LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 3/00 lup. 8
  • Saba Obuyambi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Saba Obuyambi
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Laba Ebirala
  • ‘Yita Abakadde’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Abakadde Bayamba Batya Ekibiina?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • “Mulundenga Ekisibo kya Katonda Ekyabakwasibwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Engeri Ekibiina Gye Kitegekeddwamu
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 3/00 lup. 8

Saba Obuyambi

1 Ebigambo bino ebyaluŋŋamizibwa, “ebiro eby’okulaba ennaku,” binnyonnyola bulungi nnyo ebiseera byaffe ebizibu ennyo. (2 Tim. 3:1) Kati olwo, kiki ky’oyinza okukola ng’oyolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi mu by’omwoyo by’owulira nga bikusukkiridde?

2 Oli mweteefuteefu okwogerako n’ow’oluganda akuze mu by’omwoyo mu kibiina? Abamu bayinza obutakikola nga batya okuswala, nga tebaagala kukaluubirira balala, oba nga babuusabuusa nti eriyo omuntu ayinza okubayamba. Kyo kituufu, twandifubye okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe kinnoomu nga bwe tusobola, naye bulijjo tetwanditidde kunoonya buyambi mu nsonga ezikwata ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo.​—Bag. 6:2, 5.

3 Aw’Okutandikira: Oyinza okutuukirira akubiriza ekitabo mu kitundu kyo n’omusaba obanga oyinza okukolako naye mu buweereza bw’omu nnimiro. Kino kijja kukuwa omukisa okumutegeeza nga bw’oyagala okukulaakulana mu by’omwoyo. Bw’aba omuweereza mu kibiina, mutegeeze we weetaaga okukuyamba mu by’omwoyo era ajja kusaba abakadde bakuyambe. Oba oyinza okutuukirira omu ku bakadde n’omutegeeza ebizibu by’olina.

4 Buyambi bwa ngeri ki bwe weetaaga? Waliwo ekintu ekikendeezezza obunyiikivu bwo? Oli muzadde ali obwannamunigina agezaako okukuumira abaana bo mu kibiina? Okaddiye nga weetaaga obuyambi? Oba waliwo ekizibu ekikumazeemu amaanyi? Okwaŋŋanga ebiseera byaffe ebizibu ennyo kiyinza okuba ekizibu​—naye nga kisoboka. Obuyambi weebuli.

5 Engeri Abakadde Gye Bayinza Okukuyambamu: Abakadde bafaayo nnyo. Bajja kuwuliriza ebizibu byo. Ababuulizi abalala bwe baba boolekaganye n’ebizibu ebifaananako, abakadde bajja kukiteeka mu birowoozo nga balunda ekisibo era nga bayigiriza mu kibiina. Nga ‘ebyokulabirako eri ekisibo,’ beeteefuteefu okukolera awamu naawe n’essanyu. (1 Peet. 5:3) Okuwuliriza ab’oluganda bano abalina obumanyirivu nga bannyonnyola emisingi gya Baibuli kiyinza okulongoosa obuweereza bwo era n’okukuyamba mu bulamu bwo.​—2 Tim. 3:16, 17.

6 Yesu atuwadde ‘ebirabo bingi mu bantu.’ (Bef. 4:8) Kino kitegeeza nti abakadde baliwo kukuyamba. Weebali okukuyamba. Mu butuufu, ‘babo.’ (1 Kol. 3:21-23) N’olwekyo, mu kifo ky’okusirika, yogera nabo. Saba obuyambi bwe weetaaga.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza