Oluganda Olwa Nnamaddala Lulagibwa mu Vidiyo United by Divine Teaching
Olumu, omulabirizi w’ekitundu yaliwo ng’omukyala eyali tannaba kutandika kugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina ng’ayigirizibwa Baibuli. Omulabirizi yamuyita okulaba vidiyo United by Divine Teaching. Wiiki eyo yennyini omukyala oyo yagenda mu lukuŋŋaana era n’agamba nti yali musanyufu nnyo okubeerawo. Lwaki vidiyo eyo yaleetawo mangu ebibala? Omukyala oyo yakwatibwako nnyo olw’okulaba oluganda oluli obumu mu nsi erimu obukambwe n’obukyayi.—Yok. 13:35.
Okubirizibwa okulaba vidiyo eno kikusobozese okulaba emirembe n’okwagala Abajulirwa ba Yakuwa bye balina okwetooloola ensi yonna. Oluvannyuma, fumiitiriza ku bibuuzo bino:
(1) Lwaki “Okuyigiriza kwa Katonda” gwali mutwe ogutuukirawo ogw’enkuŋŋaana za district ezaaliwo mu 1993-94?—Mik. 4:2.
(2) Amazima ag’omu Baibuli gabadde na makulu ki eri amaka agamu? Era gabadde na makulu ki gy’oli?
(3) Lwaki kikulu okuyigirizibwa Yakuwa?—Zab. 143:10.
(4) Bizibu bya ngeri ki ebiteekwa okuvvuunukibwa okusobola okutegeka olukuŋŋaana olw’ensi yonna?
(5) Mu ngeri ki gye walaba nga Zabbuli 133:1 ne Matayo 5:3 bituukirizibwa mu lukuŋŋaana lwa district lwe walimu?
(6) Bujulizi ki obulabika obulaga nti okuyigiriza kwa Katonda kulina eky’amaanyi kye kukola?—Kub. 7:9.
(7) Kubatizibwa ki okw’Abakristaayo ab’amazima abasingayo obungi okwali kubaddewo?
(8) Bigambo ki ebya Mikka, Peetero ne Yesu ebituukirizibwa kati mu Bajulirwa ba Yakuwa?
(9) Kiki ekikukakasa nti amaka g’abantu abasanyufu era abali obumu si kirooto bulooto?
(10) Ani gw’ogenda okulaga vidiyo eno, era lwaki?
Oluvannyuma lw’okulaba vidiyo eno, mwannyinaffe omu yawumbawumbako bw’ati: “Vidiyo eno ejja kwongera okunnyamba okujjukira nti baganda baffe ne bannyinaffe bangi okwetooloola ensi yonna, mu kiseera kino baweerereza wamu Yakuwa. . . . Ng’obumu bwaffe ng’ab’oluganda bwa muwendo nnyo!”—Bef. 4:3.