LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 8/01 lup. 8
  • Okwesanyusaamu Kusse mu Kifo Kyakwo Ekituufu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okwesanyusaamu Kusse mu Kifo Kyakwo Ekituufu
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Similar Material
  • Eby’Okwesanyusaamu by’Olondawo Bikuganyula?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Kozesa Bulungi Ebiseera Byo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Tokkiriza Kintu Kyonna Kukwawukanya ne Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • “Onjagala Okusinga Bino?”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
km 8/01 lup. 8

Okwesanyusaamu Kusse mu Kifo Kyakwo Ekituufu

1 Mu biseera bino ebizibu ennyo, ffenna twetaaga okwesanyusamu. Okwesanyusaamu okw’ekigero kuba kulungi. Kyokka, singa omuntu amala ebiseera bingi nnyo mu kwesanyusaamu, kiyinza okumuleetera okutandika okukendeeza ku biseera by’amala ku nsonga ez’eby’omwoyo. Okwesanyusamu tuteekwa okukussa mu kifo kyakwo ekituufu. (Mat. 5:3) Ekyo tuyinza kukikola tutya? Nga tugoberera amagezi agali mu Abaefeso 5:15-17.

2 Ssaawo Ekkomo: Pawulo yawandiika nti Abakristaayo basaanidde ‘okuba abeegendereza ennyo’ mu ngeri gye batambuzaamu obulamu bwabwe. Obwegendereza n’okwefuga byetaagisa okusobola okumanya okwesanyusamu okusaanidde. Kya magezi okulowooza ennyo ku ngeri gye tukozesaamu ebiseera byaffe eby’eddembe. Okwesanyusaamu kwandibadde kwa muganyulo mu kifo ky’okutuleetera okuwulira ng’aboonoonye obwonoonyi ebiseera byaffe oba okutuleka nga tukooye nnyo. Singa, oluvannyuma lw’okwenyigira mu ky’okwesanyusamu ekimu tuwulira nti tewali muganyulo gwonna gwe tufunyeemu, era oboolyawo nga n’omuntu waffe ow’omunda atulumiriza, ekyo kyandibadde kiraga nti twetaaga okukola enkyukakyuka mu ngeri gye tukozesaamu ebiseera byaffe.

3 Beera Wa Magezi: Pawulo yawa okubuulirira okukwata ku ‘kwegulira ebiseera’ okusobola okukola ku bintu ebisingayo obukulu mu bulamu, so si ‘okuba ng’abatalina magezi.’ Abakristaayo abeewaayo tebayinza kukkiriza kwesanyusaamu okubeera ekintu ekikulu ennyo mu bulamu bwabwe. Wadde nga okuwummulamu n’okukyusaamu kuyinza okutuzzaamu amaanyi mu mubiri, ensibuko y’amaanyi mu by’omwoyo ge maanyi ga Katonda agakola. (Is. 40:29-31) Tufuna omwoyo gwe okuyitira mu nteekateeka za teyokulase, gamba nga okuyiga Baibuli, okubeera mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo n’okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro so si okuyitira mu kwesanyusaamu.

4 Kulembeza Ebisinga Obukulu: Pawulo yabuulirira Abakristaayo ‘okutegeeranga Yakuwa by’ayagala.’ Yesu yayigiriza nti Obwakabaka bwa Katonda bwe busaanidde okukulembezebwa mu bulamu bwaffe. (Mat. 6:33) Tusaanidde okukulembeza ebintu ebinaatusobozesa okutuukiriza okwewaayo kwaffe eri Yakuwa. Oluvannyuma, eby’okwesanyusaamu biyinza okussibwa mu kifo kyabyo ekituufu. Bwe tukola bwe tutyo, bijja kuba bya muganyulo, era tujja kubinyumirwa mu ngeri esingawo.​—Mub. 5:12.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share