Kozesa Embeera Eziriwo Okusikiriza Omuntu
1 Wandyagadde okufuna ebirowoozo ebirungi ebinaakuuma obuweereza bwo nga bulungi era ebinaasikiriza abantu eri obubaka obuli mu Baibuli? Kale nno kozesa ebiriwo mu nsi era ne mu kitundu gy’obeera okutandika emboozi. Oyinza okwogera ku mbeera eziri mu kitundu n’eziri mu ggwanga oba eziri mu nsi yonna. Ebintu bino buli kiseera bikyuka. (1 Kol. 7:31) Lowooza ku by’okulabirako bino wamanga.
2 Ebizibu eby’enfuna n’okweyimirizaawo bye byeraliikiriza ennyo abantu. Bwe kityo, oyinza okugamba bw’oti:
◼ “Wawulidde ku mawulire nti [yogera kye wawulidde] emiwendo girinnye nate?” Oba oyinza okwogera ku bbula ly’emirimu singa wabaawo kampuni emu esazeeko abakozi bangi. Okusinziira ku ngeri gye wandyagadde okweyongera okubaganya ebirowoozo, oyinza okubuuza “Wali weebuuzizzaako lwaki kizibu nnyo okweyimirizaawo?” oba “Olowooza nti buli kiseera kinaabeeranga kizibu okweyimirizaawo?”
3 Lipoota ezikwata ku bukambwe, gamba nga eby’ennaku mu maka oba mu baana abasoma, bikuwa eky’okwogerako ekirala. Oyinza okubuuza:
◼ “Wasomyeko mu lupapula lw’amawulire nti [yogera ku ky’ennaku ekiri mu kitundu]?” Era buuza nti “Olowooza obukambwe obw’amaanyi bwe butyo mu nsi buva ku ki?” oba “Olowooza ekiseera kirijja lwe tuliba n’obutebenkevu?”
4 Amawulire agakwata ku mataba, musisi, oba obutabanguko mu bitundu by’ensi eby’enjawulo nabyo bisobola okusikiriza abantu. Ng’ekyokulabirako, oyinza okubuuza:
◼ “Katonda y’avunaanyizibwa ku ekyo [yogera ku katyabaga]?” Oba oyinza okwogera ku katabanguko akaakabaawo n’ogamba nti: “Bwe kiba nti buli muntu ayagala emirembe, lwaki kizibu nnyo okugifuna?”
5 Beera bulindaala eri embeera ezibaawo osobole okuzikozesa mu nnyanjula yo. Ebirowoozo ebirala ebiyamba bisangibwa mu katabo Reasoning wansi w’omutwe ogugamba nti “Embeera Eziriwo,” ku lupapula 10-11. Kyokka, weewale okubaako oludda lwe weekubirako ku nsonga z’eby’obufuzi oba ez’abantu. Mu kifo ky’ekyo, laga nti Ebyawandiikibwa n’Obwakabaka bwa Katonda bye byokka ebinaagonjoolera ddala ebizibu by’abantu.