow’omukwano omulungi, oba okuba ekintu ekirala kyonna ekyetaagisa okusobola okutuukiriza by’ayagala.

YAKUWA AJJA ‘KUKUWA AMAANYI ERA AKWAGAZISE OKUKOLA’ ABAFIRIPI 2:13

Abakristaayo ab’emyaka egy’enjawulo, n’amawanga ag’enjawulo, beewaayo okubuulira, okuyigiriza, n’okuzimba

Bwe weewaayo, Yakuwa asobola okukuleetera okuba omulangirizi w’enjiri, omusomesa omulungi, omuntu abudaabuda abalala, omukozi omukugu, ow’omukwano omulungi, oba okuba ekintu ekirala kyonna ekyetaagisa okusobola okutuukiriza by’ayagala (Laba akatundu 14-16)

15. Nga bwe kiragibwa mu 1 Timoseewo 4:12, 15, kiki ab’oluganda abavubuka kye basaanidde okusaba Yakuwa abayambe okukola?

15 Ate mmwe ab’oluganda abavubuka? Waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’ab’oluganda okuweereza ng’abaweereza mu kibiina. Mu bibiina bingi, abakadde basinga abaweereza obungi. Mmwe abavubuka, musobola okuba abeetegefu okwetikka obuvunaanyizibwa obusingako mu kibiina? Ab’oluganda abamu bagamba nti, “Nze okuweereza ng’omubuulizi kimmala.” Bw’oba nga naawe bw’otyo bw’owulira, saba Yakuwa akuyambe okwagala okutuukiriza ebisaanyizo by’okuba omuweereza mu kibiina n’okukuwa amaanyi okukola kyonna ekisoboka okumuweereza. (Mub. 12:1) Obuyambi bwo bwetaagibwa!​—Soma 1 Timoseewo 4:12, 15.

16. Kiki kye tusaanidde okusaba Yakuwa Katonda, era lwaki?

16 Yakuwa asobola okukuleetera okuba kyonna ekyetaagisa okusobola okutuukiriza by’ayagala. N’olwekyo, musabe akuyambe okwagala okukola omulimu gwe, era musabe akuwe amaanyi ge weetaaga. K’obe muto oba mukulu, kozesa ebiseera byo, amaanyi go, n’ebintu byo okuwa Yakuwa ekitiibwa. (Mub. 9:10) Tokkiriza kutya oba kwenyooma kukulemesa kukola kisingawo mu buweereza bwo eri Yakuwa. Nkizo ya maanyi nnyo okukola kyonna kye tusobola okuleetera Kitaffe ow’omu ggulu ettendo erimugwanidde!

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Yakuwa atusobozesa atya okumuweereza?

  • Muntu ki ayogeddwako mu kitundu kino akukutteko ennyo, era lwaki?

  • Ab’oluganda abavubuka bakubirizibwa kukola ki?

OLUYIMBA 127 Oyagala Mbeera Muntu wa Ngeri Ki?

a Owulira nga wandyagadde okukola ekisingawo okuweereza Yakuwa? Muli weebuuza obanga akyasobola okukukozesa? Oba kyandiba nti owulira nga teweetaaga kukola kisingawo kuweereza Yakuwa nga bw’ayagala? Ekitundu kino kijja kulaga engeri ez’enjawulo Yakuwa gy’ayinza okukwagazisa okukola by’ayagala n’okukuwa amaanyi osobole okuba ekyo ekyetaagisa okutuukiriza ekigendererwa kye.

b Wadde ng’ebbaluwa eyo Pawulo yagiwandiikira Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, ebigirimu bikwata ku baweereza ba Yakuwa bonna.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share