Abantu Abatya Katonda Baba n’Empisa Ennungi
1 Empisa ennungi za kkekwa leero. Lwaki kiri bwe kityo? Abantu baba mu bwangu nnyo ne kiba nti tebatera na kulowooza ku ngeri ez’obuntu bulamu, gamba ng’okwogera nti “Weebale nnyo,” oba nti “nsonyiwa.” Ekigambo kya Katonda kyalagula ku kwonooneka kw’empisa mu nnaku ez’oluvannyuma bwe kyagamba nti ‘abantu baliba nga beeyagala bokka, abeenyumiriza, ab’amalala, abateebaza, abatayagala ba luganda, abateegendereza, abatayagala bulungi, era abakakanyavu.’ (2 Tim. 3:1-4) Ezo zonna mpisa mbi. Ng’abantu abatya Katonda, Abakristaayo bateekwa okwekuuma baleme okukoppa engeri z’ensi ezo ez’obutassa kitiibwa mu balala.
2 Empisa Kye Ki? Empisa ennungi ziyinza okwogerwako ng’okufaayo ennyo ku nneewulira z’abalala, era ng’obusobozi bw’okubeera awamu n’abalala mu mirembe. Engeri ezimu ez’okwolesaamu empisa ennungi kwe kufaayo ku balala, okulaga obuntu bulamu, ekisa, n’obwegendereza. Engeri ezo zisibuka mu kwagala omuntu kw’aba nakwo eri Katonda ne muliraanwa. (Luk. 10:27) Tobaako ky’ofiirwa kyonna okulaga engeri ezo. Za muganyulo nnyo mu kussaawo enkolagana ennungi wakati waffe n’abalala.
3 Yesu Kristo yassaawo ekyokulabirako ekituukiridde. Buli kiseera yagobereranga etteeka lino ery’omuwendo: “Nga bwe mwagala abantu okubakolanga, nammwe mubakolenga bwe mutyo.” (Luk. 6:31) Okufaayo kwa Yesu era n’engeri ey’okwagala gye yakolaganangamu n’abayigirizwa be tebituwuniikiriza? (Mat. 11:28-30) Empisa ze ennungi tezaava mu kugoberera bulombolombo. Zaava mu mutima omwesimbu era ogw’ekisa. Twandifubye okukoppa ekyokulabirako kye ekirungi.
4 Ddi Abakristaayo lwe beetaaga empisa ennungi? Mu biseera ebyo byokka lw’oba oyagala okusanyusa abalala? Zeetaagisa ng’olina b’oyagala okuwuniikiriza? Nedda! Tugwanidde okwoleka empisa ennungi buli kiseera. Ngeri ki naddala ze twandyolesezzaamu empisa ennungi nga tuli ne bannaffe mu kibiina?
5 Mu Kizimbe ky’Obwakabaka: Ekizimbe ky’Obwakabaka kye kifo kye tusinzizaamu. Bwe tubaayo tuba tusembezeddwa Yakuwa Katonda. Mu ngeri eyo, tuba bagenyi. (Zab. 15:1) Tubeera bagenyi balungi nga tugenze mu Kizimbe ky’Obwakabaka? Tufaayo ku nnyambala yaffe ne ku ngeri gye twekolako? Mazima ddala twandyewaze ennyambala etasaana. Ka kibe nti bali mu nkuŋŋaana ennene oba mu nkuŋŋaana z’ekibiina ezibaawo buli wiiki, abantu ba Yakuwa bamanyiddwa olw’endabika yaabwe esaanira abantu abatya Katonda. (1 Tim. 2:9, 10) Mu ngeri eyo, tuba tulaga okufaayo okugwanidde era tuba tuwa Katonda waffe atukyazizza ekitiibwa n’abagenyi abalala b’ayise.
6 Engeri endala gye tulagamu empisa ennungi ku bikwata ku nkuŋŋaana, kwe kutuuka nga bukyali. Kyo kituufu nti ekyo tekitera kuba kyangu. Abamu bayinza okuba babeera wala nnyo oba bayinza okuba nga balina abaana bangi be balina okuteekateeka. Kyokka, kirabiddwa nti mu bibiina ebimu, ababuulizi nga 25 ku buli kikumi batuuka ng’oluyimba n’okusaba okuggulawo biwedde. Eno nsonga nkulu nnyo. Twandikijjukidde nti empisa ennungi zizingiramu okufaayo ku nneewulira z’abalala. Yakuwa, oyo Atusembeza, atutegekera ebijjulo bino eby’eby’omwoyo olw’okutuganyula. Tulaga okusiima kwaffe era n’okufaayo bwe tutuuka nga bukyali. Okugatta ku ekyo, okutuuka mu nkuŋŋaana ng’obudde buyise kiwugula abalala era kiba kiraga nti tetuwa kitiibwa baganda baffe ne bannyinaffe ababa baatuuse edda.
7 Bwe tukuŋŋaana, twetegereza abappya ababaawo? Okubaaniriza kiraga empisa ennungi. (Mat. 5:47; Bar. 15:7) Okulamusa omuntu obulungi, okumusika mu mukono n’ebbugumu, okumwenyaamu; byonna bintu bitonotono, naye nabyo bitwawulawo ng’Abakristaayo ab’amazima. (Yok. 13:35) Oluvannyuma lw’okujja mu Kizimbe ky’Obwakabaka omulundi ogwasooka, omusajja omu yagamba: “Mu lunaku lumu lwokka, nnasanga abantu be simanyi abaalina okwagala okwa nnamaddala okusinga ab’omu kkanisa gye nnakulira. Mazima ddala nnali nzudde amazima.” Yakyusa obulamu bwe, era nga waayiseewo emyezi musanvu, yabatizibwa. Yee, empisa ennungi ziyinza okubaako eky’amaanyi kye zikola!
8 Bwe kiba nti tweyisa bulungi eri abantu be tutamanyi, tetwandisinzewo nnyo okweyisa obulungi eri abo “abali mu nnyumba ey’okukkiriza”? (Bag. 6:10) Omusingi guno gutuukirawo: “Ossangamu ekitiibwa amaaso g’omukadde.” (Leev. 19:32) Abalinga abo, tetusaanidde kubabuusa maaso mu nkuŋŋaana zaffe.
9 Okuwuliriza Obulungi: Mu nkuŋŋaana z’ekibiina, abaweereza ba Katonda boogera okusobola okututuusaako ebirabo eby’eby’omwoyo. (Bar. 1:11) Mazima ddala twandibadde tulaga empisa embi singa tusumagira, tugaaya switi gamu, tukubaŋŋana obwama n’omuntu atuliraanye, tugenda emirundi n’emirundi mu kaabuyonjo, tusoma ebitabo ebirala ebitakwatagana na lukuŋŋaana olwo oba okukola ebintu ebirala mu kiseera ky’enkuŋŋaana. Abakadde basaanidde okussaawo ekyokulabirako ekirungi ku nsonga eno. Empisa ennungi ez’Ekikristaayo zijja kutuleetera okuwa omwogezi ekitiibwa ekisaanidde n’obubaka bwe obuva mu Baibuli nga tumuwuliriza bulungi.
10 Ate era, bwe tuba nga tufaayo ku mwogezi n’abawuliriza, twandiggyeko obusimu bwaffe buleme kutabulatabula nkuŋŋaana zaffe.
11 Empisa Ennungi n’Abaana: Abazadde bandifuddeyo ku nneeyisa y’abaana baabwe. Omwana bw’atandika okukaaba mu lukuŋŋaana, era ne kiba nga kitabulatabula abalala, kyandibadde kya magezi okumufulumya wabweru amangu ddala nga bwe kisoboka amale okusirika. Ekyo kiyinza okuba ekizibu ebiseera ebimu, naye jjukira nti bw’okola bw’otyo, oba olaga nti ofaayo ku balala. Abazadde abalina abaana abato abayinza okutawaanya, bulijjo basalawo okutuula emabega, kibasobozese okufulumya abaana mu bwangu nga tebatawaanyiza balala mu kiseera ky’enkuŋŋaana. Kya lwatu, abalala ababaawo mu nkuŋŋaana, bayinza okufaayo ku maka ng’ago nga babalekera ebifo eby’emabega.
12 Abazadde era balina okussaayo omwoyo ku nneeyisa y’abaana baabwe enkuŋŋaana nga tezinnaba kutandika oba nga ziwedde. Abaana tebasaanidde kuddukira mu kizimbe kubanga ekyo kiyinza okuleetawo obubenje. Okuddukiraddukira ebweru w’Ekizimbe ky’Obwakabaka, nakyo kiyinza okuba eky’akabi, nnaddala akawungeezi nga tebakyalaba bulungi. Okwogerera mu maloboozi aga waggulu ennyo ebweru kiyinza okuyisa obubi baliraanwa era ne kireetera okusinza kwaffe okwogerwako obubi. Abazadde abafuba ennyo okulabirira abaana baabwe nga bali munda oba ebweru w’Ekizimbe ky’Obwakabaka, bateekeddwa okusiimibwa ennyo kubanga ekyo kyongera ku ssanyu ery’okubeera awamu nga tuli bumu.—Zab. 133:1.
13 Gye Tusomera Ekitabo: Tusiima nnyo omwoyo gw’okusembeza abagenyi baganda baffe gwe balina abawaayo amaka gaabwe okubeerangamu enkuŋŋaana z’ekibiina. Bwe tuba mu nkuŋŋaana ezo, kitwetaagisa okwoleka empisa ennungi era n’okussa ekitiibwa mu bintu byabwe. Tusaanidde tusiimuule bulungi engatto zaffe nga tetunnaba kuyingira mu nnyumba tuleme kuyingizaamu ttaka. Abazadde basaanidde okulabirira abaana baabwe, era balina okukakasa nti abaana baabwe babeera mu kifo ekyo kyokka ekiweereddwayo okukozesebwa olw’okusoma ekitabo. Era tetusaanidde kweyisa mu ngeri eraga nti tetussa kitiibwa mu maka g’abalala. Omuzadde alina okuwerekera omwana we ng’agenda mu kaabuyonjo. Ate era, okuva okusoma ekitabo bwe kuli olukuŋŋaana lw’ekibiina, tusaanidde twambale nga bwe twambala nga tugenda mu Kizimbe ky’Obwakabaka.
14 Empisa Ennungi Nkulu Nnyo: Empisa ennungi ez’Ekikristaayo zireetera obuweereza bwaffe okwogerwako obulungi, ate era zitumbula enkolagana ennungi n’abalala. (2 Kol. 6:3, 4, 6) Ng’abasinza ba Katonda omusanyufu, twandibadde bantu basanyufu era abakolaganika nabo. Era twandibadde abakolera abalala ebintu eby’ekisa ebibaleetera essanyu. Empisa ezo ennungi zijja kuleetera obulamu bwaffe okuba obulungi ng’abantu abatya Katonda.