Olina Omwoyo gw’Okwerekereza?
1 Okusiima ekyo Yesu Kristo kye yakolera olulyo lw’omuntu kwandituleetedde ffenna okukozesa obusobozi bwaffe n’amaanyi gaffe mu ngeri ey’okwerekereza. Ebyawandiikibwa bikubiriza nti: ‘Muwengayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwaffe.’ (Bar. 12:1) Okwekebera buli kiseera kijja kukuyamba okulaba obanga olaga omwoyo ogwo mu bujjuvu ng’embeera zo bwe zikusobozesa.
2 Mu Kufuna Okumanya kwa Baibuli: Otaddewo ekiseera eky’okusoma n’okuyiga Baibuli obutayosa? Enteekateeka eyo oginywererako? Ye nkola yo okweteekerateekera obulungi enkuŋŋaana z’ekibiina? Bw’oba oli mutwe gw’amaka, muyigira wamu Baibuli n’ab’omu maka go obutayosa? Okukola ebintu bino kiyinza okukwetaagisa okwerekereza ebiseera bye wandimaze ku ttivi oba ku kompyuta oba mu bintu ebirala. Kyokka, ng’okwo kuba kwerekereza kutono nnyo, bw’omanya nti ebiseera by’omala ku Kigambo kya Katonda bijja kukusobozesa okutuuka mu bulamu obutaggwaawo!—Yok. 17:3.
3 Mu Kutendeka Abaana Bo: Ekiseera ekisingayo obulungi okuyigiramu okwerekereza kyekyo ng’okyali muto. Yigiriza abaana bo nti wadde wabaawo ekiseera eky’okuzannya, era wateekwa okubaawo ekiseera eky’okukola n’okwenyigira mu mirimu gya teyokulase. (Bef. 6:4) Bawe emirimu egy’okukola awaka. Kola enteekateeka ey’okwenyigira mu buweereza nabo obutayosa. Obulagirizi bw’obawa bugatteko ekyokulabirako kyo ekirungi.
4 Mu Kwenyigira mu Mirimu gy’Ekibiina: Ekibiina kiganyulwa nnyo singa buli akirimu abaako bye yeerekereza ku lw’obulungi bwa bonna. (Beb. 13:16) Osobola okuwaayo ebiseera ebisingawo mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abayigirizwa? Osobola okuyamba abalwadde oba bannamukadde, oboolyawo ng’obatwalako mu nkuŋŋaana?
5 Nga tannawaayo ssaddaaka esingirayo ddala obukulu ey’obulamu bwe obw’omuntu, Yesu yabuulirira abayigirizwa be okwemalira ku biruubirirwa by’Obwakabaka, ebirala ebisigadde babiteeke mu kifo eky’okubiri. (Mat. 6:33) Okwoleka omwoyo ng’ogwo ogw’okwerekereza kijja kutuleetera essanyu erisingawo nga tweyongera okuweereza Yakuwa n’essanyu.