LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 2/15 lup. 3-5
  • Yigiriza Abaana Bo Okuwa Abalala Ekitiibwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yigiriza Abaana Bo Okuwa Abalala Ekitiibwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayigirize Empisa ng’Obateerawo Ekyokulabirako Ekirungi
  • Bayigirize ng’Okozesa Ebyokulabirako Ebiri mu Bayibuli
  • Okulaga Empisa Ennungi ng’Abaweereza ba Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Abantu Abatya Katonda Baba n’Empisa Ennungi
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Katonda we yamugumya
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Wa Abalala Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 2/15 lup. 3-5

Yigiriza Abaana Bo Okuwa Abalala Ekitiibwa

OLUGERO olumu mu Bugirimaani lugamba nti: “Omuntu bw’akwata enkoofiira ye mu ngalo, asobola okutuuka mu buli kifo.” Mu bitundu by’ensi bingi, omuntu okuggyako enkoofiira ng’ayingira mu nnyumba y’omulala oba ng’aliko gw’abuuza kiraga nti alina empisa era ekyo kimuweesa ekitiibwa. Bwe kityo, olugero olwo lulaga nti abantu baagala nnyo omuntu ow’empisa ennungi era kibanguyira okuba ab’ekisa gy’ali.

Nga kisanyusa nnyo okulaba abaana abalina empisa ennungi! Omulabirizi w’ekitundu omu mu Honduras atera okubuulira nnyumba ku nnyumba n’ababuulizi ab’emyaka egy’enjawulo agamba nti, “Nkizudde nti abaana abatendekeddwa obulungi era abalina empisa basikiriza nnyo abantu okuwuliriza obubaka bwaffe okusinga n’ebigambo bye njogera.”

Mu kiseera kino ng’abantu abasinga obungi tebakyawa balala kitiibwa, kikulu nnyo okumanya engeri gye tulina okuyisaamu abalala. Ate era, Ebyawandiikibwa bitukubiriza ‘okweyisa mu ngeri egwanira amawulire amalungi agakwata ku Kristo.’ (Baf. 1:27; 2 Tim. 3:1-5) N’olwekyo, kikulu nnyo okuyigiriza abaana baffe okuwa abalala ekitiibwa. Tuyinza tutya okuyigiriza abaana okuwa abalala ekitiibwa mu bwesimbu?a

Bayigirize Empisa ng’Obateerawo Ekyokulabirako Ekirungi

Abaana kibanguyira okuyiga ekintu bwe baba balina gwe balabirako. N’olwekyo, engeri esingayo obulungi abazadde gye bayinza okuyigirizaamu abaana baabwe empisa ennungi, kwe kuba nti nabo bennyini beeyisa bulungi. (Ma. 6:6, 7) Tekimala kugamba bugambi mwana wo kuba na mpisa nnungi. Olina n’okumuteerawo ekyokulabirako ekirungi.

Lowooza ku kyokulabirako kya Paula,b eyakuzibwa omuzadde Omukristaayo ali obwannamunigina. Yafuuka mpisa ye okuwa abantu bonna ekitiibwa. Lwaki? Agamba nti, “Maama yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi, bwe kityo okuwa abalala ekitiibwa yafuuka mpisa yaffe.” Ow’oluganda ayitibwa Walter yayigiriza abaana be okussa ekitiibwa mu maama waabwe atali mukkiriza. Agamba nti, “Nnafuba okuyigiriza batabani bange okuwa maama waabwe ekitiibwa nga mbateerawo ekyokulabirako ekirungi, nneewalanga okwogera obubi ku mukyala wange.” Walter yeeyongera okuyigiriza abaana be Ekigambo kya Katonda, era yasabanga Yakuwa amuyambe. Omu ku baana be kati aweereza ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa, ate omulala aweereza nga payoniya. Abaana bano baagala nnyo bazadde baabwe bombi era babassaamu ekitiibwa.

Bayibuli egamba nti: “Katonda si wa luyoogaano, naye wa mirembe.” (1 Kol. 14:33) Buli kimu Yakuwa ky’akola kiba kitegeke bulungi. Abakristaayo basaanidde okumukoppa nga nabo bafuba okukuuma amaka gaabwe nga mategeke bulungi. Abazadde abamu bayigirizza abaana baabwe okwala obuliri bwabwe nga baakazuukuka, okuteeka engoye zaabwe mu kifo ekituufu, n’okukola emirimu gy’awaka. Abaana bwe bakiraba nti amaka gonna okutwalira awamu mategeke bulungi, nabo batandika okukuuma ebisenge byabwe n’ebintu byabwe nga bitegeke bulungi.

Abaana bo batwala batya ebyo ebibayigirizibwa ku ssomero? Bakiraga nti basiima ebyo abasomesa baabwe bye babakolera? Ng’omuzadde, naawe okiraga nti osiima ekyo abasomesa baabwe kye bakola? Bw’okola bw’otyo, abaana bo bajja kukukoppa nabo balage nti basiima abasomesa baabwe awamu n’ebyo bye babayigiriza. Lwaki tobakubiriza okwebazanga abasomesa baabwe? Bwe twebaza abantu gamba ng’abasomesa, abasawo, n’abo abatuguza ebintu, tuba tulaga nti tubawa ekitiibwa. (Luk. 17:15, 16) Abakristaayo abato abafuba okwoleka empisa ennungi ku ssomero, tusaanidde okubasiima.

Abo abali mu kibiina Ekikristaayo basaanidde okussaawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka empisa ennungi. Nga kitusanyusa nnyo okulaba abavubuka mu kibiina nga booleka empisa ennungi nga bakozesa ebigambo gamba nga “nsaba ku” oba “weebale nnyo”! Ab’oluganda abakulu bwe bakyoleka nti bawa Yakuwa ekitiibwa nga bassaayo omwoyo ku ebyo ebiba biyigirizibwa mu nkuŋŋaana, n’abaana bajja kusikirizibwa okubakoppa. Abaana basobola okuyiga okuwa abalala ekitiibwa bwe balaba ab’oluganda mu kibiina nga booleka empisa ennungi. Ng’ekyokulabirako, omwana ow’emyaka ena ayitibwa Andrew yayiga okukozesa ebigambo, gamba nga, “Nsaba kukuyitako,” bw’aba ayagala okuyita ku bantu abakulu.

Kiki ekirala abazadde kye basaanidde okukola okusobola okuyamba abaana baabwe okuba n’empisa ennungi? Basaanidde okufuna ebiseera okuyigiriza abaana baabwe nga bakozesa ebyokulabirako ebiri mu Kigambo kya Katonda.​—Bar. 15:4.

Bayigirize ng’Okozesa Ebyokulabirako Ebiri mu Bayibuli

Kirabika maama wa Samwiri yali amuyigirizza okukutamya ku mutwe gwe ng’atuuse mu maaso ga Kabona Asinga Obukulu Eri. Mu kiseera we yamutwalira ku weema, kirabika Samwiri yali wa myaka essatu oba ena. (1 Sam. 1:28) Naawe ofuba okuyigiriza omwana wo omuto okukozesa ebigambo, gamba nga “wasuze otya nno,” “osiibye otya nno,” oba ebigambo ebirala ebikozesebwa mu kitundu gye mubeera? Okufaananako Samwiri, abaana bo nabo basobola ‘okuganja mu maaso ga Yakuwa n’abantu.’​—1 Sam. 2:26.

Lwaki tokozesa byakulabirako ebiri mu Bayibuli okuyamba abaana bo okulaba enjawulo eri wakati w’okuwa abalala ekitiibwa n’obutabawa kitiibwa? Ng’ekyokulabirako, Kabaka Akaziya owa Isiraeri ataali mwesigwa bwe yali ayagala okulaba nnabbi Eriya, yatuma “omwami w’ataano n’abasajja be ataano” okumuyita. Omusajja oyo yalagira nnabbi okugenda naye. Eyo si ye yali engeri entuufu ey’okwogeramu n’omusajja eyali akiikirira Katonda. Eriya yamuddamu atya? Yamugamba nti: “Oba ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gwokye ggwe n’abasajja bo ataano.” Era ekyo kyennyini kye kyaliwo. “Omuliro [gwava] mu ggulu ne gumwokya ye n’abasajja be ataano.”​—2 Bassek. 1:9, 10.

Omwami wa 50 ow’okubiri yasindikibwa okukima Eriya. Okufaananako oli eyasooka, naye yalagira Eriya okugenda naye. Ne ku mulundi guno omuliro gwava mu ggulu ne gumwokya awamu n’abasajja be. Kyokka, oluvannyuma omwami wa 50 ow’okusatu yagenda eri Eriya. Omusajja ono ye yawa Eriya ekitiibwa. Mu kifo ky’okumulagira obulagizi okugenda naye, yafukamira ku maviivi ge n’agamba nti: “Ggwe omusajja wa Katonda, nkwegayiridde, obulamu bwange n’obulamu bwa bano ataano abaddu bo bube bwa muwendo mungi mu maaso go. Laba, omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya abaami b’ataano bombi abaasoose n’abasajja baabwe ataano: naye kaakano obulamu bwange bube bwa muwendo mungi mu maaso go.” Ddala nnabbi wa Katonda yali asobola okulagira omuliro guve mu ggulu gwokye omuntu eyayogera mu ngeri eraga nti yali amuwa ekitiibwa? Ekyo yali tayinza kukikola! Mu kifo ky’ekyo, malayika wa Yakuwa yagamba Eriya okugenda n’omusajja oyo. (2 Bassek. 1:11-15) Ekyo tekiraga nti kikulu nnyo okuwa abalala ekitiibwa?

Omutume Pawulo bwe yali akwatiddwa abasirikale Abaruumi mu yeekaalu, teyakitwala nti yalina eddembe okubaako ne kyayogera. Mu ngeri eraga nti yali awa omudduumizi w’amagye ekitiibwa, yamugamba nti: “Nzikirizibwa okubaako kye nkugamba?” N’ekyavaamu, Pawulo yaweebwa akakisa okwewozaako.​—Bik. 21:37-40.

Bwe yali awozesebwa, Yesu yakubibwa oluyi mu maaso. Naye yali amanyi engeri entuufu ey’okwanukulamu. Yagamba nti: “Bwe mba nga njogedde kikyamu, ekikyamu ekyo kyogere; naye bwe mba nga njogedde kituufu, lwaki onkuba?” Tewali n’omu yali asobola kulaga nti Yesu yali ayogedde bubi.​—Yok. 18:22, 23.

Ekigambo kya Katonda era kirimu ebyokulabirako ebiraga engeri gye tuyinza okweyisaamu nga tuwabuddwa oba nga waliwo ekintu ekikyamu kye tukoze. (Lub. 41:9-13; Bik. 8:20-24) Ng’ekyokulabirako, Abbigayiri yeetonda olw’engeri omwami we, Nabali, gye yali ayisizzaamu Dawudi. Ng’oggyeko okwetonda, yaleetera Dawudi eby’okulya bingi. Abbigayiri kye yakola kyakwata nnyo ku Dawudi bwe kityo Nabali bwe yafa, Dawudi yatwala Abbigayiri n’afuuka mukazi we.​—1 Sam. 25:23-41.

N’olwekyo, yigiriza abaana bo okuwa abalala ekitiibwa nga beeyisa bulungi, ne bwe baba mu mbeera enzibu. Bwe ‘tuleka ekitangaala kyaffe okwakira abantu’ mu ngeri eyo, ekyo ‘kireetera Kitaffe ali mu ggulu okugulumizibwa.’​—Mat. 5:16.

[Obugambo obuli wansi]

a Kya lwatu nti abazadde beetaaga okuyamba abaana baabwe okulaba enjawulo eri wakati w’okuwa abantu abakulu ekitiibwa n’okugondera abo abayinza okuba n’ebiruubirirwa ebikyamu. Laba Awake! eya Okitobba 2007, olupapula 3-11.

b Amannya agamu gakyusiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share