Okubuulira mu Nsi Egenda Ekyukakyuka
1 Ng’ebintu biyinza okukyukakyuka amangu ennyo! Mu kiro kimu bwe kiti, akatyabaga k’omu butonde, obuzibu bw’eby’enfuna, obukyankalano mu by’obufuzi bifuuka emboozi enyumizibwa. Mu ngeri y’emu, n’ebirowoozo by’abantu biyinza okukyuka amangu. (Bik. 17:21; 1 Kol. 7:31) Tuyinza tutya okuleetera abantu okuwuliriza amawulire gaffe ag’Obwakabaka mu nsi eno egenda ekyukakyuka?
2 Manya Ebyeraliikiriza Abalala: Engeri emu gye tuyinza okusikirizaamu abantu okutuwuliriza kwe kwogera ku bintu ebibaddewo. Yesu, okusobola okuleetera abamuwuliriza okulowooza ku nkolagana yaabwe ne Katonda, yakozesa ebyali bibaddewo abantu bye baali bamanyidde ddala. (Luk. 13:1-5) Mu ngeri y’emu, naffe bwe tuba tubuulira abalala amawulire amalungi, kyandibadde kirungi tukozese ebyakafuluma mu mawulire oba ebintu ebibaddewo mu kitundu ebikwata ku bantu. Kyokka, tulina okwegendereza bwe tuba nga twogera ku bintu ng’ebyo tuleme kubaako ludda lwe twekubiddeko mu by’obufuzi oba ku nsonga z’abantu.—Yok. 17:16.
3 Tuyinza tutya okumanya ebintu abantu bye balowoozaako mu kiseera ekyo kye tubabuuliriramu? Oboolyawo engeri esingayo obulungi kwe kubabuuzaayo ekibuuzo era ne tubawuliriza. (Mat. 12:34) Okufaayo ku bantu kujja kutusobozesa okutegeera endowooza zaabwe n’okubabuuza ebibuuzo ebirala mu ngeri ey’amagezi. Mu ebyo nnyinimu by’ayogera muyinza okubaamu ekiraga ekiri mu birowoozo by’abo abali mu kitundu era ekiyinza okututemera oluwenda okuwa obujulirwa.
4 Ng’Oteekateeka Ennyanjula: Nga tuteekateeka okugenda mu nnimiro mu nsi eno egenda ekyukakyuka, tusobola okukozesa akatabo Reasoning. Ku lupapula 10-11, wansi w’omutwe “Crime/Safety” (Obumenyi bw’Amateeka/Obukuumi) ne “Current Events” (Ebyakabaawo), walaga engeri y’okukozesaamu ebintu ebiba bibaddewo mu nnyanjula yaffe. Ekintu ekifaananako n’ekyo tukisanga mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 2000, olupapula 4. Bw’oba oteekateeka ennyanjula yo, jjukira okuteekamu ekyawandiikibwa ekituukirawo.
5 Twetaaga okukwataganya ennyanjula yaffe n’embeera ekyukakyuka ekwata ku bantu b’omu bitundu mwe tubuulira. Bwe tunaakola bwe tutyo, ebintu bye tunaayogerako bijja kukwata ku mitima gy’abantu. Mu ngeri eyo, tujja kuyamba bangi okumanya Oyo atakyukakyuka ku bikwata ku ngeri ze n’emitindo gye.—Yak. 1:17.