“Byonna Bye Mukola Bikolebwenga mu Kwagala”
1 “Abantu bammwe mazima ddala basanyusa; beeyisa mu ngeri ennungi era eweesa ekitiibwa.” Ebigambo ebyo byayogerwa ekitongole ekikola ku by’enkuŋŋaana n’abagenyi mu kibuga ekimu eky’omu Amereka ekyalimu olumu ku nkuŋŋaana zaffe eza district. Kituzzaamu amaanyi okusiimibwa olw’engeri gye tweyisaamu mu bantu. Kino kiraga nti ng’ekibiina ‘bye tukola bikolebwa mu kwagala.’ (1 Kol. 16:14) Naye, waliwo ebintu ebikulu ebiyinza okuviirako erinnya eddungi ery’abantu ba Katonda okwonoonebwa singa biba tebyogeddwako.
2 Ebizibu Ebikwata ku Kutegeka Aw’Okusula: Mu buli kibuga ekibaamu olukuŋŋaana olunene, Ekitongole Ekikola ku By’Ensula kiteekebwawo okutuyamba okutufunira aw’okusula. Baganda baffe bawaayo ebiseera bingi n’amaanyi ku lwaffe.
3 Okusazaamu ku ssaawa esembayo enteekateeka ezikukoleddwa mu wooteeri kireetawo obuzibu bwa maanyi eri wooteeri n’abateekateeka enkuŋŋaana zaffe. Wooteeri ziyinza okukuumira abagenyi baffe ebisenge era nga zisuubira nti byonna bijja kusulwamu, naye ekiseera ky’olukuŋŋaana okugenda okutuuka ng’ebisenge ebyo byereere. Okugatta ku ekyo, ssente ez’ekiro ekimu ziteekwa okusasulwa okukakasa nti ekisenge kinaakuumibwa. Bw’okola bw’otyo ekisenge kikukuumirwa ng’okereyemu okutuuka.
4 Bw’oba osuziddwa mu bisulo by’abaana oba ebibiina bye basomeramu, osabibwa obutafumbira mu bifo ebyo. Kiyinza okuviirako omuliro era ne kireetawo ebizibu bingi.
5 Okukola Ekirungi Eri Bonna: Empisa ennungi zisibuka ku kwagala Yakuwa ne baliraanwa baffe. (Mat. 22:37-39; Yak. 3:13) Baibuli etukubiriza okulaga okwagala n’okufaayo ku bantu bonna. (Bag. 6:10) Mazima ddala tugoberera omusingi ogwo nga tusuze mu wooteeri, mu bisulo by’abaana oba ebibiina bye basomeramu. Obutakolera ku ekyo kyonoona erinnya lyaffe, era kituttira emikisa egy’okusalirwako ku bisale, era ne kireetawo obuzibu wakati mu b’oluganda. Singa ekitongole kisalawo obutaddamu kutuwa wa kusula, abalala abajja mu lukuŋŋaana oluli mu kibuga ekyo bayinza okukosebwa ennyo, naddala bwe baba nga tebasobola kusasula nsimbi za wooteeri.
6 Enteekateeka ezitukoleddwa ez’aw’okusula bwe zisazibwamu ku ddakiika esembayo, kino kiba kitegeeza nti waliwo ow’oluganda omulala gw’oba osubizza okusula mu kifo ekyo. Kino kiyinza okumwetaagisa okutambula olugendo olusingawo oba okufuna aw’okusula awatali walungi. Ekyo kiba kyoleka okwagala oba okufaayo ku balala? Nga kiba kirungi nnyo okusingawo okulaga okwagala n’okukolera abalala ekirungi nga tetutunuulira byaffe byokka wabula n’eby’abalala!—Mat. 7:12; Yok. 13:34, 35.
7 Twesunga nnyo okubeerawo mu Lukuŋŋaana lwa District Olwa “Abakolera ku Kigambo kya Katonda.” Omaze okukola enteekateeka, nga mw’otwalidde n’aw’okusula era n’entambula? Enneeyisa yaffe nga tuli mu wooteeri, ebisulo by’abaana, n’ebibiina bye basomeramu mu kibuga ekirimu olukuŋŋaana, ka byolekenga amazima agali mu mitima gyaffe era n’okwagala kwe tulina eri Omutonzi waffe.