Beera Omukozi Omusanyufu
1 Yesu yagamba nti mu kubeerawo kwe, abantu abasinga obungi ‘tebandifuddeyo,’ nga bwe kyali mu kiseera kya Nuuwa. (Mat. 24:37-39) Bwe kityo, kisuubirwa nti abantu bangi tebajja kuwuliriza amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Kiki ekiyinza okutuyamba okukuuma essanyu lyaffe nga tutuukiriza obuweereza bwaffe?—Zab. 100:2.
2 Okusooka, tulina okukijjukira nti obubaka bwaffe n’omulimu gwaffe ogw’okubuulira biva eri Katonda. Abantu bwe bagaana okuwuliriza nga tuli mu buweereza, wadde nga tufubye nnyo nga bwe tusobola, mazima ddala baba bagaanyi Yakuwa yennyini. Bwe tujjukira nti asiima obwesigwa bwaffe mu kubuulira kijja kutuyamba okukuuma essanyu lyaffe ery’omunda ng’abakozi b’omulimu gwa Katonda.—Yak. 1:25.
3 Eky’okubiri, wakyaliwo abantu abajja okukkiriza enteekateeka ya Yakuwa ey’obulokozi. Wadde ng’abasinga obungi tebajja kwefiirayo, wakyaliwo abalinga endiga abalina okukuŋŋaanyizibwa, wadde ne mu kiseera kino, nga tuli wala nnyo mu kiseera eky’enkomerero. Twetaaga okweyongera okubuulira, nga tugenda ‘mu buli kibuga oba kyalo’ ‘okunoonyamu omuntu asaana.’—Mat. 10:11-13.
4 Kuuma Endowooza Ennuŋŋamu: Ebyafaayo ebibi ebikwata ku madiini ag’obulimba bimazeemu abamu amaanyi. Abamu ‘bakooye nnyo era basaasaanye’ olw’embeera z’ebintu zino. (Mat. 9:36) Bangi bayinza okuba nga baweddemu amaanyi olw’okubulwa emirimu, obujjanjabi, n’obukuumi. Okutegeera kino kijja kutuyamba okunyiikira mu mulimu gwaffe. Gezaako okutandika emboozi ku nsonga ezikwata ennyo ku bantu b’omu kitundu kyaffe. Bayambe okulaba nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obusobola okuzigonjoola. Kozesa Ebyawandiikibwa n’ensonga enkakafu eziri mu bitabo okusobola okutuuka ku mitima gyabwe n’amawulire amalungi.—Beb. 4:12.
5 Abakolera ku kigambo kya Katonda abasanyufu buli kiseera mujjukire: “Essanyu lya Mukama ge maanyi [gaffe].” (Nek. 8:10) Tekitwetaagisa kufiirwa ssanyu lyaffe. “Enju bw’esaananga, emirembe gyammwe gijjenga ku yo: naye bw’etasaananga, emirembe gyammwe giddenga gye muli.” (Mat. 10:13) Yakuwa atuwa essanyu era atunyweza bwe tugumiikiriza mu buweereza bwe obutukuvu, era awa omukisa obwesigwa bwaffe.