‘Wuliriza Weeyongere Okuyiga’
1 Ekitabo ky’Engero kyogera ku magezi ng’ekintu ekikoowoola: “Muwulire, kubanga naayogera ebigambo ebirungi ennyo; n’okwasama emimwa gyange kunaavaamu eby’ensonga. . . . Okuteesa kwange n’okumanya okutuufu. . . . Mumpulirenga: kubanga balina omukisa abakwata amakubo gange. Kubanga buli alaba nze alaba bulamu, era alifuna okuganja eri Mukama.” (Nge. 8:6, 14, 32, 35) Ebigambo ebyo binnyonnyola bulungi okuyigirizibwa okututegekeddwa mu Lukuŋŋaana lwa District olwa “Abayigiriza Ekigambo kya Katonda.”
2 Ebyetaago by’ab’oluganda mu nsi yonna byekenneenyezeddwa, era programu y’olukuŋŋaana luno olunene etegekeddwa okubikolako. Okuyigirizibwa okw’eby’omwoyo n’amagezi amalungi bye tunaafuna, bijja kutuyamba okuba abasanyufu, okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, era n’okusigala mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo singa tunaabikolerako. Mazima ddala tulina ensonga ennungi ‘okuwuliriza tweyongere okuyiga.’—Nge. 1:5, NW.
3 Nga Programu Tennatandika: Okusobola okuganyulwa obulungi mu ebyo ebinaatutuusibwako, kitwetaagisa okukkalira mu bifo byaffe era n’okubeera nga tweteeseteese bulungi okuwuliriza nga programu etandise. Kino kyetaagisa buli omu okwetegeka obulungi. Ekikulu kwe kukola ebintu nga bukyali. Weebake nga bukyali. Zuukuka nga bukyali kisobozese abo b’oli nabo okwetegeka n’okubaako kye balya. Tuuka nga bukyali mu kifo awanaabeera olukuŋŋaana olunene osobole okufuna w’onootuula n’okukola ku ebyo bye weetaaga okukolako nga programu tennatandika. Enzigi zijja kuggulwawo ku ssaawa 2:00 ez’oku makya, ate yo programu ejja kutandikanga ku ssaawa 3:30 ez’oku makya buli lunaku.
4 Okuva ekigendererwa ekikulu eky’okukuŋŋaana bwe kiri okutendereza Yakuwa mu ‘kibiina ky’abantu abangi,’ buli kitundu kisaana kiggulwewo mu ngeri eweesa Katonda waffe ekitiibwa. (Zab. 26:12) N’olw’ensonga eyo, bonna bakubirizibwa okuba nga batudde ng’oluyimba oluggulawo terunnaba kulangirirwa. Kino kikwatagana bulungi nnyo n’okubuulirira okuli mu Byawandiikibwa: “Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu ngeri entegeke.” (1 Kol. 14:40, NW) Ekyo kitegeeza ki gye tuli? Bw’olaba ssentebe ng’atudde ku pulatifomu era nga n’obuyimba obusookawo butandise, amangu ago tuula mu kifo kyo. Kino kijja kukusobozesa okwenyigira n’omutima gwo gwonna mu buli luyimba oluggulawo ekitundu, ng’otendereza Yakuwa.—Zab. 149:1.
5 Nga Programu Etandise: Ezera yali ‘ateeseteese omutima gwe okunoonya amateeka ga Yakuwa n’okugakolerako.’ (Ezer. 7:10) Tuyinza tutya okuteekateeka emitima gyaffe tusobole okugoberera Yakuwa by’atuyigiriza? Nga weekenneenya emitwe egy’enjawulo egiri mu kapapula ka programu y’olukuŋŋaana olunene, weebuuze, ‘Kiki Yakuwa ky’aŋŋamba okuyitira mu programu eno? Nnyinza ntya okukozesa obubaka buno okusobola okweganyula n’okuganyula ab’omu maka gange?’ (Is. 30:21; Bef. 5:17) Weeyongere okwebuuza ebibuuzo ebyo mu lukuŋŋaana lwonna. Wandiika ensonga enkulu z’osuubira okukozesa. Zikubaganyeeko ebirowoozo n’abalala ku buli nkomerero y’ekitundu eky’olunaku. Kino kijja kukusobozesa obutazeerabira n’okukozesa by’oyiga.
6 Kiyinza okubeera ekizibu okussaayo omwoyo okumala essaawa nnyingi. Kiki ekiyinza okutuyamba ebirowoozo obutawuguka? Kozesa bulungi amaaso. Emirundi egisinga, kye tuba tutunuulidde, kye kitwala ebirowoozo byaffe. (Mat. 6:22) N’olwekyo, weewale okutunuulira buli ayitawo oba ayogera. Omwogezi yekka gw’oba osimba amaaso. Goberera mu Baibuli yo ng’ekyawandiikibwa kisomebwa, era Baibuli yo gireke nga mbikkule ng’ekyawandiikibwa kinnyonnyolebwa.
7 Okwagala kw’Ekikristaayo kujja kutuleetera okwewala okutawaanya abalala nga programu etandise. (1 Kol. 13:5) Kino kiba ‘kiseera kya kusirika’ na kuwuliriza. (Mub. 3:7) N’olwekyo, weewale okwogerayogera n’okutambulatambula. Weetegeke nga bukyali oleme okugendagenda mu kaabuyonjo. Tobaako by’olya oba by’onywa ng’ekiseera eky’okukoleramu ebyo tekinnatuuka, okuggyako mpozzi ng’olina obulwadde obw’amaanyi. Abo abajja n’obusimu obw’omu ngalo oba kamera tebasaanidde kubikozesa mu ngeri etabulatabula abalala. Abazadde basaanidde okutuula awamu n’ab’omu maka gaabwe bonna, nga mw’otwalidde n’abatiini, kibasobozese okulabirira obulungi abaana baabwe.—Nge. 29:15.
8 Omwaka oguwedde, omukadde amaze amakumi g’emyaka ng’abeerawo mu nkuŋŋaana ennene yagamba: “Nnawulira nga waaliwo ensonga endala eyafuula olukuŋŋaana olwo okuba olw’enkukunala ennyo. Kumpi buli omu eyaliwo yali alinako ky’awandiika, nga mw’otwalidde n’abaana abato. Kyansanyusa okulaba ekyo. Baibuli zaabikkulwanga ng’aboogezi balaze ebitundu eby’okusoma.” Okuwuliriza obulungi ng’okwo, mazima ddala kusiimibwa nnyo. Tekikoma ku kutuganyula ffe ffekka n’abo be tubeera nabo mu lukuŋŋaana olunene, naye okusingira ddala kireetera Omuyigiriza waffe ow’Ekitalo, Yakuwa Katonda, okutenderezebwa.—Is. 30:20.